Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

M’Cheyne Bible Reading Plan

The classic M'Cheyne plan--read the Old Testament, New Testament, and Psalms or Gospels every day.
Duration: 365 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
1 Bassekabaka 10

Okukyala kwa Kabaka Omukazi ow’e Seeba

10 (A)Awo kabaka omukazi ow’e Seeba bwe yawulira ettutumo lya Sulemaani n’okwagala kwe yalina eri Mukama, n’ajja amugezese n’ebibuuzo ebizibu. Yatuuka mu Yerusaalemi, n’ekibiina ky’abantu ekinene ennyo, n’eŋŋamira ezaali zeetisse ebyakaloosa, ne zaabu ennyingi ennyo, n’amayinja ag’omuwendo. Yanyumya ne Sulemaani ku ebyo byonna ebyali ku mutima gwe. Awo Sulemaani n’addamu ebibuuzo byonna, era tewaali na kimu ku byo ekyamuzibuwalira. Kabaka omukazi ow’e Seeba bwe yalaba amagezi ga Sulemaani ago gonna, n’olubiri lwe yazimba, (B)n’emmere eyagabulwanga ku mmeeza ye, n’engeri abakungu be gye baatuuzibwangamu, n’ennyambala y’abaddu be, n’abasenero be, n’ebiweebwayo ebyokebwa bye yawangayo mu yeekaalu ya Mukama, ne yeewunya nnyo.

N’amugamba nti, “Bye nawulira nga ndi mu nsi yange, ku ebyo by’okoze n’amagezi go, bya mazima. (C)Ssakkiriza bigambo ebyo okutuusa lwe neesitukira ne nzija neerabireko n’agange. Kya mazima ddala nabulirwako kitundu butundu kyokka; kubanga amagezi go, n’obugagga bwo bisinga ku ebyo bye nawulira. (D)Abasajja bo nga beesiimye! N’abakungu abayimirira mu maaso go ne bawulira ebigambo eby’amagezi nga beesiimye! (E)Yeebazibwe Mukama Katonda wo akusanyukira era akutadde ku ntebe ey’obwakabaka bwa Isirayiri. Olw’okwagala kwa Mukama okutaggwaawo, akufudde kabaka, okukuuma obwenkanya n’obutuukirivu.”

10 (F)N’agabira kabaka ttani nnya eza zaabu, n’ebyakaloosa bingi nnyo nnyini, n’amayinja ag’omuwendo. Tewaaleetebwa nate byakaloosa byenkana awo obungi ng’ebyo kabaka omukazi ow’e Seeba bye yawa Sulemaani.

11 (G)(Emmeeri za Kiramu zaaleetanga zaabu okuva e Ofiri, n’emitoogo mingi, era n’amayinja ag’omuwendo. 12 Kabaka yakozesa emitoogo okukola empagi za yeekaalu ya Mukama Katonda n’ez’olubiri lw’obwakabaka, n’okukola ennanga, n’entongooli z’abayimbi. Tewalabikanga mitoogo mingi bwe gityo n’okutuusa ku lunaku lwa leero.)

13 Awo kabaka Sulemaani n’awa kabaka omukazi ow’e Seeba byonna bye yayagala ne bye yasaba, obutassaako ebyo Sulemaani bye yamuwa okuva ku byobugagga bw’obwakabaka bwe. Oluvannyuma kabaka omukazi ow’e Seeba n’addayo mu nsi ye n’ekibiina ky’abantu be, be yajja nabo.

Obugagga bwa Sulemaani

14 (H)Obuzito obwa zaabu obwaleetebwanga eri Sulemaani buli mwaka bwali ttani amakumi abiri mu ssatu, 15 nga tobaliddeeko musolo ogwawebwangayo abasuubuzi n’ab’ebyamaguzi, ate era n’ogwasoloozebwanga okuva ku bakabaka Abawalabu bonna ne bagavana.

16 (I)Kabaka Sulemaani yaweesa engabo ennene ebikumi bibiri mu zaabu, buli ngabo ng’erimu kilo ssatu n’ekitundu eza zaabu. 17 (J)Yakola n’engabo entono ebikumi bisatu, nga nazo za zaabu, buli ngabo nga ya kilo emu n’ekitundu eza zaabu. Ezo zonna kabaka yaziterekanga mu lubiri olwazimbibwa mu miti egyava mu kibira kya Lebanooni.

18 Awo kabaka n’akola entebe ey’obwakabaka ennene ddala nga ya masanga n’agibikkako zaabu ennongoose. 19 Entebe ey’obwakabaka yalina amadaala mukaaga, waggulu waayo aweesigamwa nga weekulungirivu. Eruuyi n’eruuyi w’entebe waaliyo empologoma nga ziyimiridde ku mabbali g’emikono. 20 Empologoma kkumi na bbiri zaali ku madaala mukaaga, eruuyi mukaaga n’eruuyi mukaaga. Tewaali ntebe ndala yonna ey’obwakabaka eyali ekoleddwa eri ng’eyo mu bwakabaka obulala bwonna mu biseera ebyo. 21 Ebikompe byonna ebya kabaka Sulemaani byali bya zaabu, ne byonna ebyali mu lubiri lwe olwakolebwa mu kibira kya Lebanooni. Tewali kyakolebwa mu ffeeza, kubanga ffeeza teyali ya muwendo nnyo mu biro ebyo. 22 (K)Kabaka yalina ebyombo ebya maguzi ku nnyanja ebyakozesebwanga awamu n’ebya Kiramu, ebyaleetanga zaabu, ne ffeeza, n’amasanga, n’enkobe n’enkima eza buli ngeri omulundi gumu mu buli myaka esatu.

23 (L)Kabaka Sulemaani yalina obugagga bungi nnyo nnyini, n’amagezi mangi nnyo okusinga bakabaka abalala bonna ku nsi. 24 (M)Ensi yonna yanoonyanga era yeesunganga okulaba ku Sulemaani n’okuwuliriza amagezi, Katonda ge yamuwa. 25 Buli mwaka, buli omu eyajjanga okumukyalira, yamuleeteranga ekirabo, oluusi yabeeranga zaabu ne ffeeza, oluusi ngoye, oluusi byakulwanyisa, oluusi byakaloosa, oluusi mbalaasi n’ennyumbu.

26 (N)Sulemaani yakuŋŋaanya embalaasi n’amagaali, era yalina amagaali lukumi mu bina, n’abeebagazi b’embalaasi omutwalo gumu mu enkumi bbiri, be yakuumiranga mu bibuga omwakuumirwanga amagaali, ne mu Yerusaalemi okumpi naye. 27 (O)Kabaka n’afuula ffeeza okuba ng’amayinja aga bulijjo mu Yerusaalemi, n’emivule n’agifuula okuba ng’emisukamooli egiri mu biwonvu olw’obungi bwagyo. 28 Embalaasi za Sulemaani zaagulibwanga mu Misiri. 29 (P)Eggaali zaagulibwanga kilo musanvu eza ffeeza, na buli mbalaasi ng’egulibwa kilo emu n’ekitundu eza ffeeza mu Misiri. Ate era baazitunzanga ne bakabaka ab’Abakiiti ne bakabaka ab’e Busuuli.

Abafiripi 1

Okulamusa

(A)Nze Pawulo ne Timoseewo abaddu ba Kristo Yesu tuwandiikira abatukuvu bonna mu Kristo Yesu abali mu Firipi, awamu n’abalabirizi n’abadiikoni; (B)ekisa n’emirembe ebiva eri Katonda Kitaffe ne Mukama waffe Yesu Kristo, bibeerenga nammwe.

Okwebaza n’okusaba Katonda

(C)Nneebaza Katonda wange buli lwe mbajjukira, (D)era buli lwe mbasabira mwenna nsaba nga nzijudde essanyu. (E)Kubanga okuviira ddala ku lunaku olwasooka n’okutuusiza ddala kaakano mwetaba wamu nange mu njiri. (F)Nkakasiza ddala nti oyo eyatandika omulimu omulungi mu mmwe, aligutuukiriza okutuusa ku lunaku lwa Kristo Yesu. (G)Kino kituufu okubalowoozaako bwe ntyo mwenna, kubanga mundowoozaako mu kusibibwa kwange ne mu kulwanirira Enjiri, ne mu kuginyweza, nga mwenna mwetaba wamu nange mu kisa. Katonda ye mujulirwa wange nga mwenna bwe mbaagala n’okwagala okuva eri Kristo Yesu. (H)Mbasabira nti okwagala kwammwe kweyongerenga, era mujjule amagezi n’okutegeera, 10 (I)mulyoke mulonde ekisinga obulungi, olunaku lwa Kristo bwe lulituuka lubasange nga muli balongoofu abataliiko kamogo, 11 (J)nga mujjudde ekibala eky’obutuukirivu ku bwa Yesu Kristo, olw’okuweesa Katonda ekitiibwa n’okumutendereza.

Obusibe bwa Pawulo bubunyisa Njiri

12 Abooluganda, njagala mmwe mutegeere kaakano nti ebimu ebyambaako byongera bwongezi kubunyisa Njiri, 13 (K)n’okusibibwa kwange kulyoke kulabise Kristo eri olusiisira lwonna olw’abaserikale ba kabaka n’eri abalala bonna. 14 (L)N’abooluganda mu Mukama waffe abasinga obungi beeyongedde okuguma olw’okusibibwa kwange, era nga bamaliridde okwaŋŋanga okubuulira nga tebatya.

15 Weewaawo abamu bategeeza abantu Kristo lwa buggya na kuvuganya, naye abalala bakikola mu mwoyo mulungi. 16 (M)Bano bakikola lwa kwagala, kubanga bamanyi nga nalondebwa lwa kulwanirira Njiri. 17 (N)Naye bali bategeeza Kristo lwa kuvuganya, so si mu mazima, nga balowooza nti banaayongera okunnakuwaza mu busibe bwe ndimu. 18 Naye nze nfaayo ki? Kristo bw’abuulirwa, mu buli ngeri, oba za bukuusa oba za mazima, nze nsanyuka busanyusi.

Era nzija kweyongera okusanyuka. 19 (O)Kubanga mmanyi nti olw’okunsabira n’olw’amaanyi g’Omwoyo wa Yesu Kristo, ndifuna okulokolebwa kwange. 20 (P)Neesiga era nsubirira ddala nti sijja kuswala mu nsonga n’emu, wabula ne kaakano nzija kuguma nga bulijjo, Kristo agulumizibwe mu mubiri gwange, oba okuyita mu bulamu oba okuyita mu kufa. 21 (Q)Nze mba mulamu lwa Kristo era ne bwe nfa mba ngobolodde. 22 Naye obanga bwe mba omulamu mu mubiri ng’ekyo kibala ky’okufuba kwange, simanyi kye nnaalondawo. 23 (R)Nkwatiddwa buli luuyi; nneegomba okuva mu bulamu buno ŋŋende mbeere ne Kristo, kubanga ekyo kisingako obulungi. 24 Naye okusigala mu mubiri kye kisinga okwetaagibwa ku lwammwe 25 Ekyo nkikakasa era nkimanyi nti nzija kuba nga nkyaliwo mbeere nammwe, mulyoke mweyongere okusanyuka n’okukula mu kukkiriza, 26 bwe ndikomawo gye muli mulyoke mweyongere okwenyumiririza mu Kristo ku lwange.

27 (S)Naye kirungi obulamu bwammwe bubeerenga nga bwe kisaanira Enjiri ya Kristo; ne bwe ndijja oba ne bwe sirijja kubalaba, mpulire nti muli banywevu era mwegasse mu mwoyo gumu, nga mulwanirira okukkiriza okw’enjiri n’emmeeme emu. 28 Temutyanga abo ababawakanya kubanga ke kabonero akakakasa nti balizikirizibwa, naye mmwe mulirokolebwa, era ekyo kiva eri Katonda. 29 (T)Kubanga mwaweebwa omukisa, ku lwa Kristo, si mu kumukkiriza kyokka, naye n’okubonaabona ku lulwe. 30 (U)Olutalo lwe mwalaba nga nnwana, era lwe muwulira lwe ndiko kaakano, nammwe lwe muliko.

Ezeekyeri 40

Ekifo Ekiggya ekya Yeekaalu

40 (A)Ku ntandikwa ey’omwaka ogw’amakumi abiri mu etaano nga tuli mu buwaŋŋanguse, ku lunaku lw’omwezi ogw’ekkumi, oluvannyuma lw’emyaka kkumi n’ena ng’ekibuga kigudde, omukono gwa Mukama ne gunzikako ku lunaku olwo lwennyini, n’antwalayo. (B)Mu kwolesebwa, Katonda n’antwala mu nsi ya Isirayiri n’anteeka ku luuyi olw’Obukiikaddyo obw’olusozi oluwanvu ennyo okwali ebizimbe ebyali ng’ekibuga. (C)N’antwala eyo, ne ndaba omusajja, ng’alabika ng’ayakolebwa mu kikomo, ng’ayimiridde mu mulyango ng’akutte omuguwa ogwa linena n’oluti olupima. (D)Omusajja n’aŋŋamba nti, “Omwana w’omuntu, tunula n’amaaso go owulire n’amatu go osseeyo omwoyo ku buli kye nnaakulaga, kyovudde oleetebwa wano. Byonna by’onoolaba obitegeeze ennyumba ya Isirayiri.”

Omulyango ogw’Ebuvanjuba okutuuka mu Luggya Olwa wabweru

(E)Ne ndaba bbugwe okwetooloola ekifo kya yeekaalu. Obuwanvu bw’oluti olupima olwali mu mukono gw’omusajja lwali emikono mukaaga, nga mita ssatu. Buli mukono gwali nga kitundu kya mita. N’apima bbugwe ng’omubiri gwayo mita ssatu, n’obugulumivu bwayo mita ssatu.

(F)Oluvannyuma n’alaga ku mulyango ogutunuulira Ebuvanjuba, n’alinnya amadaala n’apima omuziziko ogusooka ogw’omu mulyango, nga guli oluti lumu, ze mita ssatu. (G)N’obusenge obw’abakuumi bwali mita ssatu obuwanvu, n’obugazi mita ssatu, ng’ebbanga eryawula obusenge obwo liri mita bbiri n’ekitundu. Waaliwo n’omuziziko ogwokubiri. N’omuziziko ogwo gwali mita ssatu mu bugulumivu. Mu maaso g’omuziziko ogwo waaliwo ekisasi okutunuulira yeekaalu.

Awo n’apima ekisasi eky’oku mulyango nga kiri mita nnya obugulumivu. Waaliwo empagi bbiri ku nsonda y’ekisasi, n’omubiri ogw’empagi ezo gwali mita emu. Ekisasi eky’oku mulyango kyayolekera yeekaalu.

10 Munda mu mulyango ogw’Ebuvanjuba mwalimu obusenge obw’abakuumi busatu ku njuyi zombi, bw’onsatule nga bwenkanankana obunene, nga n’ebbanga wakati waabwo lyenkanankana obunene. 11 N’apima obugazi obw’awayingirirwa mu mulyango nga buli mita ttaano n’obugulumivu bwawo nga buli mita mukaaga n’ekitundu. 12 Mu maaso ga buli kasenge waaliwo ekisenge obuwanvu kitundu kya mita, n’obusenge nga buli mita ssatu eruuyi ne mita ssatu eruuyi. 13 N’oluvannyuma n’apima obugazi bw’akasolya ak’ekibangirizi okuva ku kasenge akamu okutuuka ku kakoolekedde; okuva ku ntikko y’empagi okutuuka ku y’empagi eyookubiri waali mita kkumi na bbiri n’ekitundu. 14 (H)Waaliwo embu bbiri ez’obusenge. N’apima ekibangirizi okuva ku kasenge akasooka ak’olubu olumu okutuuka ku kasenge akasembayo ak’olubu olwo. N’oluvannyuma n’apima n’ekibangirizi okuva ku kasenge akasooka ak’olubu olulala okutuuka ku kasenge akasembayo ak’olubu olwo olulala, wonna awamu n’afuna mita kkumi na ttaano buli lubu. Ekipimo ekyo tekitwaliramu kisasi. 15 N’okuva ku bwenyi bw’omulyango awayingirirwa okutuuka ekisasi kyagwo we kikoma waali mita amakumi abiri mu ttaano. 16 (I)Era obusenge bwaliko amabanga amafunda okuva wansi okutuuka waggulu mu bisenge byabwo, okwetooloola obusenge bwonna; ate n’ekisasi nakyo kyalina amabanga agafaanagana nga gali ag’obusenge obw’abakuumi. Ku bisenge kwali kwoleddwako ebifaananyi eby’enkindu.

Oluggya olw’Ebweru

17 (J)Awo omusajja n’andeeta mu luggya olw’ebweru; ne ndaba ebisenge ebimu n’olubalaza ebyazimbibwa, ebisenge ebyo ebyazimbibwa ku lubalaza mu bbugwe okwetooloola oluggya lwonna, byali amakumi asatu. 18 Olubalaza lwakolebwa okwetooloola bbugwe. Obugazi bw’olubalaza lwali lwenkanankana n’obuwanvu bw’omulyango, era ng’olubalaza lwolekedde oluggya. Olubalaza olwo lwe luyitibwa olubalaza olwa wansi. 19 (K)N’oluvannyuma n’apima ekibangirizi okuva omulyango ogw’Ebuvanjuba we gukoma okutuuka ebweru ow’oluggya olw’omunda, ze mita amakumi ataano. Waaliwo n’omulyango ogw’Obukiikakkono. N’ekibangirizi okuva ku mulyango ogwo we gukoma okutuuka ebweru w’oluggya olw’omunda nakyo kyali mita amakumi ataano.

Omulyango ogw’Obukiikakkono

20 Awo n’apima obuwanvu n’obugazi obw’omulyango ogw’Obukiikakkono ogufuluma mu luggya olw’ebweru. 21 (L)Obusenge bwagwo obw’abakuumi, busatu oluuyi n’oluuyi, n’ebbanga wakati waabwo, n’ekisasi kyagwo, byalina ebipimo bye bimu ng’omulyango ogusooka. Omulyango ogwo gwali mita amakumi abiri mu ttaano obuwanvu, n’obugazi mita kkumi na bbiri n’ekitundu. 22 (M)Amabanga gaagwo amafunda, n’ekisasi kyagwo, n’ebifaananyi eby’enkindu ebyagwo byalina ebipimo bye bimu ng’eby’omulyango ogw’Ebuvanjuba. Amadaala musanvu ge galinnyibwanga okutuuka ku mulyango ogw’Obukiikakkono. Gwalina ekisasi ekyali ku nkomerero y’omulyango ogwo. 23 (N)Waaliwo omulyango ogw’oluggya olw’omunda ogwatunuulira omulyango ogw’Obukiikakkono, nga ogwali Ebuvanjuba. N’apima okuva ku mulyango ogw’oluggya olw’omunda okutuuka ku mulyango ogw’Obukiikakkono mita amakumi ataano.

Omulyango ogw’Obukiikaddyo

24 Awo n’ankulembera n’antwala ku luuyi olw’Obukiikaddyo ne ndaba omulyango ogw’Obukiikaddyo, n’apima empagi zaagwo n’ekisasi kyagwo, ng’ebigera byabyo byenkanankana n’ebirala. 25 (O)Omulyango n’ekisasi kyagwo byalina amabanga amafunda okwetooloola wonna, ng’amabanga ag’ebirala. Omulyango ogwo gwali mita amakumi abiri mu ttaano obuwanvu, ng’obugazi mita kkumi na bbiri n’ekitundu. 26 (P)Amadaala musanvu ge gaalinnyibwangako okugutuukako. Gwalina ekisasi ekyali ku nkomerero yaagwo. Gwaliko n’ebifaananyi eby’enkindu ebyayolebwa eruuyi n’eruuyi ku bisenge byagwo. 27 (Q)Waaliwo n’omulyango ogw’oluggya olw’omunda ogwatunuulira omulyango ogw’Obukiikaddyo. N’apima okuva ku mulyango ogwo okutuuka ku mulyango ogw’Obukiikaddyo; zaali mita amakumi ataano.

Emiryango egy’Oluggya olw’Omunda

28 (R)Awo n’antwala mu luggya olw’omunda nga tuyita mu mulyango ogw’Obukiikaddyo ogw’oluggya olw’omunda, n’apima, nga gulina ebipimo bye bimu ng’emirala gyonna. 29 Obusenge bwagwo obw’abakuumi, n’amabanga gaagwo, n’ekisasi kyagwo byalina ebipimo bye bimu ng’ebirala. Omulyango n’ekisasi kyagwo byalina amabanga amafunda okwetooloola, era gwali mita amakumi abiri mu ttaano obuwanvu, n’obugazi mita kkumi na bbiri n’ekitundu. 30 (S)Ebisasi eby’emiryango ebyetoolodde oluggya olw’omunda buli kimu kyali obugazi mita kkumi na bbiri n’ekitundu, n’obugulumivu mita bbiri n’ekitundu. 31 (T)Ekisasi kyagwo kyatunuulira oluggya olw’ebweru. Empagi zaakyo zaali zooleddwa n’ebifaananyi eby’enkindu. Amadaala munaana ge gaalinnyibwanga okutuuka ku kisasi eky’oku mulyango ogw’Obukiikaddyo ogw’oluggya olw’omunda.

32 Oluvannyuma n’antwala mu luggya olw’omunda ku mulyango ogw’Ebuvanjuba ogw’oluggya olw’omunda, n’apima omulyango ogwo, nga gulina ebipimo bye bimu ng’emirala. 33 Obusenge bwagwo n’amabanga gaagwo n’ekisasi kyagwo byalina ebipimo bye bimu ng’ebirala. Omulyango n’ekisasi byalina amabanga okwetooloola, era gwali mita amakumi abiri mu ttaano obuwanvu n’obugazi mita kkumi na bbiri n’ekitundu. 34 (U)Ekisasi kyagwo kyatunuulira oluggya olw’ebweru. Empagi zaakyo zaali zooleddwa n’ebifaananyi eby’enkindu. Amadaala munaana ge gaalinnyibwanga okutuuka ku kisasi eky’oku mulyango ogw’Ebuvanjuba ogw’oluggya olw’omunda.

35 (V)N’antwala ku mulyango ogw’Obukiikakkono ogw’oluggya olw’omunda n’alupima ng’ebipimo bye bimu ng’emiryango emirala. 36 (W)Obusenge bwagwo obw’abakuumi n’amabanga gaagwo, n’ekisasi kyagwo byalina ebipimo bye bimu ng’ebirala. Omulyango n’ekisasi byalina amabanga okwetooloola, era gwali mita amakumi abiri mu ttaano obuwanvu, n’obugazi mita kkumi na bbiri n’ekitundu. 37 Ekisasi kyagwo kyatunuulira oluggya olw’ebweru. Empagi zaakyo zaali zooleddwa n’ebifaananyi eby’enkindu. Amadaala munaana ge gaalinnyibwanga okutuuka ku kisasi eky’oku mulyango ogw’Obukiikakkono ogw’oluggya olw’omunda.

Ebisenge gye Bategekera Ssaddaaka

38 (X)Waaliwo ekisenge n’oluggi lwakyo ekyaliraana ekisasi ku buli mulyango ogw’oluggya olw’omunda. Omwo ebiweebwayo ebyokebwa mwe byayozebwanga. 39 (Y)Mu kisasi eky’emiryango mwalimu emmeeza bbiri oluuyi olumu n’endala bbiri oluuyi olulala kwe battiranga ebiweebwayo ebyokebwa, n’ebiweebwayo olw’ebibi, n’ebiweebwayo olw’omusango. 40 Era ebweru w’ekisasi ku mulyango, okumpi n’amadaala awayingirirwa ku mulyango oguli mu bukiikakkono waaliwo emmeeza bbiri ne ku luuyi olulala olw’amadaala waliwo emmeza bbiri. 41 Ne kitegeeza nga waaliwo emmeeza nnya ku luuyi olumu olw’omunda, n’emmeeza endala nnya ku luuyi olulala ng’oyimiridde mu mulyango, awamu z’emmeeza munaana, kwe battiranga ssaddaaka. 42 (Z)Era waaliwo n’emmeeza endala nnya ez’amayinja amateme ez’ebiweebwayo ebyokebwa, buli emu yali desimoolo nsanvu mu ttaano eza mita obuwanvu, obugazi desimoolo nsanvu mu ttaano eza mita n’obugulumivu kitundu kya mita. Okwo kwe baateekanga ebiso ebibaaga ebiweebwayo ebyokebwa n’ebiweebwayo ebirala. 43 Era waaliwo n’ewuuma ez’engalo bbiri, obuwanvu bwazo sentimita mwenda, ezaawanikibwa ku bisenge okwetooloola. Ku mmeeza kwe baatekanga ennyama ey’ebiweebwayo.

Ebisenge bya Bakabona

44 Mu luggya olw’omunda waaliyo ebisenge bibiri eby’abayimbi, ekimu ku luuyi olw’omulyango ogw’Obukiikakkono ekyolekera Obukiikaddyo, n’ekirala ku luuyi olw’omulyango ogw’Obukiikaddyo okutunuulira Obukiikakkono. 45 (AA)N’aŋŋamba nti, “Ekisenge ekyolekera Obukiikaddyo, kya bakabona abavunaanyizibwa yeekaalu, 46 (AB)n’ekisenge ekyolekera Obukiikakkono kya bakabona abavunaanyizibwa ekyoto. Abo be batabani ba Zadooki, era be Baleevi bokka abasobola okusemberera Mukama okumuweereza.”

47 N’apima oluggya, nga luli mita amakumi ataano obuwanvu, n’obugazi mita amakumi ataano, nga kya nsonda nnya ezenkanankana, n’ekyoto kyali mu maaso ga yeekaalu.

Eyeekaalu

48 (AC)N’antwala ku kisasi kya yeekaalu n’apima empagi ez’ekisasi ezaali eruuyi n’eruuyi olw’ekisasi. Ne ndaba nga ku mukono ogwa ddyo empagi emu epima mita bbiri n’ekitundu ku luuyi olw’ebweru ate ng’empagi eyookubiri ku mukono ogwa kkono erina ebipimo ebyenkanankana na luli. Oluuyi olw’omunda olw’empagi emu lwapima mita emu n’ekitundu, n’oluuyi olw’omunda olw’empagi eyookubiri nga nalwo lupima mita emu n’ekitundu. Okuva ku mpagi we zitandikira okutuuka ku mulyango gwa yeekaalu waali mita musanvu, ekitegeeza nti ekisasi kyali mita musanvu obuwanvu. 49 (AD)Obugazi bw’omulyango ng’otaddeko n’empagi ez’enjuuyi zombi bwali mita kkumi. Okuva ku mpagi okutuuka ku mulyango gwa yeekaalu waali mita ttaano n’ekitundu. Amadaala kkumi ge gaalinnyibwanga okutuuka ku kisasi. Waaliwo n’empagi endala bbiri eruuyi n’eruuyi ezaaliraana empagi eziwanirira ekisasi.

Zabbuli 91

Obwesige bw’oyo atya Katonda.

91 (A)Oyo abeera mu kifo eky’ekyama eky’oyo Ali Waggulu Ennyo;
    aliwumulira mu kisiikirize kya Katonda Ayinzabyonna.
(B)Nnaayogeranga ku Mukama nti, Oli kiddukiro kyange era ekigo kyange;
    ggwe Katonda wange gwe nneesiga.

(C)Ddala ddala y’anaakuwonyanga omutego gw’omuyizzi,
    ne kawumpuli azikiriza.
(D)Alikubikka n’ebyoya bye,
    era mu biwaawaatiro bye mw’onoddukiranga;
    obwesigwa bwe bunaabanga ngabo yo okukukuumanga.
(E)Tootyenga ntiisa ya kiro,
    wadde akasaale akalasibwa emisana;
newaakubadde olumbe olusoobasooba mu kizikiza,
    wadde kawumpuli azikiriza mu ttuntu.
Abantu olukumi balifiira ku lusegere lwo,
    n’omutwalo ne bafiira ku mukono gwo ogwa ddyo,
    naye olumbe terulikutuukako.
(F)Olitunuulira butunuulizi n’amaaso go;
    n’olaba ekibonerezo ky’omukozi w’ebibi.

Kubanga bw’olifuula Mukama ekiddukiro kyo;
    Ali Waggulu Ennyo n’omufuula ekifo kyo mw’obeera,
10 (G)tewali kabi kalikutuukako,
    so tewali kibonoobono kirisemberera nnyumba yo.
11 (H)Kubanga Mukama aliragira bamalayika be
    bakukuume mu makubo go gonna.
12 (I)Balikuwanirira mu mikono gyabwe;
    oleme okwekoona ekigere kyo ku jjinja.
13 (J)Olirinnya ku mpologoma ne ku nswera;
    olirinnyirira empologoma ey’amaanyi, n’omusota.

14 “Olw’okuba nga njagala kyendiva muwonya;
    nnaamukuumanga, kubanga amanyi erinnya lyange.
15 (K)Anankowoolanga ne muyitabanga;
    nnaabeeranga naye mu biseera eby’akabi.
    Ndimuwonya era ndimuwa ekitiibwa.
16 (L)Ndimuwangaaza n’asanyuka
    era ndimulaga obulokozi bwange.”

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.