Revised Common Lectionary (Complementary)
Ya mukulu wa bayimbi. Oluyimba, Zabbuli ya Dawudi.
66 (A)Yimbira Mukama n’eddoboozi ery’omwanguka, ggwe ensi yonna.
2 (B)Muyimbe ekitiibwa ky’erinnya lye.
Mumuyimbire ennyimba ezimusuuta.
3 (C)Gamba Katonda nti, “Ebikolwa byo nga bya ntiisa!
Olw’amaanyi go amangi
abalabe bo bakujeemulukukira.
4 (D)Ab’omu nsi yonna bakuvuunamira,
bakutendereza,
bayimba nga bagulumiza erinnya lyo.”
47 (A)Kubanga ekiseera kijja
lwe ndibonereza ebifaananyi bya bakatonda ba Babulooni abaakolebwa n’emikono;
ensi eyo yonna eritabanguka,
n’emirambo gy’abantu baayo abattiddwa gyonna gibeere omwo.
48 (B)Eggulu n’ensi ne byonna ebibirimu
birireekana olw’essanyu olwa Babulooni,
abalimuzikiriza balimulumba
okuva mu bukiikakkono,”
bw’ayogera Mukama.
49 (C)“Babulooni kirigwa olw’Abayisirayiri abaafa,
nga bonna abaafa mu nsi yonna
bwe baweddewo olwa Babulooni.
50 (D)Mmwe abawonye ekitala,
mwanguwe okugenda!
Mujjukire Mukama nga muli mu nsi ey’ewala,
mulowooze ku Yerusaalemi.”
51 (E)“Tuweddemu amaanyi
kubanga tuvumiddwa
era tukwatiddwa ensonyi,
kubanga abagwira bayingidde
mu bifo ebitukuvu eby’ennyumba ya Mukama.”
52 (F)“Naye ennaku zijja,” bw’ayogera Mukama,
“lwe ndibonereza ebifaananyi bya bakatonda be, be yakola n’emikono,
era mu nsi ye yonna,
abaliko ebisago balisinda.
53 (G)Newaakubadde nga Babulooni atuuka ku bire
era ne yeenyweza n’ebigo bye eby’amaanyi,
ndimusindikira abazikiriza,”
bw’ayogera Mukama.
54 (H)“Eddoboozi ly’okukaaba liva mu Babulooni,
eddoboozi ery’okuzikirira okunene
okuva mu nsi y’Abakaludaaya.
55 (I)Mukama alizikiriza Babulooni,
alizikiza oluyoogaano lwakyo olunene.
Amayengo g’abalabe galijja ng’amazzi amangi;
okuwuluguma kw’amaloboozi kuliwulirwa.
56 (J)Omuzikiriza alirumba Babulooni;
abalwanyi be baliwambibwa,
n’emitego gyabwe girimenyebwa.
Kubanga Mukama Katonda asasula,
alisasula mu bujjuvu.
57 (K)Nditamiiza abakungu be n’abasajja be abajjudde amagezi,
ne bagavana, ab’ebitongole awamu n’abalwanyi;
balyebaka emirembe gyonna era tebalizuukuka,”
bw’ayogera Kabaka ayitibwa Mukama Katonda ow’Eggye.
58 (L)Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda ow’Eggye nti,
“Bbugwe wa Babulooni omunene alisendebwa
era n’emiryango gye emiwanvu gyokebwe;
abantu beetawanyiza bwerere nga bafuba,
okutawaana kw’eggwanga kuliba nku za muliro.”
Okugaba kw’Abakristaayo
8 (A)Kaakano tubategeeza abooluganda, ekisa kya Katonda ekyaweebwa ekkanisa z’e Makedoniya. 2 Mu kugezesebwa okw’okubonaabona, baagattika essanyu lyabwe ery’ekitalo n’obwavu bwabwe obungi, ne bafunamu okugaba okwewuunyizibwa ennyo. 3 (B)Tebaagaba kutuuka we basobola wokka, naye nawo baasukkawo, era baagaba lwa kweyagalira. 4 (C)Baatwegayirira tubatwalire ebirabo byabwe, nabo basanyukire wamu ne bannaabwe abaweerezza obuyambi eri abatukuvu. 5 Ate era kye twali tutasuubidde, baasooka kwewaayo eri Mukama, n’oluvannyuma gye tuli olw’okwagala kwa Katonda. 6 (D)Kyatugwanira okusaba Tito, nga bwe yasooka okubaweereza, ajje atuukirize n’ekikolwa ekyo eky’ekisa. 7 (E)Naye nga bwe musukirira mu bintu byonna, mu kukkiriza, ne mu kigambo, ne mu kutegeera, ne mu kunyiikira kwonna, twagala okulaba nga ne mu kisa kino musukirira.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.