Old/New Testament
Omusango n’Obulokozi
65 (A)Mukama n’alyoka agamba nti,
“Nze nnali mwetegefu okweyoleka eri abo abaali tebannoonya.
Neeraga abo abaali tebannoonya.
Eri eggwanga eryali litakoowoola linnya lyange nneyoleka gye bali ng’aŋŋamba nti, ‘Ndi wano, Ndi wano.’
2 (B)Nagolola emikono gyange olunaku lwonna okutuusa obudde okuziba
eri abantu abeewagguzze,
abatambulira mu makubo amabi
abagoberera entegeka ezaabwe ku bwabwe;
3 (C)abantu bulijjo
abansomooza mu maaso gange gennyini
nga bawaayo ebiweebwayo mu nnimiro
ne bookera n’ebiweebwayo ku byoto eby’amatoffaali;
4 (D)abatuula mu malaalo
ne bamalako ekiro kyonna mu bifo ebyekusifu,
abalya ennyama y’embizzi,
era n’amaseffuliya gaabwe gajjudde ennyama etali nnongoofu.
5 (E)Bagamba nti, ‘Beera wala, tojja kumpi nange,
kubanga ndi mutuukirivu nnyo ggwe okunsaanira!’
Abantu bwe batyo mukka mu nnyindo zange,
omuliro ogwaka olunaku lwonna.
6 (F)“Laba kiwandiikiddwa mu maaso gange.
Sijja kusirika naye nzija kusasula mu bujjuvu,
nzija kubasasula bibatuukireko ddala;
7 (G)olw’ebibi byammwe byonna era n’olw’ebibi bya bakitammwe,”
bw’ayogera Mukama Katonda.
“Kubanga baayokera ebiweebwayo byabwe ku lusozi
era ne bannyoomera ku busozi,
ndibalira mu mikono gyabwe empeera yennyini enzijuvu
ey’ebikolwa byabwe eby’edda.”
8 Bw’atyo bw’ayogera Mukama:
“Ng’omubisi bwe gusangibwa mu kirimba ky’emizabbibu
abantu ne bagamba nti, ‘Togwonoona,
gukyalimu akalungi,’
bwe ntyo bwe ndikibakolera olw’obulungi bw’abaweereza bange.
Sijja kubasaanyaawo bonna.
9 (H)Ndiggya ezzadde okuva mu Yakobo
era ne mu Yuda abo abalitwala ensozi zange;
abantu bange abalonde balizigabana,
era eyo abaweereza bange gye balibeera.
10 (I)Awo Saloni kiribeera ddundiro lya bisibo,
era n’ekiwonvu kya Akoli kifo kya nte we zigalamira
olw’abantu bange abannoonya.
11 (J)“Naye mmwe abava ku Mukama
ne mwerabira olusozi lwange olutukuvu
ne muteekerateekera emmeeza katonda wammwe, Mukisa,
ne mujuliza katonda wammwe, Kusalawo, ebikopo eby’envinnyo,
12 (K)ndibawaayo eri ekitala
era mwenna mukutaamirire musalibwe,
kubanga nabayita naye temwayitaba,
nayogera naye temwampuliriza.
Mwakola ebitasaana
era ne musalawo okukola ebitansanyusa.”
13 (L)Noolwekyo kino Mukama Ayinzabyonna ky’agamba:
“Abaweereza bange bajja kulya,
naye mmwe mujja kulumwa enjala,
abaweereza bange bajja kunywa,
naye mmwe mulumwe ennyonta;
abaweereza bange bajja kujaguza,
naye mmwe mukwatibwe ensonyi.
14 (M)Abaweereza bange bajja kuyimba
olw’essanyu erinaaba mu mitima gyabwe,
naye mmwe muli ba kukaaba olw’okulumwa okunaabeera mu mitima gyammwe
era mukaabe olw’okulumwa emyoyo.
15 (N)Ekikolimo kiryoke kibagwire,
Nze Mukama Katonda ow’Eggye mbatte
amannya gammwe geerabirwe,
naye mpe amannya amaggya abo abaŋŋondera.
16 (O)Kiryoke kibeere nti buli muntu ananoonya okufuna omukisa
anaagunoonya kuva eri Katonda Ow’amazima
buli anaalayiranga mu ggwanga
anaalayiranga Katonda ow’amazima.
Kubanga emitawaana egyayita gya kwerabirwa
gikwekebwe okuva mu maaso gange.
Eggulu Epya n’Ensi Empya
17 (P)“Laba nditonda eggulu eriggya
n’ensi empya.
Ebintu eby’edda tebijja kujjukirwa
wadde okulowoozebwako mu mutima.
18 (Q)Naye musanyukire ekyo kye ntonda
mujaguze emirembe n’emirembe,
kubanga nditonda Yerusaalemi okuba essanyu
n’abantu baamu okuba okujaguza.
19 (R)Ndijaguza olwa Yerusaalemi
era nsanyukire abantu bange;
amaloboozi ag’okukaaba
tegaliddayo kuwulirwamu.
20 (S)“Teriddayo kuba mu kyo mwana muwere
anaaberawo ennaku obunaku,
oba omusajja omukulu ataamalengayo myaka gye;
oyo alifiira ku myaka ekikumi
alitwalibwa ng’omuvubuka obuvubuka.
Oyo atalituusa kikumi
abalibwe ng’eyakolimirwa.
21 (T)Balizimba ennyumba bazisulemu,
balisimba emizabbibu balye ebibala byagyo.
22 (U)Tebalizimba nnyumba ate omulala agisulemu,
tebalisimba ate omulala abirye.
Kubanga emyaka gy’emiti nga bwe giba
bwe gityo bwe giribeera emyaka gy’abantu bange.
Abalonde bange balirwawo nga bawoomerwa
emirimu gy’emikono gyabwe.
23 (V)Tebalikolera bwereere
oba okuzaala abaana ab’okugwa mu katyabaga,
kubanga balibeera abantu abaweebwa Mukama Katonda omukisa,
bo awamu n’ab’enda yaabwe.
24 (W)Nga tebanakoowoola ndibaddamu,
nga bakyayogera bati mbaddemu.
25 (X)Omusege n’omwana gw’endiga biriire wamu,
era empologoma erye omuddo ng’ennume,
era ettaka libeere emmere y’omusota.
Tewaliba kulumya
wadde kuzikiriza ku lusozi lwange olutukuvu,”
bw’ayogera Mukama Katonda.
66 (Y)Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda,
“Eggulu y’entebe yange kwe nfugira
n’ensi ke katebe kwe mpummuliza ebigere byange,
nnyumba ki gye mulinzimbira?
Kifo ki kye mulimpa okuwummuliramu?
2 (Z)Ebintu bino byonna emikono gyange si gye gyagikola,
noolwekyo ebintu bino byonna byange?”
bw’ayogera Mukama Katonda.
“Ono ye muntu gwe ntunulako;
oyo ow’eggonjebwa era omwetoowaze mu mwoyo,
oyo akankanira ekigambo kyange.
3 (AA)Naye asaddaaka ente aba ng’asse omuntu,
oyo awaayo omwana gw’endiga n’aba ng’amenye ensingo y’embwa,
n’oyo awaayo ekiweebwayo eky’empeke
aba ng’awaddeyo omusaayi gw’embizzi,
era oyo anyookeza obubaane bw’ekijjukizo
aba ng’asinza ekifaananyi ekikole n’emikono.
Abantu bakutte amakubo gaabwe,
era emmeeme zaabwe zisanyukira eby’emizizo byabwe.
4 (AB)Nange ndisalawo mbatuuseeko ekibambulira,
mbaleeteko kye batandyagadde kibatuukeko.
Kubanga bwe nayita,
teri n’omu yayanukula,
bwe nnaayogera
tebanfaako.
Bakola ebibi mu maaso gange
ne bagoberera ebitansanyusa.”
5 (AC)Muwulirize ekigambo kya Mukama Katonda
mmwe abakankanira ekigambo kye.
“Baganda bammwe abatabaagala
era ababayigganya olw’erinnya lyange babasekerera nti,
‘Leka Mukama alage obukulu bwe
abalokole tulabe bwe musanyuka!’
Naye bo be banaakwasibwa ensonyi.
6 (AD)Muwulirize.
Oluyoogaano oluva mu kibuga, muwulirize eddoboozi eriva mu yeekaalu.
Eddoboozi eryo lya Mukama Katonda ng’asasula abalabe be
nga bwe kibagwanira.
7 (AE)“Ekibuga kyange ekitukuvu
kiri ng’omukazi azaala
nga tannatuusa kulumwa,
obulumi nga tebunatuuka n’akubawo eddenzi.
8 (AF)Ani eyali awulidde ekintu bwe kityo?
Ani eyali alabye ekiri ng’ekyo?
Ensi eyinza okuzaalibwa mu lunaku lumu
oba eggwanga okutondebwawo mu kaseera obuseera?
Akaseera katono bwe kati,
Sayuuni anaaba yakalumwa ng’eggwanga litondebwa.
9 (AG)Nnyinza okutuusa abantu bange ku kuzaalibwa
ne batazaalibwa?” bw’ayogera Mukama Katonda.
“Ate olubuto ndusiba ntya
nga ndutuusizza ku kuzaala?” bw’ayogera Mukama Katonda wo.
10 (AH)“Mujagulize wamu ne Yerusaalemi
era mumusanyukireko mwenna abamwagala,
mujaganye nnyo
mmwe mwenna abamukaabira.
11 (AI)Kubanga muliyonka
munywe n’essanyu
mukkutire ddala
ku kitiibwa kye ekingi.”
12 (AJ)Kubanga bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti,
“Laba mbaleetera obugagga obutaliiko kkomo,
obugagga bw’amawanga bube gye muli ng’omugga ogwanjaala.
Muliyonkako, musitulibwe mu mbiriizi
era bababuusizebuusize ku mubiri gwe.
13 (AK)Ng’omwana bw’asanyusibwa nnyina,
bwe ntyo bwe ndikuzzaamu amaanyi
mu Yerusaalemi.”
14 (AL)Kino bw’olikiraba omutima gwo gulisanyuka,
era kirikufuula w’amaanyi omulamu obulungi ng’omuddo ogukuze.
Olwo kiryoke kimanyibwe nti omukono gwa Mukama Katonda guyamba abaweereza be,
ate obusungu bwe ne bulagibwa abalabe be.
15 (AM)“Kubanga laba Mukama Katonda alijjira mu muliro,
era n’amagaali ge ag’embalaasi galiba ng’empewo ey’omuyaga.
Alijja n’obusungu bwe n’ekiruyi
era alibanenya n’ennimi ez’omuliro.
16 (AN)Omuliro n’ekitala
Mukama Katonda by’alibonerezesa abantu bonna,
n’abo abalisaanyizibwawo baliba bangi.
17 (AO)“Abo abeetukuza balyoke balage mu nnimiro entukuvu okukola eby’emizizo, abatambulira mu nnyiriri nga bwe balya embizzi, omusonso n’emmere ey’omuzizo, bonna balizikirira wamu,” bw’ayogera Mukama Katonda.
18 “Olw’ebyo bye bakola ne bye balowooza, nnaatera okujja nkuŋŋaanye amawanga gonna n’ennimi zonna, era balijja balabe ekitiibwa kyange.
19 (AP)“Nditeeka akabonero mu bo. Ndiwonyaako abamu mbasindike mu mawanga, e Talusiisi, e Puuli[a], n’e Luudi, abaleega omutego, eri Tubali ne Yavani,[b] mu bizinga eby’ewala, abatawuliranga ttutumu lyange, wadde okulaba ekitiibwa kyange. 20 (AQ)Balikomyawo baganda bammwe bonna okuva mu mawanga nga ekirabo gye ndi. Balibaleetera ku mbalaasi, ne mu magaali ge mbalaasi n’ebigaali ne ku nnyumbu n’eŋŋamira ku lusozi lwange olutukuvu nga Isirayiri bwe baleeta ebiweebwayo ebirongoofu mu nnyumba ya Mukama Katonda. 21 (AR)Era ndifuula abamu ku bo okubeera bakabona n’abaleevi,” bw’ayogera Mukama Katonda.
22 (AS)“Kubanga nga eggulu eppya n’ensi empya, bye ndikola bwe biribeerawo olw’amaanyi gange, bw’ayogera Mukama Katonda, bwe lityo ezzadde lyammwe n’erinnya lyammwe bwe birisigala. 23 (AT)Okuva ku mwezi okutuuka ku mwezi, n’okuva ku ssabbiiti okutuuka ku ssabbiiti, bonna abalina omubiri banajjanga okusinziza mu maaso gange,” bw’ayogera Mukama Katonda. 24 (AU)“Kale bwe baliba bafuluma, baliraba emirambo gy’abasajja abanneewaggulako; kubanga envunyu zaabwe tezirifa, so n’omuliro gwabwe tegulizikizibwa; era baliba kyennyinnyalwa eri abantu bonna.”
Okusaba
2 Okusookera ddala, mbasaba, musabenga, mwegayirirenga, era mwebazenga Katonda ku lw’abantu bonna. 2 (A)Era musabirenga bakabaka n’abafuzi abalala bonna, tulyoke tube bulungi nga tuli mirembe, nga tussaamu Katonda ekitiibwa, era nga twegendereza mu buli ngeri. 3 Ekyo kirungi era ekisiimibwa mu maaso ga Katonda Omulokozi waffe, 4 (B)ayagala abantu bonna balokolebwe, era bategeere amazima. 5 (C)Kubanga Katonda ali omu, era omutabaganya w’abantu ne Katonda ali omu, ye muntu Kristo Yesu, 6 (D)eyeewaayo abe omutango olwa bonna. Ekyo kyakakasibwa mu kiseera kyakyo ekituufu. 7 (E)Era nze kye nateekebwawo mbeere omutume era omuyigiriza w’Abamawanga, mbategeeze eby’okukkiriza n’eby’amazima; njogera bituufu sirimba.
8 (F)Noolwekyo njagala abantu buli wantu, basabenga Katonda nga bayimusa emikono gyabwe emirongoofu, nga tebalina busungu wadde empaka. 9 (G)Era kye njagala abakazi bambalenga ebyambalo ebisaanira, beegenderezenga, nga tebeemalira mu misono gya nviiri, ne mu kwewoomya nga bambala ebya zaabu n’amayinja ag’omuwendo, wadde okwambala engoye ez’omuwendo ennyo. 10 Wabula babe n’ebikolwa ebirungi, nga bwe kisaanira abakazi abassaamu Katonda ekitiibwa.
11 (H)Mu kuyigirizibwa, omukazi asirikenga nga yeewombeese. 12 Sikkiriza mukazi kuyigiriza wadde okuba n’obuyinza ku musajja, wabula asaana asirikenga. 13 Kubanga Adamu ye yasooka okutondebwa, ne kuddako Kaawa. 14 Era Adamu si ye yasendebwasendebwa, wabula mukazi ye yasendebwasendebwa, n’agwa mu kibi. 15 Kyokka omukazi alirokolerwa mu kuzaala abaana, bw’ananywereranga mu kukkiriza ne mu kwagala ne mu butukuvu, ne mu kwegendereza.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.