Revised Common Lectionary (Complementary)
Ya mukulu wa bayimbi. Oluyimba, Zabbuli ya Dawudi.
66 (A)Yimbira Mukama n’eddoboozi ery’omwanguka, ggwe ensi yonna.
2 (B)Muyimbe ekitiibwa ky’erinnya lye.
Mumuyimbire ennyimba ezimusuuta.
3 (C)Gamba Katonda nti, “Ebikolwa byo nga bya ntiisa!
Olw’amaanyi go amangi
abalabe bo bakujeemulukukira.
4 (D)Ab’omu nsi yonna bakuvuunamira,
bakutendereza,
bayimba nga bagulumiza erinnya lyo.”
10 (A)Ensi yonna okuva e Geba okutuuka e Limmoni ku luuyi olw’obukiikaddyo obwa Yerusaalemi; erifuuka nga Alaba naye Yerusaalemi kiriyimusibwa ne kisigala mu kifo kyakyo okuva ku mulongooti gwe Kananeri okutuuka ku masogolero ga kabaka. 11 (B)Abantu balikibeeramu, tekigenda kuddayo kuzikirizibwa. Yerusaalemi kiriba kinywevu.
12 (C)Ono ye kawumpuli Mukama gw’alikubisa amawanga gonna agaalwanyisa Yerusaalemi. Emibiri gyabwe girivunda nga bakyali balamu. Amaaso gabavundire mu biwanga, n’ennimi zibavundire mu kamwa. 13 (D)Ku lunaku olwo Mukama alireetera abantu ekyekango eky’amaanyi. Buli muntu alikwata omukono gwa munne nga balwanagana. 14 (E)Ne Yuda alirwanira mu Yerusaalemi era obugagga bw’ensi zonna eziriraanyeewo bukuŋŋaanyizibwe, zaabu n’effeeza n’ebyambalo bingi nnyo nga nabyo bikuŋŋaanyizibbwa. 15 (F)Era kawumpuli ng’oli aligwa ku mbalaasi, ne ku nnyumbu, ne ku ŋŋamira, n’endogoyi, ne ku nsolo zonna eziriba mu bisulo ebyo.
16 (G)Abo abalisigalawo ku mawanga agaalumba Yerusaalemi banaayambukanga buli mwaka okusinza Mukama kabaka ow’Eggye era n’okukwatanga embaga ey’ensiisira. 17 (H)Omuntu yenna mu nsi bw’ataagendenga Yerusaalemi kusinza Mukama Kabaka ow’Eggye, taafunenga nkuba. 18 (I)Abamisiri bwe bataagendenga kwetabamu, tebaafunenga nkuba. Mukama anaabareeteranga kawumpuli, gwakubisa amawanga agatagenda kukwata mbaga ey’ensiisira. 19 Ekyo kye kinaabanga ekibonerezo kya Misiri n’amawanga gonna agataayambukenga kukwata mbaga ya nsiisira.
20 (J)Ku lunaku olwo ekigambo kino, “kitukuvu eri Mukama Katonda,” kinaawandikibwa ku bide by’embalaasi era n’entamu ezifuumbirwamu mu nnyumba ya Mukama zinaabeeranga ng’ebibya ebitukuvu mu maaso g’ekyoto. 21 (K)Weewaawo, buli nsuwa mu Yerusaalemi ne mu Yuda eneebanga ntukuvu mu maaso ga Mukama ow’Eggye; n’abo bonna abanajjanga okuwaayo ssaddaaka banaafumbiranga mu zimu ku ntamu ezo. Era ku lunaku olwo, waliba tewakyali Mukanani mu nnyumba ya Mukama ow’Eggye.
Yesu Atuma Ekkumi n’Ababiri
9 (A)Awo olunaku lwali lumu Yesu n’ayita abayigirizwa be ekkumi n’ababiri bonna awamu, n’abawa obuyinza okugoba baddayimooni ku bantu n’okuwonya endwadde. 2 (B)N’abawa obuyinza n’abatuma bagende bategeeze abantu ebigambo by’obwakabaka bwa Katonda era bawonye n’abalwadde. 3 (C)N’abalagira nti, “Temwetwalira kintu kyonna nga mugenda, wadde omuggo, oba ensawo, oba emmere, wadde ffeeza wadde essaati ebbiri. 4 Na buli nnyumba mwe muyingiranga, mubeerenga omwo, era mwe muba muvanga. 5 (D)Bwe muyingiranga mu kibuga, abantu baamu ne batabaaniriza, mubaviirenga, era bwe mubanga mufuluma mu kibuga ekyo mukunkumulanga enfuufu ku bigere byammwe, ebe omujulirwa eri bo.” 6 Ne bagenda nga bava mu kibuga ekimu nga badda mu kirala, nga babuulira Enjiri buli wamu era nga bawonya.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.