Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Beginning

Read the Bible from start to finish, from Genesis to Revelation.
Duration: 365 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Yobu 38-39

Mukama Ayogera

38 (A)Mukama n’addamu Yobu ng’ayita mu muyaga, n’ayogera nti,

(B)“Ani ono aleeta ekizikiza ku kuteesa kwange,
    n’ebigambo ebitaliimu magezi?
(C)Yambala ebyambalo byo ng’omusajja,
    mbeeko bye nkubuuza
    naawe onziremu.

(D)“Wali ludda wa nga nteekawo emisingi gy’ensi?
    Mbuulira bw’oba otegeera.
(E)Ani eyasalawo ebipimo byayo? Ddala oteekwa okuba ng’omanyi!
    Oba ani eyagipima n’olukoba?
(F)Entobo zaayo zaateekebwa ku ki?
Emunyeenye ez’oku makya bwe zaali ziyimba,
    era n’abaana ba Katonda bonna nga baleekaana olw’essanyu,
(G)ani eyasiba enzigi n’aggalira ennyanja,
    bwe yava mu lubuto lwayo?

“Bwe nakolera ebire ekyambalo kyabyo,
    ne mbisibira mu kizikiza ekikwafu,
10 (H)bwe n’abiteekerawo we bikoma
    ne mbiteerako emitayimbwa n’enzigi,
11 (I)bwe nagamba nti, Wano we mutuuse we munaakoma temujja kweyongerayo,
    era wano amayengo gammwe ag’amalala we ganaakoma?

12 “Oba wali olagidde ku budde okukya kasookedde obaawo ku nsi,
    oba emmambya okugiraga ekifo kyayo,
13 (J)eryoke ekwate ensi w’ekoma
    eginyeenye esuule eri ababi bagiveeko bagwe eri?
14 Ensi eggyayo ebyafaayo byayo n’eba ng’ebbumba wansi w’akabonero,
    ebyafaayo ebyo ne byefaananyiriza olugoye.
15 (K)Abakozi b’ebibi bammibwa ekitangaala kyabwe,
    n’omukono gwabwe gwe bayimusa gumenyebwa.

16 (L)“Wali otuuseeko ku nsulo ennyanja w’esibuka,
    oba n’olaga mu buziba bw’ennyanja?
17 (M)Wali obikuliddwa enzigi z’emagombe?
    Oba wali olabye enzigi z’ekisiikirize ky’okufa?
18 (N)Wali otegedde obugazi bw’ensi?
    Byogere, oba bino byonna obimanyi.

19 “Ekkubo eridda mu nnyumba omusana gye gusula liri ludda wa?
    N’ekifo ekizikiza gye kisula kye kiruwa?
20 (O)Ddala, osobola okubitwala gye bibeera?
    Omanyi ekkubo erigenda gye bisula?
21 (P)Ddala oteekwa okuba ng’obimanyi,
    kubanga wali wazaalibwa dda!

22 (Q)“Wali oyingidde amazzi agakwata mu butiti, gye gaterekebwa,
    oba wali olabye omuzira gye guterekebwa?
23 (R)Bye nterekera ebiseera eby’emitawaana,
    bikozesebwe mu nnaku ez’entalo n’okulwana?
24 Kkubo ki erituusa ekitangaala ky’omusana gye kisaasaanira,
    oba empewo ey’ebuvanjuba gy’esaasaanira ku nsi?
25 (S)Ani akubira amataba emikutu mwe ganaayita,
    oba ekkubo eggulu eribwatuka mwe liyita?
26 (T)Ani atonnyesa enkuba mu nsi abantu mwe batabeera,
    eddungu omutali muntu yenna,
27 (U)n’okufukirira ettaka eryalekebwa awo, eryazika,
    n’okulimezaako omuddo?
28 (V)Enkuba erina kitaawe waayo?
    Ani azaala amatondo ag’omusulo?
29 (W)Omuzira guva mu lubuto lw’ani?
    Ani azaala obutiti obukwafu obw’omu ggulu,
30 (X)amazzi mwe gakwatira ne gakaluba ng’amayinja,
    ne kungulu kw’obuziba ne kukwata?

31 (Y)“Oyinza okuziyiza okwakaayakana kwa Kakaaga,
    oba okutaggulula enkoba za Ntungalugoye?
32 Oyinza okufulumya emunyeenye ziveeyo zaake ng’ekiseera kyazo kituuse,
    oba okuluŋŋamya eddubu n’abaana balyo?
33 (Z)Omanyi amateeka n’obufuzi bw’eggulu?
    Oyinza okuteekawo obufuzi bw’alyo oba obwa Katonda ku nsi?

34 (AA)“Oyinza okuyimusa eddoboozi lyo oleekaanire ebire,
    olyoke obiggyemu amataba gakubikke?
35 (AB)Ggwe otuma eggulu limyanse era libwatuke?
    Lisobola okukweyanjulira nti, ‘Tuutuno tuli wano’?
36 (AC)Ani eyateeka amagezi mu mutima gw’omuntu,
    oba eyateeka okutegeera mu mmeeme?
37 Ani alina amagezi agabala ebire?
    Ani ayinza okuwunzika ebibya by’amazzi eby’omu ggulu,
38 enfuufu ng’efuuse ettaka ekkalu,
    era amafunfugu ne geegattira ddala?

39 (AD)“Empologoma enkazi, oyinza okugiyiggira ky’eneerya,
    oba okuliisa empologoma n’ozimalako enjala,
40 (AE)bwe zeezinga mu mpuku zaazo,
    oba bwe zigalamira nga ziteeze mu bisaka?
41 (AF)Ani awa namuŋŋoona emmere,
    abaana baayo bwe bakaabirira Katonda,
    nga batambulatambula nga babuliddwa emmere?”
39 (AG)“Omanyi ebiro embuzi z’oku nsozi mwe zizaalira?
    Oba oyinza okumanya empeewo we ziwakira?
Oyinza okubala emyezi gye zimala zizaale?
    Omanyi obudde mwe zizaalira?
Zikutama ne zizaala abaana baazo,
    ne ziwona obulumi bw’okuzaala.
Abaana baazo bakula ne bagejjera ku ttale,
    batambula ne bagenda obutadda.

(AH)“Ani eyaleka entulege okwetambulira mu ddembe lyayo?
    Ani eyasumulula emiguwa gyayo,
(AI)gye nawa ensi ey’omuddo okuba amaka gaayo,
    n’ensi ey’omunnyo okubeerangamu?
(AJ)Esekerera oluyoogaano lw’ekibuga,
    tewuliriza kulekaana kw’abavuzi ba bidduka.
Ebuna ensozi, ly’eddundiro lyayo,
    ng’enoonya ekintu kyonna ekibisi.

(AK)“Embogo eyinza okukkiriza okuba omuweereza wo,
    n’esula ekiro mu kisibo kyo?
10 Oyinza okugisiba ku muguwa n’ogirimisa olubimbi?
    Eyinza okukuvaako emabega ng’erima mu kiwonvu.
11 Oyinza okugyesiga olw’amaanyi gaayo amangi?
    Oyinza okugirekera emirimu gyo egy’amaanyi?
12 Oyinza okugyesiga okukuleetera emmere yo ey’empeke,
    oba okukuleetera eŋŋaano mu gguuliro lyo?

13 “Ebiwaawaatiro bya maaya bisanyusa nga byewujja,
    naye ebiwaawaatiro n’ebyoya bya kalooli tebiraga kisa.
14 Kubanga emaaya ebiika amagi gaayo ku ttaka,
    n’egaleka ne gabugumira mu musenyu,
15 ne yeerabira nti, ekigere kisobola okugaasa,
    era nga ensolo ey’omu nsiko eyinza okugalinnya.
16 (AL)Obwana bwayo ebuyisa bubi ng’obutali bwayo
    gy’obeera nti, yazaalira bwereere.
17 (AM)Kubanga Katonda teyagiwa magezi
    wadde okutegeera.
18 Ate bw’eyanjuluza ebiwaawaatiro byayo edduke
    esoomooza embalaasi n’omugoba waayo.

19 “Embalaasi ggwe ogiwa amaanyi,
    oba ggwe oyambaza ensingo yaayo obwoya obwewumba?
20 (AN)Ggwe ogisobozesa okubuuka ng’enzige
    n’ekanga n’okukaaba kwayo okw’entiisa?
21 (AO)Etakula ettaka mu kiwonvu, nga yeeyagala olw’amaanyi gaayo,
    n’eryoka efuluma okusisinkana abalwanyi abakutte ebyokulwanyisa.
22 Esekerera okutya, n’eteba na kigitiisa.
    Ekitala tekigitiisa kugizza mabega.
23 Omufuko ogujjudde obusaale gwesuukundira ku lubuto lwayo,
    awamu n’effumu erimasamasa, n’akasaale.
24 (AP)Mu busungu obungi emira ettaka,
    tesobola kusigala mu kifo kimu ng’ekkondeere livuze.
25 (AQ)Ekkondeere bwe livuga n’egamba nti, ‘Awo!’
    N’ewunyiriza olutalo olukyali ewala,
    n’ewulira n’okuleekaana kwa baduumizi b’amaggye.

26 “Amagezi go ge gabuusa kamunye,
    n’ayanjuluza ebiwaawaatiro bye e bukiikaddyo?
27 (AR)Ggwe olagira empungu okubuukira ewala mu bbanga,
    era n’ezimba n’ekisu kyayo waggulu ennyo?
28 Ku lwazi kw’ezimba amaka gaayo ekiro n’esula okwo,
    ku lwazi olunywevu olutabetentebwa.
29 (AS)Eyo gy’ekettera omuyiggo gw’eneerya,
    eriiso lyayo ligulengerera wala.
30 (AT)Obwana bwayo bunywa omusaayi,
    era awali emirambo w’ebeera.”

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.