Add parallel Print Page Options

16 (A)Era abo abalisigalawo ku bantu be balibeera n’ekkubo ery’okuyitamu ery’eggwanga
    eryasigala ku Bwasuli
nga bwe kyali eri Isirayiri ku lunaku
    lwe baaviirako mu Misiri.

Read full chapter

(A)Enguudo ennene tezitambulirwako,
    tewali azitambulirako.
Endagaano yamenyebwa,
    n’abajulizi baayo banyoomebwa,
    tewali assibwamu kitiibwa.

Read full chapter

Omulyango omufunda n’omugazi

13 (A)“Muyingirire mu mulyango omufunda! Kubanga ekkubo erigenda mu kuzikirira ddene n’omulyango mugazi, n’abalonda ekkubo eryo bangi. 14 Kubanga omulyango mufunda, n’ekkubo eridda eri obulamu ffunda, era n’abaliraba batono.”

Read full chapter

(A)Era buli alisigala mu Sayuuni na buli alisigala mu Yerusaalemi aliyitibwa mutukuvu, buli muntu alibalirwa mu balamu mu Yerusaalemi.

Read full chapter

15 (A)Kale, nga Katonda eyabayita bw’ali omutukuvu, nammwe mubeerenga batukuvu mu byonna bye mukola.

Read full chapter

Katonda Alizzaawo Yerusaalemi

52 (A)Zuukuka, zuukuka,
    oyambale amaanyi go, ggwe Sayuuni.
Ggwe Yerusaalemi ekibuga ekitukuvu,
    teekako ebyambalo byo ebitemagana.
Kubanga okuva leero mu miryango gyo
    temukyayingira mu atali mukomole n’atali mulongoofu.

Read full chapter