Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Revised Common Lectionary (Complementary)

Daily Bible readings that follow the church liturgical year, with thematically matched Old and New Testament readings.
Duration: 1245 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Zabbuli 25:11-20

11 (A)Olw’erinnya lyo, Ayi Mukama,
    onsonyiwe ebibi byange, kubanga bingi.

12 (B)Omuntu wa ngeri ki atya Katonda?
    Oyo gw’anaayigirizanga okukwata ekkubo lye yamulondera.
13 (C)Obulamu bwe bunajjuzibwanga emikisa gya Katonda,
    era bazzukulu be ensi eriba yaabwe.
14 (D)Mikwano gya Mukama be bo abamugondera;
    anaababikkuliranga ekyama eky’endagaano ye.
15 (E)Ntunuulira Mukama buli kiseera,
    kubanga yekka y’anzigya mu kabi.

16 (F)Nkyukira, Ayi Mukama, onkwatirwe ekisa,
    kubanga nsigadde bw’omu, era ndi munafu.
17 (G)Obuyinike bweyongedde mu mutima gwange;
    mponya okweraliikirira kwange.
18 (H)Tunuulira ennaku endiko, weetegereze obulumi bwange;
    onzigyeko ebibi byange byonna.
19 (I)Laba abalabe bange nga bwe beeyongedde obungi
    n’okunkyawa kwe bankyawamu!

20 (J)Labiriranga obulamu bwange, obamponye;
    tondekanga mu buswavu,
    kubanga ggwe kiddukiro kyange.

Engero 19:1-17

19 (A)Omuntu omwavu atambulira mu butuukirivu,
    asinga akamwa ak’omusirusiru akaweebuula.

(B)Si kirungi okuba omujjumbize naye nga tolina kumanya,
    n’okwanguyiriza okukola ekintu kuleetera omuntu okukwata ekkubo ekyamu.

Obusirusiru bw’omuntu bwe bwonoona obulamu bwe,
    kyokka omutima gwe ne gunenya Mukama.

(C)Obugagga buleeta emikwano mingi,
    naye emikwano gy’omwavu gimuddukako.

(D)Omujulizi ow’obulimba talirema kubonerezebwa,
    era oyo ayogera eby’obulimba taliba na buddukiro.

(E)Bangi banoonya okuganja mu maaso g’omufuzi,
    era buli muntu aba mukwano gw’oyo agaba ebirabo.

(F)Baganda b’omwavu bonna bamwewala,
    mikwano gye tebaasingewo nnyo okumwewala?

Wadde abagoberera ng’abeegayirira,
    naye tabalaba.

(G)Oyo afuna amagezi ayagala emmeeme ye,
    n’oyo asanyukira okutegeera, akulaakulana.

(H)Omujulizi ow’obulimba talirema kubonerezebwa,
    n’oyo ayogera eby’obulimba alizikirira.

10 (I)Omusirusiru tasaana kubeera mu bulamu bwa kwejalabya,
    kale kiwulikika kitya ng’omuddu afuga abalangira?

11 (J)Omuntu omutegeevu alwawo okusunguwala,
    era kiba kya kitiibwa obutafa ku bye bamusobezza.

12 (K)Obusungu bwa kabaka buli ng’okuwuluguma kw’empologoma,
    naye ekisa kye kiri ng’omusulo ku ssubi.

13 (L)Omwana omusirusiru aleetera kitaawe okuzikirira,
    n’omukazi omuyombi ali ng’enkuba etonnya olutata.

14 (M)Ennyumba n’obugagga bisikirwa okuva ku bazadde,
    naye omukazi omutegeevu ava eri Mukama.

15 (N)Obugayaavu buleeta otulo tungi,
    n’omuntu atakola mirimu alirumwa enjala.

16 (O)Oyo akwata ebiragiro akuuma obulamu bwe,
    naye oyo eyeeyisa mu ngeri embi alifa.

17 (P)Oyo akwatirwa omwavu ekisa awola Mukama,
    era Mukama alimusasula olw’ekikolwa kye ekyo.

1 Yokaana 3:11-17

Mwagalanenga

11 (A)Kubanga buno bwe bubaka bwe twawulira okuva ku lubereberye nti twagalanenga, 12 (B)si nga Kayini eyali owa Setaani, n’atta muganda we. Kale yamuttira ki? Kayini yatta muganda we kubanga Kayini yakola ebibi, so nga ye muganda we yakola eby’obutuukirivu. 13 (C)Abooluganda, ensi bwe bakyawanga, temwewuunyanga. 14 (D)Kubanga ffe tumanyi nga twava mu kufa, ne tuyingira mu bulamu, kubanga twagala abooluganda, naye buli muntu atalina kwagala akyali mu kufa. 15 (E)Buli akyawa muntu munne, oyo aba mussi, era mukimanyi nti tewali mussi alina obulamu obutaggwaawo mu ye.

16 (F)Mu kino mwe tutegeerera okwagala, kubanga yawaayo obulamu bwe ku lwaffe, era naffe kyetuva tuteekwa okuwaayo obulamu bwaffe olw’abooluganda. 17 (G)Buli alina ebintu eby’omu nsi n’alaba muganda we nga yeetaaga, naye n’abulwako ky’amuwa, okwagala kwa Katonda, kuyinza kutya okuba mu ye?

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.