Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

M’Cheyne Bible Reading Plan

The classic M'Cheyne plan--read the Old Testament, New Testament, and Psalms or Gospels every day.
Duration: 365 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Okubala 10

Amakondeere Aga Ffeeza

10 Mukama n’agamba Musa nti, (A)“Weesa mu ffeeza amakondeere abiri ogakozesenga okuyitanga abantu bonna okukuŋŋaana, era n’okubalagira okuggyawo ensiisira zaabwe. Amakondeere gombi bwe ganaafuuyibwanga, ekibiina ky’abantu bonna banaakuŋŋaaniranga w’oli ku mulyango gwa Weema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu. (B)Naye bwe banaafuuwangako erimu, olwo abakulembeze, be bakulu b’ebika bya Isirayiri, be banaakuŋŋaaniranga w’oli. (C)Amakondeere ag’omwanguka bwe ganaafuuyibwanga, ebika ebinaabanga bisiisidde ku luuyi olw’ebuvanjuba binaasitulanga okutambula. (D)Ate bwe banaafuuwanga ag’omwanguka omulundi ogwokubiri, ensiisira ezinaabanga mu bukiikaddyo, zinaasitulanga okutambula. Amakondeere ag’omwanguka ke kanaabanga akabonero akanaabategeezanga nti basitule batambule. (E)Naye bwe kineetaagisanga okukuba olukuŋŋaana, onoofuuwanga amakondeere naye tegaabenga ga mwanguka.

(F)“Abaana ba Alooni, bakabona, be banaafuuwanga amakondeere. Lino linaabanga tteeka ery’enkalakkalira mu mmwe ne mu mirembe egigenda okujja. (G)Bwe munaagendanga okutabaala omulabe abajoogerereza mu nsi yammwe, mufuuwanga amakondeere ag’omwanguka. Bwe mutyo munajjukirwanga Mukama Katonda, era anaabawonyanga abalabe bammwe. 10 (H)Mu biseera eby’essanyu, ne ku mbaga zammwe entongole ne ku mbaga z’omwezi ogwakaboneka, munaafuuwanga amakondeere nga bwe muwaayo ebiweebwayo byammwe ebyokebwa n’ebiweebwayo byammwe olw’emirembe, era binaabanga bijjukizo byammwe awali Mukama Katonda wammwe. Nze Mukama Katonda wammwe.”

Okuva mu Sinaayi

11 (I)Awo olwatuuka ku lunaku olw’amakumi abiri mu mwezi ogwokubiri mu mwaka ogwokubiri, ekire ne kisitulibwa okuva waggulu wa Weema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu. 12 Abaana ba Isirayiri ne basitula ne batambula okuva mu Ddungu lya Sinaayi, oluvannyuma ekire ne kiyimirira mu Ddungu lya Palani. 13 (J)Ogwo gwe gwali omulundi omubereberye okusitula okutambula nga bagendera ku kiragiro kya Mukama Katonda kye yayisa mu Musa.

14 (K)Olusiisira lw’abaana ba Yuda lwe lwasooka okusitula okutambula, nga bakulemberwa ebendera yaabwe; Nakusoni mutabani wa Amminadaabu nga ye muduumizi waabwe. 15 Nesaneri mutabani wa Zuwaali ye yaduumira ekibinja ky’ekika kya Isakaali, 16 ne Eriyaabu mutabani wa Keroni n’aduumira ekibinja ky’ekika kya Zebbulooni. 17 (L)Eweema ya Mukama n’esimbulwa, batabani ba Gerusoni ne batabani ba Merali abaagyetikkanga ne basitula ne batambula.

18 (M)Ebibinja by’omu lusiisira lwa Lewubeeni bye byaddako okusitula okutambula awamu n’ebendera yaabyo, nga biduumirwa Erizuuli mutabani wa Sedewuli. 19 Serumiyeeri mutabani wa Zulisadaayi ye yaduumira ekibinja ky’ekika kya Simyoni, 20 ne Eriyasaafu mutabani wa Deweri n’aduumira ekibinja ky’ekika kya Gaadi. 21 (N)Abakokasi ne basitula okutambula nga beetisse ebintu ebitukuvu. Eweema ya Mukama ng’emala kusimbibwa, nabo ne balyoka batuuka.

22 (O)Ebibinja by’omu lusiisira lwa Efulayimu bye byaddirira okusitula okutambula awamu n’ebendera yaabyo; Erisaama mutabani wa Ammikudi nga ye muduumizi waabyo. 23 Gamalyeri mutabani wa Pidazuuli ye yaduumira ekibinja ky’ekika kya Manase; 24 ne Abidaani mutabani wa Gidyoni n’aduumira ekibinja ky’ekika kya Benyamini.

25 (P)Ku nkomerero ya byonna, ebibinja by’omu lusiisira lwa Ddaani, nga bye bikuuma emabega, ne bisitula okutambula n’ebendera yaabyo nga bikoobedde ensiisira zonna; Akiyezeeri mutabani wa Amisadaayi nga ye muduumizi waabyo. 26 Pagiyeeri mutabani wa Okulaani ye yaduumira ekibinja ky’ekika kya Aseri; 27 ne Akira mutabani wa Enani n’aduumira ekibinja ky’ekika kya Nafutaali. 28 Eyo ye yali entegeka ey’abaana ba Isirayiri ng’ebibinja byabwe bwe byali nga basitula okutambula.

29 (Q)Awo Musa n’agamba mukoddomi we Kobabu mutabani wa Leweri Omumidiyaani nti, “Tusitula okutambula okugenda mu kifo Mukama kye yatugamba nti, ‘Ndikibawa.’ Kale nno, jjangu tugende ffenna tulikuyisa bulungi, kubanga Mukama yasuubiza Isirayiri ebintu ebirungi.”

30 (R)Naye n’addamu nti, “Nedda, sijja kugenda nammwe, nzirayo mu nsi ye waffe era mu bantu bange.”

31 (S)Naye Musa n’amugamba nti, “Nkwegayiridde totuleka. Ggwe omanyi obulungi eddungu gye tusaanye okukuba olusiisira lwaffe, ggwe ojja okubeera amaaso gaffe. 32 (T)Singa ojja ne tugenda ffenna, tunaagabaniranga wamu buli kirungi kyonna Mukama ky’anaatuwanga.”

Essanduuko ey’Endagaano, n’Ekire Ekikulemberamu

33 (U)Awo ne basitula okuva ku lusozi lwa Mukama Katonda ne batambulira ennaku ssatu. Essanduuko ya Mukama ey’Endagaano n’ebakulemberanga okumala ennaku ezo essatu ng’ebanoonyeza ekifo eky’okuwummuliramu. 34 (V)Buli lwe baasitulanga okutambula nga bava mu lusiisira, ekire kya Mukama Katonda kyabeeranga waggulu waabwe buli budde bwa misana.

35 (W)Buli abeetissi b’Essanduuko ya Mukama Katonda lwe baasitulanga okutambula, Musa n’agamba nti,

“Golokoka, Ayi Mukama!
    Abalabe bo basaasaane;
    amaggye agakulwanyisa gakudduke.”

36 (X)Buli Ssanduuko ya Mukama Katonda lwe yawummuzibwanga, Musa n’agamba nti,

“Komawo, Ayi Mukama,
    eri enkumi n’enkumi eza Isirayiri.”

Zabbuli 46-47

Ya Mukulu wa Bayimbi: Zabbuli ya Batabani ba Koola.

46 (A)Katonda kye kiddukiro kyaffe, era ge maanyi gaffe;
    omubeezi ddala atabulawo mu kulaba ennaku.
(B)Kyetunaavanga tulema okutya, ensi ne bw’eneeyuuguumanga,
    ensozi ne bwe zinaasiguulukukanga ne zigwa mu buziba bw’ennyanja;
(C)amazzi g’ennyanja ne bwe ganaayiranga ne gabimba ejjovu
    ensozi ne zikankana olw’okwetabula kwago.

(D)Waliwo omugga, emyala gyagwo gisanyusa ekibuga kya Katonda,
    kye kifo ekitukuvu ekya Katonda Ali Waggulu Ennyo.
(E)Tekirigwa kubanga Katonda mw’abeera.
    Katonda anaakirwaniriranga ng’obudde bunaatera okukya.
(F)Amawanga geetabula, obwakabaka bugwa;
    ayimusa eddoboozi lye ensi n’esaanuuka.

(G)Mukama ow’Eggye ali naffe,
    Katonda wa Yakobo kye kigo kyaffe.

(H)Mujje, mulabe Mukama by’akola,
    mulabe nga bw’afaafaaganya ensi.
(I)Y’akomya entalo mu nsi yonna;
    akutula emitego gy’obusaale, effumu alimenyaamenya;
    amagaali n’engabo abyokya omuliro.
10 (J)Musiriikirire mutegeere nga nze Katonda.
    Nnaagulumizibwanga mu mawanga.
    Nnaagulumizibwanga mu nsi.

11 Katonda ow’Eggye ali naffe;
    Katonda wa Yakobo kye kigo kyaffe.

Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Batabani ba Koola.

47 (K)Mukube mu ngalo mmwe amawanga gonna;
    muyimuse amaloboozi muyimbire nnyo Katonda ennyimba ez’essanyu;
(L)Mukama Ali Waggulu Ennyo wa ntiisa.
    Ye Kabaka afuga ensi yonna.
(M)Yatujeemululira abantu,
    n’atujeemululira amawanga ne tugafuga.
(N)Yatulondera omugabo gwaffe,
    Yakobo gw’ayagala mwe yeenyumiririza.

(O)Katonda alinnye waggulu ng’atenderezebwa mu maloboozi ag’essanyu eringi.
    Mukama alinnye nga n’amakondeere gamuvugira.
(P)Mutendereze Katonda, mumutendereze.
    Mumutendereze Kabaka waffe, mumutendereze.[a]
(Q)Kubanga Katonda ye Kabaka w’ensi yonna,
    mumutendereze ne Zabbuli ey’ettendo.

(R)Katonda afuga amawanga gonna;
    afuga amawanga ng’atudde ku ntebe ye entukuvu.
(S)Abakungu bannaggwanga bakuŋŋanye
    ng’abantu ba Katonda wa Ibulayimu;
kubanga Katonda y’afuga abakulembeze b’ensi.
    Katonda agulumizibwenga nnyo.

Oluyimba 8

Singa wali muganda wange eyakuzibwa mmange
    era eyayonka amabeere ga mmange,
nandikusanze ebweru
    nandikunywegedde
    ne wataba n’omu annyooma.
(A)Nandikukulembedde
    ne nkuleeta mu nnyumba ya mmange,
    oyo eyangigiriza.
Nandikuwadde wayini okunywa ng’alimu ebyakaloosa,
    omubisi ogw’amakomamawanga gange.
(B)Omukono gwe ogwa kkono guli wansi wa mutwe gwange
    n’omukono gwe ogwa ddyo gumpambaatira.
(C)Mmwe abawala ba Yerusaalemi mbakuutira,
    temusiikuula newaakubadde okuzuukusa okwagala
    okutuusa ng’ekiseera ekituufu kituuse.

Abemikwano

(D)Ani oyo gwe tulengera ng’ava mu ddungu
    nga yeesigamye muganzi we?

Omwagalwa

Nakuzuukusa ng’oli wansi w’omuti ogw’omucungwa.
    Eyo maama wo gye yafunira olubuto era eyo
    maama wo gye yakuzaalira mu bulumi obungi.
(E)Nteeka ng’akabonero ku mutima gwo,
    era ng’akabonero ku mukono gwo,
kubanga okwagala kwa maanyi ng’okufa,
    obuggya bwakwo buli ng’obusungu obw’emagombe.
Kwaka ng’ennimi ez’omuliro,
    omuliro ogwaka n’amaanyi ennyo.
(F)Amazzi amangi tegamalaawo nnyonta ya kwagala
    n’emigga tegiyinza kukumalawo.
Singa omuntu awaayo
    obugagga bwe bwonna obw’ennyumba ye okufuna okwagala,
    asekererwa nnyo.

Abemikwano

Tulina muto waffe
    atannamera mabeere,
naye tulikola tutya
    bw’alituuka okwogerezebwa?
Singa abadde bbugwe
    twandimuzimbyeko eminaala egya ffeeza,
singa abadde luggi
    twandimuggalidde na mivule.

Omwagalwa

10 Ndi bbugwe
    era n’amabeere gange gali ng’ekitikkiro,
noolwekyo mu maaso ge,
    mmufuukidde aleeta emirembe.
11 (G)Sulemaani yalina ennimiro y’emizabbibu e Baaluka Kamooni,
    n’agisigira abalimi.
Buli omu ku bo yamusalira
    ebitundu bya ffeeza lukumi.
12 (H)Ennimiro yange ey’emizabbibu, yange,
    ebitundu olukumi bibyo ggwe Sulemaani,
    ebitundu ebikumi bibiri by’abo abalabirira ennimiro.

Owoomukwano

13 Ggwe abeera mu nnimiro
    ne mikwano gyo nga weebali,
    ka mpulire eddoboozi lyo.

Omwagalwa

14 (I)Yanguwa okuvaayo eyo,
    odduke mangu ng’empeewo
oba ng’ennangaazi ento,
    oddukire ku nsozi ezijjudde ebyakaloosa.

Abaebbulaniya 8

Kabona Omukulu ow’Endagaano Empya

(A)Ekigambo ekikulu ekiri mu bye twogedde kye kino nti, Tulina Kabona Asinga Obukulu, atudde ku mukono ogwa ddyo, ogw’entebe ya Katonda ey’obwakabaka mu ggulu, (B)omuweereza w’ebitukuvu, era ow’eweema ey’Okukuŋŋaanirangamu ey’amazima, etaazimbibwa bantu wabula Mukama.

(C)Kubanga Kabona Asinga Obukulu yenna alondebwa olw’omulimu ogw’okuwaayo ebirabo ne ssaddaaka, bwe kityo n’oyo kyamugwanira okuba n’ekintu ky’awaayo. (D)Singa yali ku nsi, teyandibadde kabona kubanga waliwo bakabona abawaayo ebirabo ng’amateeka bwe galagira. (E)Kye bakola kifaananako bufaananyi era kisiikirize ky’ebyo ebikolebwa mu ggulu. Musa kyeyava alabulwa, bwe yali ng’anaatera okumaliriza weema, Mukama n’amugamba nti, “Bw’oba ng’ozimba, goberera entegeka yonna eyakulagirwa ku lusozi.” (F)Naye kaakano omulimu Yesu gwe yaweebwa, gusinga nnyo ogwa bali obukulu, kubanga n’endagaano gy’alimu ng’omutabaganya y’esinga obulungi, n’ebisuubizo kw’enyweredde, bye bisinga obulungi.

(G)Singa endagaano eyasooka teyaliiko kyakunenyezebwa, tewandibaddewo kyetaagisa yaakubiri. (H)Kubanga bw’abanenya ayogera nti,

“Laba ennaku zijja,” bw’ayogera Mukama,
    “ndiragaana endagaano empya n’ennyumba ya Isirayiri,
awamu n’ennyumba ya Yuda.
(I)Endagaano eno empya terifaanana n’eri gye nalagaana ne bajjajjaabwe
    lwe nabakwata ku mukono okubaggya mu nsi y’e Misiri.
Olw’okubanga tebaagoberera ndagaano yange,
    nange ssaabassaako mwoyo,”
    bw’ayogera Mukama.
10 (J)“Eno y’endagaano gye ndiragaana n’ennyumba ya Isirayiri,
    oluvannyuma lw’ennaku ezo, bw’ayogera Mukama.
Ndissa amateeka gange mu birowoozo byabwe
    era ndiwandiika amateeka gange ku mitima gyabwe,
nange nnaabeeranga Katonda waabwe,
    nabo banaabeeranga bantu bange.
11 (K)Era tewaliba nate muntu ayigiriza munne oba muliraanwa we, oba muganda we ng’agamba nti,
    ‘Manya Mukama,’
Kubanga okuva ku muto okutuuka ku mukulu
    bonna balimmanya.
12 (L)Era ndibasaasira,
    n’ebibi byabwe siribijjukira nate.”

13 (M)Katonda bw’ayogera ku ndagaano empya, olwo ng’andibizza ey’edda; n’eyo gy’adibizza n’okukaddiwa n’ekaddiwa, eriggwaawo.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.