Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Revised Common Lectionary (Complementary)

Daily Bible readings that follow the church liturgical year, with thematically matched Old and New Testament readings.
Duration: 1245 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Zabbuli 15

Zabbuli ya Dawudi.

15 (A)Ayi Mukama, ani anaabeeranga mu nnyumba yo?
    Ani anaatuulanga ku lusozi lwo olutukuvu?

(B)Oyo ataliiko kya kunenyezebwa,
    akola eby’obutuukirivu,
era ayogera eby’amazima nga biviira ddala mu mutima gwe.
    (C)Olulimi lwe talwogeza bya bulimba,
era mikwano gye tagiyisa bubi,
    so tasaasaanya ŋŋambo ku baliraanwa be.
(D)Anyooma ababi,
    naye abatya Mukama abassaamu ekitiibwa.
Atuukiriza ky’asuubiza
    ne bwe kiba nga kimulumya.
(E)Bw’awola tasaba magoba;
    so takkiriza kulya nguzi ku muntu yenna.

Oyo akola ebyo
    aliba munywevu emirembe gyonna.

Olubereberye 12:10-20

Ibulaamu Agenda e Misiri

10 Ne wagwa enjala mu nsi. Bw’atyo Ibulaamu n’aserengeta e Misiri[a] asengukireko eyo, kubanga enjala nnyingi eyali mu nsi. 11 Bwe yali anaatera okuyingira mu Misiri, n’agamba Salaayi mukazi we nti, “Mmanyi ng’oli mukazi mulungi era mubalagavu, 12 era Abamisiri bwe balikulabako baligamba nti, ‘Ono ye mukazi we,’ kale balinzita, naye ggwe ne bakuleka. 13 (A)Ogambanga nti, Oli mwannyinaze ndyoke mbeere bulungi ku lulwo, n’obulamu bwange buleme kubaako kabi, buwone ku lulwo.”

14 Ibulaamu bwe yayingira mu Misiri, Abamisiri ne balaba Salaayi nga mukazi mulungi nnyo. 15 N’abakungu ba Falaawo bwe baamulaba ne bamutendera Falaawo ne bamutwala mu lubiri lwa Falaawo. 16 Ku lwa Salaayi, Falaawo n’ayisa bulungi Ibulaamu. Ibulaamu n’aweebwa endiga, n’ente, n’endogoyi, n’abaweereza abasajja, n’abaweereza abakazi, n’endogoyi enkazi, n’eŋŋamira.

17 (B)Naye Mukama n’aleetera Falaawo n’ennyumba ye endwadde enkambwe olwa Salaayi mukazi wa Ibulaamu. 18 (C)Awo Falaawo n’ayita Ibulaamu n’amugamba nti, “Kiki kino ky’onkoze? Lwaki tewantegeeza nti mukazi wo? 19 Lwaki wagamba nti mwannyoko, ne mmutwala okuba mukazi wange? Kale kaakano mukazi wo wuuno mmutwale mugende.” 20 Falaawo n’alagira basajja be ebikwata ku Ibulaamu, ne bamusindiikiriza n’ava mu nsi ne mukazi we ne byonna bye yalina.

Abaebbulaniya 5:1-6

(A)Buli Kabona Asinga Obukulu alondebwa mu bantu n’ateekebwawo okuweereza Katonda ku lwabwe, alyoke awengayo ebirabo n’essaddaaka olw’ebibi byabwe. (B)Asobola okukwata empola abantu abatamanyi era n’abo abakyama, kubanga naye yennyini muntu eyeetooloddwa obunafu. (C)Olw’obunafu obwo, kimugwanira okuwangayo ssaddaaka ku lulwe yennyini ne ku lw’abantu.

(D)Tewali muntu yenna ayinza okwefuula kabona wabula ng’ayitiddwa Katonda okukola omulimu, nga bwe yayita Alooni. (E)Ne Kristo bw’atyo teyeegulumiza yekka, okufuuka Kabona Asinga Obukulu. Katonda yamwogerako nti,

“Ggwe oli Mwana wange,
    leero nkuzadde ggwe.”

(F)Era n’awalala agamba nti,

“Ggwe walondebwa okuba Kabona emirembe n’emirembe,
    ng’olubu lwa Merukizeddeeki bwe luli.”

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.