Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

M’Cheyne Bible Reading Plan

The classic M'Cheyne plan--read the Old Testament, New Testament, and Psalms or Gospels every day.
Duration: 365 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
1 Bassekabaka 15

Abiyaamu Kabaka wa Yuda

15 Awo mu mwaka ogw’ekkumi n’omunaana ogw’obufuzi bwa Yerobowaamu mutabani wa Nebati, Abiyaamu n’atandika okufuga Yuda. (A)Yafugira mu Yerusaalemi emyaka esatu. Nnyina ye yali Maaka muwala wa Abusaalomu.

(B)N’akola ebibi byonna kitaawe bye yakolanga, omutima gwe ne gutatuukirira mu maaso ga Mukama Katonda we ng’omutima gwa jjajjaawe Dawudi bwe gwali. (C)Naye ku lwa Dawudi, Mukama Katonda we n’amuteerawo ettabaaza mu Yerusaalemi era n’ayimusa ne mutabani we okumusikira, era n’okunyweza Yerusaalemi. (D)Dawudi yakola ebirungi mu maaso ga Mukama, n’agondera ebiragiro bya Mukama ennaku zonna ez’obulamu bwe, okuggyako ensonga ya Uliya Omukiiti.

(E)Ne wabangawo entalo wakati w’ennyumba ya Lekobowaamu n’ennyumba ya Yerobowaamu ennaku zonna ez’obulamu bwa Abiyaamu. N’ebyafaayo ebirala byonna eby’okufuga kwa Abiyaamu, ne bye yakola, tebyawandiikibwa mu kitabo eky’ebyomumirembe gya bassekabaka ba Yuda? Ne wabangawo entalo wakati wa Abiyaamu ne Yerobowaamu. Awo Abiyaamu ne yeebakira wamu ne bajjajjaabe era n’aziikibwa mu kibuga kya Dawudi. Asa mutabani we n’amusikira, n’alya obwakabaka.

Asa Kabaka wa Yuda

Awo mu mwaka ogw’amakumi abiri ogw’obufuzi bwa Yerobowaamu kabaka wa Isirayiri, Asa n’alya obwakabaka bwa Yuda. 10 (F)Yafugira mu Yerusaalemi emyaka amakumi ana mu gumu. Jjajjaawe omukazi nga ye Maaka muwala wa Abusaalomu.

11 Asa n’akola ebirungi mu maaso ga Mukama, nga jjajjaawe Dawudi bwe yakola. 12 (G)N’agoba mu nsi abaalyanga ebisiyaga, era n’aggyawo n’ebifaananyi ebyakolebwa n’emikono byonna bajjajjaabe bye baakola. 13 (H)Era n’agoba ne jjajjaawe Maaka ku bwa namasole kubanga yali akoze empagi ya Asera. Asa n’agitema era n’agyokera ku kagga Kidulooni. 14 (I)Newaakubadde nga teyaggyawo bifo bigulumivu, omutima gwe gwali ku Mukama ennaku ze zonna. 15 (J)N’ayingiza mu yeekaalu ya Mukama effeeza, ne zaabu n’ebintu ebirala kitaawe bye yawaayo ne Asa yennyini bye yawaayo.

16 (K)Ne wabangawo entalo wakati wa Asa ne Baasa kabaka wa Isirayiri ennaku zonna ez’okufuga kwabwe. 17 (L)Baasa kabaka wa Isirayiri n’alumba Yuda n’azingiza Laama obutaganya muntu n’omu okufuluma wadde okuyingira mu kitundu kya Asa kabaka wa Yuda. 18 (M)Awo Asa n’addira effeeza ne zaabu yonna eyali esigadde mu ggwanika lya yeekaalu ya Mukama n’ey’olubiri lwe, n’abikwasa abakungu be, n’abiweereza Benikadadi mutabani wa Tabulimmoni, muzzukulu wa Keziyoni, eyali kabaka wa Busuuli ng’afugira e Ddamasiko. 19 N’ayogera nti, “Wabeewo endagaano wakati wo nange, ng’eyaliwo wakati wa kitaawo ne kitange. Laba nkuweereza ekirabo ekya ffeeza ne zaabu, omenyewo kaakano endagaano yo ne Baasa kabaka wa Isirayiri, anveeko.”

20 (N)Benikadadi n’akkiriziganya ne kabaka Asa era n’aweereza abaduumizi b’eggye lye okulumba ebibuga bya Isirayiri. N’akuba Iyoni, ne Ddaani, ne Aberubesumaaka ne Kinnerosi yonna ng’okwo kw’otadde Nafutaali. 21 Awo Baasa bwe yakiwulira n’alekeraawo okuzimba Laama, n’addukira e Tiruza. 22 (O)Kabaka Asa n’awa ekiragiro mu Yuda yonna nga kikwata ku buli muntu. Ne batwala amayinja ag’e Laama n’embaawo Baasa bye yazimbisanga, kabaka Asa n’abizimbisa Geba ekya Benyamini, ne Mizupa.

23 Ebyafaayo ebirala byonna eby’omu mirembe gya Asa, n’obuwanguzi bwe era n’ebibuga bye yazimba, tebyawandiikibwa mu kitabo eky’ebyomumirembe gya bassekabaka ba Yuda? Kyokka mu bukadde bwe, n’alwala ebigere. 24 (P)Awo Asa ne yeebakira wamu ne bajjajjaabe n’aziikibwa mu kibuga kya jjajjaawe Dawudi. Yekosafaati, mutabani we n’amusikira, n’alya obwakabaka.

Nadabu Kabaka wa Isirayiri

25 Nadabu mutabani wa Yerobowaamu n’alya obwakabaka bwa Isirayiri mu mwaka ogwokubiri ogw’obufuzi bwa Asa kabaka wa Yuda. Yafugira Isirayiri emyaka ebiri. 26 (Q)N’akola ebibi mu maaso ga Mukama, ng’atambulira mu ngeri za kitaawe ne mu kibi kye, ebyaleetera Isirayiri okwonoona.

27 (R)Awo Baasa mutabani wa Akiya ow’omu nnyumba ya Isakaali n’amukolera olukwe, n’amuttira e Gibbesoni ekibuga ky’Abafirisuuti, Nadabu ne Isirayiri yenna bwe baali bakitaayizza. 28 Baasa n’atta Nadabu mu mwaka ogwokusatu ogw’obufuzi bwa Asa kabaka wa Yuda, ye n’alya obwakabaka bwa Isirayiri.

29 (S)Amangwago nga kyajje alye obwakabaka, n’atta ennyumba ya Yerobowaamu yonna n’atalekaawo muntu n’omu omulamu. Yabazikiriza bonna ng’ekigambo kya Mukama kye yayogerera mu muddu we Akiya Omusiiro, 30 (T)olw’ebibi bya Yerobowaamu bye yakola, era bye yayonoonyesa Isirayiri, n’okusunguwaza ne bisunguwaza Mukama Katonda wa Isirayiri.

31 Ebyafaayo ebirala eby’omu mirembe gya Nadabu, ne bye yakola, tebyawandiikibwa mu kitabo eky’ebyomumirembe gya bassekabaka ba Isirayiri? 32 (U)Ne wabangawo entalo wakati wa Asa ne Baasa kabaka wa Isirayiri, ennaku zonna ez’okufuga kwabwe.

Baasa Kabaka wa Isirayiri

33 Awo mu mwaka ogwokusatu ogw’obufuzi bwa Asa kabaka wa Yuda, Baasa mutabani wa Akiya n’afuuka kabaka wa Isirayiri yonna e Tiruza, era n’afugira emyaka amakumi abiri mu ena. 34 (V)N’akola ebibi mu maaso ga Mukama, ng’atambulira mu ngeri za Yerobowaamu, ne mu kibi kye, kye yayonoonyesa Isirayiri.

Abakkolosaayi 2

(A)Njagala mumanye nga bwe nfuba ennyo okubasabira mmwe n’ab’omu Lawodikiya, era n’abo abatandabangako mu mubiri. (B)Ekyo nkikola mbazzeemu amaanyi era bagattibwe wamu mu kwagalana, ne mu kutegeerera ddala obugagga bwonna obuli mu kumanya ekyama kya Katonda, ye Kristo. (C)Mu Kristo mwe mukwekeddwa eby’obugagga byonna eby’amagezi n’okumanya. (D)Ebyo mbibategeeza waleme kubaawo n’omu ababuzaabuza. (E)Kubanga wadde siri wamu nammwe mu mubiri, naye mu mwoyo ndi wamu nammwe, era nsanyuka okumanya nti mutambula nga bwe muteekwa okutambula mu Kristo era nti n’okukkiriza kwammwe mu Kristo kunywevu.

Obulamu obujjuvu mu Kristo

(F)Nga bwe mwaweebwa Kristo Yesu Mukama waffe, mutambulirenga mu ye, (G)nga musimbibwa era nga mukuzibwa mu ye, era nga munywezebwa mu kukkiriza nga bwe mwayigirizibwa, nga mujjudde okwebazanga.

(H)Mwekuumenga walemenga kubaawo n’omu ku mmwe abuzibwabuzibwa mu bufirosoofo ne mu by’obulimba ebitaliimu, okugobereranga obulombolombo obw’abantu n’ebiyigirizibwa abantu. Munywererenga ku biyigirizibwa ku Kristo. Kubanga mu Kristo okutuukiriza kwonna okw’Obwakabaka mwe kulabikira mu mubiri, 10 (I)era mmwe nga muli mu ye, mwatuukirira mu ye, oyo Kristo omutwe gw’obufuzi bwonna n’obuyinza bwonna. 11 (J)Mu ye mwakomolebwa, bwe mwaggibwako okwegomba kw’omubiri, naye si okukomolebwa okw’engalo z’abantu, wabula mu kukomolebwa okwa Kristo. 12 (K)Bwe mwabatizibwa, mwaziikibwa wamu naye, ate ne muzuukizibwa wamu naye olw’okukkiriza kwammwe mu maanyi ga Katonda eyamuzuukiza mu bafu.

13 (L)Mwali mufudde olw’ebyonoono byammwe ne mu butakomolebwa bwammwe obw’okwegomba kw’omubiri. Katonda n’abafuula balamu wamu ne Kristo, ffenna bwe yatusonyiwa ebyonoono byaffe byonna. 14 (M)Bwe yasazaamu era n’aggyawo ebiragiro ebyawandiikibwa mu mateeka ebyatwolekeranga, n’abikomerera ku musaalaba, 15 (N)n’aggya ebyokulwanyisa ebyo ku bafuzi n’ab’obuyinza ab’omu bbanga, n’abaswaza mu lwatu, n’abawangulira ddala.

16 (O)Noolwekyo waleme kubaawo muntu n’omu abasalira musango ku bye mulya ne bye munywa, oba okubasalira omusango olw’embaga z’Ekiyudaaya oba ez’omwezi ogubonese wadde olwa Ssabbiiti. 17 (P)Kubanga ebyo kisiikirize eky’ebyo ebyali bigenda okujja, naye ekirimu ensa ye Kristo. 18 (Q)Omuntu yenna tabalimbalimbanga n’abanyagako ekirabo kye mwaweebwa, nga yeesigama ku kwewombeeka okw’obulimba n’okuwa bamalayika ekitiibwa ekingi, ng’anywerera mu bintu bye yalaba, nga yeenyumiririza mu butaliimu obw’amagezi ag’omubiri gwe. 19 (R)Ab’engeri eyo baba tebakyali mu Kristo, omutwe gw’omubiri gwonna. Omubiri ogwo gugattibwa mu nnyingo ne mu binywa era ne gugattibwa wamu nga gukula, Katonda nga y’agukuza.

20 (S)Obanga mwafiira wamu ne Kristo ne musumululwa okuva mu magezi ag’ebintu ebyangu eby’ensi, lwaki mufugibwa ebiragiro ng’ab’omu nsi? 21 Bino bye bimu ku biragiro ab’omu nsi bye bawa: Tolya kino, tokwata ku kiri oba nti tokomba ku kino. 22 (T)Ebyo byonna ku nkomerero biriggwaawo kubanga biriba tebikyalina mugaso. 23 Birabika ng’eby’amagezi mu ngeri ey’okusinza, abantu gye beegunjirawo bokka mu kwewombeeka ne mu kubonyaabonya omubiri, songa tebiriiko kye bigasa n’akatono mu kufuga okwegomba kw’omubiri.

Ezeekyeri 45

Okugabanyaamu Ensi

45 (A)“ ‘Bwe muligabana ensi ng’omugabo gwammwe, musalangako ekitundu ekya Mukama ku nsi eyo, ky’ekifo ekitukuvu, obuwanvu mayilo munaana, n’obugazi mayilo mukaaga era ekifo kyonna kinaabanga kitukuvu. (B)Ku ttaka eryo kunaasalibwangako ekifo eky’Awatukuvu ekyenkana mita ebikumi bibiri mu nkaaga buli ludda mu buwanvu ne mu bugazi, n’oluggya okukyetooloola luliba lwa mita amakumi abiri mu mukaaga. Mu kifo ekitukuvu olipima ekigera obuwanvu mayilo munaana, n’obugazi mayilo ssatu, era omwo mwe muliba awatukuvu, Ekifo Ekitukuvu Ennyo. (C)Ekyo kye kiriba ekifo ekitukuvu ekya bakabona abaweereza mu watukuvu, era abasemberera Mukama okumuweereza. Kye kiriba ekifo eky’ennyumba zaabwe n’ekigo ekitukuvu eky’Awatukuvu. (D)Ekifo ekirala obuwanvu mayilo musanvu n’obugazi mayilo ssatu kye kiriba eky’Abaleevi, abaweereza mu yeekaalu, era baliba n’ebisenge amakumi abiri eby’okubeeramu ng’ebyo bye bikola ebibuga byabwe.’

(E)“ ‘Muteekeddwa okuwa ekibuga obutaka bwakyo: obugazi mayilo emu n’ekitundu, n’obuwanvu mayilo musanvu okuliraana ekifo eky’omugabo omutukuvu, era kiriba kya nnyumba yonna eya Isirayiri.’

(F)“ ‘Omulangira alifuna ettaka ku nsalo eri wakati w’omugabo omutukuvu n’ettaka ery’ekibuga, ku luuyi olw’Ebugwanjuba ne ku luuyi olw’ebuvanjuba, mu buwanvu nga buva Ebugwanjuba ne butuuka Ebuvanjuba okuliraana n’omugabo ogw’ekika ekimu. (G)Ettaka eryo lye linaabanga omugabo gwe mu Isirayiri so n’abalangira tebaajoogenga bantu bange naye balikkiriza ennyumba ya Isirayiri okufuna omugabo mu nsi ng’ebika byabwe bwe biri.’

(H)“ ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti; Kye mukoze kimala, mmwe abalangira ba Isirayiri! Temukuluusanya abantu bange n’okubanyigiriza, mutuukirize eby’ensonga era ebituufu. Temubagobaganya, bw’ayogera Mukama Katonda. 10 (I)Munaakozesanga minzaani entuufu okupima ebikalu era n’ebitali bikalu ebiyiika. 11 (J)Efa n’ensuwa binaabanga bya kigera kimu, ensuwa ng’egyamu eky’ekimu eky’ekkumi eky’ekomeri, n’efa ng’egyamu eky’ekimu eky’ekkumi eky’ekomeri, ng’ekomeri kye kigera ekikozesebwa. 12 (K)Sekeri eriba gera amakumi abiri, era sekeri amakumi abiri n’ogattako sekeri amakumi abiri mu ttaano, n’oyongerako sekeri kkumi na ttaano, n’ewera maane emu, ekyo kye kiriba ekigera kyammwe.

Ebiweebwayo n’Ennaku Entukuvu

13 “ ‘Kino kye kirabo eky’enjawulo kye muliwaayo: kilo biri n’obutundu musanvu n’ekitundu ez’eŋŋaano, ne kilo bbiri n’obutundu bubiri n’ekitundu eza sayiri. 14 Omugabo ogw’amafuta, ogupimibbwa n’ensuwa, guliba lita bbiri n’obutundu bubiri. 15 (L)Era muliwaayo endiga emu okuva mu kisibo ekimu, buli kisibo nga kirimu endiga ebikumi bibiri, ezirundibwa ku malundiro amagimu aga Isirayiri. Ebyo bye biriba ebiweebwayo eby’obutta n’ebiweebwayo ebyokebwa, n’ebiweebwayo olw’emirembe, okubatangiriranga, bw’ayogera Mukama Katonda. 16 Abantu bonna ab’omu nsi banaawangayo ekirabo ekyo eri omulangira mu Isirayiri. 17 (M)Omulangira anavunaanyizibwanga okuwaayo ebiweebwayo ebyokebwa, n’ebiweebwayo eby’obutta, n’ebiweebwayo eby’okunywa ku mbaga ez’emyezi egyakaboneka n’eza Ssabbiiti, ne ku mbaga zonna ezaalagirwa ez’ennyumba ya Isirayiri; y’anaagabulanga ebiweebwayo olw’ebibi, n’ebiweebwayo eby’obutta, n’ebiweebwayo ebyokebwa, n’ebiweebwayo olw’emirembe, okutangiriranga ennyumba ya Isirayiri.

18 (N)“ ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, Mu mwezi ogw’olubereberye ku lunaku olw’olubereberye mu mwezi, oliddira ente ennume nga nto eteriiko kamogo, n’ogiwaayo okutukuza awatukuvu. 19 (O)Kabona anaddiranga ku musaayi ogw’ekiweebwayo olw’ekibi n’agumansira ku mifuubeeto gy’enzigi za yeekaalu, ne ku nsonda ennya ez’ekyoto ne ku mifuubeeto egy’omulyango ogw’oluggya olw’omunda. 20 (P)Bwe mutyo bwe munaakolanga ku lunaku olw’omusanvu olw’omwezi ku lw’omuntu yenna aliba ayonoonye mu butali bugenderevu n’oyo aliba ayonoonye olw’obutamanya; bwe mutyo bwe munaatangiriranga eyeekaalu.

21 (Q)“ ‘Mu mwezi ogw’olubereberye ku lunaku olw’ekkumi n’ennya mukwatenga Okuyitako, era ku mbaga eyo munaalyanga emigaati egitali mizimbulukuse okumala ennaku musanvu. 22 (R)Ku lunaku olwo omulangira alireeta ku lulwe ne ku lw’abantu bonna ab’omu nsi ente ennume nga nto okuba ekiweebwayo olw’ekibi. 23 (S)Buli lunaku mu nnaku omusanvu ez’embaga, anaawangayo ente ennume nga nto musanvu n’endiga ennume musanvu nga teziriiko kamogo, okuba ebiweebwayo ebyokebwa eri Mukama. 24 (T)Anaagabanga n’ekiweebwayo eky’obutta, kilo mwenda ku lwa buli nte nto ennume, n’efa ku lwa buli ndiga ennume, ne lita nnya ez’amafuta buli efa.

25 (U)“ ‘Mu mwezi ogw’omusanvu, ku lunaku olw’ekkumi n’ettaano mu mwezi, anaateekwa okugabanga ebiweebwayo olw’ekibi, n’ebiweebwayo ebyokebwa, n’ebiweebwayo eby’obutta n’amafuta okumala ennaku musanvu ez’embaga.’ 

Zabbuli 99-101

99 (A)Mukama afuga,
    amawanga gakankane;
atuula wakati wa bakerubi,
    ensi ekankane.
(B)Mukama mukulu mu Sayuuni;
    agulumizibwa mu mawanga gonna.
(C)Amawanga gonna gatendereze erinnya lyo ekkulu era ery’entiisa.
    Mukama mutukuvu.

(D)Ye Kabaka ow’amaanyi, ayagala obwenkanya.
    Onywezezza obwenkanya;
era by’okoledde Yakobo bya bwenkanya
    era bituufu.
(E)Mumugulumize Mukama Katonda waffe;
    mumusinzize wansi w’entebe y’ebigere bye.
    Mukama mutukuvu.

(F)Musa ne Alooni baali bamu ku bakabona be;
    ne Samwiri yali mu abo abaakoowoolanga erinnya lye;
baasabanga Mukama
    n’abaanukula.
(G)Yayogera nabo mu mpagi ey’ekire;
    baagondera amateeka ge n’ebiragiro bye, bye yabawa.

(H)Ayi Mukama Katonda waffe,
    wabaanukulanga;
n’obeeranga Katonda asonyiwa eri Isirayiri,
    newaakubadde wababonerezanga olw’ebikolwa byabwe ebibi.
Mugulumizenga Mukama Katonda waffe,
    mumusinzizenga ku lusozi lwe olutukuvu,
    kubanga Mukama Katonda waffe mutukuvu.

Zabbuli ey’okwebaza.

100 (I)Muleetere Mukama eddoboozi ery’essanyu mmwe ensi zonna.
    (J)Muweereze Mukama n’essanyu;
    mujje mu maaso ge n’ennyimba ez’essanyu.
(K)Mumanye nga Mukama ye Katonda;
    ye yatutonda, tuli babe,
    tuli bantu be era endiga ez’omu ddundiro lye.

(L)Muyingire mu miryango gye nga mwebaza,
    ne mu mpya ze n’okutendereza;
    mumwebaze mutendereze erinnya lye.
(M)Kubanga Mukama mulungi, n’okwagala kwe kwa lubeerera;
    n’obwesigwa bwe bwa mirembe gyonna.

Zabbuli ya Dawudi.

101 (N)Nnaayimbanga ku kwagala kwo n’obutuukirivu bwo;
    nnaayimbiranga ggwe, Ayi Mukama.
Nneegenderezanga, mu bulamu bwange ne nkola eby’obutuukirivu,
    naye olijja ddi gye ndi?

Nnaabeeranga mu nnyumba yange
    nga siriiko kya kunenyezebwa.
(O)Sijjanga kwereetereza kintu
    kyonna ekibi.

Nkyayira ddala ebikolwa by’abo abava mu kkubo lyo;
    sijjanga kubyeteekako.
(P)Sijjanga kuba mukuusa;
    ekibi nnaakyewaliranga ddala.

(Q)Oyo alyolyoma muliraanwa we mu kyama,
    nnaamuzikiririzanga ddala; amaaso ag’amalala n’omutima ogw’amalala
    sijja kubigumiikirizanga.

(R)Abeesigwa abali mu nsi yaffe nnaabasanyukiranga,
    balyoke babeerenga nange;
akola eby’obutuukirivu
    y’anamperezanga.

Atayogera mazima
    taabeerenga mu nnyumba yange.
Omuntu alimba
    sirimuganya kwongera kubeera nange.

(S)Buli nkya nnaazikirizanga
    abakola ebibi bonna mu nsi,
bwe ntyo abakozi b’ebibi ne mbamalirawo ddala
    mu kibuga kya Mukama.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.