Add parallel Print Page Options

(A)Awo ku makya Falaawo ne yeeraliikirira; n’atumya ne baleeta abalogo bonna ab’e Misiri, n’abagezigezi baamu bonna; Falaawo n’abategeeza ekirooto kye, kyokka ne watabaawo n’omu eyasobola okukivvuunulira Falaawo.

Read full chapter

11 (A)Falaawo naye n’atumya basajja be abagezigezi, n’abalogo; abakujjukujju abo Abamisiri ne bakola ekintu kye kimu mu magezi gaabwe ag’ekyama.

Read full chapter

10 (A)Abakaludaaya ne baddamu kabaka nti, “Tewali muntu n’omu ku nsi ayinza okukola kabaka ky’asaba. Ate era tewabangawo kabaka ne bw’aba w’amaanyi atya oba wa buyinza atya, eyali asabye omulaguzi yenna newaakubadde omufumu yenna newaakubadde Omukaludaaya yenna ekintu ng’ekyo.

Read full chapter

(A)Kabaka n’alagira mu ddoboozi ery’omwanguka baleete abafumu, n’Abakaludaaya, n’abalaguzi. Kabaka n’agamba abasajja abagezigezi abo ab’e Babulooni nti, “Omuntu yenna anaasoma ekiwandiiko ekyo, n’antegeeza amakulu gaakyo, alyambazibwa engoye ez’effulungu era alyambazibwa omukuufu ogwa zaabu mu bulago, era aliba mukulu owa waggulu ow’ekifo ekyokusatu mu bwakabaka.”

Read full chapter

(A)Kyennava ndagira abasajja bonna abagezigezi ab’e Babulooni baleetebwe mu maaso gange bantegeeze amakulu g’ekirooto.

Read full chapter