Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Beginning

Read the Bible from start to finish, from Genesis to Revelation.
Duration: 365 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Yobu 24-28

24 (A)“Lwaki Ayinzabyonna tagera biseera?
    Lwaki abo abamumanyi tebalaba nnaku zaageze?
(B)Abantu bajjulula amayinja agalamba ensalo,
    ne balunda ebisolo bye babbye.
(C)Batwala endogoyi ya mulekwa
    ne batwala ennume ya nnamwandu ng’omusingo.
(D)Basindiikiriza omunaku ne bamuggya mu kkubo,
    ne bawaliriza abaavu bonna mu ggwanga okwekweka.
(E)Endogoyi ez’omu ddungu nga bwe zeeyisa,
    n’abaavu bagenda bategana nnyo nga balondalonda obumere;
    mu ddungu mwe balonderera emmere y’abaana baabwe.
Essubi eririibwa ensolo zaabwe baliggya ku ttale lye,
    ne banoga n’emizabbibu gy’aboonoonyi.
(F)Olw’okubulwa engoye, basula bwereere;
    tebalina kye beebikka mu mpewo.
(G)Enkuba y’oku nsozi ebatobya,
    ne banywegera enjazi olw’okubulwa we beggama.
(H)Omwana atalina kitaawe bamusika ku mabeere;
    omwana omuwere ow’omwavu bamuwamba olw’ebbanja.
10 Olw’okubulwa engoye bayita bwereere;
    betikka ebinywa by’emmere naye basigala tebalidde.
11 Basogolera emizabbibu ku mayinja,
    ne basambira mu ssogolero, naye ne basigala nga balumwa ennyonta.
12 (I)Okusinda kw’abantu kuwulirwa mu kibuga,
    n’emmeeme z’abafunye ebisago zikaabira obuyambi.
    Naye Katonda talina gw’asinzisa musango.

13 (J)“Waliwo abo abajeemera omusana,
    abatamanyi makubo ge,
    abatasigala mu kwaka kwagwo.
14 (K)Omutemu agolokoka nga obudde buzibye
    n’atta omwavu n’ali mu kwetaaga;
    ekiro abbira ddala.
15 (L)Eriiso ly’omwenzi lirinda buzibe,
    ng’agamba nti, ‘Tewali liiso linandaba,’
    n’abikka ne ku maaso ge.
16 (M)Mu kizikiza mwe basimira amayumba,
    kyokka emisana baba beggalidde.
    Tebaagala kitangaala.
17 Eri abo bonna ekizikiza ekikutte bwe budde bwabwe obw’oku makya.
    Kubanga bakola omukwano n’ebitiisa eby’omu nzikiza.
18 (N)Bali ng’ebyovu ebiri kungulu ku mazzi,
    era omugabo gwabwe mukolimire mu nsi.
    Tewali musogozi n’omu alaga mu nnimiro zaabwe ez’emizabbibu.
19 (O)Nga ekyeeya n’ebbugumu bwe bimalawo amazzi agava mu muzira,
    aboonoonyi bwe batyo bwe bamalibwawo emagombe.
20 (P)Olubuto lunaamwerabiranga;
    envunyu eneemulyanga n’ewoomerwa.
Tajjukirwenga nate,
    omukozi w’ebibi amenyeka ng’omuti.
21 (Q)Bayiikiriza ne banyaga omugumba atazaala.
    Tebakolera nnamwandu bya kisa.
22 (R)Naye Katonda awalula ab’amaanyi olw’obuyinza bwe.
    Newaakubadde nga bakulaakulana, kyokka tebalina bukakafu ku bulamu bwabwe.
23 (S)Ayinza okubaleka ne babeera mu mirembe
    n’amaaso ge gabeera ku makubo gaabwe.
24 (T)Bayimusibwa akaseera katono, oluvannyuma nga tebakyaliwo.
    Bakkakkanyizibwa ne bakala ne baggyibwawo nga abalala bonna.
    Basalibwa ng’emitwe gy’ebirimba by’eŋŋaano.

25 (U)“Bwe kiba nga si bwe kiri, ani anannumiriza obulimba,
    n’afuula okwogera kwange okutaliimu?”

Birudaadi Addamu

25 Awo Birudaadi Omusuki n’addamu n’ayogera nti,

(V)“Okufuga kwa Katonda n’entiisa ya Katonda;
    ateekawo enkola entuufu mu bifo ebya waggulu mu ggulu.
(W)Amaggye ge gasobola okubalibwa?
    Ani atayakirwa musana gwe?
(X)Olwo omuntu ayinza atya okwelowooza nti mutuukirivu awali Katonda?
    Omuntu eyazaalibwa omukazi ayinza atya okuba omulongoofu?
(Y)Laba n’omwezi tegulina bye gwaka,
    n’emmunyeenye si nnongoofu mu maaso ge.
(Z)Ate omuntu obuntu oyo envunyu obuvunyu,
    omwana w’omuntu, oyo olusiriŋŋanyi, ayinza atya okwelowooza nti mulongoofu!”

Yobu Ayanukula

26 Awo Yobu n’addamu nti,

(AA)“Ng’oyambye oyo atalina maanyi!
    Ng’oyambye omukono ogwo ogutalina maanyi!
Ng’amagezi ga kitalo ago g’owadde oyo atalina magezi!
    Ng’owadde okuluŋŋamizibwa okuyitirivu!
Ani akuyambye okwogera ebigambo ebyo?
    Era mwoyo ki ogwogeredde mu kamwa ko?

(AB)“Abafu kye balimu tekigumiikirizika,
    n’abo abali wansi w’amazzi ne bonna abagabeeramu.
(AC)Amagombe gali bwereere mu maaso ga Katonda;
    n’okuzikiriza tekulina kikubisse.
(AD)Ayanjuluza eggulu ery’obukiikakkono mu bbanga ejjereere,
    awanika ensi awatali kigiwanirira.
(AE)Asiba amazzi mu bire bye;
    ate ebire tebyabika olw’okuzitoowererwa.
(AF)Abikka obwenyi bw’omwezi,
    agwanjululizaako ebire bye.
10 (AG)Ateekawo ekipimo ekiraga waggulu amazzi g’ennyanja we gayita,
    ng’ensalo eyawula ekitangaala n’ekizikiza.
11 Empagi z’eggulu zikankana,
    zeewuunya olw’okunenya kwe.
12 (AH)Afuukuula ennyanja n’obuyinza bwe,
    n’asalaasala Lakabu mu bitundutundu n’amagezi ge.
13 (AI)Yafuuwa omukka ogwatereeza eggulu,
    omukono gwe gwafumita omusota oguwulukuka.
14 (AJ)Naye nga bino katundu butundu ku bye yakola.
    Nga kye tumuwulirako katundu butundu ku ekyo ky’ali!
    Ani ayinza okutegeera okubwatuka kw’obuyinza bwe?”

27 (AK)Yobu n’ayongera okwogera kwe bw’ati nti,

(AL)“Nga Katonda bw’ali omulamu, agaanye okusala ensonga yange mu mazima,
    oyo Ayinzabyonna, aleetedde emmeeme yange okulumwa,
(AM)gye nkomye okuba nga nkyalina obulamu mu nze,
    omukka gwa Katonda nga gukyali mu nnyindo zange,
(AN)emimwa gyange tegijja kwogera butali butuukirivu,
    era olulimi lwange terujja kwogera bulimba.
(AO)Sirikkiriza nti muli batuufu;
    okutuusa lwe ndifa, siryeggyako bugolokofu bwange.
(AP)Nzija kwongera okunywerera ku butuukirivu bwange obutabuleka;
    omutima gwange tegunsalira musango nga nkyali mulamu.

“Abalabe bange babeere ng’abakozi b’ebibi,
    n’abo abangolokokerako babeere ng’abatali batuukirivu!
(AQ)Kubanga ssuubi ki oyo atalina Katonda ly’aba nalyo ng’asaliddwako,
    nga Katonda amuggyeko obulamu?
(AR)Katonda awulira okukaaba kwe
    ng’ennaku emujjidde?
10 (AS)Alifuna essanyu mu oyo Ayinzabyonna?
    Aliyita Katonda ebbanga lyonna?
11 Nzija kubayigiriza ebikwata ku maanyi ga Katonda;
    ebikwata ku oyo Ayinzabyonna sijja kubikweka.
12 Weekalirize bino byonna bye mwerabiddeko,
    lwaki kaakano okwogera ebyo ebitalina makulu?

Empeera y’abakozi b’ebibi

13 (AT)“Eno y’empeera Katonda gy’awa abakozi b’ebibi,
    omugabo omuntu omujoozi gw’afuna okuva eri oyo Ayinzabyonna:
14 (AU)Abaana be ne bwe baba bangi batya, enkomerero yaabwe kitala;
    ezzadde lye teririfuna byakulya bibamala.
15 (AV)Abo abaliwona kawumpuli, balifa ne baziikibwa,
    ne bannamwandu baabwe tebalibakaabira.
16 (AW)Wadde ng’atereka effeeza ng’enfuufu,
    n’engoye ng’entuumo y’ebbumba,
17 (AX)ebyo bye yeeterekera omutuukirivu y’alibyambala,
    era abo abatalina musango be baligabana effeeza ye.
18 (AY)Ennyumba gy’azimba eribeera ng’ey’ekiwojjolo;
    ng’akasiisira akazimbiddwa omukuumi.
19 (AZ)Agenda okwebaka nga mugagga, naye ekyo tekiddemu kubaawo,
    kubanga alizuukuka nga byonna biweddewo.
20 (BA)Entiisa erimuzingako ng’amataba;
    kibuyaga amutwala ekiro mu kyama.
21 (BB)Embuyaga ey’ebuvanjuba emutwalira ddala n’agenda;
    emuggya mu kifo kye n’amaanyi.
22 (BC)Emukuba awatali kusaasira,
    ng’adduka ave mu maanyi gaayo.
23 (BD)Erimukubira engalo zaayo,
    n’emusiiya okuva mu kifo kye.”
28 “Ddala ddala waliwo ebirombe mwe basima effeeza,
    n’ekifo gye balongooseza effeeza.
(BE)Ekyuma kisimibwa mu ttaka,
    n’ekikomo ne bakisaanuusa okukiggya mu mayinja.
(BF)Omuntu agoberera enzikiza n’anoonya eyo mu ttaka wansi,
    asime ekyuma mu kizikiza ekiri wansi ennyo.
Asima ekinnya ekiri ewala n’abantu gye babeera,
    mu bifo eteyita bantu,
    ewala okuva abantu gye bayita.
(BG)Ensi evaamu emmere,
    naye wansi waayo yafuusibwa nga muliro.
Safira eva mu mayinja gaayo,
    era enfuufu yaayo erimu zaabu.
Tewali kinyonyi kiyizzi kimanyi kkubo lino,
    wadde n’amaaso ga kamunye tegarirabanga.
Ekibinja ky’empologoma ento tekituukangayo,
    tewali mpologoma yali eyiseeyo.
Omuntu ayasa n’omukono gwe ejjinja ery’embaalebaale,
    n’avuunika ensozi okuviira ddala we zisibuka.
10 Asima ensalosalo ku njazi;
    n’amaaso ge galaba eby’omuwendo byonna.
11 Anoonya wansi mu migga,
    n’aggyayo ebintu ebyakwekebwa.

12 (BH)“Naye amagezi gasangibwa wa?
    Okutegeera kuva wa?
13 (BI)Omuntu tayinza kutegeera mugaso gwago;
    tegasangibwa mu nsi y’abalamu.
14 Obuziba bwogera nti, ‘Tegali mu nze,’
    ennyanja eyogera nti, ‘Tegali mu nze.’
15 (BJ)Tegayinza kugulibwa na zaabu asingayo obulungi,
    wadde omuwendo gwago okupimibwa mu ffeeza.
16 Tegayinza kugulibwa na zaabu wa Ofiri,
    mu mayinja ag’omuwendo aga onuku oba safiro.
17 (BK)Zaabu n’endabirwamu tebiyinza kugenkana:
    so tegayinza kugeraageranyizibwa n’amayinja ag’omuwendo.
18 (BL)Kolali n’amayinja ag’endabirwamu tebyogerwa nako;
    omuwendo ogugula amagezi gusinga amayinja amatwakaavu.
19 (BM)Topazi eva mu Esiyopya teyinza kugenkana,
    tegayinza wadde okugulibwa mu zaabu etetabikiddwamu kantu konna.

20 (BN)“Kale amagezi gava ludda wa?
    N’okutegeera kubeera ludda wa?
21 Gakwekebwa okuva mu maaso g’ebintu byonna ebiramu,
    era gakwekeddwa ebinyonyi by’omu bbanga.
22 (BO)Okuzikiriza n’Okufa kwogera nti,
    ‘Nawulirako buwulizi ku lugambo lwakwo mu matu gange.’
23 (BP)Katonda ategeera ekkubo erigatuukako
    era ye yekka y’amanyi gye gabeera,
24 (BQ)kubanga alaba enkomerero y’ensi
    era alaba ebintu byonna wansi w’eggulu.
25 (BR)Bwe yateekawo amaanyi g’empewo,
    n’apima n’amazzi,
26 (BS)bwe yateekera enkuba etteeka
    era n’ekkubo eggulu we linaayitanga nga limyansa,
27 olwo n’atunuulira amagezi n’agalangirira;
    n’agateekawo, n’agagezesa.
28 (BT)N’agamba omuntu nti,
    ‘Laba, okutya Mukama, ge magezi,
    n’okuleka ekibi, kwe kutegeera.’ ”

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.