Beginning
17 (A)Omutima gwange gwennyise,
ennaku zange zisalibbwaako,
entaana enninze.
2 (B)Ddala abansekerera bannetoolodde;
amaaso gange gabeekengera.
3 (C)“Ompe, Ayi Katonda akakalu k’onsaba.
Ani omulala ayinza okunneeyimirira?
4 Ozibye emitima gyabwe obutategeera;
noolwekyo toobakkirize kuwangula.
5 (D)Omusajja avumirira mikwano gye olw’empeera
alireetera amaaso g’abaana be okuziba.
6 (E)“Katonda anfudde ekisekererwa eri buli omu,
anfudde buli omu gw’afujjira amalusu mu maaso.
7 (F)Amaaso gange gayimbadde olw’okunakuwala;
omubiri gwange gwonna kaakano guli nga kisiikirize.
8 (G)Abantu ab’amazima beesisiwala olwa kino;
atalina musango agolokokedde ku oyo atatya Katonda.
9 (H)Naye era abatuukirivu banaakwatanga amakubo gaabwe,
n’abo ab’emikono emirongoofu baneeyongeranga amaanyi.
10 (I)“Naye mukomeewo mwenna kaakano, mujje,
naye siraba muntu mugezi mu mmwe!
11 (J)Ennaku zange ziyise entegeka zange zoonoonese,
era bwe kityo n’okwegomba kw’omutima gwange.
12 Abantu bano ekiro bakifuula emisana;
mu kizikiza mwennyini mwe bagambira nti, Ekitangaala kinaatera okujja.
13 (K)Amagombe bwe gaba nga ge maka mwe nnina essuubi,
bwe njala obuliri bwange mu kizikiza,
14 (L)ne ŋŋamba amagombe nti, ‘Ggwe kitange,’
era n’eri envunyu nti, ‘Ggwe mmange,’ oba nti, ‘Ggwe mwannyinaze,’
15 (M)kale essuubi lyange liba ludda wa?
Ani ayinza okuliraba?
16 (N)Nalyo lirigenda eri enzigi z’emagombe
Oba tuligenda ffenna mu nfuufu?”
Birudaadi Ayanukula
18 Awo Birudaadi Omusukusi n’ayanukula n’agamba nti,
2 “Mulikomya ddi okufuulafuula ebigambo?
Muddeemu amagezi, tulyoke twogere.
3 (O)Lwaki tutwalibwa ng’ente
era ne tulowoozebwa okuba abasirusiru mu maaso gammwe?
4 (P)Ggwe eyeyuzayuza olw’obusungu,
abantu ensi bagiveeko ku lulwo, oba enjazi zive mu bifo byazo?
5 (Q)“Ddala etabaaza y’omukozi w’ebibi ezikidde,
era n’omuliro gw’ekyoto kye tegukyayaka.
6 Ekitangaala kivudde mu weema ye;
n’ettaala eri ku mabbali ge nayo ezikidde.
7 (R)Amaanyi gamuwedde, ebigere bye tebikyali bya maanyi,
era enkwe ze, ze zimusuula.
8 (S)Eky’amazima ebigere bye byamusuula mu kitimba
era n’atangatanga mu butimba.
9 Omutego gumukwata ekisinziiro;
akamasu ne kamunyweeza.
10 Omuguwa gumukwekerwa mu ttaka;
akatego kamulindirira mu kkubo lye.
11 (T)Entiisa emukanga enjuuyi zonna
era n’emugoba kigere ku kigere.
12 (U)Emitawaana gimwesunga;
ekikangabwa kirindiridde okugwa kwe.
13 (V)Kirya ebitundu by’olususu lwe;
omubereberye wa walumbe amulyako emikono n’ebigere.
14 (W)Aggyibwa mu bukuumi bwa weema ye
era n’atwalibwa eri kabaka w’ebikangabwa.
15 (X)Omuliro gumalirawo ddala byonna eby’omu weema ye;
ekibiriiti kyakira mu kifo mw’abeera.
16 (Y)Emirandira gye gikala wansi,
n’amatabi ge gakala waggulu.
17 (Z)Ekijjukizo kye kibula ku nsi;
talina linnya mu nsi.
18 (AA)Agobebwa okuva mu kitangaala, agenda mu kizikiza
n’aggyibwa mu nsi.
19 (AB)Talina mwana wadde omuzzukulu mu bantu be,
newaakubadde ekifo mwabeera.
20 (AC)Abantu ab’ebugwanjuba beewuunya ebyamutuukako;
n’ab’ebuvanjuba ne bakwatibwa ekikangabwa.
21 (AD)Ddala bw’etyo bw’ebeera ennyumba y’omukozi w’ebibi;
bwe gaba bwe gatyo amaka g’oyo atamanyi Katonda.”
Yobu Amuddamu
19 Awo Yobu n’addamu nti:
2 “Mulikomya ddi okunnyigiriza
ne mummenya n’ebigambo?
3 Emirundi kkumi nga munvuma;
temukwatiddwa nsonyi kunnumba.
4 (AE)Bwe kiba nga kituufu nti nawaba,
obukyamu bwange, bwange nzekka.
5 (AF)Bwe muba munneegulumiririzaako
ne mukozesa obulumi bwange okunfeebya,
6 (AG)mumanye nga Katonda ankoze bubi
era anzingizza mu kitimba kye.
7 (AH)“Wadde nga nkaaba nti, ‘Mpisiddwa bubi,’ siddibwamu;
ne bwe nkuba enduulu, tewali antaasa.
8 (AI)Azibye ekkubo lyange sisobola kuyita;
amakubo gange agalese mu kizikiza.
9 (AJ)Anziggyeeko ekitiibwa kyange
n’anziggyako n’engule ku mutwe gwange.
10 (AK)Anjuzaayuza ku buli ludda okutuusa lwe watasigalawo kantu,
asigula essuubi lyange ng’omuti.
11 (AL)Obusungu bwe bumbubuukirako;
ambala ng’omu ku balabe be.
12 (AM)Amaggye ge galumba n’amaanyi;
ganzimbako enkomera
ne gagumba okwetooloola weema yange.
13 (AN)“Anziggyeeko baganda bange;
abo bwe twali tumanyiganye banviiriddeko ddala.
14 Ab’ekika kyange banviiriddeko ddala,
mikwano gyange ginneerabidde.
15 Abagenyi bange n’abaweereza bange abawala, bampisa nga gwe batamanyi,
ne bandaba nga munnagwanga.
16 Mpita omuddu wange naye tawulira,
wadde nga mwegayirira n’akamwa kange.
17 Omukka gwange gwe nzisa, guwunyira bubi mukyala wange;
nakyayibwa baganda bange bennyini.
18 (AO)N’obulenzi obuto bunsekerera;
buli lwe bundaba bunvuma.
19 (AP)Mikwano gyange gyonna enfirabulago gya nkyawa;
abo be nnayagalanga banneefuukira.
20 (AQ)Siriiko bwe ndi wabula ndi ddiba na magumba:
nsigazzaawo bibuno byokka.
21 “Munkwatirwe ekisa mikwano gyange, munkwatirwe ekisa,
kubanga omukono gwa Katonda gunkubye.
22 (AR)Lwaki munjigga nga Katonda bw’anjigga?
Omubiri gwe mufunye tegumala?
23 (AS)“Singa nno ebigambo byange byawandiikibwa,
Singa byawandiikibwa ku muzingo, bandiguwadde ani?
24 Singa byawandiikibwa n’ekyuma ku lubaati,
oba okuwandiikibwa ku lwazi ne bibeerawo emirembe n’emirembe!
25 (AT)Mmanyi nga Omununuzi wange mulamu,
era nga ku nkomerero aliyimirira ku nsi.
26 (AU)Era ng’olususu lwange bwe luweddewo,
kyokka mu mubiri gwange ndiraba Katonda;
27 (AV)nze mwene ndimulaba,
n’amaaso gange, Nze, so si mulala.
Emmeeme yange ng’eyaayaana munda mu nze!
28 “Bwe mugamba nti, ‘Tujja kumuyigganya,
kubanga ensibuko y’emitawaana eri mu ye;’
29 (AW)nammwe bennyini musaana mutye ekitala.
Kubanga obusungu buleeta okubonereza okw’ekitala,
olwo mulyoke mumanye ng’eriyo okusalirwa omusango.”
Zofali Addamu
20 Awo Zofali Omunaamasi n’amuddamu nti,
2 “Ebirowoozo byange ebiteganyiziddwa binkubiriza okukuddamu
kubanga nteganyizibbwa nnyo.
3 (AX)Mpulidde nga nswadde olw’okunenya,
okutegeera kwange kunkubiriza okuddamu.
4 “Ddala omanyi nga bwe byali okuva edda,
okuva omuntu lwe yateekebwa ku nsi,
5 (AY)nti Enseko z’omwonoonyi ziba z’akaseera katono,
era n’essanyu ly’abatamanyi Katonda terirwawo.
6 (AZ)Newaakubadde ng’amalala ge gatuuka ku ggulu
n’omutwe gwe ne gutuuka ku bire,
7 (BA)alizikirira emirembe n’emirembe nga empitambi ye:
abo abamulaba babuuze nti, ‘Ali ludda wa?’
8 (BB)Abulawo ng’ekirooto, n’ataddayo kulabika;
abuzeewo ng’okwolesebwa kw’ekiro.
9 (BC)Eriiso eryamulaba teririddayo kumulaba,
taliddayo kulaba kifo kye nate.
10 (BD)Abaana be basaana bakolagane n’abaavu,
emikono gye gyennyini gye gisaana okuwaayo obugagga bwe.
11 (BE)Amaanyi ag’ekivubuka agajjudde amagumba ge,
ge ganaagalamiranga naye mu nfuufu.
12 “Okukola ebibi kuwoomerera mu kamwa ke
era akukweka wansi w’olulimi lwe,
13 (BF)tayagala kukuleka,
wadde okukuta era akukuumira mu kamwa ke.
14 Naye emmere ye erimwonoonekera mu byenda,
era erifuuka butwa bwa nsweera munda ye.
15 Aliwandula eby’obugagga bye yamira;
Katonda alireetera olubuto lwe okubisesema.
16 (BG)Alinywa obutwa bw’ensweera;
amannyo g’essalambwa galimutta.
17 (BH)Alisubwa obugga,
n’emigga egikulukuta n’omubisi gw’enjuki n’amata.
18 Bye yateganira alina okubiwaayo nga tabiridde;
talinyumirwa magoba ga kusuubula kwe,
19 (BI)kubanga yanyigiriza abaavu n’abaleka nga bakaaba,
yawamba amayumba g’ataazimba.
20 (BJ)“Ddala ddala talifuna kikkusa mululu gwe,
wadde okuwonya n’ebyo bye yeeterekera.
21 (BK)Tewali kimulekeddwawo ky’anaalya;
obugagga bwe tebujja kusigalawo.
22 Wakati mu kufuna ebingi okulaba ennaku kumujjira;
alibonaabonera ddala nnyo.
23 (BL)Ng’amaze okujjuza olubuto lwe,
Katonda alyoke amusumulurire obusungu bwe amukube ebikonde ebitagambika.
24 (BM)Bw’alidduka ekyokulwanyisa eky’ekyuma,
akasaale ak’ekikomo kalimufumita.
25 (BN)Akasaale kaliviirayo mu mugongo gwe,
omumwa gwako ogumasamasa gusikibwe mu kibumba.
Entiisa erimujjira.
26 (BO)Ekizikiza ekikutte kye kirindiridde obugagga bwe.
Omuliro ogutazikira gwe gulimumalawo,
gwokye ebisigadde mu weema ye.
27 (BP)Eggulu liryolesa obutali butuukirivu bwe;
ensi erimusitukirako n’emujeemera.
28 (BQ)Ebintu by’ennyumba biritwalibwa,
biribulira ku lunaku lw’obusungu bwa Katonda.
29 (BR)Eyo y’engeri Katonda gy’asasulamu abakozi b’ebibi,
nga gwe mugabo Katonda gwe yabategekera.”
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.