Beginning
Eriku Ayogera
32 (A)Awo abasajja abo abasatu ne balekeraawo okwogera ne Yobu, kubanga yali yeeraba nga mutuukirivu. 2 (B)Naye Eriku, mutabani wa Balakeri Omubuzi, ow’omu kika kya Laamu, n’anyiigira nnyo Yobu olw’okweraba ng’atalina musango, naye n’anenya Katonda. 3 Yanyiigira ne mikwano gye abasatu, kubanga baalemwa okulumiriza Yobu kyokka nga baali bamusingisizza omusango. 4 Eriku yali alinzeeko okwogera ne Yobu kubanga banne baali bakulu okumusinga. 5 Naye bwe yalaba ng’abasajja bano abasatu tebakyalina kirala kya kwogera, n’anyiiga.
6 (C)Awo Eriku mutabani wa Balakeri Omubuzi n’addamu n’ayogera nti,
“Nze ndi muto mu myaka,
mmwe muli bakulu,
kyenavudde ntya
okubabuulira kye ndowooza.
7 Nalowoozezza nti, Emyaka gye gisaanye okwogera,
n’emyaka emingi gye gisaanye okuyigiriza amagezi.
8 (D)Kyokka omwoyo oguli mu muntu,
nga gwe mukka gw’oyo Ayinzabyonna, gwe guwa omuntu okutegeera.
9 (E)Abakadde si be bokka abalina amagezi,
wadde abakulu bokka okuba nga be bategeera ekituufu.
10 “Kyenva ŋŋamba nti, Mumpulirize,
nange mbabuulire kye mmanyi.
11 Nassizzaayo omwoyo nga mwogera,
nawulirizza ensonga ze mwawadde nga munoonya eby’okwogera.
12 Nabawulirizza bulungi.
Kyokka tewali n’omu ku mmwe yalaze Yobu bw’ali omukyamu;
tewali n’omu ku mmwe eyayanukudde ebigambo bye.
13 (F)Mwegendereze temugamba nti, ‘Tusanze omuntu ow’amagezi;
muleke Katonda amuwangule so si bantu.’
14 Kyokka Yobu ebigambo bye tabyolekezza nze,
era sijja kumuddamu na bigambo byammwe.
15 “Basobeddwa, tebalina kya kwogera,
ebigambo bibaweddeko.
16 Kaakano nsirike busirisi,
nga bayimiridde buyimirizi, nga tebalina kye boogera?
17 Nange nnina eky’okwogera,
era nnaayogera kye mmanyi,
18 kubanga nzijjudde ebigambo,
era omwoyo ogwange gumpaliriza okwogera.
19 Munda mu nze omutima guli nga wayini, asaanikiddwa mu ccupa,
ng’amaliba amaggya agalindiridde okwabika.
20 Nteekwa okwogera, nsobole okufuna eddembe,
nteekwa okwasamya akamwa kange mbeeko kye njogera.
21 (G)Sijja kubaako gwe nkwatirwa nsonyi,
era sijja na kuwaana muntu yenna.
22 Kubanga singa mpaaniriza,
Omutonzi wange yandyanguye okunziggyawo.”
33 (H)“Kaakano ggwe Yobu, wuliriza ebigambo byange:
ssaayo omwoyo ku byonna bye njogera.
2 Laba nnaatera okwasamya akamwa kange,
ebigambo byange bindi ku lulimi.
3 (I)Ebigambo byange biva mu mutima omulongoofu;
olulimi lwange, mu bwesimbu, lwogera bye mmanyi.
4 (J)Omwoyo wa Katonda ye yankola,
era omukka gw’oyo Ayinzabyonna gumpa obulamu.
5 (K)Onnyanukule nno bw’oba osobola,
teekateeka ebigambo byo onjolekere.
6 (L)Laba, nange ndi ggwe mu maaso ga Katonda.
Nange nava mu bbumba.
7 (M)Tobaako ky’otya,
sijja kukunyigiriza.
8 Ddala ddala oyogedde mpulira,
ebigambo byennyini mbiwulidde ng’ogamba nti,
9 (N)Ndi mulongoofu sirina kibi,
siriiko musango so mu nze temuli butali butuukirivu.
10 (O)Kyokka Katonda anteekako omusango,
anfudde omulabe we.
11 (P)Asiba ebigere byange mu nvuba,
antwala okuba omulabe we.
12 (Q)“Naye leka nkubuulire, mu kino toli mutuufu.
Katonda asinga omuntu.
13 (R)Lwaki omwemulugunyiza nti,
taddamu bigambo bya muntu yenna?
14 (S)Kubanga Katonda ayogerera mu ngeri emu, n’awalala n’ayogerera mu ngeri endala,
wadde ng’omuntu tassaayo mwoyo.
15 (T)Mu kirooto mu kwolesebwa ekiro
ng’otulo tungi tukutte abantu
nga beebase ku bitanda byabwe,
16 (U)aggula amatu g’abantu,
n’abalabula n’ebyekango,
17 alyoke akyuse omuntu okumuggya mu bikolwa ebibi
n’amalala,
18 (V)aziyize emmeeme ye okukka mu bunnya,
n’obulamu bwe buleme okuzikirira n’ekitala.
19 (W)“Omuntu ayinza okubonerezebwa, olumbe ne lumulumira ku kitanda kye,
n’alumwa olutatadde mu magumba ge,
20 (X)obulamu bwe ne bwetamira ddala emmere,
emmeeme ye n’ekyayira ddala ebyassava.
21 (Y)Omubiri gwe gugwako ku magumba,
n’amagumba ge ne gafubutukayo gye gaali geekwese,
22 (Z)emmeeme ye n’esembera kumpi n’obunnya;
obulamu bwe ne bulaga eri abo abaleeta okufa.
23 (AA)Singa wabaawo malayika ku ludda lwe,
amuwolereza, omu ku lukumi,
okubuulira omuntu ekigwanidde;
24 (AB)yandimukwatiddwa ekisa n’amugamba nti,
‘Muwonye aleme kusuulibwa magombe,
mmusasulidde omutango,’
25 (AC)omubiri gwe guzzibwa buggya ng’ogw’omwana omuwere,
era guddayo ne gubeera nga bwe gwali mu nnaku ze ez’obuvubuka.
26 (AD)Omuntu asaba Katonda, Katonda n’amukwatirwa ekisa.
Alaba amaaso ga Katonda n’ajaguza n’essanyu,
Katonda n’amuddiza nate ekifo kye eky’obutuukirivu.
27 (AE)Awo omuntu n’akomawo eri abantu n’abagamba nti,
Nayonoona, ne nkola ekyo ekitaali kirungi,
naye ne sibonerezebwa nga bwe kyali kiŋŋwanidde.
28 (AF)Yanunula emmeeme yange n’amponya okukka mu bunnya;
kyenaava mbeera omulamu ne nsigala nga mpoomerwa ekitangaala.
29 (AG)“Bw’atyo Katonda bw’akola omuntu
emirundi ebiri oba esatu,
30 (AH)okuzza emmeeme ye ng’agiggya emagombe,
ekitangaala eky’obulamu kimwakire.
31 “Yobu, weetegereze nnyo, ompulirize;
siriikirira nkubuulire.
32 Bw’oba ng’olina eky’okwogera kyonna, nziraamu;
yogera kubanga njagala wejjeerere.
33 (AI)Bwe kitaba kityo, mpuliriza;
sirika nange nnaakuyigiriza amagezi.”
34 Awo Eriku ne yeeyongera okwogera nti,
2 “Muwulire ebigambo byange, mmwe abasajja ab’amagezi;
mumpulirize mmwe abayivu.
3 (AJ)Kubanga okutu kugezesa ebigambo
ng’olulimi bwe lugezesa emmere.
4 (AK)Leka twesalirewo ekituufu;
muleke tulondewo ekisaanidde.
5 (AL)“Yobu agamba nti, ‘Siriiko musango,
naye Katonda agaanye okusala omusango gwange mu mazima.
6 (AM)Wadde nga ndi mutuufu,
ntwalibwa okuba omulimba,
wadde nga siriiko musango,
akasaale ke kanteseeko ekiwundu ekitawonyezeka.’
7 (AN)Musajja ki ali nga Yobu,
anywa okunyoomebwa ng’anywa amazzi?
8 (AO)Atambula n’abakozi b’ebibi,
mukwano gw’abo abakola ebitali bya butuukirivu.
9 (AP)Kubanga agambye nti, ‘Omuntu talina kyaganyulwa
bw’agezaako okusanyusa Katonda.’
10 (AQ)Noolwekyo mumpulirize mmwe abasajja abalina okutegeera.
Kikafuuwe Katonda okukola ebibi,
wadde Ayinzabyonna okukola ebikyamu.
11 (AR)Asasula omuntu olw’ekyo ky’aba akoze;
n’amutuusaako ebyo ebimusaanidde olw’empisa ze.
12 (AS)Weewaawo amazima gali nti, Katonda tasobya.
Ayinzabyonna tasaliriza musango.
13 (AT)Obuyinza yabuggya eri ani okukulembera ensi?
Ani eyamuwa olukusa okufuga ensi yonna?
14 (AU)Singa asalawo n’atwala omwoyo gw’omuntu
awamu n’omukka gwe,
15 (AV)abantu bonna bandizikiriridde wamu,
era omuntu yandizzeeyo mu nfuufu.
16 “Bw’oba olina okutegeera, wuliriza kino;
wuliriza kye ŋŋamba.
17 (AW)Oyo atayagala bwenkanya asobola okufuga?
Onoosalira abatuukirivu n’oyo ow’amaanyi omusango?
18 (AX)Oyo si ye agamba bakabaka nti, ‘Tolina mugaso,’
n’abakungu nti, ‘Oli mukozi wa bibi,’
19 (AY)atattira balangira ku liiso
era nga tafa ku bagagga kusinga bw’afa ku baavu,
kubanga egyo gye mirimu gy’emikono gye?
20 (AZ)Mu kaseera buseera baba bafiiridde wakati mu ttumbi.
Abantu banyeenyezebwa ne baggyibwawo.
Abo ab’amaanyi batwalibwa n’omukono ogutali gw’abantu.
21 (BA)“Amaaso ge gatunuulira amakubo g’abantu;
atunuulira buli kigere kye batambula.
22 (BB)Teri kifo kikwafu wadde ekisiikirize eky’amaanyi,
ababi gye bayinza okwekweka.
23 (BC)Katonda teyeetaaga kwongera kwekebejja bantu
okulabika mu maaso ge okusalirwa omusango.
24 (BD)Awatali kwebuuza ku muntu yenna, amenyaamenya ab’amaanyi
n’ateekawo abalala mu kifo kyabwe.
25 Olw’okubanga amanyi ebikolwa byabwe,
abamalamu amaanyi ekiro ne babetentebwa.
26 Ababonereza olw’ebikolwa byabwe ebibi
abantu bonna nga balaba,
27 (BE)kubanga baamuvaako ne balekeraawo okumugoberera
ne bataddayo kufaayo n’akatono ku makubo ge gonna.
28 (BF)Baleetera abaavu okukaaba, ne kumutuukako
era n’awulira okukaaba kw’abanyigirizibwa.
29 Naye bw’asalawo obutabaako ky’ayogera, ani ayinza okumunenya?
Bwakweka amaaso ge ani ayinza okumulaba?
Eggwanga n’omuntu abalinako obuyinza bwe bumu;
30 (BG)aziyiza omuntu atatya Katonda okufuga,
aleme okutega abantu emitego.
31 “Singa omuntu agamba Katonda nti,
gunsinze, sikyaddayo kwonoona,
32 (BH)kye sitegeera kinjigirize,
bwe mba nga nsobezza sikyaddayo kukikola,
33 (BI)olwo Katonda akuddemu nga bw’oyagala,
akuleke ng’ogaanye okwenenya?
Kaakano ggwe olina okusalawo, so sinze;
noolwekyo mbuulira ggwe ky’omanyi.
34 “Abantu abalina okutegeera mumbuulire,
abasajja abagezi abawulira muntegeeze,
35 (BJ)‘Yobu ayogeza butamanya
ebigambo bye tebiriimu kwolesebwa.’
36 (BK)Singa Yobu agezesebbwa okutuusa ku nkomerero,
olw’okwogera ng’abasajja abakozi b’ebibi!
37 (BL)Kubanga ku kibi kye ayongeddeko obujeemu,
n’akuba mu ngalo wakati mu ffe,
n’ayongera okwogera ng’awakanya Katonda.”
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.