Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Beginning

Read the Bible from start to finish, from Genesis to Revelation.
Duration: 365 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Zabbuli 70-73

Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Dawudi, ey’okujjukiza.

70 (A)Ayi Katonda oyanguwa okundokole.
    Ayi Mukama oyanguwe okumbeera.

(B)Abo abannoonya okunzita
    batabulwetabulwe;
abo abannoonya okunzikiriza,
    bagobebwe nga baswadde.
Abagamba nti, “Kasonso,”
    badduke nga bajjudde ensonyi.
Naye bonna abakunoonya
    basanyukenga bajagulizenga mu ggwe.
Abo abaagala obulokozi bwo boogerenga bulijjo nti,
    “Katonda agulumizibwenga!”

(C)Naye nze ndi mwavu era ndi mu kwetaaga;
    oyanguwe okujja gye ndi, Ayi Katonda.
Ggwe onnyamba era ggwe ondokola,
    Ayi Mukama, tolwa!
71 (D)Mu ggwe, Ayi Mukama, mwe neekweka,
    tondeka kuswazibwa.
(E)Mu butuukirivu bwo ondokole, omponye;
    ontegere okutu ondokole.
(F)Onfuukire olwazi obuddukiro bwange,
    ekifo eky’amaanyi;
ondokole
    kubanga oli lwazi lwange era ekiddukiro kyange.
(G)Ayi Katonda wange omponye mu mukono gw’ababi,
    omponye abantu abatali batuukirivu era abakambwe.

(H)Kubanga ggwe, Ayi Mukama, ggwe ssuubi lyange;
    ggwe, ggwe neesiga, okuviira ddala mu buvubuka bwange.
(I)Neesiga ggwe kasookedde nzalibwa;
    ggwe wanziggya mu lubuto lwa mmange.
    Nnaakutenderezanga ennaku zonna.
(J)Eri abangi nafuuka;
    naye ggwe kiddukiro kyange eky’amaanyi.
(K)Akamwa kange kajjudde ettendo lyo,
    nga ntenda ekitiibwa kyo obudde okuziba.

(L)Tonsuula mu kiseera kyange eky’obukadde.
    Tondekerera ng’amaanyi gampweddemu.
10 (M)Kubanga abalabe bange banjogerako;
    abo abaagala okunzita bansalira olukwe.
11 (N)Bagamba nti, “Katonda amulese,
    ka tumugobe tumukwate,
    kubanga taliiko anaamuwonya.”
12 (O)Ayi Katonda, tombera wala, Ayi Katonda wange,
    yanguwa ojje ombeere.
13 (P)Abo abampawaabira bazikirizibwe nga bajjudde ensonyi,
    abanoonya okunnumya baswale
    era banyoomebwe.

14 (Q)Naye nze nnaabanga n’essuubi ennaku zonna.
    Era nneeyongeranga okukutenderezanga.

15 (R)Akamwa kange kanaayogeranga ku bikolwa byo eby’obutuukirivu obudde okuziba;
    nnaayogeranga ku bulokozi bwo,
    wadde siyinza kubupima.
16 (S)Nnaatambuliranga mu maanyi go, Ayi Mukama Katonda,
    era ne ntegeezanga nti ggwe wekka ggwe mutuukirivu.
17 (T)Ayi Katonda, ggwe wanjigiriza okuva mu buvubuka bwange;
    n’okutuusa leero nkyatenda ebikolwa byo eby’ekitalo.
18 (U)Ne bwe ndiba nga nkaddiye nga mmeze n’envi,
    tonjabuliranga, Ayi Katonda,
okutuusiza ddala nga mmaze okutendera abo abaliddawo amaanyi go amangi,
    n’okumanyisa emirembe egigenda okujja obuyinza bwo.

19 (V)N’obutuukirivu bwo, Ayi Katonda, butuuka mu ggulu.
    Ggw’okoze ebikulu,
    Ayi Katonda, ani akwenkana?
20 (W)Newaakubadde wandeka ne mbonaabona nnyo bwe ntyo,
    ggw’olinzizaamu obulamu,
n’ompa amaanyi amaggya,
    n’onnyimusa okuva mu kinnya ekiwanvu ennyo wansi w’ensi.
21 (X)Olinnyongerako ekitiibwa
    n’oddamu okunsanyusa.

22 (Y)Nnaakutenderezanga ne nnanga ey’enkoba
    olw’obwesigwa bwo, Ayi Katonda wange;
nnaakutenderezanga n’entongooli,
    Ayi ggwe Omutukuvu wa Isirayiri.
23 (Z)Nnaayimusanga eddoboozi lyange olw’essanyu
    nga nkutendereza,
    nze gw’onunudde!
24 (AA)Olulimi lwange nalwo lunaayogeranga ku bikolwa byo eby’obutuukirivu
    obudde okuziba,
kubanga abo ababadde baagala okunkola akabi
    otabuddetabudde enkwe zaabwe ne baswazibwa.

Zabbuli ya Sulemaani.

72 Ayi Katonda, kabaka omuwe okuba omwenkanya,
    ne mutabani we omuwe obutuukirivu,
(AB)alyoke alamulenga abantu bo mu butuukirivu,
    n’abaavu abalamulenga mu mazima.

Ensozi zireeterenga abantu bo okukulaakulana
    n’obusozi bubaleetere obutuukirivu.
(AC)Anaalwaniriranga abaavu,
    n’atereeza abaana b’abo abeetaaga,
    n’omujoozi n’amusaanyaawo.
Abantu bakutyenga ng’enjuba n’omwezi gye bikoma
    okwaka mu mirembe gyonna.
(AD)Abeere ng’enkuba bw’etonnya ku muddo ogusaliddwa,
    afaanane ng’oluwandaggirize olufukirira ensi.
(AE)Obutuukirivu bweyongere nnyo mu mulembe gwe,
    n’okufuga kwe kujjule emirembe okutuusa omwezi lwe gulikoma okwaka!

(AF)Afugenga okuva ku nnyanja okutuuka ku nnyanja,[a]
    n’okuva ku mugga Fulaati[b] okutuuka ku nkomerero z’ensi!
Ebika eby’omu malungu bimugonderenga,
    n’abalabe be bamujeemulukukire beekulukuunye ne mu nfuufu.
10 (AG)Bakabaka b’e Talusiisi[c] n’ab’oku bizinga eby’ewala
    bamuwenga omusolo;
bakabaka b’e Syeba n’ab’e Seeba[d]
    bamutonerenga ebirabo.
11 Bakabaka bonna banaavuunamanga mu maaso ge;
    amawanga gonna ganaamuweerezanga.

12 Kubanga anaawonyanga eyeetaaga bw’anaamukoowoolanga,
    n’omwavu ne kateeyamba ataliiko mwasirizi.
13 Anaasaasiranga omunafu n’omwavu;
    n’awonya obulamu bwa kateeyamba.
14 (AH)Anaabanunulanga mu mikono gy’omujoozi n’abawonya obukambwe bwe;
    kubanga obulamu bwabwe bwa muwendo mungi gy’ali.

15 (AI)Awangaale!
    Aleeterwe zaabu okuva e Syeba.
Abantu bamwegayiririrenga
    era bamusabirenga emikisa buli lunaku.
16 (AJ)Eŋŋaano ebale nnyingi nnyo mu nsi,
    ebikke n’entikko z’ensozi.
Ebibala byayo byale ng’eby’e Lebanooni;
    n’abantu baale mu bibuga ng’omuddo ogw’oku ttale.
17 (AK)Erinnya lye libeerengawo ennaku zonna,
    n’okwatiikirira kwe kube kwa nkalakkalira ng’enjuba.

Amawanga gonna ganaaweebwanga omukisa ku lu lw’erinnya lye,
    era abantu bonna bamuyitenga aweereddwa omukisa.

18 (AL)Mukama Katonda agulumizibwe, Katonda wa Isirayiri,
    oyo yekka akola ebyewuunyisa.
19 (AM)Erinnya lye ekkulu ligulumizibwenga emirembe n’emirembe!
    Ensi yonna ejjule ekitiibwa kye.
Amiina era Amiina!

20 Okusaba kwa Dawudi mutabani wa Yese kukomye awo.

EKITABO III

Zabbuli 73–89

Zabbuli ya Asafu.

73 (AN)Ddala Katonda mulungi eri Isirayiri
    n’eri abo abalina omutima omulongoofu.

Naye nze amagulu gange gaali kumpi okutagala
    era n’ebigere byange okuseerera.
(AO)Kubanga nakwatirwa ab’amalala obuggya;
    bwe nalaba ababi nga bagaggawala nnyo.

Kubanga tebalina kibaluma;
    emibiri gyabwe miramu era minyirivu.
(AP)Tebeeraliikirira kabi konna ng’abalala.
    So tebalina kibabonyaabonya.
(AQ)Amalala kyegavudde gabafuukira ng’omukuufu ogw’omu bulago,
    n’obukambwe ne bubafuukira ekyambalo.
(AR)Bagezze n’amaaso gaabwe ne gazimbagatana;
    balina bingi okusinga bye beetaaga.
(AS)Baduula era emboozi zaabwe zijjudde eby’okujooga.
    Batiisatiisa abalala n’okubeeragirako.
Emimwa gyabwe gyolekedde eggulu;
    n’ennimi zaabwe zoogera eby’okwewaanawaana buli wantu.
10 Abantu ba Katonda kyebava babakyukira
    ne banywa amazzi mangi.
11 Era ne beebuuza nti, “Katonda bino abimanyi atya?
    Ali Waggulu Ennyo abitegeera?”

12 (AT)Aboonoonyi bwe bafaanana bwe batyo;
    bulijjo babeera mu ddembe, nga beeyongera kugaggawala.

13 (AU)Ddala omutima gwange ngukuumidde bwereere obutayonoona,
    n’engalo zange ne nzinaaba obutaba na musango.
14 Naye mbonaabona obudde okuziba,
    era buli nkya mbonerezebwa.

15 Singa ŋŋamba nti njogere bwe nti,
    nandibadde mukuusa eri omulembe guno ogw’abaana bo.
16 (AV)Bwe nafumiitiriza ntegeere ensonga eyo;
    nakisanga nga kizibu nnyo,
17 (AW)okutuusa lwe nalaga mu watukuvu wa Katonda,
    ne ntegeera enkomerero y’ababi.

18 (AX)Ddala obatadde mu bifo ebiseerera;
    obasudde n’obafaafaaganya.
19 (AY)Nga bazikirizibwa mangu nga kutemya kikowe!
    Entiisa n’ebamalirawo ddala!
20 (AZ)Bali ng’omuntu azuukuse n’ategeera nti yaloose buloosi;
    era naawe bw’otyo, Ayi Mukama,
    bw’oligolokoka olinyooma embeera yaabwe omutali nsa.

21 Omutima gwange bwe gwanyiikaala,
    n’omwoyo gwange ne gujjula obubalagaze,
22 (BA)n’aggwaamu okutegeera ne nfuuka ataliiko kye mmanyi,
    ne mba ng’ensolo obusolo mu maaso go.

23 Newaakubadde ebyo biri bwe bityo naye ndi naawe bulijjo;
    gw’onkwata ku mukono gwange ogwa ddyo.
24 (BB)Mu kuteesa kwo onkulembera,
    era olintuusa mu kitiibwa.
25 (BC)Ani gwe nnina mu ggulu, wabula ggwe?
    Era tewali na kimu ku nsi kye neetaaga bwe mba naawe.
26 (BD)Omubiri gwange n’omutima gwange biyinza okulemwa;
    naye Katonda ge maanyi g’omutima gwange,
    era ye wange ennaku zonna.

27 (BE)Kale laba, abo bonna abatakussaako mwoyo balizikirira;
    kubanga bonna abatakwesiga obamalirawo ddala.
28 (BF)Naye nze kye nsinga okwetaaga kwe kubeera okumpi ne Katonda wange.
    Ayi Mukama Katonda, nkufudde ekiddukiro kyange;
    ndyoke ntegeezenga abantu bonna ebikolwa byo eby’ekyewuunyo.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.