Matayo 6:33
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
33 (A)Naye musooke munoonye obwakabaka bwa Katonda n’obutuukirivu bwe, ebyo byonna mulibyongerwako.
Read full chapter
Abaefeso 3:20
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
20 (A)Kaakano nsaba nti oyo akola ebintu byonna okusinga byonna bye tusaba, ne bye tulowooza, ng’amaanyi ge bwe gali agakolera mu ffe,
Read full chapter
1 Bassekabaka 4:21-24
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
21 (A)Sulemaani n’afuga obwakabaka bwonna okuva ku Mugga Fulaati okutuuka ku nsi ey’Abafirisuuti n’okutuuka ku nsalo ey’e Misiri, era baamuleeteranga ebirabo, era ne bamuweerezanga ennaku zonna ez’obulamu bwe[a].
22 Bye baasoloolezanga Sulemaani ebya buli lunaku byali ebigero by’obutta obulungi kilo mukaaga n’obutundu mukaaga, n’ebigero eby’obutta obutaali buse, kilo kumi na ssatu n’obutundu bubiri; 23 ente eza ssava kkumi, n’ente ezaavanga mu ddundiro amakumi abiri, wamu n’endiga kikumi, n’enjaza, n’empeewo, n’ennangaazi, n’enkoko ze baalondangamu. 24 (B)Yafuganga ensi yonna eri emitala w’Omugga Fulaati, okuva e Tifusa[b] okutuuka e Gaaza, era yalina emirembe enjuuyi zonna okumwetooloola.
Read full chapterFootnotes
- 4:21 Ensalo z’obwakabaka bwa Sulemaani zaakoma yonna Katonda gye yali asuubizza Ibulayimu (Lub 15:18-21; Ma 1:7; 11:24; Yos 1:4).
- 4:24 Tifusa kyali kibuga kikulu nga kisangibwa ku lubalama lw’Omugga Fulaati, nga kiri ku nsalo ey’omu bukiikakkono bw’obuvanjuba obw’obwakabaka. Gaaza ne Bufirisuuti okumpi n’ennyanja ya Meditereniyaani ye yali ensalo ey’omu bukiikaddyo bw’obuvanjuba obw’obwakabaka.
Engero 3:1-2
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
Emikisa Egiva mu kuba n’amagezi
3 (A)Mwana wange, teweerabiranga bintu bye nakuyigiriza,
era okuumanga ebiragiro byange mu mutima gwo,
2 (B)kubanga bijja kuwangaaza obulamu bwo ku nsi,
era bikukulaakulanye.
Engero 3:16
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
16 (A)Mu mukono gwago ogwa ddyo mwe muli obuwanguzi;
ne mu mukono gwago ogwa kkono ne mubaamu obugagga n’ekitiibwa.
1 Bassekabaka 10:23
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
23 (A)Kabaka Sulemaani yalina obugagga bungi nnyo nnyini, n’amagezi mangi nnyo okusinga bakabaka abalala bonna ku nsi.
Read full chapterBayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.