Revised Common Lectionary (Complementary)
16 Naye nze nkoowoola Mukama Katonda,
n’andokola.
17 (A)Ekiro, ne mu makya ne mu ttuntu,
ndaajana nga bwe nsinda;
n’awulira eddoboozi lyange.
18 Amponyezza mu lutalo
nga siriiko kintuseeko
newaakubadde ng’abannwanyisizza babadde bangi.
19 (B)Katonda oyo atudde ku ntebe ye ebbanga lyonna,
aliwulira n’ababonereza
abo abatakyusa makubo gaabwe
era abatatya Katonda.
20 (C)Agololera emikono gye ku mikwano gye;
n’amenya endagaano ye.
21 (D)By’ayogera bigonvu okusinga omuzigo,
so nga mu mutima gwe alowooza lutalo;
ebigambo bye biweweera okusinga amafuta,
so nga munda mu mutima gwe asowodde bitala byennyini.
22 (E)Ebizibu byo byonna bireete eri Mukama,
ajja kukuwanirira;
kubanga talireka mutuukirivu kugwa.
23 (F)Naye ggwe, Ayi Katonda,
olisuula abakola ebibi mu kinnya eky’okuzikirira;
era abatemu n’abalimba bonna
tebagenda kuwangaala kimu kyakubiri eky’obulamu bwabwe.
Naye nze, neesiga ggwe.
Moluddekaayi Aweebwa Ekitiibwa
6 (A)Ekiro ekyo Kabaka teyayinza kwebaka; era n’alagira ekitabo eky’ebijjukizo eky’ebigambo ebya buli lunaku, bisomebwe mu maaso ge. 2 Awo ne kisangibwa mu byafaayo nti Moluddekaayi yamanya olukwe lwa Bigusani ne Teresi babiri ku balaawe ba Kabaka abaali bakuuma omulyango nga baali bagezaako okutta Kabaka Akaswero, era nga Moluddekaayi ye yabaloopayo.
3 (B)Kabaka n’abuuza nti, “Kitiibwa ki na bukulu ki Moluddekaayi bye yaweebwa olw’ekyo?”
Awo abaweereza ba Kabaka ne baddamu nti, “Tewali kintu kye yali aweereddwa.”
4 Awo Kabaka n’abuuza nti, “Ani ali mu luggya?” Mu kiseera ekyo Kamani yali yakayingira mu luggya olw’ebweru olw’oku lubiri lwa Kabaka, nga azze okwogera ne Kabaka ku kigambo eky’okuwanika Moluddekaayi ku kalabba Kamani ke yali amuzimbidde.
5 Amangwago abaweereza ne baddamu nti, “Kamani wuuno waali ayimiridde mu luggya.” Kabaka n’ayogera nti, “Mumukkirize ayingire.”
6 Awo Kamani n’ayingira, Kabaka n’amubuuza nti, “Anaakolebwa ki omusajja Kabaka gw’asanyukira era gw’ayagala okuwa ekitiibwa?” Kamani n’alowooza mu mutima gwe nti, “Ani Kabaka gwe yandisanyukidde okumuwa ekitiibwa okusinga nze?” 7 Kamani n’addamu Kabaka nti, “Omusajja Kabaka gw’asanyukira okumuwa ekitiibwa, 8 (C)bamuleetere ebyambalo Kabaka bye yali ayambaddemu, n’embalaasi Kabaka gye yali yeebagadde atikkirweko engule ey’obwakabaka ku mutwe. 9 (D)Ebyambalo n’embalaasi bikwasibwe omu ku bakungu kabaka basinga okuwa ekitiibwa, n’oluvannyuma omusajja oyo kabaka gw’ayagala okuwa ekitiibwa ayambazibwe ebyambalo ebyo era yeebagale n’embalaasi, era omulangira Kabaka gw’anaalonda amukulembere mu nguudo z’ekibuga ng’alangirira waggulu nti, ‘Bw’atyo bw’anaakolebwa omusajja Kabaka gw’asiima okuwa ekitiibwa!’ ”
10 Awo Kabaka n’alagira Kamani nti, “Yanguwa ofune ebyambalo n’embalaasi nga bw’oyogedde, okolere ddala bw’otyo Moluddekaayi Omuyudaaya atuula ku wankaaki wa Kabaka, ate waleme okubulako n’ekimu ku ebyo byonna by’oyogedde.”
11 (E)Awo Kamani n’addira ebyambalo, n’ayambaza Moluddekaayi, n’amwebagaza ku mbalaasi, era n’amukulembera mu nguudo z’ekibuga ng’alangirira mu maaso ge nti, “Bw’atyo bw’akoleddwa omusajja Kabaka gw’asiima okuwa ekitiibwa.”
12 (F)Oluvannyuma Moluddekaayi n’akomawo ku wankaaki wa Kabaka, naye Kamani n’ayanguwa n’addayo ewuwe, ng’anakuwadde era ng’abisse ku mutwe gwe, 13 (G)n’ategeeza Zeresi mukazi we ne mikwano gye bonna byonna ebimutuuseeko.
Awo abamuwa amagezi ne mukazi we Zeresi ne bamugamba nti, “Engeri Moluddekaayi gw’otanulidde okugwa mu maaso ge, nga bw’ava mu ggwanga ly’Abayudaaya, tojja kumusinga, era tolirema kuzikirira mu maaso ge.” 14 (H)Awo bwe baali nga bakyayogera naye, abalaawe ba Kabaka ne batuuka, ne banguwa okutwala Kamani ku mbaga Eseza gye yali afumbye.
Kamani Asalirwa ogw’Okufa
7 (I)Awo Kabaka ne Kamani ne bagenda ku mbaga ya Nnabagereka Eseza gye yateekateeka. 2 (J)Ku lunaku olwokubiri bwe baali banywa wayini Kabaka n’addamu n’abuuza Eseza nti, “Nnabagereka Eseza osaba ki? Onookiweebwa. Kiki kye weegayirira? Ne bwe kinaaba ekitundu ky’obwakabaka, kinaakuweebwa.”
3 (K)Awo Eseza n’addamu nti, “Obanga ŋŋanze mu maaso go, ayi Kabaka, era Oweekitiibwa bw’onoosiima, kino kye nsaba, mpeebwe obulamu bwange. Ate era n’abantu bange bawonye obulamu bwabwe. Kino kye nneegayirira. 4 (L)Nze n’abantu bange tutuundiddwa eri okuzikirizibwa, okuttibwa n’okubula. Wakiri singa tutuundiddwa okuba abaddu n’abakazi abaweereza, nandisirise ne sikuteganya newaakubadde nga omulabe teyandiyinzizza kuliwa kabaka bwe yandifiiriddwa.”
5 Awo Kabaka Akaswero n’abuuza Nnabagereka Eseza nti, “Ani era ali ludda wa oyo ayaŋŋanga okugezaako mu mutima gwe okukola bw’atyo?” 6 Awo Eseza n’addamu nti, “Omulabe waffe, atukyawa, ye Kamani ono omubi.” Kamani n’atya nnyo mu maaso ga Kabaka ne Nnabagereka.
Obutakkiriza bw’Abayudaaya
30 (A)Kale tunaagamba ki? Tugambe nti Abaamawanga abataagobereranga butuukirivu, baafuna obutuukirivu, bwe butuukirivu obuva mu kukkiriza, 31 (B)naye Isirayiri mu kugobereranga amateeka ag’obutuukirivu, teyafuna butuukirivu obwo? 32 (C)Lwaki? Ekyo baalema okukituukako kubanga tebaagoberera butuukirivu mu kukkiriza wabula mu bikolwa. Beesittala ku jjinja eryo eryesittalwako, 33 (D)nga bwe kyawandiikibwa nti,
“Laba, nteeka mu Sayuuni ejjinja eryesittalwako[a]
n’olwazi olulibasuula.
Oyo amukkiriza taliswazibwa.”
10 Abooluganda, kye njagala mu mutima gwange era kye nsabira Abayisirayiri eri Katonda, kwe kulokolebwa. 2 (E)Kubanga nkakasa nga balina obunyiikivu eri Katonda, naye si mu kutegeera. 3 (F)Mu butamanya butuukirivu bwa Katonda, bagezaako okwenoonyeza obutuukirivu, nga bagondera amateeka mu kifo ky’okugondera obutuukirivu bwa Katonda. 4 (G)Kristo atuwa amakulu amajjuvu, buli amukkiriza n’amuwa obutuukirivu.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.