Revised Common Lectionary (Complementary)
Zabbuli Ya Dawudi.
138 (A)Nnaakutenderezanga Ayi Mukama, n’omutima gwange gwonna;
ne mu maaso ga bakatonda abalala nnaayimbanga okukutendereza.
2 (B)Nvuunama nga njolekedde Yeekaalu yo Entukuvu,
ne ntendereza erinnya lyo
olw’okwagala kwo n’olw’obwesigwa bwo;
kubanga wagulumiza ekigambo kyo
n’erinnya lyo okusinga ebintu byonna.
3 Olunaku lwe nakukoowoolerako wannyanukula;
n’onnyongeramu amaanyi mu mwoyo gwange.
4 (C)Bakabaka bonna ab’omu nsi banaakutenderezanga, Ayi Mukama,
nga bawulidde ebigambo ebiva mu kamwa ko.
5 Banaatenderezanga ebikolwa byo Ayi Mukama;
kubanga ekitiibwa kya Mukama kinene.
6 (D)Newaakubadde nga Mukama asukkulumye,
naye afaayo eri abo abeetoowaza; naye abeegulumiza ababeera wala.
7 (E)Newaakubadde nga neetooloddwa ebizibu,
naye ggwe okuuma obulamu bwange;
ogolola omukono gwo eri abalabe bange abakambwe,
era omukono gwo ogwa ddyo ne gumponya.
8 (F)Mukama alituukiriza ebyo by’anteekeddeteekedde;
kubanga okwagala kwo, Ayi Mukama, kubeerera emirembe gyonna.
Tolekulira ebyo bye watonda.
7 (A)Awo mu mwezi ogw’olubereberye ogwa Nisani, mu mwaka ogw’ekkumi n’ebiri ogwa kabaka Akaswero, ne bakuba Puli, ke kalulu, mu maaso ga Kamani okufuna olunaku n’omwezi, era omwezi ogw’ekkumi n’ebiri ogwa Adali ne gulondebwa.
8 (B)Awo Kamani n’agamba Kabaka Akaswero nti, “Waliwo abantu abasaasaanye ate nga beeyawudde ku mawanga mu bitundu byonna eby’obwakabaka bwo; n’amateeka gaabwe ga njawulo ku g’abantu abalala bonna, era tebakuuma mateeka ga Kabaka. Noolwekyo tekigasa Kabaka kubagumiikiriza. 9 (C)Kabaka bw’anasiima, kiwandiikibwe era kiyisibwe, n’okuzikirizibwa bazikirizibwe: nange ndisasula ttalanta eza ttani ebikumi bisatu mu nsavu mu ttaano[a] ebya ffeeza mu ggwanika lya Kabaka.”
10 (D)Awo kabaka n’aggya empeta[b] ye ku ngalo ye n’agiwa Kamani mutabani wa Kammedasa Omwagaagi omulabe w’Abayudaaya. 11 Ate era Kabaka n’agamba Kamani nti, “Ensimbi zikuweereddwa n’abantu bakole nga bw’osiima.”
12 (E)Ne bayita abawandiisi ba Kabaka ku lunaku olw’ekkumi n’essatu mu mwezi ogw’olubereberye, ne bawandiika byonna nga Kamani bwe yalagira, ne bawandiikira abaamasaza ne bagavana ba buli kitundu, n’abakungu ba buli ggwanga; era n’eri buli kitundu ng’empandiika yaakyo bwe yali, n’eri buli ggwanga ng’olulimi lwabwe bwe lwali; byawandiikibwa mu linnya lya Kabaka Akaswero era ne biteekebwako akabonero n’empeta ya Kabaka. 13 (F)Ebbaluwa zaatwalibwa ababaka mu bitundu byonna ebya Kabaka n’ekiragiro, eky’okuzikiriza, n’okutta n’okumalawo Abayudaaya bonna, abato n’abakadde, abaana abato n’abakazi mu lunaku lumu olw’ekkumi n’essatu mu mwezi ogw’ekkumi n’ebiri ogwa Adali, awamu n’okunyaga ebyabwe byonna. 14 (G)Ebyaggyibwa mu kiwandiike ne biraalikibwa eri amawanga gonna, ekiragiro ne kirangirirwa mu buli kitundu, balyoke beeteekereteekere olunaku olwo.
15 (H)Awo ababaka ne banguwa okugenda olw’ekiragiro kya Kabaka, etteeka ne libuulirwa mu lubiri lw’e Susani. Awo Kabaka ne Kamani ne batuula okunywa; naye ekibuga kya Susani ne kisasamala.
22 (A)“Abasajja Abayisirayiri, muwulirize ebigambo bino! Yesu Omunnazaaleesi omuntu Katonda gwe yakakasa gye muli n’ebyamagero eby’ekitalo, Katonda bye yamukozesanga ng’ali mu mmwe, nga mwenna bwe mumanyi. 23 (B)Naye ng’enteekateeka ya Katonda bwe yali, omuntu oyo yaweebwayo mu mikono gy’abantu abatagoberera mateeka, ne mumutta nga mumukomeredde ku musaalaba. 24 (C)Kyokka Katonda yamuzuukiza ng’asaanyizaawo obulumi bw’okufa, kubanga okufa tekwayinza kumunyweza. 25 (D)Kubanga Dawudi amwogerako nti,
“ ‘Nalaba nga Mukama ali nange bulijjo,
kubanga ali ku mukono gwange ogwa ddyo,
nneme okusagaasagana.
26 Noolwekyo omutima gwange kyeguvudde gusanyuka, n’olulimi lwange ne lukutendereza.
Era n’omubiri gwange gunaabeeranga mu ssuubi.
27 (E)Kubanga tolireka mwoyo gwange kuzikirira
so toliganya mutukuvu wo kuvunda.
28 Wandaga amakubo g’obulamu,
era olinzijuza essanyu nga ndi mu maaso go.’
29 (F)“Abasajja abooluganda, nnyinza okwogera n’obuvumu gye muli ku bifa ku jjajjaffe Dawudi nga yafa n’aziikibwa, era n’amalaalo ge weegali ne kaakano. 30 (G)Naye Dawudi yali nnabbi, n’amanya nga Katonda yamulayirira ekirayiro, nti mu bibala eby’omu ntumbwe ze mwe muliva alituula ku ntebe ey’obwakabaka bwe, 31 (H)bwe yakiraba olubereberye nayogera ku kuzuukira kwa Kristo nga teyalekebwa magombe so nga n’omubiri gwe tegwavunda. 32 (I)Yesu oyo Katonda yamuzuukiza, era ffe ffenna tuli bajulirwa. 33 (J)Awo bwe yagulumizibwa n’alaga ku mukono ogwa ddyo ogwa Katonda, n’aweebwa Mwoyo Mutukuvu eyamusuubizibwa Kitaffe, n’alyoka atuwa kino nammwe kye mwerabiddeko era kye mwewuliriddeko. 34 Kubanga Dawudi teyalinnya mu ggulu, naye agamba nti,
“ ‘Mukama yagamba Mukama wange nti,
“Tuula ku mukono gwange ogwa ddyo,
35 (K)okutuusa lwe ndifuula abalabe bo entebe y’ebigere byo.” ’
36 (L)“Noolwekyo ennyumba yonna eya Isirayiri, bamanyire ddala nti oyo Yesu gwe mwakomerera ku musaalaba, Katonda yamufuula Mukama era Kristo!”
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.