Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Beginning

Read the Bible from start to finish, from Genesis to Revelation.
Duration: 365 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Zabbuli 74-77

Zabbuli ya Asafu.

74 (A)Ayi Katonda, lwaki otusuulidde ddala ennaku zonna?
    Obusungu bwo lwaki bunyookera ku ndiga z’omu ddundiro lyo?
(B)Ojjukire abantu bo be wagula edda;
    ekika kye wanunula okuba ababo.
    Ojjukire olusozi Sayuuni gye wabeeranga.
Tambulatambulako mu bifo by’ekibuga olabe bwe byonooneddwa!
    Olabe omulabe nga bw’azikirizza ennyumba yo.

(C)Abalabe bo baleekaanira mu kifo kyo gye twakuŋŋaaniranga;
    ne bagenda nga bakiramba n’ebendera zaabwe.
(D)Beeyisa ng’abantu ababagalidde embazzi
    abatema emiti mu kibira.
(E)Batemyetemye n’embazzi ebintu ebyole,
    era ne babissessebbula n’obubazzi.
Bookezza awatukuvu wo;
    ne bafaafaaganya ekifo kyo eky’Erinnya lyo.
(F)Baateesa nga bagamba nti, “Tujja kubazikiririza ddala!”
    Baayokya dda amasinzizo ga Katonda gonna agali mu nsi eno.

(G)Tetukyalaba ku bubonero bwo; ne bannabbi tewakyali n’omu.
    So tewali n’omu mu ffe ategeera ebyo lwe birikoma.
10 (H)Ayi Katonda, omulabe alituusa ddi ng’akuduulira?
    Omulabe anavvoolanga erinnya lyo ennaku zonna? Bazikirize.
11 (I)Lwaki totuyambye n’omukono gwo ogwa ddyo?
    Kiki ekikukuumisa omukono gwo ogwa ddyo mu kifuba kyo?

12 (J)Naye ggwe, Ayi Katonda, oli Kabaka wange wa dda;
    gw’oleeta obulokozi mu nsi.

13 (K)Ggwe wayawula mu mazzi g’ennyanja;
    omulabe n’omuzikiririza mu mazzi.
14 Wamenyaamenya emitwe gya lukwata ogunene;
    n’oguwaayo okuba ekyokulya eri ebitonde eby’omu ddungu.
15 (L)Ggwe wazibukula ensulo n’emyala;
    ate n’okaza n’emigga
    egyakulukutanga bulijjo.
16 (M)Obudde bw’emisana bubwo, n’ekiro kikyo;
    ggwe wakola omwezi n’enjuba.
17 (N)Ggwe wateekawo ensalo z’ensi;
    ggwe wakola ebiro eby’ekyeya n’eby’obutiti.

18 (O)Jjukira ebyo, Ayi Katonda, olabe okuduula kw’omulabe,
    n’abantu abasirusiru nga bwe banyoomodde erinnya lyo.
19 (P)Ayi Katonda, towaayo mwoyo gwa jjiba lyo eri ensolo enkambwe;
    so teweerabiriranga ddala bulamu bw’abantu bo ababonyaabonyezebwa.
20 (Q)Ojjukire endagaano yo;
    kubanga ensi ejjudde ekizikiza n’abantu abakambwe.
21 (R)Tokkiriza abo abajoogebwa okuwangulwa;
    era leka abaavu n’abeetaaga batenderezenga erinnya lyo ennaku zonna.
22 (S)Yimuka, Ayi Katonda, osalire abalabe baffe omusango.
Jjukira abo abatakussaamu kitiibwa, nga bwe bakuduulira obudde okuziba.
23 (T)Tonyooma luyoogaano lw’abalabe bo,
    n’okuleekaana okwa buli kiseera.

Ya Mukulu wa Bayimbi. Ku ddoboozi, “Tozikiriza.” Zabbuli ya Asafu. Oluyimba.

75 (U)Tukwebaza, Ayi Katonda.
    Tukwebaza, kubanga Erinnya lyo liri kumpi.
    Abantu boogera ku bikolwa byo eby’ekyewuunyo.

Mukama Katonda oyogera nti, “Neerondera ekiseera kye neetegekera
    era nsala omusango gwa bwenkanya.
(V)Kyokka newaakubadde ng’ensi eyuuguuma abantu ne beeraliikirira,
    naye nze nywezezza empagi zaayo.”
(W)Nalabula ab’amalala bagaleke,
    n’ababi bakomye okuyimusa ejjembe lyabwe ng’ery’embogo.
Mukomye okuyimusa ejjembe lyammwe eri eggulu
    n’okwogera nga muduula.

Kubanga okugulumizibwa tekuva mu ddungu
    era n’obuyinza tebuva buvanjuba wadde obugwanjuba bw’ensi,
(X)wabula biva eri Katonda;
    era ye y’agulumiza omu ate n’atoowaza omulala.
(Y)Mukama akutte mu mukono gwe ekikompe eky’obusungu bwe
    ekijjudde omwenge ogutabuddwamu ebirungo era kijjudde ejjovu;
akifuka, aboonoonyi bonna ku nsi
    ne bakinywa ne bakimaliramu ddala.

(Z)Naye nze nnaatendanga obulungi bwa Mukama;
    nnaatenderezanga Katonda wa Yakobo ennaku zonna.
10 (AA)Mukama ayogera nti, Ababi ndibamalamu amaanyi,
    naye abatuukirivu nnaabongeranga amaanyi.

Ya Mukulu wa Bayimbi. Eyimbibwa n’ebivuga eby’enkoba. Zabbuli ya Asafu.

76 Katonda amanyiddwa mu Yuda;
    erinnya lye kkulu mu Isirayiri.
(AB)Eweema ye eri mu Yerusaalemi;
    era abeera mu Sayuuni.
(AC)Eyo gy’asinziira n’amenyaamenya obusaale bw’omulabe obujja bwesooza;
    n’engabo n’ebitala n’ebyokulwanyisa byonna eby’olutalo.

Owa ekitangaala,
    oli wa kitiibwa okusinga ensozi ennene eziriko ensolo eziyiggibwa.
(AD)Ab’amaanyi bagalamira nga banyaguluddwa,
    beebaka ne batasobola kugolokoka,
ne watabaawo n’omu asobola
    okuyimusa omukono gwe.
(AE)Bw’obaboggolera, Ayi Katonda wa Yakobo,
    abeebagala embalaasi ezisika ebigaali bagwiira wamu n’ebigaali ne batagolokoka.

(AF)Ggwe ayi Katonda, osaanira okutiibwanga.
    Ani ayinza okuyimirira mu maaso go ng’osunguwadde?
(AG)Osalira abantu emisango ng’osinziira mu ggulu,
    ensi n’etya n’ekankana n’esirika olw’obusungu bwo,
(AH)bw’ogolokoka okusala omusango,
    okuwonya ababonyaabonyezebwa mu nsi.
10 (AI)Bw’osunguwalira omuntu kikuleetera okutenderezebwa,
    n’abo b’otasunguwalidde ne beegendereza.
11 (AJ)Mweyame obweyamo bwammwe eri Mukama Katonda wammwe, era mubutuukirizenga;
    bonna abamuli okumpi bamuleetere ebirabo,
    kubanga asaanidde okutiibwa.
12 Mukama akkakkanya abalangira,
    ne bakabaka b’ensi bamutya.

Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Asafu.

77 (AK)Nnaakaabirira Katonda ambeere,
    ddala nnaakaabirira Katonda nga musaba ampulire.
(AL)Bwe nnali mu nnaku, nanoonya Mukama,
    ekiro kyonna ne ngolola emikono gyange obutakoowa;
    emmeeme yange neegaana okusanyusibwa.

(AM)Nakujjukiranga, Ayi Katonda ne nsinda,
    ne nfumiitiriza emmeeme yange n’ezirika.
Tewaŋŋanya kwebaka; natawaanyizibwa nnyo ne sisobola kwogera.
(AN)Ne ndowooza ku biseera eby’edda,
    ne nzijukira emyaka egyayita.
Najjukiranga ennyimba zange ekiro,
    ne nfumiitiriza nga bwe neebuuza mu mutima gwange nti:

(AO)“Mukama anaatusuuliranga ddala ennaku zonna
    naataddayo kutulaga kisa kye?
(AP)Okwagala kwe okutaggwaawo kukomedde ddala?
    Kye yasuubiza kibulidde ddala emirembe n’emirembe?
(AQ)Katonda yeerabidde ekisa kye?
    Asunguwalidde ddala ne yeggyako n’okusaasira kwe?”

10 (AR)Awo ne ndowooza nti, “Ebyo bye mmanyi
    eby’emyaka emingi eby’omukono ogwa ddyo ogw’oyo Ali Waggulu Ennyo.”
11 (AS)Nnajjukiranga ebikolwa bya Mukama,
    weewaawo, nnajjukiranga ebyamagero byo eby’edda.
12 Nnaafumiitirizanga ku bikolwa byo byonna eby’amaanyi;
    nnaalowoozanga ku byamagero byo byonna.
13 (AT)Ekkubo lyo, Ayi Katonda, liri mu watukuvu.
    Tewali katonda yenkana Katonda waffe.
14 Ggwe Katonda akola eby’amagero;
    era amaanyi go ogalaga mu mawanga.
15 (AU)Wanunula abantu bo n’omukono gwo,
    abazzukulu ba Yakobo ne Yusufu.

16 (AV)Amazzi gaakulaba, Ayi Katonda;
    amazzi bwe gaakulaba ne gatya,
    n’obuziba ne bukankanira ddala.
17 (AW)Ebire byayiwa amazzi
    ne bivaamu n’okubwatuka,
    era n’obusaale bwo ne bubuna.
18 (AX)Eddoboozi lyo ery’okubwatuka lyawulirwa mu kikuŋŋunta
    okumyansa kwo ne kumulisa ensi.
    Ensi n’ekankana n’enyeenyezebwa.
19 (AY)Ekkubo lyo lyali mu nnyanja;
    wayita mu mazzi amangi,
    naye ebigere mwe walinnya tebyalabika.

20 (AZ)Wakulembera abantu bo ng’ekisibo,
    nga bali mu mikono gya Musa ne Alooni.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.