Revised Common Lectionary (Complementary)
Zabbuli ya Dawudi.
25 (A)Eri ggwe, Ayi Mukama,
gye ndeeta okusaba kwange.
2 (B)Neesiga ggwe, Ayi Mukama, tondeka kuswala mu maaso g’abalabe bange. Tobaganya kumpangula.
3 (C)Ddala ddala abakwesiga tebaajulirirenga,
naye ab’enkwe baliswazibwa.
4 (D)Njigiriza nga bwe nnaakolanga, Ayi Mukama,
ondage amakubo go mwe nnaatambuliranga.
5 Onjigirizenga okunywerera ku mazima go, era onkulemberenga mu byonna;
kubanga ggwe Katonda, ow’obulokozi bwange
era essuubi lyange liri mu ggwe olunaku lwonna.
6 (E)Jjukira, Ayi Mukama, okusaasira kwo okunene, n’okwagala kwo okungi,
kubanga byava dda.
7 (F)Tojjukira bibi byange
n’obujeemu bwange eby’omu buvubuka bwange.
Onzijukire, Ayi Mukama,
ng’okwagala kwo gye ndi bwe kuli, kubanga oli mulungi.
Falaawo ategeeza Yusufu ekirooto kye
14 (A)Awo Falaawo n’atumya baleete Yusufu, ne bamuleeta mangu okumuggya mu kkomera. Bwe yamala okumwebwa omutwe[a] n’okukyusa engoye ze, n’ajja mu maaso ga Falaawo. 15 (B)Falaawo n’agamba Yusufu nti, “Naloose ekirooto, naye tewali n’omu ayinza kukivvuunula.” 16 (C)Yusufu n’addamu Falaawo nti, “Si nze nzija okukikola, wabula Katonda y’anaabuulira Falaawo amakulu gaakyo.”
17 Awo Falaawo n’agamba Yusufu nti, “Laba, bwe nabadde nga nneebase ne ndoota nga nnyimiridde ku lubalama lw’omugga Kiyira; 18 ente ennungi ensava musanvu ne ziva mu mugga ne ziriira mu bisaalu; 19 ate ente endala ennafu embi ennyo enkovvu ze sirabangako mu nsi y’e Misiri nazo ne zijja. 20 Awo ente embi enkovvu ne zirya ente ziri omusanvu ensava ezaasoose, 21 naye bwe zamaze okuzirya nga toyinza na kutegeera nti ziziridde, kubanga nga nkovvu nga bwe zaabadde olubereberye. Awo ne ndyoka nzuukuka.
22 “Ate era mu kirooto kyange nalabye ebirimba ebigimu ebirungi musanvu nga biri ku kiti kimu, 23 n’ebirimba ebirala musanvu ebikaze olw’empewo ez’ebbugumu ez’ebuvanjuba, nabyo ne bivaayo. 24 (D)Ebirimba ebikaze ne bimira biri ebigimu. Ebyo nabitegeezezza abagezigezi ne wabulawo n’omu abivvuunula.”
25 (E)Awo Yusufu n’agamba Falaawo nti, “Ekirooto kya Falaawo kiri kimu: Katonda alaze Falaawo ky’agenda okukola. 26 (F)Ente omusanvu ennungi gy’emyaka musanvu n’ebirimba omusanvu ebigimu gy’emyaka musanvu; ekirooto kiri kimu. 27 (G)Ente omusanvu embi enkovvu ezajja oluvannyuma, gy’emyaka musanvu, n’ebirimba omusanvu ebikaze olw’empewo ez’ebbugumu ez’ebuvanjuba gy’emyaka omusanvu egy’enjala.
28 “Nga bwe ŋŋambye Falaawo, Katonda alaze Falaawo ekyo ky’agenda okukola. 29 (H)Wajja kubaawo emyaka musanvu egy’ekyengera mu nsi yonna ey’e Misiri, 30 (I)naye oluvannyuma lwagyo waliddawo emyaka musanvu egy’enjala eryerabiza ekyengera mu nsi yonna ey’e Misiri; enjala eribuna ensi. 31 Ekyengera tekirimanyika n’akatono olw’enjala empitirivu era embi ennyo, eribuna Misiri yenna. 32 (J)Ekirooto kya Falaawo kyekivudde kiddiŋŋanwa, kitegeeza nti ekintu Katonda akikakasa era ajja kukituukiriza mangu. 33 (K)Kale kaakano Falaawo alonde omusajja omukalabakalaba era ow’amagezi amuwe obuvunaanyizibwa ku nsi yonna ey’e Misiri. 34 (L)Era asseewo abalabirira balabirire ensi bakuŋŋaanye ekimu ekyokutaano eky’emmere ey’empeke yonna mu nsi ey’e Misiri okumalirako ddala emyaka omusanvu egy’ekyengera. 35 (M)Bakuŋŋaanye emmere eyo mu myaka egijja egy’ekyengera, bazimbe ebyagi ebinene mu buli kibuga bagikuŋŋaanyize omwo olw’ekiragiro kya Falaawo, bagikuume. 36 (N)Emmere eyo eriterekebwa olw’enjala eriba mu nsi okumalako emyaka omusanvu egy’enjala erigwa mu Misiri yonna; ensi ereme okuzikirizibwa enjala.”
Okukkiriza n’ebikolwa ebirungi
14 (A)Abooluganda, kibagasa ki okugamba nti mulina okukkiriza kyokka ng’okukkiriza kwammwe temukwoleka mu bikolwa? Mulowooza ng’okukkiriza ng’okwo kugenda kubalokola? 15 (B)Singa muganda wo oba mwannyoko takyalina kyakwambala wadde ekyokulya, 16 (C)naye omu ku mmwe n’amugamba nti, “Genda mirembe, obugume, era olye bulungi”, naye nga tamuwaddeeyo byetaago bya mubiri, olwo kimugasa ki? 17 Noolwekyo n’okukkiriza bwe kutyo; bwe kutabaako bikolwa kuba kufu.
18 (D)Naye omuntu ayinza okugamba nti, “Ggwe olina okukkiriza nange nnina ebikolwa; ndaga okukkiriza kwo okutaliiko bikolwa, nange nkulage ebikolwa byange nga bwe bikakasa okukkiriza kwange.” 19 (E)Okukkiriza obukkiriza nti waliwo Katonda omu yekka, kirungi. Naye ne baddayimooni nabo bakkiriza n’okukankana ne bakankana!
20 (F)Musirusiru ggwe! Oliyiga ddi ng’okukkiriza okutaliiko bikolwa tekuliiko kye kugasa? 21 (G)Jjajjaffe Ibulayimu teyaweebwa obutuukirivu olw’ekikolwa kye yakola, bwe yawaayo omwana we lsaaka, afiire ku kyoto? 22 (H)Mulaba nga Ibulayimu bwe yalina okukkiriza, era okukkiriza kwe ne kutuukirizibwa olw’ebikolwa bye, 23 (I)n’ekyawandiikibwa ne kituukirizibwa ekigamba nti, “Ibulayimu yakkiriza Katonda, ne kimubalirwa okuba obutuukirivu, era n’ayitibwa mukwano gwa Katonda.” 24 Kaakano mutegedde ng’omuntu asiimibwa Katonda olw’ebyo by’akola, so si lwa kukkiriza kyokka.
25 (J)Ekyokulabirako ekirala kye kya Lakabu, eyali malaaya. Teyaweebwa butuukirivu lwa kikolwa eky’okusembeza ababaka, n’oluvannyuma n’abasiibulira mu kkubo eddala nga baddayo, okubawonya? 26 (K)Ng’omubiri bwe guba omufu omwoyo bwe gutagubeeramu, n’okukkiriza bwe kutyo kuba kufu bwe kuteeyolekera mu bikolwa.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.