Add parallel Print Page Options

11 (A)“Abakungu ba kabaka bonna n’abantu bonna ab’omu bitundu byonna eby’obwakabaka bakimanyi nti tewali musajja oba mukyala eyeeyanjula mu maaso ga Kabaka mu luggya olw’omunda ng’atayitiddwa kabaka. Era waliwo n’etteeka nti akolanga bw’atyo attibwenga, wabula nga Kabaka amugololedde omuggo gwe ogwa zaabu, n’aba omulamu. Naye wayiseewo ennaku amakumi asatu kasookedde mpitibwa kugenda wa kabaka.”

Read full chapter

22 (A)“Baleete bakatonda bwabwe
    batubuulire ebigenda okubaawo.
Batubuulire n’ebyaliwo emabega,
    tusobole okubimanya,
    n’okubirowoozaako
n’okumanya ebinaavaamu oba okutubuulira ebigenda okujja.
23     (B)Mutubuulire ebigenda okubaawo
    tulyoke tumanye nga muli bakatonda.
Mubeeko kye mukola ekirungi oba ekibi
    tulyoke tutye era tukeŋŋentererwe mu mutima.
24 (C)Laba, temuliiko bwe muli
    ne bye mukola tebigasa.
    Abo ababasinza bennyamiza.

Read full chapter