Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

M’Cheyne Bible Reading Plan

The classic M'Cheyne plan--read the Old Testament, New Testament, and Psalms or Gospels every day.
Duration: 365 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
2 Bassekabaka 13

Yekoyakaazi Kabaka wa Isirayiri

13 Mu mwaka ogw’amakumi abiri mu esatu ogwa Yowaasi mutabani wa Akaziya kabaka wa Yuda, Yekoyakaazi n’afuuka kabaka wa Isirayiri mu Samaliya era n’afugira emyaka kkumi na musanvu. (A)N’akola ebibi mu maaso ga Mukama ng’akola ebibi Yerobowaamu mutabani wa Nebati bye yayonoonyesa Isirayiri, ate n’atabirekaayo. (B)Obusungu bwa Mukama ne bubuubuukira ku Isirayiri, n’abawaayo okubeera wansi ow’omukono gwa Kazayeeri kabaka w’e Busuuli ne Benikadadi mutabani we.

(C)Awo Yekoyakaazi ne yegayirira Mukama, Mukama n’amuwulira, era n’alaba okucocca, kabaka w’e Busuuli kwe yacoccanga Isirayiri. (D)Mukama n’abaddiramu n’abawa omulokozi, ne bawona obufuzi bw’Abasuuli, n’oluvannyuma Abayisirayiri ne babeeranga mirembe mu nnyumba zaabwe nga bwe baali olubereberye. (E)Naye ne batalekaayo kukola ebibi eby’ennyumba ya Yerobowaamu bye yayonoonyesa Isirayiri, wabula beeyongeranga bweyongezi okubikola. N’empagi ey’Asera n’esigalayo mu Samaliya.

(F)Mukama teyalekerawo ggye lya Yekoyakaazi kintu okuggyako abasajja abeebagala embalaasi amakumi ataano, n’amagaali kkumi, n’abaserikale ab’ebigere omutwalo gumu, kubanga kabaka w’e Busuuli yabizikiriza, n’abifuula ng’enfuufu ey’omu gguuliro.

Ebyafaayo ebirala ebyabaawo mu mirembe gya Yekoyakaazi, ne bye yakola byonna, n’ebyobuzira bwe byonna, tebyawandiikibwa mu kitabo eky’ebyomumirembe gya bassekabaka ba Isirayiri? Yekoyakaazi n’afa, n’aziikibwa mu Samaliya, Yowaasi mutabani we n’amusikira.

Yekoyaasi Kabaka wa Isirayiri

10 Awo mu mwaka ogw’amakumi asatu mu omusanvu ogwa Yowaasi kabaka wa Yuda, Yekoyaasi mutabani wa Yekoyakaazi n’afuuka kabaka wa Isirayiri mu Samaliya, era n’afugira emyaka kkumi na musanvu. 11 N’akola ebibi mu maaso ga Mukama, n’atalekaayo ebibi bya Yerobowaamu mutabani wa Nebati, bye yayonoonyesa Isirayiri, wabula ne yeeyongera bweyongezi okubikola. 12 (G)Ebyafaayo ebirala ebyabaawo mu mirembe gya Yekoyaasi, bye yakola byonna, n’amaanyi ge, nga kwe kuli n’olutalo lwe yalwana ne Amaziya kabaka wa Yuda, tebyawandiikibwa mu kitabo eky’ebyomumirembe gya bassekabaka ba Isirayiri? 13 (H)Yekoyaasi n’afa, n’aziikibwa mu Samaliya, Yerobowaamu n’amusikira okuba kabaka.

Okufa kwa Erisa

14 (I)Awo mu biro ebyo Erisa n’alwala nnyo, endwadde eyamutta, Yowaasi n’aserengeta gy’ali okumulaba, n’akaabira amaziga, mu maaso ge ng’agamba nti, “Kitange, Kitange, amagaali n’abeebagala embalaasi aba Isirayiri!” 15 (J)Erisa n’amuddamu nti, “Ffuna omutego n’obusaale,” era n’akola bw’atyo. 16 N’agamba kabaka wa Isirayiri nti, “Bikwate mu ngalo.” Bwe yamala okukola ekyo, Erisa n’ateeka emikono gye ku gya kabaka. 17 (K)Erisa n’amugamba nti, “Ggulawo eddirisa ery’ebuvanjuba,” n’aliggulawo. N’amulagira okulasa. Erisa n’ayogera nti, “Akasaale ka Mukama ak’obuwanguzi, akasaale ak’obuwanguzi eri Obusuuli, era ojja kusaanyizaawo ddala Abasuuli mu Afeki.” 18 N’amugamba nti, “Kwata obusaale,” n’abukwata. N’agamba kabaka wa Isirayiri okulasa ettaka. N’alirasa emirundi esatu, n’akoma awo. 19 (L)Omusajja wa Katonda n’amunyiigira, n’amugamba nti, “Wandirasizza emirundi etaano oba mukaaga, olwo n’olyoka owangulira ddala Abasuuli era n’obasaanyaawo. Naye kaakano olibawangula emirundi esatu gyokka.”

20 (M)Erisa n’afa, n’aziikibwa.

Ebibinja by’Abamowaabu byateranga okulumba ensi ku ntandikwa ya buli mwaka. 21 (N)Awo olwatuuka, Abayisirayiri abamu baali baziika omusajja, ne balengera ekibinja eky’abasajja nga kijja, ne basuula omulambo gwe mu ntaana ya Erisa ne badduka. Omulambo gwe bwe gw’akoma ku magumba ga Erisa omusajja n’alamuka, era n’ayimirira.

22 (O)Mu kiseera kye kimu Kazayeeri kabaka w’e Busuuli n’ajooga Isirayiri ebbanga lyonna Yekoyakaazi we yabeerera kabaka. 23 (P)Naye Mukama n’abakwatirwa ekisa n’abasaasira, era n’assaayo omwoyo gye bali olw’endagaano gye yakola ne Ibulayimu, ne Isaaka ne Yakobo nti talibazikiririza ddala. N’okutuusa ku lunaku olwa leero tayagalanga kubazikiriza okuva mu maaso ge.

24 (Q)Kazayeeri kabaka w’e Busuuli n’afa, Benikadadi mutabani we n’amusikira. 25 (R)Awo Yekoyaasi mutabani wa Yekoyakaazi n’awamba nate ebibuga Benikadadi mutabani wa Kazayeeri bye yali awambye ku kitaawe Yekoyakaazi mu ntalo. Yowaasi ye n’amuwangula emirundi esatu, era n’akomyawo ebibuga bya Isirayiri ebyali biwambiddwa.

2 Timoseewo 3

Ennaku ez’Oluvannyuma

(A)Naye tegeera kino nga mu nnaku ez’oluvannyuma walibaawo ebiseera ebizibu. (B)Kubanga abantu baliba nga beefaako bokka, nga balulunkanira ensimbi, nga beepanka, nga beekuluntaza, nga boogera ebibi, era nga tebawulira bazadde baabwe, nga tebeebaza, nga tebatya Katonda, nga tebaagalana era nga tebatabagana, nga bawaayiriza, nga tebeegendereza, nga bakambwe, nga tebaagala birungi, (C)nga ba nkwe, nga baagala eby’amasanyu okusinga bwe baagala Katonda; nga balina ekifaananyi eky’okutya Katonda so nga tebakkiriza maanyi gaakyo. Abantu ab’engeri eyo obeewalanga.

(D)Mu abo mulimu abasensera mu mayumba ne bawamba abakazi abanafu mu mwoyo abazitoowereddwa ebibi, era abawalulwa okwegomba okubi okwa buli ngeri, abayiga bulijjo, kyokka ne batatuuka ku kutegeerera ddala amazima, (E)nga Yane ne Yambere abaawakanya Musa, ne bano bwe batyo bawakanya amazima. Be bantu abaayonooneka ebirowoozo, abatakyalina kukkiriza kutuufu. (F)Kyokka tebaliiko gye balaga, kubanga obusirusiru bwabwe bujja kumanyibwa abantu bonna, ng’obwa abasajja abo bwe bwamanyibwa.

10 (G)Naye ggwe wagoberera nnyo okuyigiriza kwange, n’empisa zange, ne kye nduubirira, n’okukkiriza kwange n’okubonaabona kwange n’okwagala kwange, n’okugumiikiriza kwange, 11 (H)n’okuyigganyizibwa n’okubonyaabonyezebwa ebyantukako mu Antiyokiya, ne mu Ikoniya ne mu Lisitula, okuyigganyizibwa kwe nayigganyizibwa, kyokka Mukama n’amponya mu byonna. 12 (I)Era bonna abaagala okuba mu bulamu obutya Katonda mu Kristo Yesu, banaayigganyizibwanga. 13 (J)Naye abakozi b’ebibi n’abalimba abeefuula okuba ekyo kye batali balyeyongera okuba ababi, ne babuzaabuza abalala, era nabo ne babula. 14 (K)Kyokka ggwe nywereranga mu ebyo bye wayiga era n’obikkiririza ddala, ng’omanyi abaabikuyigiriza bwe bali. 15 (L)Kubanga okuva mu buto bwo wamanya Ebyawandiikibwa Ebitukuvu ebiyinza okukufuula ow’amagezi, n’olokolebwa olw’okukkiriza Kristo Yesu. 16 (M)Ebyawandiikibwa Ebitukuvu byonna, Katonda ye yabiruŋŋamya nga biwandiikibwa, era bigasa mu kuyigiriza, mu kunenya, mu kuluŋŋamya ne mu kubuuliranga omuntu abe omutuukirivu, 17 (N)omuntu wa Katonda alyoke abe ng’atuukiridde, ng’alina byonna ebyetaagibwa okukola buli mulimu omulungi.

Koseya 5-6

Isirayiri Asalirwa Omusango

(A)Muwulire kino mmwe bakabona!
    Musseeyo omwoyo, mmwe Isirayiri!
Muwulirize, mmwe ennyumba ya Kabaka!
    Omusango guli ku mmwe:
Mubadde kyambika e Mizupa,
    era ekitimba ekitegeddwa ku Taboli.
(B)Abajeemu bamaliridde okutta,
    naye ndibabonereza bonna.
(C)Mmanyi byonna ebikwata ku Efulayimu,
    so ne Isirayiri tankisibwa.
Efulayimu weewaddeyo okukuba obwamalaaya,
    ne Isirayiri yeeyonoonye.

(D)Ebikolwa byabwe tebibaganya
    kudda eri Katonda waabwe,
kubanga omwoyo ogw’obwamalaaya guli mu mitima gyabwe,
    so tebamanyi Mukama.
(E)Amalala ga Isirayiri gabalumiriza;
    Abayisirayiri ne Efulayimu balyesittala olw’omusango gwabwe;
    ne Yuda alyesittalira wamu nabo.
(F)Bwe baligenda n’ebisibo byabwe n’amagana gaabwe
    okunoonya Mukama,
tebalimulaba;
    abaviiridde, abeeyawuddeko.
(G)Tebabadde beesigwa eri Mukama;
    bazadde abaana aboobwenzi.
Embaga ez’omwezi ogwakaboneka
    kyeziriva zibamalawo, n’ennimiro zaabwe ne ziragajjalirwa.

(H)Mufuuwe eŋŋombe mu Gibea,
    n’ekkondeere mu Laama.
Muyimuse amaloboozi e Besaveni;
    mutukulembere mmwe Benyamini.
(I)Efulayimu alifuuka matongo
    ku lunaku olw’okubonerezebwa.
Nnangirira ebiribaawo
    mu bika bya Isirayiri.
10 (J)Abakulembeze ba Yuda bali ng’abo
    abajjulula ensalo,
era ndibafukako obusungu bwange
    ng’omujjuzo gw’amazzi.
11 (K)Efulayimu anyigirizibwa,
    era omusango gumumezze,
    kubanga yamalirira okugoberera bakatonda abalala.
12 (L)Kyenvudde nfuuka ng’ennyenje eri Efulayimu,
    n’eri ennyumba ya Yuda n’emba ng’ekintu ekivundu.

13 (M)“Efulayimu bwe yalaba obulwadde bwe,
    ne Yuda n’alaba ekivundu kye,
Efulayimu n’addukira mu Bwasuli,
    n’atumya obuyambi okuva eri kabaka waayo omukulu.
Naye tasobola kubawonya
    newaakubadde okubajjanjaba ebiwundu byabwe.
14 (N)Kyendiva mbeera ng’empologoma eri Efulayimu,
    era ng’empologoma ey’amaanyi eri ennyumba ya Yuda.
Ndibataagulataagula ne ŋŋenda;
    ndibeetikka ne mbatwala, ne babulwako ayinza okubawonya.
15 (O)Ndiddayo mu kifo kyange,
    okutuusa lwe balikkiriza omusango gwabwe.
Balinnoonya,
    mu buyinike bwabwe, balinnoonya n’omutima gwabwe gwonna.”

Obujeemu bwa Isirayiri

(P)“Mujje, tudde eri Mukama.
Atutaaguddetaagudde,
    naye alituwonya;
atuleeseeko ebiwundu,
    naye ebiwundu alibinyiga.
(Q)Oluvannyuma olw’ennaku bbiri alituzzaamu obulamu, era ku lunaku
    olwokusatu alituzza buggya,
    ne tubeera balamu mu maaso ge.
(R)Tumanye Mukama;
    tunyiikire okumumanya.
Ng’enjuba bw’evaayo enkya,
    bw’atyo bw’alirabika;
alijja gye tuli ng’enkuba ey’omu kiseera ky’omuzira,
    era ng’enkuba eya ddumbi efukirira ettaka.”

(S)Nkukolere ki, Efulayimu?
    Nkukolere ki, Yuda?
Okwagala kwo kuli ng’olufu olw’enkya,
    era ng’omusulo ogw’enkya ogukala amangu.
(T)Kyenvudde nkozesa bannabbi okubasalaasala ebitundutundu,
    ne mbatta n’ebigambo eby’omu kamwa kange,
    era ne mbasalira emisango ng’okumyansa okw’eggulu.
(U)Kubanga njagala ekisa so si ssaddaaka,
    era n’okumanya Katonda, okusinga ebiweebwayo ebyokebwa.
(V)Okufaanana nga Adamu, bamenye endagaano,
    tebaali beesigwa.
Gireyaadi kibuga ky’abakozi ba bibi,
    era engalo zaabwe zijjudde omusaayi.
(W)Ng’abatemu bwe bateegerera omuntu mu kkubo,
    n’ebibiina bya bakabona
bwe bityo bwe bittira ku luguudo olugenda e Sekemu,
    ne bazza emisango egy’obuswavu.
10 (X)Ndabye eby’ekivve
    mu nnyumba ya Isirayiri;
era eyo Efulayimu gye yeeweereddeyo mu bwamalaaya,
    ne Isirayiri gy’ayonoonekedde.

11 (Y)“Naawe Yuda,
    amakungula gatuuse.

“Bwe ndikomyawo emikisa gy’abantu bange,

Zabbuli 119:145-176

ק Koofu

145 Nkoowoola n’omutima gwange gwonna, Ayi Mukama, onnyanukule!
    Nnaagonderanga amateeka go.
146 Nkukaabirira, ondokole,
    nkwate ebiragiro byo.
147 (A)Ngolokoka bunatera okukya ne nkukaabirira onnyambe;
    essuubi lyange liri mu kigambo kyo.
148 (B)Seebaka ekiro kyonna
    nga nfumiitiriza ku ebyo bye wasuubiza.
149 Olw’okwagala kwo okutaggwaawo wulira eddoboozi lyange, Ayi Mukama,
    ompe obulamu obuggya ng’amateeka go bwe gali.
150 Abo ab’enkwe era abatakwata mateeka go bansemberedde,
    kyokka bali wala n’amateeka go.
151 (C)Naye ggwe, Ayi Mukama, oli kumpi nange,
    era n’amateeka go gonna ga mazima.
152 (D)Okuva edda n’edda nayiga mu biragiro byo,
    nga wabissaawo bibeerewo emirembe gyonna.

ר Leesi

153 (E)Tunuulira okubonaabona kwange omponye,
    kubanga seerabira mateeka go.
154 (F)Ompolereze, onnunule,
    onzizeemu obulamu nga bwe wasuubiza.
155 (G)Abakola ebibi obulokozi bubabeera wala,
    kubanga tebanoonya mateeka go.
156 (H)Ekisa kyo kinene, Ayi Mukama,
    onzizeemu obulamu nga bwe wasuubiza.
157 (I)Abalabe abanjigganya bangi,
    naye nze siivenga ku biragiro byo.
158 (J)Nnakuwalira abo abatakwesiga,
    kubanga tebakwata biragiro byo.
159 Laba, Ayi Mukama, bwe njagala ebiragiro byo!
    Onkuumenga ng’okwagala kwo bwe kuli.
160 Ebigambo byo byonna bya mazima meereere;
    n’amateeka go ga lubeerera.

ש Sini ne Sikini

161 (K)Abafuzi banjigganyiza bwereere,
    naye ekigambo kyo nkissaamu ekitiibwa.
162 (L)Nsanyukira ekisuubizo kyo okufaanana
    ng’oyo afunye obugagga obungi.
163 Nkyawa era ntamwa obulimba,
    naye amateeka go ngagala.
164 Mu lunaku nkutendereza emirundi musanvu
    olw’amateeka go amatuukirivu.
165 (M)Abo abaagala amateeka go bali mu ddembe lingi;
    tewali kisobola kubeesittaza.
166 (N)Nnindirira obulokozi bwo, Ayi Mukama,
    era mu biragiro byo mwe ntambulira.
167 Ŋŋondera ebiragiro byo,
    mbyagala nnyo nnyini.
168 (O)Buli kye nkola okimanyi,
    era olaba nga bwe nkwata ebiragiro byo.

ת Taawu

169 (P)Okukaaba kwange kutuuke gy’oli, Ayi Mukama,
    ompe okutegeera ng’ekigambo kyo bwe kiri.
170 (Q)Okwegayirira kwange kutuuke gy’oli,
    onnunule nga bwe wasuubiza.
171 (R)Akamwa kange kanaakutenderezanga,
    kubanga gw’onjigiriza amateeka go.
172 Olulimi lwange lunaayimbanga ekigambo kyo,
    kubanga bye walagira byonna bya butuukirivu.
173 (S)Omukono gwo gumbeerenga,
    kubanga nnonzeewo okukwatanga ebiragiro byo.
174 (T)Neegomba nnyo obulokozi bwo, Ayi Mukama,
    era amateeka go lye ssanyu lyange.
175 (U)Ompe obulamu nkutenderezenga,
    era amateeka go gampanirirenga.
176 (V)Ndi ng’endiga ebuze.
    Onoonye omuddu wo,
    kubanga seerabidde mateeka go.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.