M’Cheyne Bible Reading Plan
9 (A)Nnabbi Erisa n’ayita omu ku bannabbi abato n’amugamba nti, “Weesibe ekimyu, otwale eccupa eno ey’amafuta, ogende nayo e Lamosugireyaadi. 2 Bw’otuuka eyo, onoonye Yeeku mutabani wa Yekosafaati, muzzukulu wa Nimusi, omuggye mu banne, omutwale mu kisenge eky’omunda. 3 (B)Oddire eccupa ey’amafuta, ogafuke ku mutwe gwe, oyogere nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama nti: Nkufukako amafuta okuba kabaka wa Isirayiri.’ Oluvannyuma oggulewo oluggi odduke, so tolwawo n’akatono.”
4 Awo omuvubuka nnabbi n’agenda e Lamosugireyaadi. 5 Bwe yatuuka, n’asanga ng’abaserikale abakulu ab’omu ggye bakuŋŋaanye n’ayogera nti, “Nnina obubaka bwo, ssebo omuduumizi.” Yeeku n’amubuuza nti, “Bw’ani ku ffe ffenna?” N’amuddamu nti, “Bubwo, ggwe omuduumizi.”
6 (C)Yeeku n’asituka n’ayingira mu nnyumba, nnabbi n’amufukako amafuta, n’ayogera nti, “Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda wa Isirayiri nti, ‘Nkufukako amafuta okuba kabaka w’abantu ba Mukama, Abayisirayiri. 7 (D)Olizikiriza ennyumba ya Akabu mukama wo, nga mpalana eggwanga olw’omusaayi gw’abaddu ba Mukama bonna, Yezeberi gwe yayiwa. 8 (E)Ennyumba yonna eya Akabu erisaanyizibwawo, era ndizikiririza ddala buli mwana wabulenzi, oba muddu oba wa ddembe mu Isirayiri. 9 (F)Ndifuula ennyumba ya Akabu okuba ng’ennyumba ya Yerobowaamu mutabani wa Nebati, era n’okufaanana ng’ennyumba ya Baasa mutabani wa Akiya. 10 (G)N’embwa ziririira Yezeberi mu kibanja eky’e Yezuleeri era tewaliba muntu n’omu amuziika.’ ” Oluvannyuma olw’okwogera ebyo n’aggulawo oluggi n’adduka. 11 (H)Yeeku bwe yafuluma okugenda eri bakungu banne, omu ku bo n’amubuuza nti, “Kiri bulungi? Omulalu oyo abadde akunoonyeza ki?”
Yeeku n’addamu nti, “Omusajja mumumanyi n’enjogera ye mugimanyi.”
12 Ne bamugamba nti, “Ekyo si kituufu! Tutegeeze amazima.” Yeeku n’ayogera nti, “Bw’ati bw’aŋŋambye nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama nti nkufukako amafuta okuba kabaka wa Isirayiri.’ ”
13 (I)Ne banguwa okuggyako eminagiro gyabwe, ne bagyaliira wansi ku madaala, ne bafuuwa ekkondeere, nga bwe baleekaana nti, “Yeeku ye kabaka.”
Yeeku atta Yolaamu ne Akaziya
14 (J)Awo Yeeku mutabani wa Yekosafaati, muzzukulu wa Nimusi n’asalira Yolaamu olukwe. Yolaamu wamu ne Isirayiri yenna baali bakuuma e Lamosugireyaadi, Kazayeeri kabaka w’e Busuuli aleme okubalumba. 15 (K)Naye Yolaamu yali azeeyo e Yezuleeri okujjanjabibwa ebiwundu Abasuuli bye baali bamutaddeko, mu kulwanagana ne Kazayeeri kabaka w’e Busuuli. Yeeku n’ayogera nti, “Bwe muba nga bwe mutyo bwe muwulira, kale waleme okubaawo omuntu yenna atoloka okuva mu kibuga anaabunyisa amawulire mu Yezuleeri.” 16 (L)N’alinnya mu ggaali lye, n’agenda e Yezuleeri, kubanga Yolaamu yali awummulidde eyo, nga ne Akaziya aserengese okugenda okumulabako.
17 (M)Awo omukuumi eyali mu kigo mu Yezuleeri, bwe yalengera ekibinja kya Yeeku nga kijja, n’akoowoola mu ddoboozi ery’omwanguka ng’agamba nti, “Waliwo ekibinja kye nnengera ekijja.”
Yolaamu n’alagira nti, “Mufune omu ku beebagala embalaasi, mumutume agende abasisinkane, ababuuze nti, ‘Mujja mirembe?’ ”
18 Awo eyeebagala embalaasi n’agenda okusisinkana Yeeku, n’amugamba nti, “Kabaka abuuza nti, ‘Mujja mirembe?’ ”
Yeeku n’amuddamu nti, “Emirembe ogifaako ki? Kyuka odde ennyuma wange ongoberere.” Omukuumi eyali mu kigo n’ayogera nti, “Atuuse gye bali, naye tadda.”
19 Awo kabaka n’atuma eyeebagala embalaasi owookubiri. Bwe yatuuka we baali, n’ayogera nti, “Bw’ati bw’ayogera kabaka nti, ‘Mujja mirembe?’ ” Yeeku n’amuddamu nti, “Emirembe ogifaako ki? Kyuka odde ennyuma wange ongoberere.”
20 (N)Omukuumi n’addamu n’ayogera nti, “Oli naye atuuse, gye bali, naye tadda. N’enneebagala y’embalaasi efaanana ng’enneebala ya Yeeku muzzukulu wa Nimusi, kubanga enneebagala ye yakiralu.”
21 (O)Yolaamu n’ayogera nti, “Muteeketeeke eggaali lyange.” Bwe baamala okuliteekateeka, Yolaamu kabaka wa Isirayiri ne Akaziya kabaka wa Yuda, ne bafuluma ekibuga, buli omu ng’ali mu ggaali lye, ne bagenda okusisinkana Yeeku, era baamusisinkanira mu nnimiro eyali eya Nabosi Omuyezuleeri. 22 (P)Awo Yolaamu bwe yalaba Yeeku, n’amubuuza nti, “Ojja mirembe Yeeku?” Yeeku n’amuddamu nti, “Kiyinzika kitya okubaawo emirembe, nga wakyaliwo obwenzi n’obulogo bwa nnyoko Yezeberi?” 23 (Q)Amangwago Yolaamu n’akyusa n’adduka, ng’akoowoola Akaziya ng’agamba nti, “Akaziya waliwo olukwe!”
24 (R)Awo Yeeku n’aggyayo omutego gwe n’obusaale bwe, n’amaanyi ge gonna n’anaanuula omutego n’alasa Yolaamu mu kibegabega, akasaale ne kafumita omutima gwe, n’agwa mu ggaali lye. 25 (S)Yeeku n’agamba Bidukali, omugoba we ggaali lye nti, “Mumuggyeemu, mumusuule mu nnimiro eyali eya Nabosi Omuyezuleeri. Ojjukira bwe twali tuvugira amagaali gaffe emabega wa Akabu kitaawe, Mukama n’ayogera nti ekintu kino kirimutuukako. 26 (T)‘Mazima ddala, nga jjo bwe nnalabye omusaayi gwa Nabosi n’omusaayi gw’abaana be, siireme kukusasulira mu kibanja kino kyennyini,’ bw’ayogera Mukama. Kaakano mumusitule mumusuule mu kibanja ekyo ng’ekigambo kya Mukama bwe kiri.”
27 (U)Awo Akaziya kabaka wa Yuda bwe yalaba ebyabaawo, n’addukira mu kkubo ery’omu nnyumba ey’ennimiro. Yeeku n’amugoba, nga bw’ayogerera waggulu nti, “Naye mumutte!” Ne bamulasa, ne bamuleetako ekiwundu ng’addukira e Guli ekiriraanye Ibuleamu, ng’ali mu ggaali lye, naye n’asobola okutuuka e Megiddo, era eyo gye yafiira. 28 (V)Abaddu be ne bateeka omulambo gwe mu ggaali ne bagutwala e Yerusaalemi, ne bamuziika mu ntaana ye ku biggya bya bajjajjaabe mu kibuga kya Dawudi. 29 (W)Awo mu mwaka ogw’ekkumi n’ogumu ogw’obufuzi bwa Yolaamu mutabani wa Akabu, Akaziya n’atandika okufuga Yuda.
Okufa kwa Yezeberi
30 (X)Yeeku n’agenda Yezeberi gye yali, Yezeberi n’akimanya, n’asiiga amaaso ge, n’alongoosa enviiri ze, n’atunula ebweru ng’asinziira mu ddirisa. 31 (Y)Awo Yeeku bwe yali ng’ayingirira mu wankaaki, Yezeberi n’amubuuza nti, “Ojja mirembe, ggwe Zimuli, eyatemula mukama wo?”
32 Yeeku n’ayimusa amaaso ge waggulu, n’akoowoola ng’abuuza nti, “Ani ali ku ludda lwange? Ani?” Abalaawe babiri oba basatu ne balingiza mu ddirisa. 33 (Z)N’ayogera nti, “Mumusuule wansi!” Ne bamusuula wansi, n’omusaayi gwe ogumu ne gumansukira ekisenge ne ku mbalaasi, n’okumulinyirira ne zimulinnyirira.
34 (AA)Awo Yeeku n’ayingira, n’alya era n’anywa. N’ayogera nti, “Mulabirire omulambo gw’omukazi oyo eyakolimirwa, era mulabe nga guziikibwa kubanga yali mumbejja.” 35 Naye bwe bagutuukako, tebaalina kye basangawo okuggyako akawanga ke, n’ebigere bye, n’ebibatu by’emikono gye. 36 (AB)Ne baddayo eri Yeeku ne bamutegeeza. N’abagamba nti, “Kino kye kigambo kya Mukama, kye yayogerera mu muddu we Eriya Omutisubi ng’agamba nti, ‘Mu kibangirizi ky’e Yezuleeri, embwa mwe ziririira omulambo gwa Yezeberi. 37 (AC)Era omulambo gwa Yezeberi guliba ng’obusa ku ttale mu kibangirizi ky’e Yezuleeri, omuntu yenna aleme okugamba nti, Ono ye Yezeberi.’ ”
Eby’abaddu ne Bakama baabwe
6 (A)Abo bonna abali mu kikoligo ky’obuddu, basaana okussaamu bakama baabwe ekitiibwa, erinnya lya Katonda, awamu n’okuyigiriza kwaffe bireme kuvvoolebwa. 2 (B)Abaddu abalina bakama baabwe abakkiriza tebabanyoomanga, okubanga baganda baabwe, wabula bonna bongere bwongezi okubaweereza, kubanga bakkiriza era baagalwa, era be bayambibwa olw’okuweereza kwabwe okulungi.
Omugaso gw’okussaamu Katonda Ekitiibwa
Bino bibayigirizenga era obibakuutirenga. 3 (C)Omuntu yenna bw’ayigirizanga mu ngeri endala, nga takkiriziganya na bigambo ebya Mukama waffe Yesu Kristo ebireeta obulamu n’okugobereranga enjigiriza ey’okutya Katonda, 4 (D)aba ajjudde okwekuluntaza era aba taliiko ky’ategeera naye aba aguddemu akazoole ak’okubuzaabuza mu buli kintu, n’okuwakana ku buli kigambo n’ekivaamu bwe buggya, n’okuyomba, n’okuvuma, n’okuwaayira, 5 (E)n’okukaayana. Ebyo bikolebwa abantu abaayonooneka ebirowoozo, abatakyalina mazima, abalowooza ng’okufuna amagoba kwe kutya Katonda. 6 (F)Weewaawo okutya Katonda kulimu amagoba mangi, omuntu bw’amalibwa mu ekyo ky’alina. 7 (G)Kubanga tetulina kye twajja nakyo mu nsi, era tetuliiko kye tuliggyamu nga tuvaamu. 8 (H)Naye bwe tuba n’emmere, n’ebyokwambala ebyo bitumalenga. 9 (I)Abo abaagala okugaggawala bagwa mu kukemebwa ne mu katego ak’okwegomba okw’obusirusiru era okw’akabi, okunnyika abantu mu kubula ne mu kuzikirira. 10 (J)Kubanga okululunkanira ensimbi y’ensibuko y’ebibi byonna, era olw’okululunkana okwo abamu bawabye, ne bava mu kukkiriza, ne beereetera obulumi bungi mu mitima gyabwe.
Okulabula
11 (K)Naye ggwe, omuntu wa Katonda, ddukanga ebintu ebyo, ogobererenga obutuukirivu, n’okutya Katonda, n’okukkiriza, n’okwagala, n’okugumiikiriza, n’obuwombeefu. 12 (L)Lwananga okulwana okulungi okw’okukkiriza, nywezanga obulamu obutaggwaawo bwe wayitirwa, n’oyatula okwatula okulungi mu maaso g’abajulirwa abangi. 13 (M)Nkukuutira mu maaso ga Katonda, awa byonna obulamu, ne mu maaso ga Kristo Yesu eyayatula okwatula okulungi mu maaso ga Pontiyo Piraato, 14 okuumenga ekiragiro nga tekiriiko bbala, wadde eky’okunenyezebwa okutuusa ku kulabika kwa Mukama waffe Yesu Kristo, 15 (N)kw’aliraga mu ntuuko zaakwo, aweebwa omukisa era nnannyini buyinza yekka, Kabaka wa bakabaka bonna, era Mukama wa bakama, 16 (O)ye yekka atafa era atuula mu kwakaayakana okutasemberekeka, era tewali n’omu yali amulabye, so tewali asobola kumulaba, oyo aweebwe ekitiibwa, n’obuyinza obutaggwaawo, Amiina.
Okulabula Abagagga
17 (P)Okuutirenga abagagga ab’omu mirembe gya kaakano, obuteekuluntaza, wadde okwesiga obugagga kubanga si bwa lubeerera, wabula beesige Katonda atuwa byonna olw’okwesanyusanga, 18 (Q)bakole ebirungi, babe bagagga mu bikolwa ebirungi, nga bagabi, era abaagala okugabana n’abalala. 19 (R)Bwe batyo beeterekere obugagga obw’engeri eyo nga gwe musingi omulungi ogw’ebiseera ebigenda okujja, balyoke banywezenga obulamu bwennyini.
20 (S)Timoseewo, kuumanga kye wateresebwa. Weewalenga ebigambo ebivvoola, era ebitaliimu nsa, n’empaka ez’ebigambo ebiyitibwa eby’amagezi naye nga bya bulimba, 21 (T)abantu abamu ge balowooza okuba nago, ne basubwa ekigendererwa mu kukkiriza.
Ekisa kibeerenga nammwe.
1 (A)Buno bwe bubaka bwa Mukama bwe yawa Koseya mutabani wa Beeri mu mulembe gwa Uzziya, n’ogwa Yosamu, n’ogwa Akazi n’ogwa Keezeekiya, nga be bakabaka ba Yuda, ne mu mulembe gwa Yerobowaamu mutabani wa Yowaasi, nga ye kabaka wa Isirayiri.
Koseya Afuna Amaka
2 (B)Awo Mukama bwe yasooka okwogera eri Koseya, yamulagira nti, “Ggenda owase omukazi malaaya, omuzaalemu abaana, era banaayitibwanga abaana aboobwamalaaya, kubanga ensi eyitirizza okukola ekibi eky’obwenzi, n’eva ku Mukama.” 3 Awo n’awasa Gomeri muwala wa Dibulayimu, n’aba olubuto, n’amuzaalira omwana wabulenzi.
4 (C)Mukama n’agamba Koseya nti, “Mmutuume erinnya Yezuleeri, kubanga nnaatera okubonereza ennyumba ya Yeeku, olw’okuyiwa omusaayi gw’abantu ab’e Yezuleeri, era ndimalawo obwakabaka bwa Isirayiri. 5 (D)Ku lunaku olwo omutego gwa Isirayiri ndigumenyera mu Kiwonvu kya Yezuleeri.”
6 (E)Gomeri n’aba olubuto olulala, n’azaala omwana wabuwala. Mukama n’agamba Koseya nti, “Mmutuume erinnya Lolukama, kubanga ennyumba ya Isirayiri ndiba sikyagyagala, si kulwa nga mbasonyiwa. 7 (F)Naye ab’ennyumba ya Yuda ndibaagala, era ndibalokola, si na kasaale, newaakubadde ekitala, newaakubadde entalo, newaakubadde embalaasi newaakubadde abeebagala embalaasi, wabula nze kennyini Mukama Katonda waabwe nze ndibaagala era ne mbalokola.”
8 Awo Gomeri bwe yamala okuggya Lolukama ku mabeere, n’aba olubuto olulala n’azaala omwana wabulenzi. 9 Mukama n’ayogera nti, “Mmutuume erinnya Lowami, kubanga temukyali bantu bange, nange sikyali Katonda wammwe.
10 (G)“Naye ekiseera kirituuka abantu ba Isirayiri ne baba bangi ng’omusenyu ogw’oku nnyanja, ogutayinzika kupimibwa newaakubadde okubalibwa olw’obungi bwagwo. Mu kifo ky’okuyitibwa abatali bantu bange, baliyitibwa, baana ba Katonda omulamu. 11 (H)Abantu ba Yuda baliddamu okwegatta n’abantu ba Isirayiri ne beerondamu omukulembeze, ne bava mu buwaŋŋanguse, era olunaku lwa Yezuleeri luliba lukulu.”
י Yoodi
73 (A)Emikono gyo gye gyankola ne gimmumba,
mpa okutegeera ndyoke njige amateeka go.
74 (B)Abo abakutya banandabanga ne basanyuka,
kubanga essuubi lyange liri mu kigambo kyo.
75 (C)Mmanyi, Ayi Mukama, ng’amateeka go matukuvu,
era wali mutuufu okumbonereza.
76 Kale okwagala kwo okutaggwaawo kumbeere kumpi kunsanyuse,
nga bwe wansuubiza, nze omuddu wo.
77 (D)Kkiriza okusaasira kwo kuntuukeko ndyoke mbeere mulamu;
kubanga mu mateeka go mwe nsanyukira.
78 (E)Ab’amalala baswazibwe, kubanga bampisizza bubi nga siriiko kye nkoze.
Naye nze nnaafumiitirizanga ku biragiro byo.
79 Abo abakutya bajje gye ndi,
abategeera amateeka go.
80 Mbeera, omutima gwange guleme kubaako kya kunenyezebwa mu mateeka go,
nneme kuswazibwa!
כ Kaafu
81 (F)Emmeeme yange erumwa nnyo ennyonta ng’eyaayaanira obulokozi bwo,
essuubi lyange liri mu kigambo kyo.
82 (G)Ntunuulidde ebbanga ddene n’amaaso gange ne ganfuuyirira nga nninda okutuukirira kw’ekisuubizo kyo;
ne neebuuza nti, “Olinsanyusa ddi?”
83 Newaakubadde nga nfuuse ng’ensawo ey’eddiba, eya wayini eri mu mukka[a],
naye seerabira bye walagira.
84 (H)Ayi Mukama, nze omuddu wo nnaalindirira kutuusa ddi
nga tonnabonereza abo abanjigganya?
85 (I)Abantu ab’amalala abatatya Katonda bansimidde ebinnya mu kkubo;
be bo abatagondera mateeka go.
86 (J)Amateeka go gonna geesigibwa;
abo abatakwagala banjigganyiza bwereere; nkusaba onnyambe!
87 (K)Baali kumpi okunzikiririza ddala ku nsi kuno;
naye nze sivudde ku ebyo bye walagira.
88 Olw’okwagala kwo okutaggwaawo ndekera obulamu bwange,
ndyoke nkuume ebyo bye walagira ebiva mu kamwa ko.
ל Lamedi
89 (L)Ayi Mukama, Ekigambo kyo kinywevu mu ggulu,
kya mirembe gyonna.
90 (M)Obwesigwa bwo tebuggwaawo emirembe gyonna;
watonda ensi era enyweredde ddala.
91 (N)Amateeka go na buli kati manywevu;
kubanga ebintu byonna bikuweereza.
92 Singa nnali sisanyukira mu mateeka go,
nandizikiridde olw’obulumi bwe nalimu.
93 Siyinza kwerabira biragiro byo;
kubanga mu ebyo obulamu bwange mw’obufuulidde obuggya.
94 Ndi wuwo, ndokola,
kubanga neekuumye bye walagira.
95 Newaakubadde ng’abakola ebibi beekukumye nga banteeze okunzikiriza;
naye nze nyweredde ku ebyo bye walagira.
96 Ebintu byonna biriko we bikoma
naye amateeka go tegakugirwa.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.