Add parallel Print Page Options

16 (A)Abantu b’e Ttuulo abaatuulanga mu Yerusaalemi, baaleetanga ebyennyanja n’ebyamaguzi eby’engeri ez’enjawulo, nga babitunza abantu ba Yuda mu Yerusaalemi ku Ssabbiiti.

Read full chapter

18 (A)Bajjajjammwe tebaakola bintu bye bimu, Katonda waffe n’alyoka aleeta ekikangabwa kino kyonna ku ffe ne ku kibuga kyaffe kino? Kaakano mwongera kusiikula kiruyi kirala eri Isirayiri nga mwonoona Ssabbiiti?”

Read full chapter

27 (A)Naye bwe mutaŋŋondere kukuuma lunaku lwa Ssabbiiti nga lutukuvu ne mwetikkirako emigugu gyammwe nga mufuluma mu nguudo za Yerusaalemi ku lunaku olwa Ssabbiiti, ndikoleeza omuliro ogutazikira mu miryango gya Yerusaalemi oguliyokya ebigo byakyo.’ ”

Read full chapter

38 Ne kino bakinkoze. Mu kiseera kyekimu boonoonye ekifo kyange ekitukuvu, era boonoonye ne Ssabbiiti zange.

Read full chapter

(A)nga mwogera nti,

“Ennaku enkulu ez’Omwezi ogwa kaboneka ziggwaako ddi,
    tulyoke tutunde emmere yaffe ey’empeke,
era ne Ssabbiiti eggwaako ddi,
    tutunde eŋŋaano yaffe?”
Mukozesa minzaani enkyamu
    ne mwongera emiwendo
    ne mukozesa n’ebipimo ebitatuuse,

Read full chapter

11 naye mu mwaka ogw’omusanvu ettaka olirekanga ne liwummula, abaavu mu mmwe basobolenga okulya ku mmere okuva mu bimererezi; eneefikkangawo ebisolo by’omu nsiko binaagiryanga. Era bw’otyo bw’onookolanga n’ennimiro zo ez’emizabbibu n’ez’emizeeyituuni.

Read full chapter

Omwaka gwa Ssabbiiti

25 Mukama Katonda yagamba Musa ku lusozi Sinaayi nti, “Tegeeza abaana ba Isirayiri nti bwe mutuukanga mu nsi gye mbawa, ensi yennyini eneekuumiranga Mukama Katonda ssabbiiti. (A)Okumala emyaka mukaaga ennimiro zammwe munaazisigangamu emmere, era mu myaka egyo omukaaga munaasaliranga emizabbibu gyammwe n’ebibala ne mubikungula. Naye mu mwaka ogw’omusanvu ettaka ly’ensi eyo linaabanga ne ssabbiiti ey’okuwummula eri Mukama Katonda. Temusiganga mmere mu nnimiro zammwe wadde okusalira emizabbibu gyammwe. Ebimera ebyekuzizza byokka, ebimererezi, temubikungulanga wadde okunoga ebibala ku mizabbibu gyammwe egitaasalirwa. Omwaka ogwo ettaka ly’ensi linaaguwummulanga. (B)Ebyo byonna ebyokulya ebinaavanga mu ttaka mu mwaka ogwa ssabbiiti yaalyo binaabanga mmere yammwe, mmwe bennyini, n’eri abaddu bammwe abasajja, n’abakazi, era n’abaweereza bammwe ab’empeera, n’abagenyi abanaabanga basula mu maka gammwe; era n’ente zammwe n’ensolo ez’omu nsiko ezinaabanga ku ttaka lyammwe. Buli ekyokulya ekinaakuliranga ku ttaka eryo kinaabanga mmere.

Read full chapter

Omwaka ogw’Okusonyiyirwangamu Amabanja

15 (A)Ku buli nkomerero y’omwaka ogw’omusanvu, amabanja gonna onoogasonyiwanga.

Read full chapter