Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Beginning

Read the Bible from start to finish, from Genesis to Revelation.
Duration: 365 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Zabbuli 26-31

Zabbuli ya Dawudi.

26 (A)Onnejjeereze, Ayi Mukama,
    kubanga obulamu bwange tebuliiko kya kunenyezebwa;
nneesiga ggwe, Ayi Mukama,
    nga sibuusabuusa.
(B)Neetegereza, Ayi Mukama, ongezese;
    weekalirize ebiri mu mutima gwange ne mu mmeeme yange.
(C)Kubanga okwagala kwo kwe kunkulembera,
    era mu mazima go mwe ntambulira.

(D)Situula na bantu balimba,
    so siteesaganya na bakuusa.
(E)Nkyawa ekibiina ky’aboonoonyi;
    so situula na bakozi ba bibi.
(F)Naaba mu ngalo zange okulaga nga bwe sirina misango;[a]
    ne ndyoka nzija ku Kyoto kyo, Ayi Mukama;
(G)ne nnyimba oluyimba olw’okwebaza,
    olwogera ku bikolwa byo ebyewuunyisa.

(H)Ennyumba yo mw’obeera njagala, Ayi Mukama,
    kye kifo ekijjudde ekitiibwa kyo.
(I)Tombalira mu boonoonyi,
    wadde mu batemu,
10 (J)abakozesa emikono gyabwe okutegeka ebikolwa ebibi,
    era abali b’enguzi.
11 (K)Naye nze ntambula nga siriiko kye nnenyezebwa;
    nkwatirwa ekisa, Ayi Mukama, ondokole.

12 (L)Nnyimiridde watereevu.
    Nnaatenderezanga Mukama mu kibiina ky’abantu ekinene.

Zabbuli ya Dawudi.

27 (M)Mukama gwe musana gwange n’obulokozi bwange;
    ani gwe nnaatyanga?
Mukama ge maanyi ag’obulamu bwange;
    ani asobola okuntiisa?

(N)Abalabe bange n’abantu ababi bonna
    bwe banannumba nga baagala okunzita,
baneesittala
    ne bagwa.
(O)Newaakubadde ng’eggye linaasiisira okunneebungulula,
    omutima gwange teguutyenga;
olutalo ne bwe lunansitukirangako,
    nnaabanga mugumu.

(P)Ekintu kimu kye nsaba Mukama,
    era ekyo kye nnoonya:
okubeeranga mu nnyumba ya Mukama
    ennaku zonna ez’obulamu bwange,
ne ndabanga obulungi bwa Mukama,
    era ne nsinzizanga mu Yeekaalu ye.
(Q)Kubanga mu biseera eby’obuzibu
    anansuzanga mu nju ye;
anankwekanga mu weema ye,
    n’ankuumira ku lwazi olugulumivu.

(R)Olwo ononnyimusanga
    waggulu w’abalabe bange abanneetoolodde.
Nnaaweerangayo ssaddaaka mu weema ye nga bwe ntendereza n’eddoboozi ery’omwanguka olw’essanyu;
    nnaayimbiranga Mukama ennyimba ez’okumutenderezanga.

(S)Wulira eddoboozi lyange, Ayi Mukama, nga nkukoowoola;
    onkwatirwe ekisa onnyanukule!
Omutima gwange guwulidde eddoboozi lyo nga lyogera nti, “Munnoonye, munsinze.”
    Omutima gwange ne guddamu nti, “Nnaakunoonyanga, Ayi Mukama.”
(T)Tonneekweka,
    so tonyiigira muweereza wo,
    kubanga ggw’obadde omubeezi wange bulijjo.
Tonneggyaako, so tonsuula,
    Ayi Katonda, Omulokozi wange.
10 Kitange ne mmange bwe balindeka,
    Mukama anandabiriranga.
11 (U)Njigiriza, Ayi Mukama, by’oyagala nkole,
    era onkulembere mu kkubo lyo,
    kubanga abalabe bange banneetoolodde.
12 (V)Tompaayo mu balabe bange,
    kubanga abajulizi ab’obulimba bansitukiddeko n’enkwe zaabwe,
    okunkambuwalira.

13 (W)Nkyakakasiza ddala
    nga ndiraba obulungi bwa Mukama
    mu nsi ey’abalamu.
14 (X)Lindirira Mukama.
    Ddamu amaanyi, ogume omwoyo.
    Weewaawo, lindirira Mukama.

Zabbuli ya Dawudi.

28 (Y)Nkukoowoola ggwe, Ayi Mukama, Olwazi lwange,
    tolema kumpuliriza;
kubanga bw’onoonsiriikirira
    nzija kuba nga bali abakkirira mu kinnya.
(Z)Owulire eddoboozi ery’okwegayirira kwange,
    nga mpanise emikono gyange
okwolekera ekifo kyo ekisinga byonna obutukuvu,
    nga nkukaabirira okunnyamba.

(AA)Tontwalira mu boonoonyi,
    abakola ebibi;
abanyumya obulungi ne bannaabwe,
    so ng’emitima gyabwe gijjudde bukyayi bwerere.
(AB)Basasule ng’ebikolwa byabwe bwe biri,
    n’olw’ebyambyone bye bakoze.
Basasule olwa byonna emikono gyabwe gye bisobezza,
    obabonereze nga bwe basaanidde.

(AC)Olwokubanga tebafaayo ku mirimu gya Mukama,
    oba ku ebyo bye yakola n’emikono gye,
alibazikiririza ddala,
    era talibaddiramu.

Atenderezebwe Mukama,
    kubanga awulidde eddoboozi ly’okwegayirira kwange.
(AD)Mukama ge maanyi gange,
    era ye ngabo yange, ye gwe neesiga.
Bwe ntyo ne nyambibwa.
    Omutima gwange gunaajaguzanga, ne mmuyimbira ennyimba ez’okumwebazanga.

(AE)Mukama y’awa abantu be amaanyi,
    era kye kiddukiro eky’obulokozi bw’oyo gwe yafukako amafuta.
(AF)Olokole abantu bo, obawe omukisa abalonde bo.
    Obakulemberenga ng’omusumba, era obawanirirenga emirembe gyonna.

Zabbuli ya Dawudi.

29 (AG)Mutendereze Mukama, mmwe abaana b’ab’amaanyi.
    Mutendereze Mukama n’ekitiibwa n’amaanyi.
(AH)Mutendereze Mukama n’ekitiibwa ekisaanira erinnya lye;
    musinze Mukama mu kitiibwa eky’obutukuvu bwe.

(AI)Eddoboozi lya Mukama liwulirwa ku mazzi;
    Katonda ow’ekitiibwa abwatuka,
    n’eddoboozi lye ne liwulirwa ku mazzi amangi.
(AJ)Eddoboozi lya Mukama ly’amaanyi;
    eddoboozi lya Mukama lijjudde ekitiibwa.
(AK)Eddoboozi lya Mukama limenya emivule;
    Mukama amenyaamenya emivule gya Lebanooni.
(AL)Aleetera Lebanooni okubuukabuuka ng’akayana,
    ne Siriyooni[b] ng’ennyana y’embogo.
Eddoboozi lya Mukama
    libwatukira mu kumyansa.
(AM)Eddoboozi lya Mukama likankanya eddungu;
    Mukama akankanya eddungu lya Kadesi.
(AN)Eddoboozi lya Mukama linyoolanyoola emivule,
    n’emiti mu bibira ne gitasigalako makoola.
Mu Yeekaalu ye, abantu bonna boogerera waggulu nti, “Ekitiibwa kibe eri Mukama!”

10 (AO)Mukama atuula waggulu w’amataba ku ntebe ye ey’obwakabaka.
    Mukama ye Kabaka afuga emirembe gyonna.
11 (AP)Mukama awa abantu be amaanyi;
    Mukama awa abantu be emirembe.

Zabbuli n’Oluyimba. Okuwaayo Yeekaalu. Zabbuli ya Dawudi.

30 (AQ)Nnaakugulumizanga, Ayi Mukama,
    kubanga wannyimusa;
    n’otoganya balabe bange kunneeyagalirako.
(AR)Ayi Mukama, nakukaabirira onnyambe,
    n’omponya.
(AS)Ayi Mukama, omwoyo gwange waguggya emagombe,
    n’omponya ekinnya.

(AT)Muyimbire Mukama nga mumutendereza, mmwe abatukuvu be;
    mutendereze erinnya lye ettukuvu.
(AU)Kubanga obusungu bwe bwa kiseera buseera,
    naye obulungi bwe bwa mirembe gyonna.
Amaziga gayinza okubaawo ekiro kyokka
    essanyu ne lijja nga bukedde.

Bwe namala okunywera
    ne njogera nti, “Sigenda kusiguukululwa.”
(AV)Ayi Mukama, bwe wanjagala,
    wanyweza olusozi lwange;
naye bwe wankweka amaaso go
    ne neeraliikirira.
Ggwe gwe nakoowoola, Ayi Mukama;
    ne nkukaabirira Mukama, onsaasire.
(AW)“Kingasa ki bwe nzika mu kinnya
    ne nzikirira?
Enfuufu eneekutenderezanga
    n’etegeeza abantu obwesigwa bwo?
10 Mpuliriza, Ayi Mukama, onsaasire;
    Ayi Mukama, onnyambe.”

11 (AX)Ofudde okwaziirana kwange amazina;
    onnyambuddemu ebibukutu, n’onnyambaza essanyu.
12 (AY)Omutima gwange gulemenga kusirika busirisi, wabula gukuyimbirenga ennyimba ez’okukutenderezanga.
    Ayi Mukama, Katonda wange, nnaakwebazanga emirembe gyonna.

Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Dawudi.

31 Ayi Mukama, ggwe kiddukiro kyange,
    leka nneme kuswazibwa.
    Ndokola mu butuukirivu bwo.
(AZ)Ontegere okutu kwo
    oyanguwe okunziruukirira.
Beera ekiddukiro kyange eky’olwazi
    era ekigo eky’amaanyi eky’okumponya.
(BA)Nga bw’oli olwazi lwange era ekigo kyange;
    olw’erinnya lyo onkulembebere era onnuŋŋamye.
(BB)Omponye mu mutego gwe banteze;
    kubanga ggwe kiddukiro kyange.
(BC)Nteeka omwoyo gwange mu mikono gyo;
    ondokole, Ayi Mukama, Katonda ow’amazima.

(BD)Nkyawa abo abeesiga bakatonda abalala;
    nze nneesiga Mukama.
(BE)Nnaajaguzanga ne nsanyukira mu kwagala kwo,
    kubanga olabye okubonaabona kwange
    era omanyi ennaku endi ku mwoyo.
(BF)Tompaddeeyo mu balabe bange,
    naye otadde ebigere byange mu kifo ekigazi.

(BG)Onsaasire, Ayi Mukama, kubanga ndi mu nnaku nnyingi;
    amaaso gange gakooye olw’ennaku;
    omwoyo gwange n’omubiri gwange nabyo binafuye olw’obuyinike.
10 (BH)Obulamu bwange buweddewo olw’obunaku n’emyaka gyange
    ne giggwaawo olw’okusinda.
Amaanyi gampweddemu olw’okwonoona kwange,
    n’amagumba ganafuye.
11 (BI)Abalabe bange bonna bansekerera,
    banneetamiddwa.
Nfuuse ekyenyinyalwa mu mikwano gyange,
    n’abandaba mu kkubo banziruka.
12 (BJ)Nneerabiddwa ng’eyafa edda;
    nfuuse ng’ekibumbe ekyatifu.
13 (BK)Buli ludda mpulirayo obwama
    nga bangeya;
bye banteesaako
    nga basala olukwe okunzita.

14 (BL)Naye nneesiga ggwe, Ayi Mukama;
    nga njogera nti, “Oli Katonda wange.”
15 (BM)Entuuko zange ziri mu mikono gyo;
    ondokole mu mikono gy’abalabe bange
    n’abangigganya.
16 (BN)Amaaso go ogatunuulize omuweereza wo;
    ondokole n’okwagala kwo okutaggwaawo.
17 (BO)Ayi Mukama tondeka kuswazibwa,
    kubanga nkukoowoola;
leka abo ababi baswale,
    era bagalamire emagombe nga basirise.
18 (BP)Akamwa kaabwe akayogera eby’obulimba
    kasirisibwe,
kubanga boogera ebitaliimu ku batuukirivu bo,
    nga babyogeza amalala n’okunyooma.

19 (BQ)Obulungi bwo,
    bwe waterekera abo abakutya nga buyitirivu,
n’obuwa mu lwatu
    abo abaddukira gy’oli.
20 (BR)Obalabirira n’obawonya enkwe z’abalabe baabwe,
    n’obakuuma bulungi mu nnyumba yo,
n’ennyombo z’abantu
    ne zitabatuukako.

21 (BS)Mukama atenderezebwenga
    kubanga yandaga okwagala kwe okungi,
    bwe nnali mu kibuga kye baali bazingizza.
22 (BT)Bwe natya ennyo
    ne njogera nti, “Ngobeddwa mu maaso go.”
Kyokka wampulira nga nkukaabirira
    n’onsaasira.

23 (BU)Mwagalenga Mukama abatukuvu be mwenna!
    Mukama akuuma abo abamwesiga,
    naye ab’amalala ababonereza mu bujjuvu.
24 (BV)Muddeemu amaanyi mugume omwoyo
    mmwe mwenna abalina essuubi mu Mukama.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.