Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

M’Cheyne Bible Reading Plan

The classic M'Cheyne plan--read the Old Testament, New Testament, and Psalms or Gospels every day.
Duration: 365 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
2 Bassekabaka 8

Omukyala Omusunammu Addizibwa Ebibye

(A)Mu biro ebyo Erisa n’agamba omukazi gwe yazuukiriza mutabani we nti, “Golokoka ove wano ogende n’ab’omu nnyumba yo bonna mu nsi gy’oliyinza okubeeramu, kubanga Mukama alireeta ekyeeya mu nsi okumala emyaka musanvu.” Omukazi n’asitukiramu n’akola ng’omusajja wa Katonda bwe yayogera, n’alaga ye n’ab’omu nnyumba ye mu nsi y’Abafirisuuti[a] okumala emyaka musanvu.

Oluvannyuma lw’emyaka omusanvu, n’akomawo okuva mu nsi y’Abafirisuuti, n’alaga eri kabaka okumwegayirira addizibwe ekibanja kye n’ennyumba ye. Mu kiseera ekyo kye kimu kabaka yali anyumyamu ne Gekazi omuweereza w’omusajja wa Katonda, nga kabaka amugambye nti, “Ntegeeza ebintu ebikulu byonna Erisa by’akoze.” (B)Awo Gekazi bwe yali ng’akyanyumiza kabaka, engeri Erisa bwe yazuukiza abafu, omukazi eyali ne mutabani we, Erisa gwe yazuukiza n’atuuka, okwegayirira kabaka ng’asaba ekibanja kye n’ennyumba ye. Gekazi n’ayogera nti, “Mukama wange kabaka, ono ye mukazi, era ne mutabani we Erisa gwe yazuukiza y’oyo.” Awo kabaka bwe yabuuza omukazi, n’amutegeeza nti bwe kyali. N’alyoka alagira omu ku bakungu amutereereze ensonga ze; n’amugamba nti, “Muddize buli kintu kyonna ekikye, n’obusuulu bwonna obwa kuŋŋaanyizibwa okuva mu kibanja kye okuva ku lunaku lwe yakivaamu okutuusa kaakano.”

Kazayeeri Atta Benikadadi

(C)Erisa n’agenda e Ddamasiko n’asanga Benikadadi kabaka w’e Busuuli ng’alwadde. Kabaka bwe yategeezebwa nti, “Omusajja wa Katonda atuuse mu kitundu,” (D)n’agamba Kazayeeri nti, “Ffuna ekirabo, ogende osisinkane omusajja wa Katonda, weebuuze ku Mukama ng’oyita mu ye oba, ndiwona endwadde eno.”

Kazayeeri n’agenda okusisinkana Erisa, n’amutwalira n’ebirabo eby’engeri zonna okuva e Ddamasiko[b], ku ŋŋamira amakumi ana. N’agenda n’ayimirira mu maaso ge, n’amugamba nti, “Mutabani wo Benikadadi kabaka w’e Busuuli antumye okukubuuza nti, ‘Ndiwona endwadde eno?’ ” 10 (E)Erisa n’amuddamu nti, “Genda omutegeeze nti, ‘Ojja kuwona;’ naye Mukama akimbikulidde nti talirema kufa.” 11 (F)N’amutunuulira n’amaaso ag’enkaliriza, okutuusa Kazayeeri bwe yakwatibwa ensonyi, omusajja wa Katonda n’atandika okukaaba.

12 (G)Kazayeeri n’abuuza nti, “Kiki ekikaabya mukama wange?” Erisa n’amuddamu nti, “Kubanga mmanyi obubi bw’olikola Abayisirayiri; olikuma omuliro ku bigo byabwe, n’otta abavubuka baabwe n’ekitala, n’osesebbulira abaana abato ku ttaka, era n’obaaga n’abakyala abali embuto.” 13 (H)Awo Kazayeeri n’addamu nti, “Nze ani omuddu wo, embwa obubwa, ayinza okukola ekintu ng’ekyo?” Erisa n’amuddamu nti, “Mukama akimbikulidde nti ggwe ogenda okubeera kabaka w’e Busuuli.” 14 Awo n’ava mu maaso ga Erisa, n’addayo eri mukama we. Benikadadi n’amubuuza nti, “Erisa yakugambye ki?” Kazayeeri n’amuddamu nti, “Yaŋŋambye nti eky’amazima ojja kuwona.” 15 (I)Naye olunaku olwaddirira, enkeera, n’addira ekiwero ekinene, n’akinnyika mu mazzi, n’akibikka ku maaso ga kabaka, okutuusa bwe yafa. N’oluvannyuma Kazayeeri n’alya obwakabaka mu kifo kye.

Yekolaamu, Kabaka wa Yuda

16 (J)Mu mwaka ogwokutaano nga Yolaamu mutabani wa Akabu ye kabaka wa Isirayiri, Yekolaamu mutabani wa Yekosafaati, kabaka wa Yuda, n’atandika okufuga Yuda. 17 Yalina emyaka amakumi asatu mu ebiri, we yaliira obwakabaka, era n’afugira emyaka munaana mu Yerusaalemi. 18 (K)Yekolaamu n’atambulira mu makubo ga bassekabaka ba Isirayiri ng’ab’ennyumba ya Akabu bwe baakola, n’okuwasa n’awasa omu ku bawala ba Akabu. N’akola ebibi mu maaso ga Mukama. 19 (L)Naye Mukama n’atazikiriza Yuda, ku lwa Dawudi omuddu we, gwe yasuubiza nti alireka ettabaaza ye ng’eyaka n’okutuusa ku bazzukulu be emirembe gyonna.

20 (M)Mu mirembe gya Yekolaamu, Edomu ne bajeemera obufuzi bwa Yuda, ne bassaawo kabaka owaabwe. 21 Awo Yekolaamu[c] n’asomoka n’agenda e Zayiri n’amagaali ge, n’agolokoka mu kiro n’abaduumizi be ne batta Abayedomu abaali bamuzingizza, olwo eggye lye ne lidduka okuddayo ewaabwe. 22 (N)Okuva mu kiseera ekyo Edomu n’ajeemera obufuzi bwa Yuda n’okutuusa ku lunaku lwa leero. Mu kiseera kye kimu ab’e Libuna nabo ne bajeema.

23 Ebyafaayo ebirala ebyabaawo ku mulembe gwa Yekolaamu, ne bye yakola byonna, tebyawandiikibwa mu kitabo eky’ebyomumirembe gya bassekabaka ba Yuda? 24 Yekolaamu n’afa n’aziikibwa ku biggya bya bajjajjaabe mu kibuga kya Dawudi. Akaziya mutabani we n’amusikira.

Akaziya, Kabaka wa Yuda

25 (O)Mu mwaka ogw’ekkumi n’ebiri nga Yolaamu mutabani wa Akabu ye kabaka wa Isirayiri, Akaziya mutabani wa Yekolaamu kabaka wa Yuda, n’atandika okufuga Yuda. 26 (P)Akaziya yalina emyaka amakumi abiri mu ebiri we yaliira obwakabaka, n’afugira omwaka gumu mu Yerusaalemi. Erinnya lya nnyina ye yali Asaliya[d], muzzukulu wa Omuli kabaka wa Isirayiri. 27 (Q)N’atambulira mu makubo ga b’ennyumba ya Akabu n’akola ebibi mu maaso ga Mukama, ng’ab’omu nnyumba ya Akabu bwe baakola, kubanga yali mukoddomi wa nnyumba ya Akabu.

28 (R)Akaziya n’agenda ne Yolaamu mutabani wa Akabu okutabaala Kazayeeri kabaka w’e Busuuli e Lamosugireyaadi, era eyo Abasuuli ne bafumitirayo Yolaamu, n’afunirayo ebiwundu. 29 (S)Awo kabaka Yolaamu n’addayo e Yezuleeri okumujjanjaba ebiwundu Abasuuli bye baamuleetako ng’ali e Lama, bwe yali ng’alwanagana ne Kazayeeri kabaka w’e Busuuli. Akaziya mutabani wa Yekolaamu kabaka wa Yuda n’aserengeta e Yezuleeri okulaba ku Yolaamu mutabani wa Akabu, kubanga yali afumitiddwa ebiwundu.

1 Timoseewo 5

Obuvunaanyizibwa bw’abakkiriza

(A)Tokambuwaliranga musajja mukulu, wabula omubuuliriranga nga kitaawo. Abavubuka bayisenga nga baganda bo, abakazi abakadde bayisenga ng’abazadde bo, abato nga bannyoko, ng’omutima gwo mulongoofu ddala.

(B)Bannamwandu ddala, bassengamu ekitiibwa. (C)Nnamwandu bw’abanga n’abaana oba abazzukulu basookenga okuyiga ebyo ebikolebwa mu maka ge waabwe, nga bassaayo omwoyo ku bazadde baabwe era n’okubalabirira. Kubanga ekyo kisanyusa Katonda. (D)Oyo aba nnamwandu ddala, asigadde yekka, essuubi lye aba alitadde mu Katonda, era anyiikire okwegayirira n’okusaba Katonda emisana n’ekiro. (E)Kyokka oyo nnamwandu eyeemalira mu masanyu, aba ng’afudde, newaakubadde ng’akyali mulamu. (F)Ebyo bibalagire, baleme kubaako kya kunenyezebwa. (G)Naye omuntu yenna bw’atalabirira bantu be, na ddala ab’omu nnyumba ye, aba yeegaanyi okukkiriza, era aba mubi okusinga atakkiriza.

Nnamwandu awezezza emyaka enkaaga ye yekka anaawandiikibwanga ku lukalala lwa bannamwandu. Era ateekwa kuba nga yafumbirwa omusajja omu, 10 (H)nga yakolanga ebikolwa ebirungi, oba nga yaleranga abaana, oba nga yayanirizanga abagenyi, oba nga yanaazanga abatukuvu ebigere, oba nga yayambanga abanyigirizibwa, era oba nga yeewangayo nnyo okukola obulungi mu buli ngeri.

11 Naye bannamwandu abakyali abato, tokkirizanga okubateeka ku lukalala lwa bannamwandu, kubanga omubiri bwe gulibalemesa okweweerayo ddala eri Kristo, balyagala okufumbirwa, 12 bwe batyo ne bessaako omusango olw’obutatuukiriza ekyo kye baasooka okusuubiza. 13 (I)N’ekirala bayiga okubeera abagayaavu ne batambulatambula mu buli nnyumba, so si bugayaavu kyokka, naye era balina olugambo, era beeyingiza mu bitali byabwe ne boogera n’ebitasaana. 14 (J)Kyenva njagala bannamwandu abato bafumbirwenga, bazaale abaana, era balabirire amaka gaabwe, baleme kuwa mulabe kkubo lya kutwogerako kibi. 15 (K)Kubanga bannamwandu abamu bakyamye ne bagoberera Setaani.

16 (L)Naye bwe wabaawo omukkiriza alina bannamwandu ab’olulyo lwe abalabirirenga, Ekkanisa ereme okuzitoowererwa, kiryoke kisoboke okulabirira bannamwandu abataliiko abayamba.

17 (M)Abakulembeze abafuga basaanidde okuweebwanga ekitiibwa kingi, na ddala abo abanyiikira ennyo mu kubuulira n’okuyigiriza ekigambo kya Katonda. 18 (N)Kubanga Ekyawandiikibwa kigamba nti, “Ente ng’ewuula eŋŋaano, togisibanga mumwa.” Era nti, “Omukozi asaanira okusasulwa empeera ye.” 19 (O)Tokkirizanga ebyo bye bavunaana omukulembeze okuggyako nga biriko abajulirwa babiri oba basatu. 20 (P)Kyokka abo aboonoona banenyezenga mu lwatu, abalala balyoke batye. 21 (Q)Nkukuutirira mu maaso ga Katonda ne Kristo Yesu, ne bamalayika abalonde okugobereranga ebyo, nga teweekubira wadde okusaliriza.

22 (R)Toyanguyirizanga kussaako mikono ku muntu yenna, so tossanga kimu na bibi by’abalala; weekuumenga ng’oli mulongoofu.

23 (S)Lekeraawo okunywanga amazzi gokka, naye nywanga ne ku wayini mutono olw’olubuto lwo, n’olw’okulwalalwala kwo.

24 Ebibi by’abantu abamu birabika lwatu nga tebannasalirwa musango kubasinga, naye eby’abalala birabika luvannyuma. 25 N’ebikolwa ebirungi nabyo bwe bityo birabika lwatu; ne bwe biba tebirabise lwatu, tebiyinza kukwekebwa bbanga lyonna.

Danyeri 12

Ebiseera eby’Enkomerero

12 (A)“Mu biro ebyo Mikayiri omulangira omukulu akuuma abantu bo aligolokoka, ne yeeyimirira abantu bo. Waliba ekiseera eky’okubonaaboneramu ekitabangawo okuva ku kutondebwa kw’amawanga. Naye mu biro ebyo, omuntu aliba awandiikiddwa mu kitabo, alirokolebwa. (B)Bangi ku beebase mu nfuufu ey’ensi baligolokoka, abamu eri obulamu obutaggwaawo, n’abalala eri ensonyi n’okuswazibwa okutaggwaawo. (C)Abo abalina okutegeera balyakaayakana ng’okumasamasa kw’omu bbanga; n’abo abakyusa abangi okudda eri obutuukirivu, balyakaayakana ng’emmunyeenye emirembe n’emirembe. (D)Naye ggwe Danyeri, bikka era osse envumbo ku kitabo okutuusa ekiseera eky’enkomerero lwe kirituuka. Bangi balitambula eno n’eri, era n’okumanya n’amagezi kulyeyongera.”

(E)Nze Danyeri ne ndyoka ndaba, laba babiri abalala nga bayimiridde mu maaso gange, omu ku lubalama lw’omugga olumu, n’omulala ku lubalama lw’omugga olulwolekedde. (F)Omu ku bo n’agamba omusajja, eyali waggulu w’amazzi g’omugga ng’ayambadde linena nti, “Kiritwala bbanga ki ebyewuunyisa ebyo byonna okutuukirira?”

(G)Omusajja eyali waggulu w’amazzi g’omugga ng’ayambadde linena, n’ayimusa omukono gwe ogwa ddyo n’omukono gwe ogwa kkono eri eggulu, ne mmuwulira ng’alayira eri oyo abeera omulamu emirembe n’emirembe, ng’ayogera nti, “Waliyitawo ebbanga lya myaka esatu n’ekitundu. Era amaanyi g’abantu abatukuvu bwe galimalibwawo, ebintu ebyo byonna ne biryoka bituukirira.”

Ne mpulira naye ne sitegeera. Kyennava mbuuza nti, “Mukama wange, biki ebiriva mu ebyo byonna?”

(H)N’anziramu nti, “Weetambulire makubo go, Danyeri, kubanga ebigambo bibikiddwako era n’ekitabo kissibbwako envumbo okutuusa ekiseera eky’enkomerero. 10 (I)Bangi balitukuzibwa ne balongoosebwa obutabaako na bbala, naye abatali batuukirivu balyeyongera okukola ebibi. Ku batali batuukirivu tekuliba ategeera, naye ab’amagezi baliba n’okutegeera.

11 (J)“N’okuva mu kiseera ekya ssaddaaka eya buli lunaku ng’eggyiddwawo n’eby’emizizo ebizikiriza nga biteekeddwawo, waliyitawo ennaku lukumi mu bibiri mu kyenda. 12 (K)Alina omukisa oyo alirindirira n’atuuka ku nkomerero ey’ennaku olukumi mu bisatu mu asatu mu ttaano.

13 (L)“Naye ggwe tambula makubo go okutuusa enkomerero lwe lituuka. Oliwummula, ne ku nkomerero oligolokoka n’oweebwa omugabo gwo gwe wategekerwa.”

Zabbuli 119:49-72

ז Zayini

49 Jjukira ekigambo kye wansuubiza, nze omuddu wo,
    kubanga gwe wampa essuubi.
50 (A)Ekiwummuza omutima gwange nga ndi mu bulumi
    kye kisuubizo kyo ekimpa obulamu.
51 (B)Ab’amalala banduulira obutamala,
    naye nze siva ku mateeka go.
52 (C)Bwe ndowooza ku biragiro byo eby’edda, Ayi Mukama,
    biwummuza omutima gwange.
53 (D)Nkyawa nnyo abakola ebibi,
    abaleka amateeka go.
54 Ebiragiro byo binfuukidde ennyimba
    buli we nsula nga ndi mu lugendo lwange.
55 (E)Mu kiro nzijukira erinnya lyo, Ayi Mukama,
    ne neekuuma amateeka go.
56 Olw’okukugonderanga
    nfunye emikisa gyo mingi.

ח Esi

57 (F)Ggwe mugabo gwange, Ayi Mukama;
    nasuubiza okukugonderanga.
58 (G)Nkwegayirira n’omutima gwange gwonna,
    ondage ekisa kyo nga bwe wasuubiza.
59 (H)Bwe ndabye amakubo amakyamu ge nkutte,
    ne nkyuka okugoberera ebiragiro byo.
60 Nyanguwa nnyo okugondera amateeka go,
    so seekunya.
61 (I)Newaakubadde ng’emiguwa gy’ababi ginsibye,
    naye seerabirenga mateeka go.
62 (J)Nzuukuka mu ttumbi okukwebaza,
    olw’ebiragiro byo ebituukirivu.
63 (K)Ntambula n’abo abakutya,
    abo bonna abakwata amateeka go.
64 (L)Ensi, Ayi Mukama, ejjudde okwagala kwo;
    onjigirize amateeka go.

ט Teesi

65 Okoze bulungi omuddu wo, Ayi Mukama,
    ng’ekigambo kyo bwe kiri.
66 Njigiriza okumanya n’okwawula ekirungi n’ekibi, era ompe okumanya;
    kubanga nzikiririza mu mateeka go.
67 (M)Bwe wali tonnambonereza nakyama nnyo,
    naye kaakano ŋŋondera ekigambo kyo.
68 (N)Ayi Mukama, oli mulungi era okola ebirungi;
    onjigirize amateeka go.
69 (O)Ab’amalala banjogeddeko nnyo eby’obulimba,
    naye nze nkwata ebyo bye walagira, n’omutima gwange gwonna.
70 (P)Omutima gwabwe gugezze ne gusavuwala;
    naye nze nsanyukira amateeka go.
71 Okubonerezebwa kwangasa,
    ndyoke njige amateeka go.
72 (Q)Amateeka go ge walagira ga mugaso nnyo gye ndi
    okusinga enkumi n’enkumi eza ffeeza ne zaabu.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.