Old/New Testament
Katonda Agumya Isirayiri
41 (A)“Musirike mumpulirize mmwe ebizinga,
amawanga gaddemu amaanyi.
Mwetegeke okuleeta emisango gyammwe mu mbuga mujja kufuna obwogerero.
Tukuŋŋaane tulabeko omutuufu.
2 (B)“Ani eyayita omuweereza we okuva mu buvanjuba,
eyamuyita akole emirimu gye amuweereze mu butuukirivu?
Ani eyamuwa obuwanguzi ku bakabaka ne ku mawanga,
n’abafuula ng’enfuufu n’ekitala kye,
obusaale bwe ne bubafuula ebisasiro
ebitwalibwa empewo?
3 N’agenda ng’abagoba embiro n’ayita bulungi mu makubo
ebigere bye gye by’ali bitayitanga.
4 (C)Ani eyakola kino ng’ayita emirembe gy’abantu
okuva ku lubereberye?
Nze Mukama ow’olubereberye
era ow’enkomerero, nze wuuyo.”
5 (D)Ebizinga by’alaba ne bitya;
n’ensi yonna n’ekankana: baasembera kumpi ne batuuka.
6 Buli muntu yayamba muliraanwa we ng’agamba nti;
“Guma omwoyo!”
7 (E)Awo omubazzi n’agumya omuweesi wa zaabu omwoyo,
n’oyo ayooyoota n’akayondo
n’agumya oyo akuba ku luyijja
ng’ayogera ku kyuma ekigatta nti, “Nga kirungi,”
era ne bakikomerera n’emisumaali kireme okusagaasagana.
Isirayiri Yalondebwa Katonda
8 (F)“Naye ggwe Isirayiri omuweereza wange,
Yakobo gwe nalonda,
ezzadde lya Ibulayimu mukwano gwange,
9 (G)ggwe, gwe naggya ku nkomerero y’ensi
ne nkuyita okuva mu bitundu by’ensi ebikomererayo ddala,
ne nkugamba nti, ‘Oli muddu wange,’
nze nakulonda so sikusuulanga:
10 (H)Totya kubanga nze ndi wamu naawe;
tokeŋŋentererwa, kubanga nze Katonda wo.
Nnaakuwanga amaanyi.
Wewaawo nnaakuyambanga n’omukono ogwa ddyo ogw’obutuukirivu bwange.”
Isirayiri Alinnya ku Balabe be
11 (I)“Laba, abo bonna abakukambuwalidde
balikwatibwa ensonyi ne balaba ennaku.
Abo abakuwakanya balifuuka ekitagasa
ne baggwaawo.
12 (J)Olibanoonya abo abaakukijjanyanga
naye n’otobalaba.
Abo abaakulwanyisanga
baliggwaamu ensa.
13 (K)Kubanga nze Mukama Katonda wo
akukwata ku mukono ogwa ddyo,
nze nkugamba nti,
Totya nze nzija kukuyamba.
14 Wadde ng’oli lusiriŋŋanyi
totya, ggwe Isirayiri,
kubanga nnaakuyamba,” bw’ayogera Mukama Omununuzi wo,
Omutukuvu wa Isirayiri.
15 (L)“Laba ndikufuula ng’ekyuma ekiggya ekisala ennyo,
ekyogi eky’amannyo amangi.
Muliwuula ensozi ne muzimementulira ddala,
obusozi ne mubufuula ebisusunku.
16 (M)Oliziwewa empewo n’ezifuumula,
embuyaga ezifuumuka zizisaasaanye.
Era naawe olisanyukira mu Mukama,
era mu Mutukuvu wa Isirayiri mw’olyenyumiririza.”
Mukama Ayimusa Isirayiri
17 (N)“Abaavu n’abali mu bwetaavu bwe baneetaganga amazzi
ne baganoonya naye ne gababula,
ate nga ennimi zaabwe zikaze,
nze Mukama ndibawulira,
nze Katonda wa Isirayiri siribaleka.
18 (O)Ndikola emigga ku busozi obutaliiko kantu,
era n’ensulo wakati mu biwonvu.
Olukoola ndirufuula ennyanja,
n’eddungu lirivaamu enzizi z’amazzi.
19 (P)Ndisimba mu lukoola omuvule ne akasiya,
omumwanyi n’omuzeyituuni,
ate nsimbe mu ddungu
enfugo n’omuyovu awamu ne namukago.
20 (Q)Abantu balyoke balabe bamanye,
balowooze
era batuuke bonna okutegeera nti omukono gwa Mukama gwe gukoze kino,
nti Omutukuvu wa Isirayiri yakikoze.”
Mukama Asoomooza bakatonda Abalala
21 (R)Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda gye muli mmwe nti,
“Mmwe bakatonda baamawanga, mujje nammwe mwogere.
Muleete ensonga zammwe tuziwulire,” bw’ayogera Kabaka wa Yakobo.
22 (S)“Baleete bakatonda bwabwe
batubuulire ebigenda okubaawo.
Batubuulire n’ebyaliwo emabega,
tusobole okubimanya,
n’okubirowoozaako
n’okumanya ebinaavaamu oba okutubuulira ebigenda okujja.
23 (T)Mutubuulire ebigenda okubaawo
tulyoke tumanye nga muli bakatonda.
Mubeeko kye mukola ekirungi oba ekibi
tulyoke tutye era tukeŋŋentererwe mu mutima.
24 (U)Laba, temuliiko bwe muli
ne bye mukola tebigasa.
Abo ababasinza bennyamiza.
25 (V)Nonze omuntu alifuluma mu bukiikakkono akoowoola erinnya lyange,
abeera mu buvanjuba.
Alirinnyirira abafuzi ng’asamba ettaka,
abe ng’omubumbi asamba ebbumba.
26 (W)Ani eyakyogera nti kiribeerawo tulyoke tumanye,
eyakyogera edda tulyoke tugambe nti, ‘Wali mutuufu?’
Tewali n’omu yakyogerako,
tewali n’omu yakimanya
era tewali n’omu yawulira kigambo na kimu okuva gye muli.
27 (X)Nasooka okubuulira Sayuuni
era ne mpeereza omubaka e Yerusaalemi ababuulire amawulire amalungi.
28 (Y)Naye tewali n’omu mu bakatonda bammwe eyabategeeza kino.
Tewali n’omu awa bigambo biruŋŋamya,
tewali n’omu addamu bwe mbuuza.
29 (Z)Laba, bonna temuli nsa!
Bye bakola byonna tebigasa.
Ebifaananyi byabwe byonna ebibajje, mpewo na butaliimu.”
Omuweereza wa Katonda
42 (AA)Laba omuweereza wange gwe mpanirira,
omulonde wange gwe nsanyukira ennyo.
Ndimuwa Omwoyo wange
era alireeta obwenkanya eri amawanga.
2 Talireekaana
wadde okuyimusa eddoboozi lye mu luguudo.
3 (AB)Talimenya lumuli lubetentefu
oba okuzikiza olutambi olwaka empola ennyo;
mu bwesigwa alireeta obwenkanya.
4 (AC)Taliremererwa oba okuggwaamu essuubi okutuusa ng’aleesewo obutebenkevu ku nsi.
N’ebizinga eby’ewala
biririndirira amateeka ge.
5 (AD)Bw’atyo bw’ayogera Mukama Katonda,
eyatonda eggulu n’alibamba.
Eyayanjuluza ensi ne byonna ebigivaamu;
awa omukka abantu baakwo
era n’obulamu eri bonna abagitambulirako.
6 (AE)“Nze Mukama,
nakuyita mu butuukirivu.
Ndikukwata ku mukono era ndikukuuma.
Ndikufuula okuba endagaano eri abantu,
era omusana eri bannamawanga.
7 (AF)Okuzibula amaaso g’abazibe,
okuta abasibe okuva mu makomera
n’okuggya abo abali mu bunnya, abo abali mu kizikiza.
8 (AG)“Nze Mukama,
eryo lye linnya lyange, n’ekitiibwa kyange sirikiwa mulala,
newaakubadde ettendo lyange okukiwa bakatonda abalala.
9 Laba, ebyo bye nagamba nti
biribaawo bituuse,
kaakano mbabuulira ku bigenda okujja;
mbibategeeza nga tebinnabaawo.”
Oluyimba olw’Okutendereza Mukama
10 (AH)Muyimbire Mukama oluyimba oluggya,
ettendo lye okuva ku nkomerero y’ensi!
Mmwe abasaabala ku nnyanja ne byonna ebigirimu,
mmwe ebizinga ne bonna ababibeeramu.
11 (AI)Leka eddungu n’ebibuga byamu biyimuse amaloboozi gaabyo,
ebyalo Kedali mw’atuula.
Leka abantu b’e Seera bayimbe n’essanyu.
Leka baleekaanire waggulu ku ntikko z’ensozi.
12 (AJ)Leka Mukama bamuwe ekitiibwa
era balangirire ettendo lye mu bizinga.
13 (AK)Mukama, anafuluma okulwana ng’omutabaazi ow’amaanyi,
era ng’omutabaazi ow’amaanyi alijja yeeswanta,
n’okuleekaana ng’alangirira olutalo.
Era aliwangula abalabe be.
Katonda Asuubiza Okuyamba Abantu be
14 “Ebbanga ggwanvu nga siriiko kye ŋŋamba,
nga nsirise neekuumye.
Naye okufaanana ng’omukazi alumwa okuzaala,
nkaaba, mpejjawejja era nzisa ebikkowe.
15 (AL)Ndizikiriza ensozi n’obusozi,
egyo emiddo gyakwo gyonna ndi wakugiwotosa.
Era ndikaza ebinywa byabwe byonna
n’emigga ndigifuula ebizinga.
16 (AM)Era ndikulembera abantu bange abazibe ba maaso mu kkubo lye batamanyi
n’abayise mbaluŋŋamize mu makubo ge batamanyidde.
Ndifuula ekizikiza okuba omusana mu maaso gaabwe
n’ebifo ebizibu okuyitamu ndibirongoosa.
Ebyo by’ebintu bye ndikola,
sirireka bantu bange.
17 (AN)Naye abo abeesiga bakatonda abalala, ababagamba nti,
‘Mwe bakatonda baffe,’ balikwasibwa ensonyi,
era baligobebwa, mu buswavu obungi.”
Ekibi ky’Eggwanga n’Okubonerezebwa
18 (AO)“Muwulire mmwe bakiggala,
mutunule mmwe bamuzibe, mulabe.
19 (AP)Ani muzibe okuggyako omuweereza wange,
oba kiggala okuggyako omubaka wange gwe ntuma?
Eriyo eyaziba amaaso asinga oyo eyeewaayo gye ndi,
oba omuzibe ng’omuweereza wa Mukama?
20 (AQ)Olabye ebintu bingi naye tobifuddeko,
amatu go maggule naye tolina ky’owulira.”
21 (AR)Kyasanyusa Mukama olw’obulungi obw’obutuukirivu bwe
okukuza amateeka ge
n’okugassaamu ekitiibwa.
22 (AS)Naye bano, bantu be,
ababbibwa ne banyagibwa bonna
ne basibibwa mu binnya oba abasibibwa mu makomera.
Bafuuka munyago
nga tewali n’omu abanunula,
bafuuliddwa abanyage
nga tewali n’omu agamba nti, “Bateebwe baddeyo.”
23 (AT)Ani ku mmwe anaawuliriza kino,
oba anaafaayo ennyo n’awuliriza mu biro ebigenda okujja?
24 (AU)Ani eyawaayo Yakobo okuba omunyago
ne Isirayiri eri abanyazi?
Teyali Mukama gwe twayonoona?
Ekyo yakikola
kubanga tebaagoberera makubo ge.
Tebaagondera mateeka ge.
25 (AV)Kyeyava abafukako obusungu bwe obubuubuuka
n’obulumi bw’entalo.
Beebungululwa ennimi z’omuliro naye tebaategeera.
Gwabookya naye ne batakissaako mwoyo.
1 (A)Nze Pawulo ne Sirwano[a] ne Timoseewo, tuwandiikira Ekkanisa ey’Abasessaloniika, abantu ba Katonda Kitaffe ne Mukama waffe Yesu Kristo, ekisa n’emirembe bibeerenga gye muli.
Okwebaza olw’okukkiriza kw’Abasessaloniika
2 (B)Bulijjo twebaza Katonda ku lwammwe mwenna era tubasabira obutayosa, 3 (C)nga tujjukira omulimu gwammwe ogw’okukkiriza, n’okufuba okw’okwagala n’okugumiikiriza okw’essuubi mu Mukama waffe Yesu Kristo mu maaso ga Katonda era Kitaffe, 4 era nga tumanyi, nga mmwe abooluganda muli mikwano gya Katonda, baayagala ennyo, be yalonda. 5 (D)Kubanga Enjiri yaffe teyajja gye muli mu kigambo kyokka, wabula ne mu maanyi, ne mu Mwoyo Omutukuvu, ne mu bukakafu obungi, era nga bwe mumanyi nga twabeeranga wakati mu mmwe ku lwammwe. 6 (E)Nammwe mwagoberera Mukama waffe era ne mukola nga bwe twakolanga bwe mwakkiriza ekigambo wakati mu kubonaabona okungi nga mulina essanyu eriva mu Mwoyo Omutukuvu, 7 ne mubeera ekyokulabirako eri abakkiriza bonna ab’omu Makedoniya ne Akaya. 8 (F)Kubanga ekigambo kya Mukama kibunye okuva mu mmwe, si mu Makedoniya ne mu Akaya mwokka, naye ne mu buli kifo n’okukkiriza kwammwe eri Katonda kwabuna ne tutabaako kye tukwogerera. 9 (G)Kubanga bo bennyini batubuulira engeri gye mwatwanirizaamu, ne bwe mwakyuka okuleka bakatonda abalala ne mudda eri Katonda omulamu era ow’amazima, 10 (H)era ne bwe mulindiridde Omwana wa Katonda, okukomawo okuva mu ggulu, gwe yazuukiza okuva mu bafu, ye Yesu oyo yekka atulokola okutuwonya mu busungu bwa Katonda obugenda okujja.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.