Add parallel Print Page Options

17 (A)“Era omuweereza wo yayogedde mu mutima gwe nti, ‘Ekigambo kya mukama wange kabaka kye kirimpummuza, kubanga mukama wange kabaka ali nga malayika wa Katonda mu kwawulamu ebirungi n’ebibi. Mukama Katonda wo abeere naawe.’ ”

Read full chapter

(A)Naye obanga omuntu yenna ku mmwe aweebuka mu magezi, asabenga Katonda agabira bonna atakayuka, galimuweebwa.

Read full chapter

ddala ddala singa oyaayaanira okumanya
    era n’oyimusa eddoboozi lyo osabe okutegeera,
(A)bw’onooganoonyanga nga ffeeza,
    era n’oganoonyanga ng’ekyobugagga ekyakwekebwa,
(B)awo w’olitegeerera okutya Mukama,
    era n’ovumbula okumanya Katonda.
(C)Kubanga Mukama awa amagezi;
    era mu kamwa ke muvaamu okumanya n’okutegeera.
(D)Mukama aterekera abatuukirivu amagezi amalungi,
    era aba ngabo y’abo abatambulira mu bugolokofu.
(E)Abatambuliza mu makubo ag’obwenkanya,
    era bw’atyo Mukama akuuma ekkubo ly’abatukuvu be.

Olwo lw’olitegeera obutuukirivu, amazima n’obwenkanya;
    weewaawo buli kkubo eddungi.

Read full chapter

14 (A)Naye emmere enkalubo ya bakulu, abeeyigirizza okwawulanga ekirungi n’ekibi.

Read full chapter

Zabbuli ya Sulemaani.

72 Ayi Katonda, kabaka omuwe okuba omwenkanya,
    ne mutabani we omuwe obutuukirivu,
(A)alyoke alamulenga abantu bo mu butuukirivu,
    n’abaavu abalamulenga mu mazima.

Read full chapter