Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Revised Common Lectionary (Complementary)

Daily Bible readings that follow the church liturgical year, with thematically matched Old and New Testament readings.
Duration: 1245 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Zabbuli 140

Ya mukulu w’okuyimba. Zabbuli ya Dawudi.

140 (A)Omponye abakola ebibi, Ayi Mukama,
    omponye abantu abakambwe;
(B)abateesa mu mitima gyabwe okukola ebibi;
    abanoonya entalo buli kiseera.
(C)Ebigambo byabwe byogi ng’ennimi z’emisota;
    ebiva mu kamwa kaabwe busagwa ng’obw’essalambwa.

(D)Onkuume abakola ebibi baleme okunkwatako, Ayi Mukama;
    omponye abantu abakambwe
    abateesa okunkyamya.
(E)Abantu ab’amalala banteze omutego;
    banjuluzza ekitimba kyabwe;
    ne batega emitego mu kkubo lyange.

(F)Nagamba Mukama nti, “Ggwe oli Katonda wange.”
    Wulira okwegayirira kwange, onsaasire, Ayi Mukama!
(G)Ayi Mukama, Mukama wange, ggw’omponya n’amaanyi go,
    ggwe engabo yange mu lutalo.
(H)Ayi Mukama, abakola ebibi tobawa bye beetaaga,
    era tokkiriza ntekateeka zaabwe kutuukirira;
    baleme kuba na malala wadde okwenyumiriza.

(I)Abanneetoolodde baleke enkwe zaabwe
    zibeekyusizeeko baboneebone.
10 (J)Amanda agaaka omuliro gabagwire;
    basuulibwe mu muliro,
    bakasukibwe mu bunnya obutakoma mwe bataliva emirembe gyonna.
11 (K)Tokkiriza balimba kweyongera bungi;
    abakambwe bayigganyizibwe bazikirire.

12 (L)Mmanyi nga Mukama ayamba abo ababonaabona, y’ayamba abanaku okuyisibwa mu bwenkanya.
13 (M)Abatuukirivu banaakutenderezanga,
    era w’oli we banaabeeranga.

Yeremiya 3:15-18

15 (A)Era ndibawa abasumba abakola ng’omutima gwange bwe gwagala, abalibakulembera mu kumanya era ne mu kutegeera. 16 (B)Ennaku bwe zirituuka nga mwaze era nga muli bangi nnyo mu nsi,” bw’ayogera Mukama, “abantu baliba tebakyayogera ku Ssanduuko y’Endagaano. Baliba tebakyagirowooza nako, okugijjukira; oba okulumwa emitima olw’obutaba nayo wadde okukola endala. 17 (C)Ebbanga lyonna Yerusaalemi kiriyitibwa Entebe ya Mukama ey’Obwakabaka, amawanga gonna mwe ganaakuŋŋaaniranga okumugulumiza Mukama mu Yerusaalemi era tebaliddayo kugoberera mitima gyabwe minyoomi. 18 (D)Mu nnaku ezo ennyumba ya Yuda eryegatta ku nnyumba ya Isirayiri, era bombi awamu baliva mu nsi ey’omu bukiikakkono ne bajja mu nsi gye ndiwa bakitammwe okuba omugabo.

Abaefeso 5:6-20

(A)Omuntu yenna tabalimbalimbanga n’ebigambo ebitaliimu. Katonda abonereza buli muntu yenna amujeemera. Noolwekyo temwegattanga n’abafaanana ng’abo.

(B)Edda mwali ng’abantu ab’ekizikiza, naye kaakano muli bantu ba musana mu Mukama waffe. Noolwekyo mutambulenga ng’abaana ab’omusana, (C)ekitangaala kyammwe kirabisibwe. Mubale ebibala eby’omusana nga mweyisa bulungi, nga mubeera abeesimbu era ab’amazima, 10 nga munoonya ekyo ekisanyusa Mukama waffe. 11 Temwenyigiranga mu bikolwa bya kizikiza kubanga tebigasa, wabula munenyenga ababikola. 12 Kubanga kya nsonyi n’okubyogerako ebyo abajeemu bye bakolera mu kyama. 13 (D)Byonna bwe biryatuukirizibwa mu kitangaala, birirabikira ddala nga bwe biri. 14 (E)Ekitangaala kirabisa buli kintu. Kyekiva kigambibwa nti,

“Zuukuka ggwe eyeebase,
    Ozuukire mu bafu,
    Kristo anaakwakira.”

15 Mutunule nga mutambula n’obwegendereza, si ng’abatalina magezi wabula ng’abalina amagezi, 16 (F)nga temwonoona biseera kubanga ennaku zino mbi. 17 (G)Temubanga basirusiru, naye mutegeere Mukama waffe ky’ayagala. 18 (H)Ate temutamiiranga, kubanga mujja kweyonoona, wabula Omwoyo ajjulenga mu bulamu bwammwe. 19 (I)Bwe mukuŋŋananga muzimbaganenga mu Zabbuli ne mu nnyimba, ne mu nnyimba ez’Omwoyo nga muyimbira Mukama era nga mumuyimusiza amaloboozi mu mutima gwammwe. 20 (J)Bulijjo mwebazenga Katonda Kitaffe olwa byonna, mu linnya lya Mukama waffe Yesu Kristo.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.