Old/New Testament
1 (A)Ebigambo ebyayogerwa Yeremiya, mutabani wa Kirukiya, ow’oku bakabona abaali mu Anasosi mu nsi ya Benyamini. 2 Mukama Katonda yayogera naye mu mirembe gya Yosiya, kabaka wa Yuda, mutabani wa Amoni, nga yakafugira emyaka kkumi n’esatu, 3 (B)ne mu biro bya Yekoyakimu mutabani wa Yosiya kabaka wa Yuda, okutuusa mu mwezi ogwokutaano, ogw’omwaka ogw’ekkumi n’ogumu ogw’obufuzi bwa Zeddekiya mutabani wa Yosiya kabaka wa Yuda, abantu b’e Yerusaalemi lwe baatwalibwa mu buwaŋŋanguse.
Okuyitibwa kwa Yeremiya
4 Ekigambo kya Mukama Katonda ne kinzijira, ng’agamba nti,
5 (C)“Nakumanya bwe nnali sinnakubumba mu lubuto lwa maama wo;
nga tonnava mu lubuto n’akutukuza.
Nakulonda okubeera nnabbi eri amawanga.”
6 (D)Ne ndyoka ŋŋamba nti, “Laba nno, Mukama Katonda! Simanyi kwogera mu bantu, ndi mwana muto.” 7 Naye Mukama Katonda n’aŋŋamba nti, “Toyogera nti, ‘Ndi mwana bwana;’ kubanga yonna gye nnaakutumanga gy’onoogendanga, era byonna bye nnaakulagiranga by’onooyogeranga. 8 (E)Tobatyanga, kubanga nze ndi naawe okukuwonya,” bw’ayogera Mukama Katonda.
9 (F)Awo Mukama Katonda n’agolola omukono gwe, n’akwata ku mimwa gyange, n’aŋŋamba, nti, “Wuliriza. Nkuwa ebigambo by’onooyogeranga. 10 (G)Leero nkutaddewo okuba n’obuyinza ku mawanga era ne ku bwakabaka. Okusimbula n’okumenya, okuzikiriza n’okuwamba; okuzimba n’okusimba.” 11 (H)Ekigambo kya Mukama Katonda ate ne kinzijira nga kigamba nti, “Yeremiya kiki ekyo ky’olaba?”
Ne ŋŋamba nti, “Ndaba ettabi ly’omuti ogw’omulozi.”
12 Awo Mukama Katonda n’aŋŋamba nti, “Olabye bulungi, kubanga neetegereza ndabe ng’ekigambo kyange kituukirira.”
13 (I)Ekigambo kya Mukama Katonda ne kinzijjira nate nti, “Kiki ky’olaba, kaakano?”
Ne ŋŋamba nti, “Ndaba ensuwa ey’amazzi ageesera, ng’etunudde waggulu mu bukiikakkono.”
14 Awo Mukama Katonda n’aŋŋamba nti, “Okuzikirira kujja kubaawo nga kutandikira mu bukiikakkono kutuuke ku bantu bonna abali mu ggwanga. 15 (J)Kubanga laba nnaatera okuyita abantu bonna ab’omu bwakabaka obuli mu bukiikakkono,” bw’ayogera Mukama Katonda.
Bakabaka baabwe balyoke bajje bateeke entebe zaabwe ez’obwakabaka
mu miryango egiyingira ekibuga Yerusaalemi,
balizinda bbugwe waakyo yenna
era bazinde n’ebibuga byonna ebya Yuda.
16 (K)Era ndibonereza abantu bange olw’ebibi byabwe byonna,
kubanga banvaako ne booteeza obubaane eri bakatonda abalala,
era ne basinza ebibajje bye beekolera
n’emikono gyabwe.
17 (L)“Naye ggwe weetegeke! Yimirira obabuulire byonna bye nkulagira. Tobatya kubanga bw’onoobatya nzija kubakutiisa. 18 (M)Kubanga leero nze nkufudde ekibuga ekiriko enkomera ez’amaanyi, era empagi ey’ekyuma, era bbugwe ow’ekikomo eri ensi yonna, eri bakabaka ba Yuda, eri abakungu baayo, ne bakabona n’abantu ab’omu nsi. 19 (N)Balirwana naawe naye tebalikuwangula; kubanga nze ndi wamu naawe okukununula,” bw’ayogera Mukama Katonda.
Isirayiri eva ku Katonda
2 Ekigambo kya Mukama Katonda ne kinzijira nga kigamba nti, 2 (O)“Genda olangirire nga Yerusaalemi ewulira nti:
“Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti,
“ ‘Nzijukira okwewaayo kwe weewaayo ng’okyali muto,
engeri gye wanjagalamu nga twakafumbiriganwa,
wangoberera mu ddungu
mu nsi etali nnime.
3 (P)Isirayiri wali mutukuvu wa Mukama,
ebibala ebibereberye ebyamakungula ge;
bonna abaakulyangako nga bazzizza omusango,
akabi nga kabatuukako,’ ”
bw’ayogera Mukama Katonda.
4 Muwulirize ekigambo kya Mukama mwe ezzadde lya Yakobo,
era n’ab’enju zonna ez’ebika eby’omu Isirayiri.
5 (Q)Bw’ati bw’ayogera Mukama nti,
Kibi ki bakitammwe kye bansangamu ne banvaako
ne bagenda ewala ennyo bwe batyo?
Baagoberera ebifaananyi bya bakatonda abakole n’emikono ebitaliimu
nabo bennyini ne bafuuka ebitaliimu.
6 (R)Ne batagamba nako nti; “Ali ludda wa Mukama eyatuggya mu nsi y’e Misiri;
eyatuyisa mu lukoola,
mu nsi ey’amalungu n’obunnya, mu nsi enkalu n’ekisiikirize eky’okufa,
mu nsi omutali muntu n’omu, so n’omuntu yenna mw’atayinza kuyita?”
7 (S)Ne mbaleeta mu nsi engimu,
mulye ebibala byamu n’ebintu ebirungi.
Naye bwe mwajja ne mwonoona ensi yange,
ne mufuula omugabo gwange ekivume.
8 (T)Bakabona ne batabuuzaako nti, “Mukama ali ludda wa?”
Abo abakola ku mateeka tebammanya.
Abakulembeze ne banjeemera.
Bannabbi nga baweereza ku lwa Baali, ne bagoberera ebitagasa.
9 (U)“Kyenva nnyongera okubalumiriza,”
bw’ayogera Mukama,
“Era ndirumiriza n’abaana b’abaana bammwe.
10 Muwunguke ennyanja mugende ku bizinga bya Kittimu mulabe;
era mutume e Kedali, mwetegereze.
Mujja kulaba nga tekibangawo.
11 (V)Waali wabaddewo eggwanga erikyusa bakatonda baalyo,
wadde nga si bakatonda, naye nga bitaliimu?
Naye abantu bange baawaanyisa ekitiibwa kyabwe
n’ebitagasa.
12 Wewuunye ggwe eggulu,
era okankane n’entiisa ey’amaanyi,”
bw’ayogera Mukama.
13 (W)“Kubanga abantu bange bakoze ebibi bibiri,
banvuddeko
nze ensulo ey’amazzi amalamu
ne beesimira ettanka ez’omu ttaka,
ettanka ez’omu ttaka ezirimu enjatika ezitanyweeramu mazzi.”
Ebyava mu kubula kwa Isirayiri
14 (X)“Isirayiri muddu, omuddu omuzaale?
Kale lwaki afuuse omuyiggo?
15 (Y)Bamuwulugumirako ng’empologoma bw’ewuluguma,
abalabe bawulugumye nnyo.
Ensi ye efuuse matongo,
ebibuga bye bigyiridde ddala omuliro birekeddwa ttayo, nga temukyali muntu n’omu.
16 (Z)Ate era abasajja b’e Noofu n’e Tapeneesi
bamaliddewo ddala ekitiibwa kyo.
17 (AA)Si ggwe weeretedde bino ng’ova ku Mukama Katonda wo,
eyakukulemberanga
akulage ekkubo?
18 (AB)Kaakano olowooza onooganyulwamu ki
okugenda okukolagana ne Misiri?
Olowooza kiki ky’onoganyulwa
bw’onogenda okukolagana ne Bwasuli?
19 (AC)Ebibi byo byennyini bye biri kubonereza,
n’okudda kwo emabega kwe kulikusalira omusango.
Kale lowooza era otegeere nga bwe kiri ekibi era eky’omutawaana gy’oli bw’ova ku Mukama Katonda wo,
n’oba nga tokyantya,”
bw’ayogera Mukama, Katonda ow’eggye.
Isirayiri Ebonerezebwa olw’Okusinza bakatonda abalala
20 (AD)Mukama ow’eggye agamba nti,
“Isirayiri, ebbanga ddene eriyiseewo bukya weggya mu buyinza bwange,
n’ogamba nti, ‘Sijja kukugondera.’
Era ddala, ku buli kasozi era na buli wansi w’omuti oguyimiridde
wakuba obwamalaaya
ng’ovuunamira bakatonda abalala.
21 (AE)Songa nnali nkusimbye ng’oli muzabbibu omulungi,
ensigo eteriimu kikyamu n’akatono,
naye ate lwaki oyonoonese
n’ofuuka ng’omuzabbibu ogw’omu nsiko?
22 Kubanga ne bw’onaaba n’oluvu n’okozesa ne sabbuuni omungi,
naye era ebbala lyo n’obutali butuukirivu bwo
bisigala bikyalabika,”
bw’ayogera Mukama Katonda.
23 (AF)Oyinza otya okugamba nti, “Sseeyonoonanga,
sigobereranga ba Baali?”
Jjukira bwe weeyisa ng’oli mu kiwonvu;
tegeera kye wakola.
Oli ng’eŋŋamira enkazi efuumuuka embiro
ngeraga eno n’eri,
24 (AG)ng’endogoyi ey’omu nsiko
eddukira mu ddungu mw’emanyidde,
ng’ewunyiriza mu bbanga eno n’eri mu kwaka kwayo,
mu kiseera ekyo ani ayinza okugiziyiza?
Ensajja zonna ezigyetaaga tezeetaaga kwekooya;
mu biseera by’okulabaganiramu za kugifuna.
25 (AH)Tokooya bigere byo,
era tokaza mimiro gyo.
Naye n’oddamu nti, “Ebyo bya bwereere,
sisobola kukyuka, nayagala bakatonda abalala,
nteekwa okubanoonya.”
26 (AI)Ng’omubbi bw’aswala ng’akwatiddwa,
n’ennyumba ya Isirayiri bw’eswala bw’etyo,
bakabaka baayo, n’abalangira baayo, ne bakabona baayo,
era ne bannabbi baayo,
27 (AJ)nga bagamba emiti nti, “Ggwe kitange,”
era n’ejjinja nti, “Ggwe wanzaala.”
Bankubye amabega,
naye bwe balaba ennaku bankaabirira nti, “Yimuka ojje otulokole.”
28 (AK)Kale bakatonda be weekolera baluwa?
Leka bajje, bwe baba basobola okukulokola mu biseera eby’emitawaana.
Kubanga obungi bwa bakatonda bammwe
bwenkanankana n’ebibuga byo ggwe Yuda.
Okubonerezebwa kutuuse
29 (AL)“Lwaki munneemulugunyiza?
Mwenna mwanneeddiimira,”
bw’ayogera Mukama.
30 (AM)Abaana bammwe nababonereza naye nga bwerere,
tebakkiriza kugololwa.
Mmwe bennyini ne mwettira bannabbi bammwe
ng’empologoma bw’etta.
31 (AN)Mmwe ab’omulembe guno muwulirize ekigambo kya Katonda.
Mbadde nga ddungu gye muli
ng’ensi ejjudde ekizikiza eky’amaanyi?
Kale lwaki abantu bange bagamba nti,
“Tulina eddembe, tetukyadda gy’oli?”
32 Omuwala omuto ayinza okwerabira ebikomo,
oba omugole okwerabira ekyambalo kye?
Naye ng’ate abantu bange
Bannerabidde!
33 Ng’omanyi nnyo okukuba amakubo ag’okunoonya abanaakwagala!
N’asembayo okuba omukugu mu bamalaaya aba alina kuyigira ku ggwe.
34 (AO)Engoye zo zijjudde omusaayi gw’abaavu
n’abatalina musango,
awatali kugamba nti
bakwatibwa nga babba.
Ate nga wadde byonna biri bwe bityo
35 (AP)ogamba nti, “Sirina musango,
ddala takyanninako busungu!”
Laba, ŋŋenda kukusalira omusango
olw’okugamba nti, “Sirina kibi kye nkoze.”
36 (AQ)Lwaki ogenda ng’okyusakyusa
amakubo go!
Misiri ejja kukuswaza
nga Bwasuli bwe yakuswaza.
37 (AR)Era n’eyo olivaayo
ng’emikono ogyetisse ku mutwe,
kubanga Mukama agaanye abo be weesiga;
tagenda kukuyamba.
Abalabirizi b’Ekkanisa
3 (A)Ekigambo kyesigwa. Omuntu yenna bw’ayagalanga okuba Omulabirizi aba yeegombye omulimu omulungi. 2 (B)Noolwekyo Omulabirizi kimugwanira okuba nga taliiko kya kunenyezebwa, nga musajja wa mukazi omu, nga muntu eyeefuga, nga mwegendereza, nga mukwata mpola, ayaniriza abagenyi, era ng’amanyi okuyigiriza. 3 (C)Tateekwa kuba mutamiivu, era nga si mukambwe, wabula omuwombeefu, nga si muyombi era nga talulunkanira nsimbi. 4 (D)Ateekwa kuba ng’afuga bulungi amaka ge, abaana be nga bamuwulira, era nga bamussaamu ekitiibwa. 5 (E)Kubanga omuntu atasobola kufuga maka ge, alisobola atya okulabirira ekkanisa ya Katonda? 6 (F)Omulabirizi tateekwa kuba muntu eyaakakkiriza Kristo, si kulwa nga yeekuluntaza, n’asalirwa omusango nga Setaani bwe yagusalirwa. 7 (G)Asaanira okuba ng’assibwamu ekitiibwa abo abatali ba Kkanisa, si kulwa nga yeereetako ekivume.
Abadiikoni
8 (H)Abadiikoni nabo kibagwanira okuba abantu abassibwamu ekitiibwa abatataaganaaga mu bigambo byabwe, abatatamiira, era abatalulunkanira bintu, 9 (I)nga bakuuma ekyama ky’okukkiriza n’omutima omulongoofu. 10 Basookanga kugezesebwa balyoke baweereze mu budiikooni nga tebaliiko kya kunenyezebwa. 11 (J)N’abakazi Abadiikoni bwe batyo nabo kibagwanidde okubeeranga abassibwamu ekitiibwa, abatawaayiriza, abeegendereza, era abeesigwa mu buli kintu. 12 (K)Omudiikoni ateekwa okuba n’omukazi omu yekka, era ng’asobola okufuga obulungi abaana be, n’amaka ge. 13 Kubanga abaweereza obulungi bafuna ekifo ekya waggulu era baba n’obuvumu bungi mu kukkiriza okuli mu Kristo.
Ekyama Ekikulu
14 Nkuwandiikidde ebintu ebyo nga nsuubira okujja gy’oli mangu; 15 (L)kyokka bwe ndirwa omanye by’osaana okukola mu nnyumba ya Katonda, ye Ekkanisa ya Katonda omulamu, empagi n’omusingi eby’amazima. 16 (M)Tewali kubuusabuusa ekyama ky’okutya Katonda kikulu ddala, era kigamba nti:
“Yalabisibwa mu mubiri,
n’akakasibwa Omwoyo nga bw’atuukiridde,
n’alabibwa bamalayika,
n’alangibwa mu mawanga,
n’akkirizibwa mu nsi,
era n’atwalibwa n’ekitiibwa mu ggulu.”
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.