Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Revised Common Lectionary (Complementary)

Daily Bible readings that follow the church liturgical year, with thematically matched Old and New Testament readings.
Duration: 1245 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Zabbuli 138

Zabbuli Ya Dawudi.

138 (A)Nnaakutenderezanga Ayi Mukama, n’omutima gwange gwonna;
    ne mu maaso ga bakatonda abalala nnaayimbanga okukutendereza.
(B)Nvuunama nga njolekedde Yeekaalu yo Entukuvu,
    ne ntendereza erinnya lyo
    olw’okwagala kwo n’olw’obwesigwa bwo;
kubanga wagulumiza ekigambo kyo
    n’erinnya lyo okusinga ebintu byonna.
Olunaku lwe nakukoowoolerako wannyanukula;
    n’onnyongeramu amaanyi mu mwoyo gwange.

(C)Bakabaka bonna ab’omu nsi banaakutenderezanga, Ayi Mukama,
    nga bawulidde ebigambo ebiva mu kamwa ko.
Banaatenderezanga ebikolwa byo Ayi Mukama;
    kubanga ekitiibwa kya Mukama kinene.

(D)Newaakubadde nga Mukama asukkulumye,
    naye afaayo eri abo abeetoowaza; naye abeegulumiza ababeera wala.
(E)Newaakubadde nga neetooloddwa ebizibu,
    naye ggwe okuuma obulamu bwange;
ogolola omukono gwo eri abalabe bange abakambwe,
    era omukono gwo ogwa ddyo ne gumponya.
(F)Mukama alituukiriza ebyo by’anteekeddeteekedde;
    kubanga okwagala kwo, Ayi Mukama, kubeerera emirembe gyonna.
    Tolekulira ebyo bye watonda.

Eseza 2:19-3:6

Moluddekaayi Agwa mu Lukwe lw’Okutta Kabaka

19 (A)Olunaku olumu Moluddekaayi bwe yali ng’atudde ku wankaaki w’olubiri lwa Kabaka, abawala ne bakuŋŋaanira eri Kabaka omulundi ogwokubiri. 20 (B)Eseza yakuuma ekyama Moluddekaayi kye yali amukuutidde, eky’obutayogera ekika kye newaakubadde eggwanga lye.

21 (C)Awo mu biro ebyo Moluddekaayi ng’atudde ku wankaaki wa Kabaka, abalaawe ba Kabaka babiri, Bigusani ne Teresi, ku abo abaakuumanga omulyango, ne banyiigira Kabaka Akaswero, era ne bateesa okumutemula. 22 Naye Moluddekaayi n’agwa mu lukwe olwo, n’ategeezaako Eseza Nnabagereka, eyagenda n’abuulira Kabaka nga Moluddekaayi bwe yamutegeeza. 23 (D)Awo ekigambo ekyo bwe baakyekenneenya, ne kirabika nga kituufu, abasajja abo bombi ne bawanikibwa ku kalabba. Awo ebigambo bino byonna ne biwandiikibwa mu kitabo eky’ebyafaayo ebya buli lunaku mu maaso ga Kabaka.

Olukwe lwa Kamani Okusaanyaawo Abayudaaya

(E)Oluvannyuma lw’ebyo Kabaka Akaswero n’akuza Kamani mutabani wa Kammedasa, Omwagaagi era n’amusukkiriza n’amuwa n’entebe ey’ekitiibwa okusinga abakungu abalala bonna. Era abaddu ba Kabaka bonna abaabeeranga ku wankaaki wa Kabaka baamufukaamiriranga ne bamuwa ekitiibwa, kubanga kyali kiragiro ekyava eri Kabaka. Naye Moluddekaayi teyamufukaamirira wadde okumussaamu ekitiibwa.

(F)Awo abagalagala ba Kabaka ab’oku wankaaki ne babuuza Moluddekaayi nti, “Nsonga ki ekulobera okugondera ekiragiro kya Kabaka?” (G)Buli lunaku baayogeranga naye ku nsonga eyo naye ye n’agaana okubawuliriza. Ekyavaamu kwe kubuulira Kamani ku nsonga y’emu, balabe oba Moluddekaayi anaakyusa ku nneeyisa ye, kubanga yali yabategeezaako nti Muyudaaya.

(H)Awo Kamani bwe yalaba nga Moluddekaayi tamufukaamirira wadde okumussaamu ekitiibwa, Kamani n’asunguwala nnyo. (I)Bwe yategeera abantu ba Moluddekaayi kye bali, Kamani n’alaba ng’okumutta yekka tekigasa. Kamani n’anoonya engeri gy’ayinza okuzikiriza abantu ba Moluddekaayi, Abayudaaya bonna mu bwakabaka bwonna obwa Akaswero.

Ebikolwa by’Abatume 1:15-20

Matiya Asikira Yuda

15 Awo mu nnaku ezo, Peetero n’ayimirira wakati mu booluganda abaali bakuŋŋaanye nga bawera nga kikumi mu abiri, n’ayogera nti, 16 (A)“Abasajja abooluganda, ebyawandiikibwa ku Yuda eyakulembera ekibiina ekyakwata Yesu byali biteekwa okutuukirira; kubanga ekyo Mwoyo Mutukuvu yali yakitegeeza dda bwe yayogerera mu Dawudi. 17 (B)Yuda yali omu ku ffe, era n’aweebwa omugabo gw’obuweereza buno.”

18 (C)Empeera gye yafuna mu butali butuukirivu bwe, yagigulamu ennimiro, era omwo mwe yagwa n’ayabika n’ebyenda bye ne biyiika. 19 Amawulire ago ne gatuuka ku bantu ab’omu Yerusaalemi, era ennimiro eyo ne bagituuma Akerudama mu lulimi lwabwe, amakulu nti, Ennimiro y’Omusaayi!

20 (D)“Kubanga kyawandiikibwa mu Zabbuli nti,

“ ‘Ekibanja kye kizike,
    so kireme okubeerangamu omuntu.’
‘N’obuvunaanyizibwa bwe buweebwe omulala.’

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.