M’Cheyne Bible Reading Plan
Nnabbi Mikaaya Alabula Akabu
22 Ne wataba ntalo wakati wa Busuuli ne Isirayiri okumala emyaka esatu. 2 Naye mu mwaka ogwokusatu Yekosafaati kabaka wa Yuda n’aserengeta okugenda okukyalira kabaka wa Isirayiri. 3 (A)Kabaka wa Isirayiri yali agambye abaami be nti, “Mumanyi nti Lamosugireyaadi kyaffe, naye ate nga tetulina kye tukola wo okukiggya ku kabaka wa Busuuli?”
4 (B)Mu kiseera ekyo n’abuuza Yekosafaati nti, “Onoogenda nange mu lutalo e Lamosugireyaadi?”
Yekosafaati n’addamu kabaka wa Isirayiri nti, “Nze ndi nga bw’oli abantu bange ng’abantu bo, n’embalaasi zange ng’ezizo.” 5 (C)Naye Yekosafaati n’ayongerako nti, “Sooka weebuuze ku Mukama.”
6 (D)Awo kabaka wa Isirayiri n’akuŋŋaanya bannabbi awamu nga bawera ng’ebikumi bina, n’ababuuza nti, “Ŋŋende ntabaale e Lamosugireyaadi oba ndekeyo?” Ne baddamu nti, “Genda kubanga Mukama alikigabula mu mukono gwa kabaka.” 7 (E)Naye Yekosafaati n’abuuza nti, “Wano tewaliwo nnabbi wa Mukama gwe tuyinza kwebuuzaako?”
8 (F)Kabaka wa Isirayiri n’addamu Yekosafaati nti, “Wakyaliyo omusajja omu gwe tuyinza okwebuuzaako eri Mukama erinnya lye ye Mikaaya[a] mutabani wa Imula naye namukyawa kubanga tewali kirungi ky’alagula ku nze, wabula ebibi.”
9 Awo kabaka wa Isirayiri n’alagira omu ku baami be nti, “Yanguwa mangu okuleeta Mikaaya mutabani wa Imula.”
10 (G)Awo Kabaka wa Isirayiri ne Yekosafaati kabaka wa Yuda nga bambadde ebyambalo byabwe eby’obwakabaka era nga batudde ku ntebe zaabwe ez’obwakabaka mu mulyango ogwa wankaaki w’ekibuga Samaliya, nga ne bannabbi bonna balagulira awo we baali; 11 (H)Zeddekiya mutabani wa Kenaana yali yeekoledde amayembe ag’ebyuma, n’ayogera nti, “Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, ‘Olisindikiriza Abasuuli ne gano okutuusa lwe balisaanyizibwawo.’ ”
12 Bannabbi abalala bonna nabo baalagula kye kimu, nga boogera nti, “Yambuka olumbe Lamosugireyaadi obe muwanguzi kubanga Mukama ajja kukigabula mu mukono gwa kabaka.” 13 Omubaka eyatumibwa okuleeta Mikaaya n’amugamba nti, “Laba ebigambo bya bannabbi abalala biragula buwanguzi eri kabaka, kale ekigambo kyo nakyo kikkiriziganye nabyo, oyogere bulungi.”
14 (I)Naye Mikaaya n’ayogera nti, “Nga Mukama bw’ali omulamu, nzija kwogera ekyo kyokka Mukama ky’anaŋŋamba.” 15 Bwe yatuuka awali kabaka, kabaka n’amubuuza nti, “Mikaaya tulumbe Lamosugireyaadi, nantiki tulekeyo?” N’amuddamu nti, “Kirumbe obe muwanguzi kubanga Mukama anakigabula mu mukono gwa kabaka.”
16 Kabaka n’amubuuza nti, “Nnaakulayiza emirundi emeka okutegeeza amazima mu linnya lya Mukama?” 17 (J)Nnabbi n’addamu nti, “Nalaba Isirayiri yenna ng’esaasaanye ku nsozi, ng’endiga ezitalina musumba.” Mukama n’ayogera nti, “Bano tebalina mukama waabwe, era buli omu ku bbo addeyo ewuwe mirembe.”
18 Awo kabaka wa Isirayiri n’agamba Yekosafaati nti, “Saakugambye nti, talina kirungi ky’andagulako wabula ekibi?” 19 (K)Mikaaya n’ayogera nti, “Noolwekyo wulira ekigambo kya Mukama nti: Nalaba Mukama ng’atudde ku ntebe ye ey’obwakabaka nga n’eggye lyonna ery’omu ggulu liyimiridde ku mukono gwe ogwa ddyo ne mukono gwe ogwa kkono. 20 Mukama n’ayogera nti, ‘Ani anaasendasenda Akabu ayambuke okulumba Lamosugireyaadi afiire eyo?’ Omu ku bo n’addamu bulala, n’omulala n’addamu bulala. 21 Ku nkomerero ne wavaayo omwoyo ne guyimirira mu maaso ga Mukama ne gwogera nti, ‘Nze nnaamusendasenda.’
22 (L)“Mukama n’abuuza nti, ‘Mu ngeri ki?’ Omwoyo ne guddamu nti, ‘Nzija kugenda nfuuke omwoyo ogw’obulimba mu mimwa gya bannabbi be bonna.’ Mukama n’addamu nti, ‘Ojja kusobola okumusendasenda, genda okole bw’otyo.’
23 (M)“Kale nno, Mukama atadde omwoyo omulimba mu mimwa gya buli nnabbi wo era Mukama amaliridde okukusaanyaawo.”
24 (N)Awo Zeddekiya mutabani wa Kenaana n’asembera n’akuba Mikaaya oluyi ku ttama, n’ayogera nti, “Omwoyo wa Mukama yampiseeko atya okwogera nawe?”
25 (O)Awo Mikaaya n’addamu nti, “Laba, ekyo onokimanya ku lunaku lw’oligenda okwekweka mu kisenge eky’omunda.”
26 Awo kabaka wa Isirayiri n’alagira nti, “Mukwate Mikaaya, mumuzzeeyo ewa Amoni omukulu w’ekibuga, n’eri Yowaasi mutabani wa kabaka, 27 (P)era mwogere nti, ‘Bw’ati bw’ayogera kabaka nti: muteeke omuntu ono mu kkomera, ate temumuwa ekintu kyonna okuggyako omugaati n’amazzi okutuusa lwe ndikomawo emirembe.’ ”
28 (Q)Mikaaya n’alangirira nti, “Bw’olikomawo emirembe, Mukama nga tayogeredde mu nze.” Era n’ayongerako nti, “Mugenderere ebigambo byange, mmwe abantu mwenna.”
Okufa Kwa Akabu e Lamosugireyaadi
29 Awo kabaka wa Isirayiri ne Yekosafaati kabaka wa Yuda ne bambuka e Lamosugireyaadi. 30 (R)Kabaka wa Isirayiri n’agamba Yekosafaati nti, “Nzija kugenda mu lutalo nga nneefudde omuntu omulala, naye ggwe oyambale ebyambalo eby’obwakabaka.” Awo kabaka wa Isirayiri ne yeefuula omuntu omulala n’agenda mu lutalo.
31 (S)Kabaka w’e Busuuli yali alagidde abaduumizi b’amagaali nti, “Temulwanagana na muntu yenna, kabe mutono oba mukulu, wabula kabaka wa Isirayiri yekka.” 32 Awo abaduumizi b’amagaali bwe baalaba Yekosafaati, ne balowooza nti, “Ddala ono ye kabaka wa Isirayiri.” Ne batanula okumulumba, naye Yekosafaati n’aleekaanira waggulu, 33 abaduumizi b’amagaali ne bategeera nti si ye kabaka wa Isirayiri ne balekeraawo okumugoba.
34 (T)Awo omuntu omu n’amala galasa akasaale ke, ne kakwata kabaka wa Isirayiri ebyambalo bye eby’ebyuma we bigattira, n’agamba omugoba w’eggaali lye nti, “Kyusa eggaali onzigye mu lutalo, kubanga nfumitiddwa.” 35 Olutalo ne lweyongerera ddala nnyo ku lunaku olwo, era kabaka ne bamukwatirira mu gaali lye nga litunuulaganye n’Abasuuli. Omusaayi okuva mu kiwundu kye ne gukulukuta nnyo mu gaali, n’oluvannyuma n’afa. 36 (U)Enjuba bwe yali ng’eneetera okugwa, ne waba ekirango ekyabuna mu ggye nti, “Buli muntu adde mu kibuga ky’ewaabwe, era buli muntu adde mu nsi y’ewaabwe!”
37 Awo kabaka n’afa n’aleetebwa e Samaliya, era n’aziikibwa eyo. 38 (V)Ne booleza eggaali lye awaali ekidiba kya Samaliya, bamalaaya we baanaabiranga, embwa ne zikomba omusaayi gwe, ng’ekigambo kya Mukama bwe kyayogerwa.
39 (W)Ebyafaayo ebirala eby’omulembe gwa Akabu, n’ebyo bye yakola, n’olubiri lwe yazimba n’alulongoosa n’amasanga, n’ebibuga bye yazimbako bbugwe, tebyawandiikibwa mu kitabo eky’ebyomumirembe gya bassekabaka ba Isirayiri? 40 Awo Akabu ne yeebakira wamu ne bajjajjaabe, Akaziya mutabani we n’amusikira.
Yekosafaati Kabaka wa Yuda
41 Awo Yekosafaati mutabani wa Asa n’atandika okufuga mu Yuda mu mwaka ogw’amakumi ana ogwa Akabu kabaka wa Isirayiri. 42 Yekosafaati yalina emyaka egy’obukulu amakumi asatu mu etaano we yatandikira okufuga, era n’afugira mu Yerusaalemi okumala emyaka amakumi abiri mu etaano. Nnyina erinnya lye ye yali Azuba muwala wa Siruki. 43 (X)N’atambulira mu ngeri za kitaawe Asa era n’atazivaamu, ng’akola ebirungi mu maaso ga Mukama, newaakubadde nga teyaggyawo bifo bigulumivu, abantu ne beeyongeranga okuweerayo ssaddaaka n’okwokya obubaane. 44 Yekosafaati n’atabagana ne kabaka wa Isirayiri.
45 Ebyafaayo ebirala eby’omulembe gwa Yekosafaati, ebintu bye yakola, n’amaanyi ge mu ntalo, tebyawandiikibwa mu kitabo eky’ebyomumirembe gya bassekabaka ba Yuda? 46 (Y)N’aggyirawo ddala abaalyanga ebisiyaga abaali basigaddewo mu nsi, oluvannyuma lw’omulembe gwa kitaawe Asa. 47 (Z)Awo mu biro ebyo ne wataba kabaka mu Edomu, omusigire wa kabaka n’afuga.
48 (AA)Yekosafaati yali azimbye ekibinja eky’ebyombo okugenda e Ofiri okukimangayo zaabu, naye ne bitasobola, kubanga byonna byabbira e Eziyonigeba. 49 Mu kiseera ekyo Akaziya mutabani wa Akabu yali agambye Yekosafaati nti, “Abasajja bange ka baseeyeeye n’ababo,” naye Yekosafaati n’atakyagala.
50 Awo Yekosafaati ne yeebakira wamu ne bajjajjaabe era n’aziikibwa mu kibuga kya Dawudi jjajjaawe, Yekolaamu mutabani we n’amusikira.
Akaziya Kabaka wa Isirayiri
51 Awo Akaziya mutabani wa Akabu n’alya obwakabaka kabaka bwa Isirayiri mu Samaliya mu mwaka ogw’ekkumi n’omusanvu ogwa Yekosafaati kabaka wa Yuda, era n’afuga Isirayiri okumala emyaka ebiri. 52 (AB)N’akola ebibi mu maaso ga Mukama, ne yeeyisa nga kitaawe bwe yeeyisanga, era nga ne nnyina bwe yakolanga, ate era nga Yerobowaamu mutabani wa Nebati, eyaleetera Isirayiri okwonoona bwe yakolanga. 53 (AC)Yaweereza era n’asinza Baali, n’asunguwaza Mukama Katonda wa Isirayiri, mu ngeri zonna nga kitaawe bwe yakola.
5 (A)Naye ku bikwata ku by’entuuko n’ebiro, abooluganda, ssetaaga kwongera kubawandiikira. 2 (B)Kubanga mmwe mwennyini mumanyi bulungi nti olunaku lwa Mukama waffe lulijja ng’omubbi bw’ajja ekiro. 3 Abantu balirowooza mu mitima gyabwe nti, “Tulina emirembe era tulina obukuumi,” amangwango okuzikirira ne kulyoka kubajjira, ng’okulumwa bwe kujjira omukazi agenda okuzaala omwana; ne batawona n’akatono.
4 (C)Naye mmwe, abooluganda abaagalwa temuli mu kizikiza ku nsonga zino, era temugenda kwekanga lunaku olwo ng’abayingiriddwa omubbi; 5 Kubanga mmwe mwenna muli baana ba musana era baana ba butangaavu. Tetuli ba kiro yadde ab’ekizikiza. 6 (D)Noolwekyo tuleme kwebaka ng’abalala naye tutunulenga okwegomba kuleme okutufuga. 7 (E)Kubanga abeebaka beebaka kiro, n’abatamiira batamiira kiro. 8 (F)Naye ffe, kubanga tuli ba musana, tulemenga okutamiira. Twambale okukkiriza n’okwagala ng’ekyomu kifuba, era tube n’essuubi ery’obulokozi nga ye nkufiira yaffe. 9 (G)Kubanga ffe Katonda teyatulondera kufukibwako kiruyi kya busungu, wabula okutulokola ng’ayita mu Mukama waffe Yesu Kristo, 10 (H)eyatufiirira ka tube nga tuli balamu oba nga tufudde, tulyoke tubeere balamu wamu naye. 11 Kale mugumyaganenga era muzimbaganenga nga bwe mubadde mukola.
Ebiragiro Ebisembayo
12 (I)Kaakano tubeegayirira abooluganda, mumanye abafuba okukola emirimu mu mmwe era ababakulembera mu Mukama waffe era abababuulirira, 13 (J)mubassengamu nnyo ekitiibwa mu kwagala olw’omulimu gwabwe. Mubenga bantu ba mirembe. 14 (K)Tubakuutira abooluganda, mubuulirirenga abagayaavu, mugumyenga abo abalimu okutya, muyambenga abatalina maanyi, mubenga bagumiikiriza eri abantu bonna. 15 (L)Mulabenga nga mu mmwe temuli muntu asasula ekibi olw’ekibi, naye bulijjo mukolenga obulungi buli muntu ne munne, era n’eri abantu bonna. 16 (M)Musanyukenga ennaku zonna.
Musabenga
17 Musabenga obutayosa. 18 Mwebazenga olwa buli kintu kyonna, kubanga ekyo Katonda ky’abaagaliza mmwe abali mu Kristo Yesu. 19 (N)Temuzikizanga Mwoyo Mutukuvu, 20 (O)era temunyoomanga abo aboogera eby’obunnabbi, 21 (P)naye mwekenneenyenga ebintu byonna, kale bwe bibanga ebirungi mubinywezenga. 22 Mwewalenga buli ngeri ya kibi.
23 (Q)Katonda ow’emirembe abatukulize ddala, era omwoyo gwammwe gwonna, n’emmeeme yammwe n’omubiri gwammwe, bikuumibwenga nga tebiriiko kya kunenyezebwa okutuusa ku lunaku olw’okujja kwa Mukama waffe Yesu Kristo. 24 (R)Oyo eyabayita mwesigwa era alikituukiriza.
25 (S)Abooluganda, naffe, mutusabirenga.
26 Mulamuse abooluganda bonna mu kulamusa okutukuvu.
27 Mbalagira mu linnya lya Mukama waffe ebbaluwa eno mugisomere abooluganda bonna.
28 Ekisa kya Mukama waffe Yesu Kristo kibeerenga nammwe.
Ekirooto kya Nebukadduneeza eky’Omuti
4 (A)Kabaka Nebukadduneeza n’alangirira eri abantu, n’amawanga n’abantu ab’ennimi eza buli ngeri, mu nsi yonna bw’ati nti:
Emirembe gibeere nammwe!
2 (B)Lye ssanyu lyange okubategeeza ku bigambo eby’amagero era ebikulu Katonda Ali Waggulu Ennyo byankoledde.
3 (C)Obubonero bwe nga bukulu,
n’eby’amagero bye nga byewuunyisa!
Obwakabaka bwe bwa mirembe na mirembe;
N’okufuga kwe tekuliggwaawo.
4 (D)Nze Nebukadduneeza, nnali mpumulidde mu maka gange wakati mu bugagga nga mpumuliddeko mu lubiri lwange. 5 (E)Ne ndoota ekirooto ekyantiisa; bwe nnali nga ngalamidde ku kitanda kyange, ne ndaba ebifaananyi mu kwolesebwa, ebyantiisa. 6 (F)Kyennava ndagira abasajja bonna abagezigezi ab’e Babulooni baleetebwe mu maaso gange bantegeeze amakulu g’ekirooto. 7 (G)Abalogo, n’abafumu, n’Abakaludaaya, n’abalaguzi ne bajja, ne mbategeeza ekirooto, naye ne balemwa okuntegeeza amakulu gaakyo. 8 (H)Naye oluvannyuma Danyeri gwe natuuma Berutesazza ng’erinnya lya katonda wange bwe liri, era nga n’omwoyo ogwa bakatonda abatukuvu guli mu ye, n’ajja mu maaso gange ne mutegeeza ekirooto.
9 (I)Ne mugamba nti, “Berutesazza, omukulu w’abafumu, mmanyi ng’omwoyo ogwa bakatonda abatukuvu guli mu ggwe, so tewali kigambo eky’ekyama ekikuzibuwalira. Ntegeeza ekirooto kyange, n’amakulu gaakyo. 10 (J)Kuno kwe kwolesebwa kwe nafunye nga ngalamidde ku kitanda kyange; nalabye omuti wakati mu nsi, nga muwanvu nnyo nnyini. 11 Omuti ne gukula ne guba gwa maanyi, n’entikko yaagwo n’etuuka ku ggulu era nga gulengerwa okuva ku nkomerero y’ensi zonna. 12 (K)Ebikoola byagwo byali birungi okutunulako, n’ebibala byagwo nga bingi, era nga gulina emmere emala bonna. Ensolo enkambwe ez’omu nsiko zaatuulanga mu kisiikirize kyagwo, n’ennyonyi ez’omu bbanga zaatuulanga ku matabi gaagwo, na buli kiramu kyonna kyalisibwanga.
13 (L)“Awo mu kiseera ekyo nga ngalamidde ku kitanda kyange, mu kwolesebwa, ne ndaba omubaka omutukuvu ng’ava mu ggulu. 14 (M)N’ayogerera mu ddoboozi ery’omwanguka nti, ‘Tema omuti, otemeko n’amatabi gaagwo; okunkumule amalagala gaagwo, osaasaanye n’ebibala byagwo, n’ennyonyi zibuuke zive ku matabi gaagwo. 15 Naye ekikonge ky’ekikolo kyagwo kireke mu ttaka, nga kiriko ekyuma ekisiba n’ekikomo, mu muddo omuto ku ttale.
“ ‘Muleke abisiwale n’omusulo ogw’omu ggulu, era muleke agabanire wamu omuddo, n’ensolo ez’omu nsiko. 16 (N)Era n’amagezi ge ag’obuntu gakyusibwe, afuuke ng’ensolo enkambwe ey’omu nsiko okumala emyaka musanvu.
17 (O)“ ‘Omusango ogwo gulangiriddwa ababaka, abatukuvu be baasanguza ekisaliddwawo, abalamu balyoke bategeere ng’Oyo Ali Waggulu Ennyo y’afuga obwakabaka bw’abantu, era abuwa buli gw’asiima, era alonda abantu abasemberayo ddala okuba aba wansi okubafuga.’
18 (P)“Ekyo kye kirooto, nze Kabaka Nebukadduneeza kye naloose. Kaakano ggwe Berutesazza, ntegeeza amakulu gaakyo kubanga tewali n’omu ku basajja abagezigezi mu bwakabaka bwange ayinza okuntegeeza amakulu gaakyo. Naye ggwe oyinza, kubanga omwoyo ogwa bakatonda abatukuvu guli mu ggwe.”
Danyeri Avvuunula Ekirooto
19 (Q)Awo Danyeri eyayitibwanga Berutesazza n’atawanyizibwa mu mutima okumala akabanga, ne yeeraliikirira. Kabaka n’amugamba nti, “Berutesazza, ekirooto n’amakulu gaakyo bireme okukweraliikiriza.”
Berutesazza n’addamu nti, “Mukama wange, ekirooto kibe nga kyogera ku abo abakukyawa, n’amakulu gaakyo gabe nga googera ku balabe bo! 20 Omuti gwe walaba, ogwakula ne guba gwa maanyi, ogwawanvuwa ne gutuuka ku ggulu, nga gulabibwa ensi yonna, 21 ogwaliko amalagala amalungi n’ebibala byagwo nga bingi nnyo, era nga guliko n’emmere emala bonna, nga n’ensolo ez’omu nsiko zituula mu kisiikirize kyagwo, nga n’ennyonyi ez’omu bbanga zisiisira ku matabi gaagwo, 22 (R)ye ggwe, ayi kabaka! Okuze n’oba mukulu era n’oba w’amaanyi; n’obukulu bwo bweyongedde ne butuuka ku ggulu, n’obuyinza bwo butuuse ku nkomerero y’ensi.
23 (S)“Ggwe ayi kabaka walabye omubaka, era omutukuvu ng’akka okuva mu ggulu, n’ayogera nti, ‘Tema omuti oguzikirize, naye ekikonge ky’ekikolo kyagwo kireke mu ttaka ng’okisibye n’ekyuma n’ekikomo mu muddo omuto ogw’oku ttale; era muleke abisiwazibwe omusulo ogw’omu ggulu, n’omugabo gwe gubeere n’ensolo enkambwe ez’omu nsiko, emyaka musanvu.’
24 (T)“Gano ge makulu, ayi kabaka, era lino lye tteeka Oyo Ali Waggulu Ennyo ly’alangiriridde mukama wange kabaka. 25 (U)Oligobebwa okuva mu bantu era olibeera n’ensolo ez’omu nsiko; olirya omuddo ng’ente, era olibisiwala okumala emyaka musanvu okutuusa lw’olitegeera ng’Oyo Ali Waggulu Ennyo y’afuga obwakabaka bw’abantu, era abugabira buli gw’asiima. 26 (V)Ekiragiro eky’okuleka ekikonge ky’ekikolo ky’omuti, amakulu gaakyo ge gano: obwakabaka bwo bulikuddizibwa bw’olitegeera ng’eggulu lye lifuga. 27 (W)Noolwekyo, ayi kabaka nteesa nti; weetoowaze olekeyo ebibi byo okole eby’obutuukirivu, era n’ebikolwa byo ebitali bya butuukirivu obireke obeere wa kisa eri abanyigirizibwa, olyoke ofuuke mugagga okusinga nga bw’oli kaakano.”
Ekirooto Kituukirira
28 (X)Ebyo byonna byatuukirira ku Kabaka Nebukadduneeza. 29 Bwe wayitawo emyezi kkumi n’ebiri, kabaka yali atambulira ku kasolya k’olubiri lwe olwa Babulooni, 30 (Y)n’ayogera nti, “Ono si ye Babulooni omukulu gwe nazimba n’amaanyi gange amangi okuba ekibuga ekikulu eky’ekitiibwa eky’obwakabaka bwange?”
31 Awo bwe yali ng’akyayogera, eddoboozi ne liva mu ggulu nga ligamba nti, “Kuno kwe kulangirira okukukwatako Kabaka Nebukadduneeza: obwakabaka bwo bukuggyiddwako. 32 Oligobebwa mu bantu era olibeera n’ensolo okumala emyaka musanvu okutuusa lw’olitegeera ng’Oyo Ali Waggulu ennyo y’afuga obwakabaka obw’abantu era abuwa buli gw’asiima.”
33 (Z)Amangwago ebyayogerwa ku Nebukadduneeza ne bituukirira. N’agobebwa mu bantu era n’alya omuddo ng’ente. Omubiri gwe ne gutoba omusulo ogw’omu ggulu okutuusa enviiri ze lwe zaakula ng’ebyoya by’empungu n’enjala ze ng’enjala z’ennyonyi.
34 (AA)Oluvannyuma lw’ebbanga eryo, nze, Nebukadduneeza, ne nnyimusa amaaso gange eri eggulu, amagezi gange ne gakomawo. Ne ntendereza Oyo Ali Waggulu Ennyo, ne muwa ekitiibwa ne mugulumiza oyo abeera omulamu emirembe n’emirembe.
Okufuga kwe tekuliggwaawo,
n’obwakabaka bwe bwa mirembe na mirembe.
35 (AB)Abantu bonna ab’oku nsi
abalaba nga si kintu,
eggye ery’omu ggulu
n’abantu ab’oku nsi
abayisa nga bw’asiima.
Tewali ayinza okumuziyiza,
newaakubadde okumubuuza nti, “Okola ki?”
36 (AC)Mu kiseera kyekimu okutegeera kwange ne kukomawo, n’ekitiibwa n’obuyinza obw’obwakabaka bwange ne bunzirira. Abawi b’amagezi bange n’abakungu bange ne bannoonya, ne banziriza entebe yange ey’obwakabaka ne nnyongerwako obukulu bungi okusinga ne bwe nalina. 37 (AD)Kale nze Nebukadduneeza kyennaava mmutendereza era ne mmuwa ekitiibwa ne mmugulumiza Kabaka ow’eggulu, kubanga emirimu gye gyonna gya mazima n’amakubo ge ga nsonga, n’abo ab’amalala abakkakkanya.
Oluyimba. Zabbuli ya Dawudi.
108 Omutima gwange munywevu, Ayi Katonda;
nnaayimbanga ne nkutendereza n’omwoyo gwange gwonna.
2 Muzuukuke, mmwe entongooli n’ennanga ey’enkoba,
nzija kuyimba okukeesa obudde.
3 Nnaakutenderezanga, Ayi Mukama, mu bantu bonna,
nnaakuyimbiranga mu mawanga gonna.
4 Okwagala kwo kunene, kutumbiira okutuuka ku ggulu;
n’obwesigwa bwo butuuka ku bire.
5 (A)Ogulumizibwenga, Ayi Katonda, okuyisa eggulu;
n’ekitiibwa kyo kibune ensi yonna.
6 Tulokole otuyambe n’omukono gwo ogwa ddyo,
abo booyagala banunulibwe.
7 Katonda ayogedde ng’asinziira mu kifo kye ekitukuvu n’agamba nti,
“Nga nzijudde essanyu, ndisala mu Sekemu,
era n’Ekiwonvu kya Sukkosi ndikigabanyagabanyaamu.
8 (B)Ensi ya Gireyaadi yange, n’eya Manase nayo yange.
Efulayimu mwe muli abalwanyi bange abazira;
ate mu Yuda mwe munaavanga bakabaka.
9 Mowaabu be baweereza bange abawulize;
ate Edomu be baddu bange;
Abafirisuuti ndibaleekaanira mu ddoboozi ery’omwanguka ery’obuwanguzi.”
10 Ani anantuusa ku kibuga ekigumu ekinywevu?
Ani anankulembera okunnyingiza mu Edomu?
11 (C)Si ggwe, ayi Katonda, atusudde,
atakyatabaala n’amaggye gaffe?
12 Tudduukirire nga tulwanyisa abalabe baffe,
kubanga obuyambi bw’abantu temuli nsa.
13 Bwe tunaabeeranga ne Katonda tunaabanga bawanguzi;
kubanga y’anaalinnyiriranga abalabe baffe wansi w’ebigere bye.
Ya Makulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Dawudi.
109 (D)Ayi Katonda wange gwe ntendereza,
tonsiriikirira.
2 (E)Kubanga abantu abakola ebibi era abalimba,
banjogeddeko eby’obulimba.
3 (F)Banfukumulidde ebigambo eby’obukyayi,
ne bannumbagana awatali nsonga.
4 (G)Bwe mbalaga omukwano, bo bandaga bukyayi;
kyokka nze mbasabira.
5 (H)Bwe mbakolera ebirungi bo bansasulamu bibi;
bwe mbalaga okwagala bo bankyawa bukyayi.
6 (I)Mumulabire omuntu omukozi w’ebibi amwolekere;
wabeewo amuwawaabira.
7 (J)Bwe banaawoza, omusango gumusinge;
n’okusaba kwe kufuuke kwonoona.
8 (K)Aleme kuwangaala;
omuntu omulala amusikire.
9 (L)Abaana be basigalire awo nga tebaliiko kitaabwe,
ne mukyala we afuuke nnamwandu.
10 Abaana be bataataaganenga nga bagenda basabiriza;
bagobebwe ne mu bifulukwa mwe basula.
11 (M)Amubanja ajje awambe ebibye byonna;
n’abagwira bamunyageko ebintu bye byonna bye yakolerera.
12 (N)Waleme kubaawo amusaasira,
wadde akolera abaana be ebyekisa.
13 (O)Ezzadde lye lizikirizibwe,
n’amannya g’abazzukulu be gasangulwe mu ago ag’omu mulembe oguliddirira.
14 (P)Mukama ajjukirenga ebyonoono bya bakadde be;
n’ekibi kya nnyina kireme kwerabirwanga.
15 (Q)Mukama ajjukirenga ebyonoono byabwe bulijjo,
n’ensi ebeerabirire ddala.
16 (R)Kubanga talowoozangako kukolera muntu yenna kya kisa;
naye yayigganyanga abaavu, n’abeetaaga,
n’abanakuwavu n’abatuusa ne ku kufa.
17 (S)Yayagalanga nnyo okukolima; kale ebikolimo bimwefuulire. Teyayagalanga mikisa; kale gimwesambire ddala!
18 (T)Yeeteekako okukolima ng’ekyambalo,
ne kumutobya ng’amazzi,
ne kuyingira mu magumba ge ng’amafuta.
19 Kubeerenga ng’ekyambalo ky’ayambadde,
era ng’olukoba lwe yeesibye emirembe gyonna.
20 (U)Ebyo byonna y’eba ebeera empeera, Mukama gy’awa abo abandoopaloopa,
era abanjogerako eby’akabi ebyereere.
21 (V)Naye ggwe, Ayi Mukama Katonda wange,
nnwanirira olw’erinnya lyo;
era omponye olw’okwagala kwo okulungi okutaggwaawo.
22 Kubanga ndi mwavu era ali mu kwetaaga,
n’omutima gwange gunyolwa nnyo.
23 (W)Sikyaliwo, ndi ng’ekisiikirize eky’akawungeezi;
mmansuddwa eri ng’enzige.
24 (X)Amaviivi gange ganafuye olw’okusiiba;
omubiri gwange gukozze ne guggwaamu ensa.
25 (Y)Abandoopaloopa bansekerera;
bwe bandaba nga banyeenyeza omutwe.
26 (Z)Mbeera, Ayi Mukama Katonda wange!
Ondokole ng’okwagala kwo okutaggwaawo bwe kuli.
27 (AA)Baleke bategeere nti ggwe okikoze,
n’omukono gwo Ayi Mukama.
28 (AB)Balikoma, naye ggwe olimpa omukisa!
Leka abannumbagana baswale,
naye nze omuddu wo nga nsanyuka!
29 (AC)Abandoopa baswazibwe,
n’ensonyi zaabwe zibabuzeeko obwekyusizo.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.