Old/New Testament
Amawanga gasalirwa Omusango
34 (A)Musembere mmwe amawanga muwulirize.
Musseeyo omwoyo mmwe abantu.
Ensi ewulirize, ne byonna ebigirimu,
ensi ne byonna ebigivaamu.
2 (B)Mukama anyiigidde amawanga gonna,
ekiruyi kye kiri ku magye gaabwe gonna.
Alibazikiririza ddala,
alibawaayo okuttibwa.
3 (C)Abantu baabwe abattibwa balisuulibwa ebweru,
n’emirambo gyabwe giriwunya,
n’ensozi zirinnyikira omusaayi gwabwe.
4 (D)Emmunyeenye zonna ez’omu ggulu zirisaanuuka,
n’eggulu liryezingako ng’omuzingo;
n’eggye ery’omu ggulu lirigwa,
ng’ebikoola ebiwotose ebiva ku muzabbibu,
ng’ebirimba ebyayongobera ebiva ku mutiini.
5 (E)Weewaawo ekitala kyange kinywedde ne kijjuzibwa mu ggulu,
era laba, kikkira ku Edomu okusala omusango,
abantu be mmaliddewo ddala.
6 Ekitala kya Mukama kisaabye omusaayi,
kiriko amasavu,
omusaayi gw’abaana b’endiga n’embuzi,
amasavu agava mu nsingo za sseddume.
Mukama alina ekiweebwayo mu Bozula,
era waliyo n’okuttibwa okw’amaanyi mu Edomu.
7 (F)Embogo zirifiira wamu nazo,
n’obute obulume, ne ziseddume zirifiira wamu nazo.
Ensi yaabwe erijjula omusaayi,
n’enfuufu erinnyikira amasavu.
8 (G)Mukama alina olunaku olw’okuwalanirako eggwanga,
omwaka ogw’okwesasuza, olw’ensonga eya Sayuuni.
9 Emigga gya Edomu girikalira ne gifuuka bulimbo,[a]
n’enfuufu ye erifuuka ng’obuwunga bwa salufa ayokya.
Ensi ye erifuuka ng’obulimbo[b] obuggya omuliro.
10 (H)Talizikizibwa emisana n’ekiro,
n’omukka gwe gulinyooka ennaku zonna.
Edomu alisigala kifulukwa emirembe n’emirembe,
era tewaliba n’omu ayita mu nsi eyo.
11 (I)Ekiwuugulu eky’omu ddungu n’ekiwuugulu ekireekaana, birikibeeramu.
Ekiwuugulu ekinene ne namuŋŋoona birizimbamu ebisu byabyo.
Katonda aligololera ekipimo eky’okwewunika,
n’ekipimo ekinaaleka Edomu nga njereere.
12 (J)Abakungu be tebalibaako kye bayita bwakabaka,
n’abalangira be bonna baliggwaawo.
13 (K)Amaggwa galimera ku minaala egy’ekibuga kye,
n’emyennyango n’amatovu ne bimera mu bigo bye ebyanywezebwa.
Aliyiggibwa ebibe,
era ebiwuugulu birimufuula ekifo eky’okuwummulirangamu.
14 (L)Ensolo ez’omu ddungu gye zirisisinkana empisi,
n’embuzi enkambwe ez’omu nsiko gye ziriramusiganyiza.
Era eyo ebisolo ebitambula ekiro nabyo biriwummula
nga byefunidde ekifo eky’okuwummulirangamu.
15 (M)Ekiwuugulu kiribiikira eyo amagi,
ne kigaalula,
ne kirabirira abaana baakyo wansi w’ekisiikirize kyakyo.
Era eyo ne kamunye gy’alikuŋŋaanira, empanga n’enseera.
16 (N)Tunula mu muzingo gwa Mukama osome.
Tewali na kimu ku ebyo ekiribulayo,
era ekirume kiriba n’ekikazi, n’ekikazi ne kiba n’ekirume.
Akamwa ka Mukama ke kalagidde,
era Omwoyo we yalibikuŋŋaanya.
17 (O)Agabira buli kimu omugabo gwakyo,
era omukono gwe gubigabanyiza mu kigera.
Birikibeeramu ennaku zonna,
bibeere omwo emirembe n’emirembe.
Essanyu ly’Abanunule
35 (P)Eddungu n’ensi enkalu birijaguza;
Eddungu lirisanyuka ne limeramu ebintu.
Ebimuli ebifaanana ng’ejjirikiti 2 (Q)birimeruka,
birijaguza nnyo ne biwowogana n’essanyu mu ddoboozi ery’omwanguka.
Ekitiibwa kya Lebanooni kirigiweebwa,
ekitiibwa kya Kalumeeri ne Saloni;
baliraba ekitiibwa kya Mukama,
ekitiibwa kya Katonda waffe.
3 (R)Muzzeemu amaanyi emikono eminafu, n’amaviivi agajugumira mugagumye.
4 (S)Mugambe abo abalina omutima omuti nti,
Mubeere n’amaanyi temutya:
laba Katonda wammwe alijja;
alibalwanirira,
alage abalabe bammwe obusungu obw’Obwakatonda,
era alibalokola.
5 (T)Olwo amaaso g’abazibe galiraba,
era n’amatu ga bakiggala galigguka;
6 (U)omulema alibuuka ng’ennangaazi,
n’olulimi lw’abatayogera luliyimba n’essanyu.
Amazzi galifubutuka
ne gakulukutira mu lukoola n’emigga mu ddungu.
7 (V)N’omusenyu ogwokya gulifuuka ekidiba,
n’ensi eyakala edda n’etiiriika ensulo ez’amazzi.
Ebibe we byagalamiranga walimera omuddo,
n’essaalu, n’ebitoogo.
8 (W)Era eribaayo oluguudo olunene, n’ekkubo,
eririyitibwa Ekkubo Ettukuvu.
Abatali balongoofu tebaliriyitamu,
liriba ly’abali abalongoofu,
kubanga abasirusiru abatali balongoofu tebaliriyitamu.
9 (X)Teribaayo mpologoma,
so teririnnyayo nsolo yonna nkambwe;
tezirirabikayo,
naye abanunule balitambulira eyo.
10 (Y)N’abantu ba Mukama abaanunulibwa balikomawo, ne bajja mu Sayuuni nga bayimba,
n’essanyu eritaggwaawo nga libajjudde.
Balifuna essanyu lingi nnyo n’okujaguza,
okunakuwala n’okusinda nga biggweereddewo ddala.
Sennakeribu Atiisatiisa Yerusaalemi
36 (Z)Awo olwatuuka, mu mwaka ogw’ekkumi n’ena ogw’obufuzi bwa kabaka Keezeekiya, Sennakeribu kabaka w’e Bwasuli n’ayambuka okulumba ebibuga byonna ebya Yuda ebyali bizimbiddwako bbugwe n’abiwamba. 2 (AA)Awo kabaka w’e Bwasuli n’asindika Labusake omuduumizi we ow’oku ntikko okuva e Lakisi n’eggye eddene ayolekere Yerusaalemi ewa kabaka Keezeekiya. Omuduumizi ono n’asimba amakanda ku mabbali g’omukutu gw’amazzi omunene ku luguudo olugenda ku Nnimiro y’Omwozi w’Engoye. 3 (AB)Awo Eriyakimu mutabani wa Kirukiya, eyali akulira olubiri, ne Sebuna omuwandiisi, ne Yoswa mutabani wa Asafu eyavunaanyizibwanga ebiwandiiko ne bafuluma okumusisinkana.
4 Labusake n’abagamba nti,
“Mugambe Keezeekiya nti, ‘Bw’ati bw’ayogera kabaka omukulu, kabaka w’e Bwasuli nti, Kiki ddala kye weesiga? 5 (AC)Olowooza ebigambo obugambo birina amaanyi n’amagezi okuwangula olutalo. Ani gwe weesiga olyoke onjemere? 6 (AD)Laba weesiga Misiri, ogwo omuggo obuggo, olumuli olubetente, oluyinza okufumita engalo z’omuntu ng’alwesigamyeko: bw’atyo Falaawo, ye kabaka w’e Misiri bw’ayisa bonna abamwesiga.’ 7 (AE)Naye bw’onoŋŋamba nti, ‘Twesiga Mukama Katonda waffe,’ si ye yali nannyini byoto n’ebifo ebigulumivu Keezeekiya bye yaggyawo n’agamba Yuda ne Yerusaalemi nti, ‘Mu maaso g’ekyoto kino we munaasinzizanga’?
8 “ ‘Kale nno Mukama wange Kabaka w’e Bwasuli agamba nti, Ajja kukuwa embalaasi enkumi bbiri bw’obanga ddala olina abanaazeebagala. 9 (AF)Mu mbeera eyo gy’olimu oyinza otya okuwangula wadde omuduumizi asembayo obunafu mu gye lyaffe ne bwe weesiga ebigaali n’embalaasi za Misiri? 10 (AG)Ate ekirala olowooza nzize okulumba ensi eno n’okugizikiriza nga Mukama si y’andagidde? Mukama yaŋŋamba nnumbe ensi eno ngizikirize.’ ”
11 (AH)Awo Eriyakimu ne Sebuna ne Yoswa ne bagamba Labusake nti, “Tukwegayiridde yogera n’abaddu bo mu Lusuuli kubanga tulumanyi, toyogera naffe mu Luyudaaya[c] ng’abantu abali ku bbugwe bawulira.”
12 Naye Labusake n’ayogera nti, “Ebyo ebigambo Mukama wange yantumye kubyogera eri mukama wo n’eri ggwe mwekka, so si n’eri abasajja abatudde ku bbugwe abali nga mmwe abagenda okulya obubi bwabwe n’okunywa omusulo gwabwe?”
13 (AI)Awo Labusake n’ayimirira n’ayogera mu ddoboozi ery’omwanguka mu lulimi olw’Abayudaaya nti, “Muwulire ebigambo bya kabaka omukulu, kabaka w’e Bwasuli. 14 Kabaka agambye bw’ati nti, Temukkiriza Keezeekiya kubalimbalimba tayinza kubawonya. 15 (AJ)Temukkiriza Keezeekiya kubasigula ng’abagamba nti, ‘Mukama ddala ajja kutununula, ekibuga kino tekijja kugwa mu mukono gwa Bwasuli.’
16 (AK)“Temuwuliriza Keezeekiya kubanga bw’ati bw’ayogera kabaka w’e Bwasuli nti, ‘Mutabagane nange mufulume mujje gye ndi, olwo buli muntu ku mmwe lw’alirya ku muzabbibu gwe na buli muntu ku mutiini gwe, era buli omu alinywa ku mazzi ag’omu kidiba kye, 17 okutuusa lwe ndijja ne mbatwalira ddala mu nsi efaanana ensi yammwe, ensi ey’eŋŋaano ne wayini, ensi ey’emigaati n’ennimiro ez’emizabbibu.’
18 “Mwekuume Keezeekiya aleme okubasendasenda ng’ayogera nti, ‘Mukama alibalokola.’ Waliwo katonda yenna ow’amawanga eyali awonyezza ensi ye mu mukono gwa kabaka w’e Bwasuli? 19 Bali ludda wa bakatonda ab’e Kamasi ne Alupadi? Bali ludda wa bakatonda ab’e Sefarayimu? Baali bawonyezza Samaliya mu mukono gwange? 20 (AL)Baani ku bakatonda bonna ab’ensi ezo abaali bawonyezza ensi zaabwe mu mukono gwange? Kale Mukama asobola atya okuwonya Yerusaalemi mu mukono gwange?”
21 (AM)Kyokka bo baasirika busirisi tebaddamu, kubanga kabaka yali alagidde nti, “Temumuddamu.”
22 Awo Eriyakimu mutabani wa Kirukiya eyali akulira olubiri ne Sebuna Omuwandiisi ne Yoswa mutabani wa Asafu Omukuumi w’ebiwandiiko, ne baddayo eri Keezeekiya nga bayuzizza engoye zaabwe, ne bamubuulira ebigambo bya Labusake.
2 (A)Njagala mumanye nga bwe nfuba ennyo okubasabira mmwe n’ab’omu Lawodikiya, era n’abo abatandabangako mu mubiri. 2 (B)Ekyo nkikola mbazzeemu amaanyi era bagattibwe wamu mu kwagalana, ne mu kutegeerera ddala obugagga bwonna obuli mu kumanya ekyama kya Katonda, ye Kristo. 3 (C)Mu Kristo mwe mukwekeddwa eby’obugagga byonna eby’amagezi n’okumanya. 4 (D)Ebyo mbibategeeza waleme kubaawo n’omu ababuzaabuza. 5 (E)Kubanga wadde siri wamu nammwe mu mubiri, naye mu mwoyo ndi wamu nammwe, era nsanyuka okumanya nti mutambula nga bwe muteekwa okutambula mu Kristo era nti n’okukkiriza kwammwe mu Kristo kunywevu.
Obulamu obujjuvu mu Kristo
6 (F)Nga bwe mwaweebwa Kristo Yesu Mukama waffe, mutambulirenga mu ye, 7 (G)nga musimbibwa era nga mukuzibwa mu ye, era nga munywezebwa mu kukkiriza nga bwe mwayigirizibwa, nga mujjudde okwebazanga.
8 (H)Mwekuumenga walemenga kubaawo n’omu ku mmwe abuzibwabuzibwa mu bufirosoofo ne mu by’obulimba ebitaliimu, okugobereranga obulombolombo obw’abantu n’ebiyigirizibwa abantu. Munywererenga ku biyigirizibwa ku Kristo. 9 Kubanga mu Kristo okutuukiriza kwonna okw’Obwakabaka mwe kulabikira mu mubiri, 10 (I)era mmwe nga muli mu ye, mwatuukirira mu ye, oyo Kristo omutwe gw’obufuzi bwonna n’obuyinza bwonna. 11 (J)Mu ye mwakomolebwa, bwe mwaggibwako okwegomba kw’omubiri, naye si okukomolebwa okw’engalo z’abantu, wabula mu kukomolebwa okwa Kristo. 12 (K)Bwe mwabatizibwa, mwaziikibwa wamu naye, ate ne muzuukizibwa wamu naye olw’okukkiriza kwammwe mu maanyi ga Katonda eyamuzuukiza mu bafu.
13 (L)Mwali mufudde olw’ebyonoono byammwe ne mu butakomolebwa bwammwe obw’okwegomba kw’omubiri. Katonda n’abafuula balamu wamu ne Kristo, ffenna bwe yatusonyiwa ebyonoono byaffe byonna. 14 (M)Bwe yasazaamu era n’aggyawo ebiragiro ebyawandiikibwa mu mateeka ebyatwolekeranga, n’abikomerera ku musaalaba, 15 (N)n’aggya ebyokulwanyisa ebyo ku bafuzi n’ab’obuyinza ab’omu bbanga, n’abaswaza mu lwatu, n’abawangulira ddala.
16 (O)Noolwekyo waleme kubaawo muntu n’omu abasalira musango ku bye mulya ne bye munywa, oba okubasalira omusango olw’embaga z’Ekiyudaaya oba ez’omwezi ogubonese wadde olwa Ssabbiiti. 17 (P)Kubanga ebyo kisiikirize eky’ebyo ebyali bigenda okujja, naye ekirimu ensa ye Kristo. 18 (Q)Omuntu yenna tabalimbalimbanga n’abanyagako ekirabo kye mwaweebwa, nga yeesigama ku kwewombeeka okw’obulimba n’okuwa bamalayika ekitiibwa ekingi, ng’anywerera mu bintu bye yalaba, nga yeenyumiririza mu butaliimu obw’amagezi ag’omubiri gwe. 19 (R)Ab’engeri eyo baba tebakyali mu Kristo, omutwe gw’omubiri gwonna. Omubiri ogwo gugattibwa mu nnyingo ne mu binywa era ne gugattibwa wamu nga gukula, Katonda nga y’agukuza.
20 (S)Obanga mwafiira wamu ne Kristo ne musumululwa okuva mu magezi ag’ebintu ebyangu eby’ensi, lwaki mufugibwa ebiragiro ng’ab’omu nsi? 21 Bino bye bimu ku biragiro ab’omu nsi bye bawa: Tolya kino, tokwata ku kiri oba nti tokomba ku kino. 22 (T)Ebyo byonna ku nkomerero biriggwaawo kubanga biriba tebikyalina mugaso. 23 Birabika ng’eby’amagezi mu ngeri ey’okusinza, abantu gye beegunjirawo bokka mu kwewombeeka ne mu kubonyaabonya omubiri, songa tebiriiko kye bigasa n’akatono mu kufuga okwegomba kw’omubiri.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.