1 Bassekabaka 3:6
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
6 (A)Sulemaani n’addamu nti, “Olaze ekisa kingi eri omuddu wo, Dawudi kitange, kubanga yali mwesigwa gy’oli, era mutuukirivu ate nga mwesimbu gy’oli. Era oyongedde okulaga ekisa kino ekingi gy’ali n’omuwa omwana okutuula ku ntebe ye ey’obwakabaka leero.
Read full chapter
Engero 3:1-2
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
Emikisa Egiva mu kuba n’amagezi
3 (A)Mwana wange, teweerabiranga bintu bye nakuyigiriza,
era okuumanga ebiragiro byange mu mutima gwo,
2 (B)kubanga bijja kuwangaaza obulamu bwo ku nsi,
era bikukulaakulanye.
Engero 3:16
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
16 (A)Mu mukono gwago ogwa ddyo mwe muli obuwanguzi;
ne mu mukono gwago ogwa kkono ne mubaamu obugagga n’ekitiibwa.
Zabbuli 61:6
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
6 (A)Oyongere ku nnaku z’obulamu bwa kabaka;
emyaka gye gimutuuse mu mirembe mingi,
Zabbuli 91:16
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
16 (A)Ndimuwangaaza n’asanyuka
era ndimulaga obulokozi bwange.”
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.