Add parallel Print Page Options

Katonda Atuma Isaaya

(A)Awo mu mwaka kabaka Uzziya mwe yafiira, nalaba Mukama ng’atudde ku ntebe empanvu ng’agulumizibbwa, n’ekirenge ky’ekyambalo kye nga kijjula yeekaalu.

Read full chapter

26 (A)Waggulu w’ekifo ekigazi waggulu w’emitwe gyabyo waaliwo ekyafaanananga entebe ey’obwakabaka, eya safiro, ate waggulu w’ekifaananyi eky’entebe ey’obwakabaka nga watuddeyo eyafaanana ng’omuntu.

Read full chapter

(A)“Era nga nkyali awo ne ndaba,

“entebe ez’obwakabaka nga ziteekeddwawo,
    n’Owedda n’Edda n’atuula ku ntebe ye ey’obwakabaka.
Ebyambalo bye byali byeru ng’omuzira,
    n’enviiri ez’oku mutwe gwe nga njeru ng’ebyoya by’endiga.
Entebe ye ey’obwakabaka yali eyakaayakana ng’ennimi z’omuliro,
    ne namuziga zaayo nga zaaka omuliro.

Read full chapter

Setaani Agezesa Yobu

(A)Olunaku lumu, bamalayika ne bajja mu maaso ga Mukama, ne Setaani naye n’ajjiramu.

Read full chapter

Obulamu bwa Yobu Bukwatibwako

(A)Ku lunaku olulala bamalayika ne bajja okukiika mu maaso ga Mukama Katonda, ne Setaani naye n’ajjiramu.

Read full chapter

20 (A)Mwebaze Mukama mmwe bamalayika be,
    mmwe ab’amaanyi abakola ky’agamba,
    era abagondera ekigambo kye.
21 (B)Mwebaze Mukama mmwe amaggye ge ag’omu ggulu,
    mmwe abaweereza be abakola by’ayagala.

Read full chapter

Olugero lw’Endiga Eyabula

10 (A)“Mwekuume obutanyoomanga n’omu ku baana bano abato. Kubanga mbagamba nti bamalayika baabwe ennaku zonna babeera mu maaso ga Kitange ali mu ggulu.

Read full chapter

(A)Era ayogera ku bamalayika nti,

“Afuula bamalayika be ng’empewo,
    n’afuula n’abaweereza be ng’ennimi z’omuliro.”

Read full chapter

14 (A)Bamalayika bonna, myoyo egitumibwa okuweereza abo abagenda okusikira obulokozi.

Read full chapter