Beginning
35 Eriku n’ayongera okwogera nti,
2 “Olowooza kiba kituufu ggwe okugamba nti, Katonda ananziggyako omusango.
Oyogera nti, obutuukirivu bwange businga obwa Katonda.
3 (A)Ate obuuza nti, ‘Nganyulwa ntya?’
Kirungi ki kye nfuna mu kwonoona kwange?
4 “Nandyagadde okukuddamu
ne mikwano gyo egyo gy’oli nagyo.
5 (B)Tunula eri eggulu olabe;
tunuulira ebire, ebiri waggulu ennyo okukusinga.
6 (C)Singa oyonoona ekyo kimukwatako kitya?
Ebyonoono byo bwe byeyongera, ekyo kimukolako ki?
7 (D)Bw’oba omutuukirivu, kiki ky’oba omuwadde,
oba kiki ky’aba afunye okuva mu ngalo zo?
8 Okwonoona kwo kukosa muntu nga ggwe,
era n’obutuukirivu bwo bukwata ku baana b’abantu.
9 (E)Abantu bakaaba olw’okunyigirizibwa okw’amaanyi,
balaajaanira ab’omukono ogw’amaanyi.
10 (F)Naye tewali n’omu agamba nti, Aluwa Mukama Omutonzi wange
atuwa ennyimba ekiro,
11 (G)atuyigiriza ebingi okusinga ensolo ez’omu nsiko,
era n’atufuula bagezi okusinga ebinyonyi eby’omu nsiko?
12 (H)Newaakubadde nga bakaaba, tayinza kuwulira
n’addamu kukaaba kw’abasajja ab’amalala abakozi b’ebibi.
13 (I)Ddala ddala Katonda tawuliriza kukoowoola kwabwe okwo okutaliimu;
Ayinzabyonna takufaako.
14 (J)Kale kiba kitya
bw’ogamba nti tomulaba,
era nti, Omusango gwo guli mu maaso ge
era oteekwa okumulindirira;
15 oba nti, ne bw’asunguwala tabonereza
era tafaayo nnyo ku butali butuukirivu.
16 (K)Kale nno Yobu ayasamya akamwa ke okwogera ebitaliimu;
obutamanya bumwogeza ebigambo olukunkumuli.”
36 Eriku ne yeeyongera okwogera nti,
2 “Yongera okuŋŋumiikirizaako katono nkulage,
nkyalina bye nnina okwogera ebifa ku Katonda.
3 (L)Amagezi ge nnina gava wala,
era mmanyi nga Omutonzi wange alamula mu bwenkanya.
4 (M)Eky’amazima ebigambo byange si bikyamu,
oyo akakasa by’amanyi y’ayogera naawe.
5 (N)“Laba, Katonda wa buyinza, tanyooma bantu;
w’amaanyi, anywerera ku bigendererwa bye.
6 (O)Talamya bakozi ba bibi,
era awa ababonyaabonyezebwa ebibasaanira.
7 (P)Taggya maaso ge ku batuukirivu,
abatuuza ku ntebe ey’obwakabaka
n’abagulumiza emirembe n’emirembe.
8 (Q)Naye abantu bwe baba basibiddwa enjegere
nga banywezeddwa n’emiguwa egy’okulumwa
9 (R)n’abategeeza ensobi zaabwe, n’okwonoona kwabwe,
nti, beewaggudde,
10 (S)aggula amatu gaabwe bawulirize okunenyezebwa
n’abalagira beenenye ekibi kyabwe.
11 (T)Bwe bamugondera ne bamuweereza,
ennaku zaabwe zonna balizimala mu kwesiima,
era n’emyaka gyabwe mu kusanyuka.
12 (U)Naye bwe batamugondera,
baalizikirizibwa n’ekitala,
bafe nga tebalina magezi.
13 (V)“Ab’emitima egitatya Katonda baba n’obukyayi.
Ne bw’abasiba, tebamukaabirira abasumulule.
14 (W)Bafiira mu buvubuka bwabwe
era obulamu bwabwe buzikiririra mu basajja abenzi.
15 Anunula anyigirizibwa mu kubonaabona kwe,
n’aggula okutu kwe mu kujoogebwa kwe.
16 (X)“Akusendasenda okukuggya mu kamwa k’okubonaabona,
akuteeke mu kifo ekigazi ekitaliimu kuziyizibwa,
omanye emirembe gy’emeeza yo ejjudde emmere ennungi.
17 (Y)Naye kaakano weetisse omugugu ogw’okusalirwa omusango abakozi b’ebibi gwe basaanira;
okusalirwa omusango n’obwenkanya byakunyweza.
18 (Z)Weegendereze oleme kukkiriza kusendebwasendebwa;
obunene bw’enguzi buleme okukukyamya.
19 Obugagga bwo
oba okufuba kwo kwonna
binaakuyamba okukuggya mu buyinike?
20 (AA)Teweegomba budde bwa kiro
olyoke owalule abantu okuva mu bifo byabwe.
21 (AB)Weegendereze oleme kukola bitali bya butuukirivu,
by’osinga okwagala okukira okubonyaabonyezebwa.
22 (AC)“Laba Katonda yagulumira mu maanyi ge;
ani ayigiriza nga ye?
23 (AD)Ani eyali amukubidde amakubo,
oba okumugamba nti, ‘Ky’okoze si kituufu?’
24 (AE)Jjukira ng’oteekwa okugulumizanga emirimu gye,
abantu gye bayimba mu nnyimba.
25 Abantu bonna baagiraba,
omuntu agirengerera wala.
26 (AF)Laba, Katonda agulumizibwe! Assukiridde okutegeera kwaffe;
obungi bw’emyaka gye tebunoonyezeka.
27 (AG)“Kubanga akuŋŋaanya amatondo g’amazzi,
agafuuka enkuba etonnya mu bugga;
28 (AH)ebire bivaamu amazzi gaabyo,
enkuba n’ekuba abantu.
29 (AI)Ani ayinza okutegeera engeri gy’asaasaanyamu ebire,
okubwatuka okuva ku kituuti kye?
30 Laba, asaasaanya okumyansa kw’eggulu,
era n’abikka obuziba bw’ennyanja.
31 (AJ)Eyo y’engeri gy’afugamu amawanga,
n’agawa emmere mu bungi.
32 (AK)Emikono gye agijjuza eraddu,
n’agiragira ekube ebifo bye yeerondeddemu.
33 Okubwatuka kwayo kulangirira kibuyaga ajja,
n’ente ne zirangirira okujja kwayo.”
37 “Kino kikankanya omutima gwange,
ne gubuuka okuva mu kifo kyagwo.
2 (AL)Wuliriza okubwatuka kw’eddoboozi lye,
n’okuwuluguma okuva mu kamwa ke.
3 Asumulula eggulu ne limyansa wansi w’eggulu wonna,
n’aliragira ligende ku nkomerero y’ensi.
4 Kino oluggwa, okuwuluguma kw’eddoboozi lye kwe kuddako,
abwatuka n’eddoboozi lye ery’omwanguka,
era eddoboozi lye bwe liwulirwa,
tewabaawo kisigala nga bwe kibadde.
5 (AM)Eddoboozi lya Katonda libwatuka mu ngeri ey’ekitalo;
akola ebintu ebikulu ebisukka okutegeera kwaffe.
6 (AN)Agamba omuzira nti, ‘Ggwa ku nsi,’
ate eri enkuba etonnya nti, ‘Ttonnya nnyo.’
7 (AO)Emirimu gya buli muntu giyimirira,
buli omu n’alyoka amanya amaanyi ga Katonda.
8 (AP)Ensolo ne ziryoka zessogga empuku zaazo,
ne zigenda zeekukuma.
9 Omuyaga ne gulyoka guva mu nnyumba yaagwo,
n’obunnyogovu ne buva mu mpewo ekuŋŋunta.
10 (AQ)Omuzira ne guva mu mukka gwa Katonda
n’amazzi amangi ne gekwata kitole.
11 (AR)Ebire abijjuza amatondo g’amazzi,
n’asaasaanya okumyansa kw’eggulu.
12 (AS)Byetooloolatooloola nga y’abiragira,
ne bituukiriza byonna by’abiragira,
ku nsi yonna okubeera abantu.
13 (AT)Bwe kuba kubonereza, oba okufukirira ensi
oba okulaga okwagala kwe, atonnyesa enkuba.
14 “Wuliriza kino Yobu;
sooka oyimirire olowooze ku bikolwa bya Katonda eby’ettendo.
15 Omanyi Katonda engeri gy’alagiramu ebire,
n’aleetera eggulu okumyansa?
16 (AU)Omanyi engeri ebire gye bituulamu mu bbanga,
amakula g’emirimu gy’oyo eyatuukirira mu kumanya?
17 Ggwe alina ebyambalo ebibuguma,
ensi bw’eba ng’ekkakkanyizibbwa embuyaga ez’obukiikaddyo,
18 (AV)oyinza okumwegattako ne mubamba eggulu,
eryaguma ne libeera ng’endabirwamu ensanuuse?
19 “Tubuulire kye tunaamugamba;
tetusobola kuwoza nsonga zaffe gy’ali olw’ekizikiza kye tulimu.
20 Asaanidde okubuulirwa kye njagala okwogera?
Eriyo omuntu yenna ayinza okusaba okumalibwawo?
21 Kaakano tewali n’omu ayinza kutunula mu njuba,
olw’engeri gy’eyakamu ku ggulu,
ng’empewo emaze okuyita, n’eyelula ebire.
22 Mu bukiikakkono evaayo zaabu;
Katonda ajja mu kitiibwa eky’amaanyi.
23 (AW)Ayinzabyonna tatuukikako era agulumidde mu maanyi,
mu bwenkanya bwe era ne butuukirivu bwe, tawaliriza muntu yenna.
24 (AX)Noolwekyo abantu bamutya,
takitwala ng’ekikulu olw’abo abeerowooza okuba abagezi mu mitima gyabwe.”
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.