Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Old/New Testament

Each day includes a passage from both the Old Testament and New Testament.
Duration: 365 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Isaaya 59-61

Ekibi, Okwatula Ebibi, n’Okusonyiyibwa

59 (A)Mulabe, omukono gwa Mukama teguyimpawadde n’okuyinza ne gutayinza kulokola,
    era si muzibe wa matu nti tawulira.
(B)Naye obutali butuukirivu bwammwe
    bwe bubaawudde ku Katonda wammwe.
Ebibi byammwe bye bimukwesezza amaaso ge,
    n’atawulira.
(C)Kubanga emikono gyammwe gibunye omusaayi
    n’engalo zammwe zibunye obutali butuukirivu,
emimwa gyammwe gyogedde eby’obulimba,
    n’ennimi zammwe z’ogedde eby’ekko.
(D)Tewali awaaba bya nsonga
    so tewali awoza mu mazima;
Beesiga ensonga ezitaliimu, ne boogera eby’obulimba,
    ne baleeta emitawaana ne bazaala obulabe.
(E)Baalula amagi ag’essalambwa
    ne balanga ewuzi za nnabbubi:
alya ku magi gaabwe afa
    n’eryo eriba lyatise livaamu mbalasaasa.
(F)Naye enkwe zaabwe ze bakola tezibayamba,
    ziri ng’engoye enkole mu wuzi za nnabbubi!
Tebasobola kuzeebikka.
    Emirimu gyabwe mirimu gya kwonoona, n’ebikolwa byabwe bulabe.
(G)Ebigere byabwe byanguyirira bikole ebibi
    era bapapirira bayiwe omusaayi ogutalina musango.
Ebirowoozo byabwe birowoozo bya bubi,
    n’okuzika n’okuzikiriza bye biba buli we bagenda.
(H)Ekkubo ery’emirembe tebalimanyi
    wadde okukozesa obwenkanya mu makubo gaabwe.
Beekubidde amakubo,
    tewali n’omu agayitamu afuna emirembe.

(I)Amazima gatuli wala,
    n’obutuukirivu tetubufunye.
Tunoonyezza omusana naye ekizikiza kitwesibyeko,
    we tusuubira obutangaavu, tutambulidde mu bisiikirize byereere.
10 (J)Tuwammantawammanta bbugwe ng’abazibe,
    ne tukwatakwata ng’abatalina maaso;
twesittala mu ttuntu ng’ekiro mu abo abalina amaanyi
    ne tuba ng’abafu.
11 (K)Ffenna tuwuluguma ng’eddubu
    ne tusinda nga bukaamukuukulu.
Tusuubira okuggyibwa mu kunyigirizibwa naye nga bwereere,
    n’obulokozi butuliwala.
12 (L)Kubanga ebisobyo byaffe bingi mu maaso go
    era ebibi byaffe bitulumiriza,
kubanga ebisobyo byaffe biri naffe,
    era tumanyi obutali butuukirivu bwaffe;
13 (M)obujeemu n’enkwe eri Mukama
    era n’okulekeraawo okugoberera Katonda waffe.
Okutegeka obwediimo n’okunyigiriza,
    okwogera eby’obulimba n’emitima gyaffe bye girowoozezza.
14 (N)Obwenkanya buddiridde
    n’obutuukirivu ne bubeera wala.
Amazima geesitalidde mu luguudo, n’obwesimbu tebuyinza kuyingira.
15 Tewali w’oyinza kusanga mazima,
    era oyo ava ku kibi asuulibwa.

Mukama yakiraba n’atasanyuka
    kubanga tewaali bwenkanya.
16 (O)N’alaba nga tewali muntu,
    ne yennyamira nti tewali muntu ayinza kudduukirira.
Noolwekyo kwe kusalawo okukozesa omukono gwe ye kennyini
    okuleeta obulokozi n’obutuukirivu bwe okuwangula.
17 (P)Yayambala obutuukirivu bwe ng’eky’omu kifuba,
    era n’enkuufiira ey’obulokozi ku mutwe gwe;
n’ateekako ebyambalo by’okuwoolera eggwanga
    era n’ayambala obunyiikivu ng’omunagiro.
18 Ng’ebikolwa byabwe bwe biri
    bwalisasula ekiruyi ku balabe be,
n’abamukyawa
    alibawa empeera yaabwe,
    n’abo abali ewala mu bizinga abasasule.
19 (Q)Noolwekyo balitya erinnya lya Mukama okuva ebugwanjuba,
    n’ekitiibwa kye okuva ebuvanjuba,
kubanga alijja ng’omugga ogukulukuta n’amaanyi,
    omukka gwa Mukama gwe gutwala.

20 (R)“Era Omununuzi alijja mu Sayuuni,
    eri abo abeenenya ebibi byabwe mu Yakobo,”
    bw’ayogera Mukama.

21 (S)“Era, eno y’endagaano yange gye nkola nabo,” bw’ayogera Mukama. “Omwoyo wange ali ku ggwe era n’ebigambo byange bye ntadde mu kamwa ko, tebiivenga mu kamwa ko, oba mu kamwa k’abaana bo, wadde mu kamwa k’abaana b’abaana bo, okuva kaakano okutuusa emirembe n’emirembe,” bw’ayogera Mukama.

Ekitiibwa kya Sayuuni Ekijja

60 (T)“Yimuka, oyake, kubanga ekitangaala kyo kizze kyase
    era ekitiibwa kya Mukama kikwakirako.
(U)Kubanga laba ensi eribikkibwa ekizikiza
    era n’ekizikiza ekikutte ennyo kibikke abantu baamawanga gonna,
naye ggwe Mukama alikwakirako
    era ekitiibwa kye kikulabikeko.
(V)Amawanga galijja eri omusana gwo
    ne bakabaka eri okumasamasa okunaakubangako ng’ojja.

(W)“Yimusa amaaso go olabe;
    abantu bo bonna bakuŋŋaana okujja gy’oli
batabani bo abava ewala ne bawala bo
    abasituliddwa mu mikono.
Kino oli wakukirabako ojjule essanyu,
    omutima gwo, gujjule okweyagala n’okujaguza.
Obugagga bw’amawanga bulyoke bukuleetebwe,
    era n’ebirungi byonna eby’omu nnyanja birikweyuna.
(X)Ebisibo by’eŋŋamira birijjula ensi yammwe,
    eŋŋamira ento ez’e Midiyaani ne Efa.[a]
Era ne zonna ez’e Seba zirijja nga zeetisse zaabu n’obubaane
    okulangirira ettendo lya Katonda.
(Y)N’ebisibo byonna eby’e Kedali birikukuŋŋanyizibwa,
    endiga ennume ez’e Nebayoosi zirikuweereza.
Zirikkirizibwa ng’ekiweebwayo ku kyoto kyange
    era ndyolesa ekitiibwa kyange mu yeekaalu yange.

(Z)“Bano baani abaseyeeya nga ebire,
    ng’amayiba agadda mu bisu byago?
(AA)Ddala ddala ebizinga bitunuulidde nze;
    ebidyeri by’e Talusiisi bye bikulembedde
bireete batabani bammwe okubaggya ewala
    awamu ne zaabu yaabwe ne ffeeza,
olw’ekitiibwa kya Mukama Katonda wammwe,
    Omutukuvu wa Isirayiri,
    kubanga akufudde ow’ekitiibwa.

10 (AB)“Abaana b’abamawanga amalala balizimba bbugwe wo,
    era bakabaka baabwe bakuweereze;
Olw’obusungu bwange, nakukuba,
    naye mu kusaasira kwange ndikukwatirwa ekisa.
11 (AC)Emiryango gyo ginaabanga miggule bulijjo,
    emisana n’ekiro tegiggalwenga,
abantu balyoke bakuleeterenga obugagga obw’amawanga gaabwe
    nga bakulembeddwamu bakabaka baabwe.
12 (AD)Kubanga eggwanga oba obwakabaka ebitakuweereze byakuzikirira.
    Ensi ezo zijja kuggweerawo ddala.

13 (AE)“Ekitiibwa kya Lebanooni kirikujjira,
    emiti egy’ettendo egy’enfugo,
omuyovu ne namukago gireetebwe okutukuza ekifo eky’awatukuvu wange,
    ekifo ebigere byange we biwummulira eky’ettendo.
14 (AF)Batabani baabo abaakunyigirizanga balijja okukuvuunamira;
    era bonna abaakusekereranga balivuunamira ku bigere byo.
Balikuyita kibuga kya Katonda,
    Sayuuni ey’Omutukuvu wa Katonda.

15 (AG)“Wadde nga wali olekeddwa awo ng’okyayibbwa,
    nga tewali n’omu akuyitamu,
ndikufuula ow’ettendo,
    essanyu ery’emirembe gyonna.
16 (AH)Olinywa amata ag’amawanga.
    Ku mabeere ga bakungu kw’onooyonkanga,
era olimanyira ddala nti,
    Nze, nze Mukama,
nze Mulokozi wo era Omununuzi wo,
    ow’Amaanyi owa Yakobo.
17 Mu kifo ky’ekikomo ndireeta zaabu,
    mu kifo ky’ekyuma ndireeta effeeza,
mu kifo ky’omuti ndireeta kikomo,
    ne mu kifo ky’amayinja ndeete ekyuma.
Emirembe gye girifuuka omufuzi wo
    n’obutuukirivu ne buba omukulembeze wo.
18 (AI)Okutabukatabuka tekuddeyo kuwulirwa mu nsi yo,
    wadde okwonoona n’okuzikiriza munda mu nsalo zo.
Ebisenge byo olibiyita Bulokozi,
    Era n’enzigi zo, Kutendereza.
19 (AJ)Enjuba si yeenekumulisizanga emisana,
    oba omwezi okukumulisizanga ekiro.
Kubanga Mukama y’anaabeeranga ekitangaala kyo eky’emirembe n’emirembe,
    era Katonda wo y’anaabeeranga ekitiibwa kyo.
20 (AK)Enjuba yo terigwa nate,
    n’omwezi gwo tegulibula;
Mukama y’anaabeeranga ekitangaala kyo eky’emirembe n’emirembe
    era ennaku zo ez’okukungubanga zikome.
21 (AL)Abantu bo babeere batuukirivu,
    ensi ebeere yaabwe emirembe n’emirembe.
Ekisimbe kye nnesimbira;
    omulimu gw’emikono gyange,
    olw’okulaga ekitiibwa kyange.
22 Asembayo okuba owa wansi alyala n’aba lukumi,
    n’asembayo obutono afuuke eggwanga ery’amaanyi.
Nze Mukama,
    ndikyanguya mu biseera byakyo.”

Amawulire Amalungi ag’Obulokozi

61 (AM)Omwoyo wa Mukama Katonda ali ku nze,
    kubanga Mukama anfuseeko amafuta okubuulira abaavu n’abali obubi ebigambo ebirungi,
    antumye okuyimusa abalina emitima egimenyese.
Okulangirira eddembe eri abawambe,
    n’abasibe bateebwe
    bave mu makomera.
(AN)Okulangirira omwaka gwa Mukama
    ogw’okulabiramu obulungi bwe;
olunaku lwa Mukama olw’okuwalanirako eggwanga
    era n’okuzzaamu amaanyi abo bonna abakungubaga.
    (AO)Okugabirira abo bonna abali mu Sayuuni abakungubaga,
okubawa engule ey’obubalagavu mu kifo ky’evvu,
    n’amafuta ag’essanyu mu kifo ky’ennaku.
Ekyambalo ky’okutendereza
    mu kifo ky’omwoyo w’okukeŋŋeentererwa
balyoke bayitibwe miti gy’abutuukirivu, ebisimbe bya Mukama,
    balyoke baweebwe ekitiibwa.

(AP)Baliddamu
    bazimbe ebyali bizise,
balirongoosa ebibuga
    ebyali byerabirwa edda.
(AQ)Abaamawanga balibalundira ebisibo byammwe,
    abagwira babakolere mu nnimiro zammwe ne mu nnimiro z’emizabbibu.
(AR)Era muyitibwe bakabona ba Mukama,
    abantu baliboogerako ng’abaweereza ba Mukama,
mulirya obugagga bw’amawanga,
    era mu bugagga bwabwe mwe mulyenyumiririza.

(AS)Mu kifo ky’ensonyi,
    abantu bange baliddizibwawo emirundi ebiri.
Mu kifo ky’okuswala
    basanyuke olw’ebyo bye balifuna
era balifuna omugabo gwa mirundi ebiri,
    essanyu lyabwe liribeerera emirembe gyonna.

(AT)“Kubanga nze, Mukama, njagala obwenkanya,
    nkyawa okunyaga era n’obutali butuukirivu.
Mu bwesigwa bwange ndibasasula
    era nkole nabo endagaano ey’emirembe n’emirembe.
N’ezzadde lyabwe liritutumuka nnyo mu mawanga
    n’abaana baabwe eri abantu.
Abo bonna abalibalaba balibamanya,
    nti bantu Mukama be yawa omukisa.”

10 (AU)Nsanyukira nnyo mu Mukama,
    emmeeme yange esanyukira mu Katonda wange.
Kubanga annyambazizza ebyambalo eby’obulokozi
    era n’anteekako n’omunagiro ogw’obutuukirivu,
ng’omugole omusajja bw’ayambala engule nga kabona,
    ng’omugole omukazi bw’ayambala amayinja ge ag’omuwendo.
11 (AV)Kuba nga ettaka bwe livaamu ebimera,
    era ng’ennimiro bwereetera ensigo okumeruka,
bw’atyo Mukama Katonda bwalireeta obutuukirivu n’ettendo okumeruka,
    ensi zonna zikirabe.

2 Basessaloniika 3

Okusabirwanga

(A)Abooluganda, eky’enkomerero, mutusabirenga, ekigambo kya Mukama kibune mangu era Mukama agulumizibwenga, nga bw’agulumizibwa mu mmwe, (B)tulyoke tununulibwe okuva mu bakozi b’ebibi, kubanga si bonna abakkiriza. (C)Naye Mukama waffe mwesigwa, alibanyweza mmwe era anaabawonyanga Setaani. (D)Era twesiga nga Mukama waffe, abakozesa ebyo bye twabayigiriza era nga munaabikolanga bulijjo. (E)Mukama waffe aluŋŋamyenga emitima gyammwe mu kutegeera okwagala kwa Katonda, n’obugumiikiriza obuva eri Kristo.

Abalabula obutagayaalanga

(F)Abooluganda abaagalwa, mbakuutira mu linnya lya Mukama waffe Yesu Kristo ne mu buyinza bwe, mwewalenga abagayaavu abatayagala kukola mirimu ne balemwa okugoberera ekyokulabirako kye twabateerawo. (G)Kubanga mmwe bennyini mumanyi bulungi bwe kibagwanira okutugobereranga ng’ekyokulabirako kyammwe, kubanga temwatulaba nga twegomba okulya ebyo bye tutakoleredde, (H)tetwakkiriza kulya mmere ya muntu yenna awatali kumusasula. Twafubanga nnyo ne tukoowa nga tukola emirimu emisana n’ekiro tulyoke tufunemu bye twetaaga okukozesa, era tuleme kuzitoowerera muntu n’omu ku mmwe. (I)Si kubanga tetwalina buyinza okubagamba mmwe okutuliisa, naye twayagala mutulabireko nga bwe kibagwanidde okukolanga. 10 (J)Era ne bwe twali gye muli eyo, twabakuutira nti omuntu yenna bw’agaananga okukola emirimu, n’okulya talyanga.

11 (K)Kyokka tuwulira nti mu mmwe mulimu abagayaavu abatayagala kukola, aboonoona ebiseera byabwe mu kusaasaanya eŋŋambo. 12 (L)Mu linnya lya Mukama waffe, tubeegayirira era tubakuutira abali bwe batyo, okukolanga emirimu n’obunyiikivu n’obuteefu balyoke balyenga ebyo bye bakoleredde. 13 (M)Naye mmwe temukoowanga kukola bulungi abooluganda abaagalwa.

14 (N)Era omuntu yenna bw’atagonderanga biragiro byaffe mu bbaluwa eno, oyo mumwetegereze, muleme kukolagananga naye, ensonyi ziryoke zimukwate. 15 (O)So temumuyisanga nga mulabe wammwe naye mumubuulirirenga ng’owooluganda eyetaaga okulabulwa.

Eky’enkomerero

16 (P)Kale Mukama nannyini mirembe abawenga emirembe mu byonna. Mukama abeerenga nammwe mwenna.

17 (Q)Kuno kwe kulamusa kwange, nze Pawulo, mu mukono gwange, bwe ntyo bwe nkola ku nkomerero z’ebbaluwa zange zonna okulaga nti zivudde gye ndi. Bwe nti bwe mpandiika.

18 Ekisa kya Mukama waffe Yesu Kristo kibeerenga nammwe mwenna.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.