Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Revised Common Lectionary (Complementary)

Daily Bible readings that follow the church liturgical year, with thematically matched Old and New Testament readings.
Duration: 1245 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Zabbuli 119:73-80

י Yoodi

73 (A)Emikono gyo gye gyankola ne gimmumba,
    mpa okutegeera ndyoke njige amateeka go.
74 (B)Abo abakutya banandabanga ne basanyuka,
    kubanga essuubi lyange liri mu kigambo kyo.
75 (C)Mmanyi, Ayi Mukama, ng’amateeka go matukuvu,
    era wali mutuufu okumbonereza.
76 Kale okwagala kwo okutaggwaawo kumbeere kumpi kunsanyuse,
    nga bwe wansuubiza, nze omuddu wo.
77 (D)Kkiriza okusaasira kwo kuntuukeko ndyoke mbeere mulamu;
    kubanga mu mateeka go mwe nsanyukira.
78 (E)Ab’amalala baswazibwe, kubanga bampisizza bubi nga siriiko kye nkoze.
    Naye nze nnaafumiitirizanga ku biragiro byo.
79 Abo abakutya bajje gye ndi,
    abategeera amateeka go.
80 Mbeera, omutima gwange guleme kubaako kya kunenyezebwa mu mateeka go,
    nneme kuswazibwa!

Yeremiya 8:4-13

Ekibi n’Okubonerezebwa

(A)“Bategeeze nti, Bw’ati bw’ayogera Mukama nti,

“Omuntu bw’agwa, tayimuka?
    Oba omuntu bw’ava mu kkubo ettuufu, takyusa n’adda?
(B)Kale lwaki abantu bange bano
    banvaako ne bagendera ddala?
(C)Nawuliriza n’obwegendereza
    naye tebayogera mazima;
tewali muntu yenna yeenenya bibi byakoze n’okwebuuza nti,
    ‘Kiki kino kye nkoze?’
Buli muntu akwata kkubo lye
    ng’embalaasi efubutuka ng’etwalibwa mu lutalo.
(D)Ebinyonyi ebibuukira mu bbanga
    bimanyi ebiseera mwe bitambulira;
ne kaamukuukulu n’akataayi ne ssekanyolya
    bimanyi ebiseera mwe bikomerawo,
naye abantu bange
    tebamanyi biragiro bya Mukama.”

(E)Muyinza mutya okwogera nti,
    “Tuli bagezi nnyo, n’amateeka ga Mukama tugalina,
ate nga ekkalaamu y’abawandiisi ey’obulimba
    yeebikyusizza.
(F)Abagezigezi baliswala ne bakeŋŋentererwa
    era balitwalibwa.
Bagaanyi ekigambo kya Mukama,
    magezi ki ge balina?
10 (G)Noolwekyo bakazi baabwe
    ndibagabira abasajja abalala
n’ennimiro zaabwe
    zitwalibwe abantu abalala.
Bonna ba mululu okuva ku asembayo wansi okutuuka ku akomererayo waggulu,
    nnabbi ne kabona bonna balimba ne babba abantu.
11 (H)Ebiwundu by’abantu bange babijjanjaba nga tebafaayo,
    babikomya kungulu nga boogera nti,
    Mirembe, Mirembe, ate nga teri mirembe.
12 (I)Baakwatibwa ensonyi bwe baakola ebivve?
    Nedda tebakwatibwa nsonyi wadde,
    so tebamanyi wadde okulimbalimba.
Noolwekyo baligwira mu bagudde,
    balikka lwe balibonerezebwa,”
    bw’ayogera Mukama.

13 (J)“Ndimalirawo ddala amakungula gaabwe,”
    bw’ayogera Mukama.
    Tewaliba zabbibu,
na mutiini,
    n’ebikoola byabwe biriwotoka.
Bye mbawadde
    biribaggyibwako.

Ebikolwa by’Abatume 19:28-41

28 (A)Awo bwe baawulira ebyo, ne basunguwala, ne batandika okuleekaana nti, “Atemi ow’Abaefeeso ye Mukulu!” 29 (B)Ekibuga ne kijjula akayuuguumo, abantu bonna ne badduka nga balaga mu kifo omwazanyirwanga emizannyo nga bwe basikaasikanya Gayo ne Alisutaluuko, abaatambulanga ne Pawulo, babatwale babawozese. 30 Pawulo n’ayagala naye okuyingira mu kibiina, kyokka abayigirizwa ne batamukkiriza. 31 N’abamu ku b’omu Asiya, abaali mikwano gya Pawulo, ne bamutumira aleme kwewaayo kuyingira mu kifo omwazanyirwanga emizannyo.

32 (C)Abantu abaali munda ne bamala galeekaana, ng’abamu boogera kino n’abalala kiri kubanga ekibiina kyali kitabusetabuse. Abasinga obungi nga n’okumanya tebamanyi nsonga yennyini ebakuŋŋaanyisizza. 33 (D)Abayudaaya abamu bwe baalengera Alegezanda ng’ali mu kibiina ne bamusika okumuleeta mu maaso. N’akoma ku bantu basirike abeeko ky’abagamba. 34 Naye ekibiina bwe kyategeera nga Muyudaaya, bonna ne baddamu buto okuleekaana nti, “Atemi ow’Abaefeeso ye Mukulu!” Ne bakiddiŋŋana emirundi n’emirundi okumala ng’essaawa bbiri nnamba.

35 (E)Awo omukulu w’ekibuga n’abasirisa n’ayogera nabo nti, “Abasajja Abaefeso, buli muntu yenna amanyi nti Efeso mwe mukuumirwa essabo ekkulu ery’omukulu Atemi, gwe tumanyi ng’ekifaananyi ekyava mu ggulu. 36 Olw’okubanga ebyo tewali abiwakanya, temusaana kwecanga olw’ebyo ebyogerwa, era temusaana kwanguyiriza kukola kya bulabe. 37 (F)Kale muleese wano abasajja bano abatabbye kintu kya Atemi n’ekimu, wadde okumunyoomoola. 38 (G)Obanga Demeteriyo n’abakozi be balina ensonga ze bavunaana abasajja bano, embuga z’amateeka weeziri era abalamuzi bajja kuyingira mangu mu nsonga zaabwe. Kirungi bakwate amakubo amatongole. 39 Obanga waliwo abeemulugunya ku nsonga endala, ebyo biyinza okutereezebwa mu Lukiiko lw’Ekibuga olwa bulijjo. 40 Kubanga singa tetwegendereza, tujja kuvunaanibwa olw’akasasamalo ka leero, kubanga tetujja kuba na kya kwogera.” 41 Awo n’abasiibula, ne basaasaana.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.