Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Beginning

Read the Bible from start to finish, from Genesis to Revelation.
Duration: 365 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Yobu 11-13

Zofali Ayogera

11 Awo Zofali Omunaamasi n’ayogera nti,

(A)“Ebigambo ebyo byonna bisigale nga tebiddiddwamu?
    Omwogezi ono anaabalibwa ng’ataliiko musango?
(B)Okwogera kwo okutaliimu kunaatusirisa?
    Oduule bw’otyo wabulewo akunenya?
(C)Ogamba Katonda nti, ‘Ebirowoozo byange tebirina nsobi,
    era ndi mutukuvu mu maaso go.’
Naye, singa Katonda ayogera,
    singa abikkula akamwa ke n’akuddamu,
(D)n’akubikkulira ebyama by’amagezi;
    kubanga amagezi amatuufu ddala galiko enjuuyi bbiri.
    Manya kino: Katonda n’okwerabira yeerabira ebimu ku bibi byo.

(E)“Osobola okupima ebyama bya Katonda?
    Oyinza okunoonyereza ku Ayinzabyonna n’omumalayo?
(F)Bigulumivu okusinga eggulu, kiki ky’osobola okukola?
    Bikka okusinga obuziba bw’emagombe, kiki ky’osobola okumanya?
Obuwanvu bwabyo businga ensi
    era bugazi okusinga ennyanja.

10 (G)“Singa ajja n’akusibira mu kkomera era n’atuuza olukiiko,
    ani ayinza okumuwakanya?
11 (H)Mazima ddala amanya abantu abalimba.
    Bw’alaba ebibi, tabifaako?
12 Naye omuntu omusirusiru, talifuna magezi,
    ng’omwana gw’endogoyi ogw’omu nsi bwe gutayinza kuzaalibwa nga gusobola okufugibwa.

13 (I)“Naye bw’owaayo omutima gwo gy’ali,
    n’ogolola emikono gyo gy’ali,
14 (J)singa oggyawo ekibi ekiri mu mukono gwo,
    n’otokkiriza kibi kubeera mu weema yo,
15 (K)olwo onoositula omutwe n’obwenyi bwo nga tokwatibwa nsonyi,
    era oyimirire ng’oli munywevu awatali kutya.
16 (L)Mazima ddala ojja kwerabira emitawaana gyo,
    olijjukira bujjukizi ng’amazzi agaayita edda.
17 (M)Obulamu bujja kwaka okusinga omusana ogw’omu ttuntu,
    n’ekizikiza kijja kufuuka ng’obudde obw’oku nkya.
18 (N)Olibeera munywevu, kubanga olibeera n’essuubi;
    olitunuulira ebikwetooloodde n’owummulira mu mirembe.
19 (O)Oligalamira nga tewali n’omu akutiisa,
    era bangi abalikunoonyaako omukisa.
20 (P)Naye amaaso g’abakozi b’ebibi galiremererwa,
    era tebalisobola kuwona,
    essuubi lyabwe libeere ng’omukka ogw’enkomerero.”

Yobu Ayanukula

12 Awo Yobu n’amuddamu nti,

(Q)“Awatali kubuusabuusa muli bantu.
    Bwe mulifa n’amagezi gammwe ne gafa.
(R)Naye nange nnina amagezi ntegeera,
    temunsinga.
    Ani atabimanyi ebyo byonna?
(S)Nfuuse ekisekererwa eri mikwano gyange.
    Nze eyakoowolanga Katonda n’anziramu,
    ne nsekererwa obusekererwa, ate nga ndi mutukuvu ataliiko musango!
Abantu abali mu ddembe lyabwe batera okusekerera abali mu mitawaana,
    ng’ebizibu bwe biba ku abo ababa batuuse awazibu.
(T)Weema z’abanyazi tezibaako mutawaana,
    era abo abanyiiza Katonda babeera mu ddembe
    abo abeetikka katonda waabwe mu mikono gyabwe.
Naye buuza ensolo zijja kukuyigiriza,
    oba ebinyonyi eby’omu bbanga binaakubuulira.
Oba yogera n’ettaka linaakusomesa
    oba ebyennyanja eby’omu nnyanja binaakunnyonnyola.
(U)Biki ku bino ebitamanyi nti,
    omukono gwa Mukama gwe gukoze ebyo?
10 (V)Buli bulamu bwa kitonde buli mu mukono gwe,
    na buli mukka ogussibwa abantu bonna.
11 (W)Okutu tekugezesa bigambo
    ng’olulimi bwe lukomba ku mmere?
12 (X)Amagezi tegasangibwa mu bakaddiye?
    Okuwangaala tekuleeta kutegeera?
13 (Y)Katonda y’alina amagezi n’amaanyi;
    y’ateesa ebigambo era y’alina okutegeera.
14 (Z)Ky’amenya teri ayinza kuddamu kukizimba;
    ky’asiba mu kkomera tekiyinza kuteebwa.
15 (AA)Bw’aziyiza amazzi, ekyeeya kijja,
    bw’agata gazikiriza ensi.
16 (AB)Ye, ye nannyini maanyi n’obuwanguzi,
    abalimba n’abalimbibwa bonna babe.
17 (AC)Aggyawo abawi b’amagezi nga tebalina kantu,
    abalamuzi n’abafuula abasirusiru.
18 (AD)Bakabaka abaggyako enjegere ze beesiba ebiwato byabwe,
    n’abasibamu obukete.[a]
19 (AE)Bakabona abatwala nga tebalina kantu,
    n’asuula abasajja abaanywera.
20 (AF)Aziba emimwa egy’abawi b’amagezi abeesigwa,
    era n’aggyawo okwolesebwa kw’abakadde.
21 Ayiwa ekivume ku bakungu,
    era n’aggya ebyokulwanyisa ku b’amaanyi.
22 (AG)Abikkula ebintu eby’ebuziba eby’ekizikiza,
    n’aleeta n’ebisiikirize eby’amaanyi mu kitangaala.
23 (AH)Afuula amawanga okuba ag’amaanyi, era n’agazikiriza;
    agaziya amawanga n’agasaasaanya.
24 (AI)Abakulembeze baamawanga abaggyako okukola ebisaanidde;
    n’abasindika nga bagwirana mu ddungu eritaliimu kkubo.
25 (AJ)Bawammantira mu kizikiza awatali kitangaala;
    abaleetera okutagala ng’abatamiivu.”
13 “Laba, eriiso lyange lyalaba ebyo byonna,
    n’okutu kwange ne kuwulira ne mbitegeera.
(AK)Kye mumanyi nange kye mmanyi;
    siri wa wansi ku mmwe.
(AL)Naye neegomba okwogera n’oyo Ayinzabyonna,
    era n’okuleeta ensonga zange mu maaso ga Katonda.
(AM)Naye mmwe mumpayiriza;
    muli basawo abatagasa mmwe mwenna!
(AN)Kale singa musirika!
    Olwo lwe mwandibadde n’amagezi.
Muwulire kaakano endowooza yange,
    muwulirize okwegayirira kw’emimwa gyange.
(AO)Katonda munaamwogerera nga mwogera ebitali bya butuukirivu?
    Munaamwogerera eby’obulimba?
(AP)Munaamulaga ng’ataliiko luuyi,
    munaamuwoleza ensonga ze.
(AQ)Singa akukebera, anaakusanga oli bulungi?
    Oyinza okumulimba nga bw’oyinza okulimba abantu?
10 Tayinza butakunenya,
    singa osaliriza mu bubba.
11 (AR)Ekitiibwa kye ekisukiridde tekyandikutiisizza?
    Entiisa ye teyandikuguddeko?
12 Ebigambo byammwe ebijjukirwa ngero za vvu,
    n’okwewolereza kwammwe kwa bbumba.
13 Musirike nze njogere;
    kyonna ekinantukako kale kintuukeko.
14 Lwaki neeteeka mu mitawaana,
    obulamu bwange ne mbutwalira mu mikono gyange?
15 (AS)Ne bw’anzita, mu ye mwe nnina essuubi,
    ddala ddala nditwala ensonga zange mu maaso ge.
16 (AT)Ddala kino kinaavaamu okusumululwa kwange,
    kubanga teri muntu atatya Katonda ayinza kwetantala kujja mu maaso ge!
17 (AU)Muwulirize ebigambo byange n’obwegendereza;
    amatu gammwe gawulire bye ŋŋamba.
18 (AV)Kaakano nga bwe ntegese empoza yange,
    mmanyi nti nzija kwejeerera.
19 (AW)Waliwo ayinza okuleeta emisango gye nvunaanibwa?
    Bwe kiba bwe kityo, nzija kusirika nfe.
20 Ebintu ebyo ebibiri byokka by’oba ompa, Ayi Katonda,
    awo sijja kukwekweka.
21 (AX)Nzigyako omukono gwo,
    olekere awo okuntiisatiisa n’okunkangakanga.
22 (AY)Kale nno ompite nzija kukuddamu,
    oba leka njogere ggwe onziremu.
23 (AZ)Nsobi meka era bibi bimeka bye nkoze?
    Ndaga ekibi kyange era n’omusango gwange.
24 (BA)Lwaki okweka amaaso go,
    n’onfuula omulabe wo?
25 (BB)Onoobonyaabonya ekikoola ekifuuyiddwa omuyaga?
    Onooyigga ebisasiro ebikaze?
26 (BC)Kubanga ompadiikako ebintu ebiruma,
    n’ondeetera okuddamu okwetikka ebibi byange eby’omu buvubuka.
27 (BD)Oteeka ebigere byange mu nvuba,
    era okuuma butiribiri amakubo gange mwe mpita
    ng’oteeka obubonero ku bisinziiro by’ebigere byange.
28 (BE)Bw’atyo omuntu bw’aggwaawo ng’ekintu ekivundu,
    ng’olugoye oluliiriddwa ennyenje.”

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.