Old/New Testament
Obunnabbi Obukwata ku Tuulo
23 (A)Obunnabbi obukwata ku Tuulo:
Mukube ebiwoobe, mmwe ebyombo by’e Talusiisi,
kubanga Tuulo kizikirizibbwa
ne mutasigala nnyumba newaakubadde ebyombo we biyinza okugobera.
Ekigambo kyababikulirwa
okuva mu nsi ya Kittimu.
2 Musirike mmwe ab’oku kizinga
nammwe abasuubuzi b’e Sidoni
abagaggawalidde ku nnyanja.
3 (B)Ku nnyanja ennene
kwajjirako ensigo za Sikoli,
n’ebyamakungula bya Kiyira bye byali amagoba ga Tuulo,
era yafuuka akatale k’amawanga.
4 (C)Okwatibwe ensonyi ggwe Sidoni naawe ggwe ekigo ky’ennyanja,
kubanga ennyanja eyogedde nti:
“Sirumwangako kuzaala wadde okuzaalako.
Sirabiriranga baana babulenzi newaakubadde okukuza abaana aboobuwala.”
5 Ekigambo bwe kirijja eri Misiri,
balinakuwalira ebigambo ebiva e Tuulo.
6 Muwunguke mugende e Talusiisi,
mukube ebiwoobe mmwe abantu ab’oku kizinga.
7 (D)Kino kye kibuga kyammwe eky’amasanyu,
ekibuga ekikadde,
ekyagenda okusenga
mu nsi eyeewala?
8 Ani eyateekateeka kino okutuuka ku Tuulo,
Tuulo ekitikkira engule,
ekibuga ekirina abasuubuzi abalangira,
ekirina abasuubuzi abamanyifu mu nsi?
9 (E)Mukama Katonda ow’Eggye yakiteekateeka,
amuggyemu amalala n’ekitiibwa kyonna,
akkakkanye n’abo bonna abamanyifu ku nsi.
10 Ne bw’otambula ku lukalu lwonna olw’omugga Kiyira,
tokyalina kifo ebyombo we bituukira ggwe muwala wa Talusiisi.
11 (F)Mukama Katonda agolodde omukono gwe eri ennyanja,
n’akankanya obwakabaka bwayo.
Awadde ekiragiro ekikwata ku Kanani
nti ebigo byakyo birizikirizibwa.
12 (G)Yayogera nti, “Tokyaddayo kukola bya masanyu nate,
ggwe muwala wa Sidoni embeerera obetenteddwa.
Yambuka osomoke ogende e Kittimu,
naye nayo tolifunirayo kuwummula.”
13 (H)Laba ensi ey’Abakaludaaya
abantu abo abatakyaliwo.
Omwasuli agifudde
ekifo ekibeeramu ensolo ez’omu ddungu.
Baayimusa eminaala gyabwe,
ne bamenya ebigo byabwe,
era n’abazikiriza.
14 Mukube ebiwoobe mmwe ebyombo by’e Talusiisi,
ekigo kyo kizikiriziddwa.
15 (I)Mu biro ebyo Tuulo kiryerabirwa okumala emyaka nsanvu, gy’emyaka kabaka gy’awangaala. Naye oluvannyuma lw’emyaka egyo ensanvu, ekirituuka ku Tuulo kiriba ng’ekiri mu luyimba olw’omwenzi.
16 “Kwata ennanga, otambulire mu kibuga,
ggwe omwenzi eyeerabiddwa.
Ennanga gikube bulungi,
oyimbe ennyimba nnyingi olyoke ojjukirwe.”
17 (J)Oluvannyuma lw’emyaka ensanvu, Mukama alikyalira Tuulo. Aliddayo ku mulimu gwe ogw’obwamalaaya, era alibukola mu bwakabaka bwonna obuli ku nsi. 18 (K)Wabula amagoba ge ne byalifunamu biriyawulibwako bibe bya Mukama, tebiriterekebwa newaakubadde okukwekebwa, omuntu okubikozesa by’ayagala. Amagoba ge galigenda eri abo ababeera mu maaso ga Mukama, basobole okuba n’emmere emala, n’okuba n’ebyambalo ebirungi.
Mukama Ayogera ku Kuzikiriza Ensi
24 (L)Laba Mukama alifuula ensi amatongo,
agimalirewo ddala,
era azikirize n’obwenyi bwayo
era asaasaanye n’abagibeeramu.
2 (M)Bwe kityo bwe kiriba,
ekiriba ku kabona kye kiriba ne ku bantu,
ekiriba ku mwami kye kiriba ne ku muweereza omusajja,
ekiriba ku mugole we kye kiriba ne ku muweereza we omukazi,
ekiriba ku atunda kye kiriba ne ku muguzi,
ekiriba ku awola kye kiriba ne ku yeewola,
ekiriba ku abanja kye kiriba ne ku abanjibwa.
3 (N)Okumalibwamu ensa, ensi erimalibwamu ddala ensa,
n’okunyagibwa, erinyagibwa.
Mukama Katonda y’akyogedde.
4 (O)Ensi ekala n’eggwaamu obulamu,
ensi ekala n’ewuubaala,
abantu ab’ekitiibwa baggwaamu amaanyi.
5 (P)Ensi eyonooneddwa abantu baayo,
bajeemedde amateeka,
bamenye ebiragiro,
ne bamenyawo n’endagaano ey’emirembe n’emirembe.
6 (Q)Noolwekyo ekikolimo kimalawo ensi;
n’abantu baayo bateekwa okusasula olw’omusango ogwabasinga.
Abatuuze b’ensi bayidde,
Era abatono be basigaddewo.
7 (R)Wayini omusu aggwaamu, n’omuzabbibu gukala,
ab’amasanyu bonna bakaaba olw’obulumi.
8 (S)Okujaguza kw’ebitaasa kusirise,
n’oluyoogaano lw’abo ababeera mu masanyu lusirise,
entongooli esanyusa esirise.
9 (T)Tebakyanywa nvinnyo nga bwe bayimba,
n’omwenge gukaayira abagunywa.
10 Ekibuga ekyazikirizibwa kisigadde nga matongo,
na buli mulyango oguyingira mu nnyumba guzibiddwa.
11 (U)Bakaabira envinnyo mu nguudo,
n’essanyu lyonna liweddewo,
n’okujaguza kwonna tekukyaliwo mu nsi.
12 Ekibuga kizikiridde
wankaaki waakyo amenyeddwamenyeddwa.
13 (V)Bwe kityo bwe kiriba ku nsi
ne mu mawanga
ng’omuzeyituuni bwe gunyeenyezebwa
oba ng’ebinywa ebisigaddewo bwe bibeera oluvannyuma lw’okukungula kw’ezabbibu.
14 (W)Bayimusa amaloboozi gaabwe, baleekaana olw’essanyu,
batendereza ekitiibwa kya Mukama Katonda okuva mu bugwanjuba.
15 (X)Noolwekyo abo abali mu buvanjuba mugulumize Mukama,
mutendereze erinnya lya Mukama Katonda wa Isirayiri,
mu bizinga eby’ennyanja.
16 (Y)Tuwulira okuyimba okuva ku nkomerero y’ensi,
“Ekitiibwa kibeere eri Omutuukirivu.”
Naye ne njogera nti, “Nsanawo, nsanawo.
Zinsaze.
Ab’olukwe balya mu bannaabwe olukwe,
Ab’enkwe bakozesa enkwe okulya mu bannaabwe olukwe.”
17 (Z)Entiisa n’obunnya n’omutego bibalindiridde,
mmwe abantu b’ensi.
18 (AA)Buli alidduka eddoboozi ery’entiisa,
aligwa mu kinnya,
na buli alirinnya n’ava mu kinnya
alikwatibwa mu mutego.
Enzigi z’eggulu ziguddwawo,
N’emisingi gy’ensi gikankana.
19 (AB)Ensi emenyeddwamenyeddwa,
ensi eyawuliddwamu,
ensi ekankanira ddala.
20 (AC)Ensi etagala ng’omutamiivu,
eyuugayuuga ng’akasiisira bwe kayuugayuuga mu kibuyaga,
omusango gwe gumulumiriza nnyo olw’obujeemu bwe,
era ensi egwa n’etaddamu kuyimuka.
21 (AD)Ku lunaku olwo Mukama Katonda alibonereza
ab’amaanyi abali waggulu mu bwengula,
ne bakabaka abali wansi ku nsi.
22 (AE)Balikuŋŋaanyirizibwa wamu
ng’abasibe bwe bakuŋŋanyirizibwa mu kkomera,
era baliweebwa ekibonerezo
eky’okuggalirwa mu kkomera ennaku ennyingi.
23 (AF)Omwezi gulitabulwatabulwa, n’enjuba eriswazibwa;
Mukama Katonda ow’Eggye alifugira mu kitiibwa
ku Lusozi Sayuuni ne mu Yerusaalemi,
ne mu maaso g’abakadde.
25 (AG)Ggwe, Ayi Mukama, gwe Katonda wange;
ndikugulumiza ne ntendereza erinnya lyo,
kubanga okoze ebintu eby’ettendo,
ebintu bye wateekateeka edda,
mu bwesigwa bwo.
2 (AH)Ekibuga okifudde ntuumu ya bisasiro,
ekibuga ekiriko ekigo okifudde matongo,
ekibuga omwaddukiranga bannaggwanga tekikyali kibuga,
tekirizimbibwa nate.
3 (AI)Abantu ab’amaanyi kyebaliva bakussaamu ekitiibwa
n’ebibuga eby’amawanga ag’entiisa birikutya.
4 (AJ)Ddala obadde kiddukiro eri abaavu,
ekiddukiro eri oyo eyeetaaga,
ekiddukiro ng’eriyo embuyaga
n’ekisiikirize awali ebbugumu.
Omukka gw’ab’entiisa
guli ng’embuyaga ekuntira ku kisenge
5 (AK)era ng’ebbugumu ery’omu ddungu.
Osirisa oluyoogaano lw’abannaggwanga,
era ng’ekisiikirize eky’ekire bwe kikendeeza ebbugumu,
n’oluyimba lw’abakambwe bwe lusirisibwa.
6 (AL)Ku lusozi luno Mukama Katonda ow’Eggye aliteekerateekerako
abantu bonna ekijjulo eky’emmere ennungi,
n’embaga eya wayini omuka
n’ennyama esingayo obulungi, ne wayini asinga obulungi.
7 (AM)Ku lusozi luno alizikiriza
ekibikka ekyetoolodde abantu bonna,
n’eggigi eribikka amawanga gonna,
8 (AN)era alimalirawo ddala okufa.
Mukama Katonda alisangula amaziga
mu maaso gonna,
era aliggyawo okuswazibwa kw’abantu be
mu nsi yonna.
Mukama ayogedde.
9 (AO)Mu biro ebyo balyogera nti,
“Eky’amazima oyo ye Katonda waffe;
twamwesiga n’atulokola.
Ono ye Mukama Katonda twamwesiga;
tusanyukire mu bulokozi bwe, era tumujagulizeemu.”
10 (AP)Ddala omukono gwa Mukama Katonda guliwummulira ku lusozi luno,
naye Mowaabu alirinnyirirwa wansi we,
ng’essubi bwe lirinnyirirwa okukolamu ebijimusa.
11 (AQ)Aligolola emikono gye,
ng’omuwuzi bw’agolola emikono gye ng’awuga.
Katonda alikkakkanya amalala ge
newaakubadde ng’emikono gye gikola eby’amagezi.
12 (AR)Alimenya bbugwe omuwanvu,
n’amusuula,
alimusuula ku ttaka,
mu nfuufu.
Okulamusa
1 (A)Nze Pawulo ne Timoseewo abaddu ba Kristo Yesu tuwandiikira abatukuvu bonna mu Kristo Yesu abali mu Firipi, awamu n’abalabirizi n’abadiikoni; 2 (B)ekisa n’emirembe ebiva eri Katonda Kitaffe ne Mukama waffe Yesu Kristo, bibeerenga nammwe.
Okwebaza n’okusaba Katonda
3 (C)Nneebaza Katonda wange buli lwe mbajjukira, 4 (D)era buli lwe mbasabira mwenna nsaba nga nzijudde essanyu. 5 (E)Kubanga okuviira ddala ku lunaku olwasooka n’okutuusiza ddala kaakano mwetaba wamu nange mu njiri. 6 (F)Nkakasiza ddala nti oyo eyatandika omulimu omulungi mu mmwe, aligutuukiriza okutuusa ku lunaku lwa Kristo Yesu. 7 (G)Kino kituufu okubalowoozaako bwe ntyo mwenna, kubanga mundowoozaako mu kusibibwa kwange ne mu kulwanirira Enjiri, ne mu kuginyweza, nga mwenna mwetaba wamu nange mu kisa. 8 Katonda ye mujulirwa wange nga mwenna bwe mbaagala n’okwagala okuva eri Kristo Yesu. 9 (H)Mbasabira nti okwagala kwammwe kweyongerenga, era mujjule amagezi n’okutegeera, 10 (I)mulyoke mulonde ekisinga obulungi, olunaku lwa Kristo bwe lulituuka lubasange nga muli balongoofu abataliiko kamogo, 11 (J)nga mujjudde ekibala eky’obutuukirivu ku bwa Yesu Kristo, olw’okuweesa Katonda ekitiibwa n’okumutendereza.
Obusibe bwa Pawulo bubunyisa Njiri
12 Abooluganda, njagala mmwe mutegeere kaakano nti ebimu ebyambaako byongera bwongezi kubunyisa Njiri, 13 (K)n’okusibibwa kwange kulyoke kulabise Kristo eri olusiisira lwonna olw’abaserikale ba kabaka n’eri abalala bonna. 14 (L)N’abooluganda mu Mukama waffe abasinga obungi beeyongedde okuguma olw’okusibibwa kwange, era nga bamaliridde okwaŋŋanga okubuulira nga tebatya.
15 Weewaawo abamu bategeeza abantu Kristo lwa buggya na kuvuganya, naye abalala bakikola mu mwoyo mulungi. 16 (M)Bano bakikola lwa kwagala, kubanga bamanyi nga nalondebwa lwa kulwanirira Njiri. 17 (N)Naye bali bategeeza Kristo lwa kuvuganya, so si mu mazima, nga balowooza nti banaayongera okunnakuwaza mu busibe bwe ndimu. 18 Naye nze nfaayo ki? Kristo bw’abuulirwa, mu buli ngeri, oba za bukuusa oba za mazima, nze nsanyuka busanyusi.
Era nzija kweyongera okusanyuka. 19 (O)Kubanga mmanyi nti olw’okunsabira n’olw’amaanyi g’Omwoyo wa Yesu Kristo, ndifuna okulokolebwa kwange. 20 (P)Neesiga era nsubirira ddala nti sijja kuswala mu nsonga n’emu, wabula ne kaakano nzija kuguma nga bulijjo, Kristo agulumizibwe mu mubiri gwange, oba okuyita mu bulamu oba okuyita mu kufa. 21 (Q)Nze mba mulamu lwa Kristo era ne bwe nfa mba ngobolodde. 22 Naye obanga bwe mba omulamu mu mubiri ng’ekyo kibala ky’okufuba kwange, simanyi kye nnaalondawo. 23 (R)Nkwatiddwa buli luuyi; nneegomba okuva mu bulamu buno ŋŋende mbeere ne Kristo, kubanga ekyo kisingako obulungi. 24 Naye okusigala mu mubiri kye kisinga okwetaagibwa ku lwammwe 25 Ekyo nkikakasa era nkimanyi nti nzija kuba nga nkyaliwo mbeere nammwe, mulyoke mweyongere okusanyuka n’okukula mu kukkiriza, 26 bwe ndikomawo gye muli mulyoke mweyongere okwenyumiririza mu Kristo ku lwange.
27 (S)Naye kirungi obulamu bwammwe bubeerenga nga bwe kisaanira Enjiri ya Kristo; ne bwe ndijja oba ne bwe sirijja kubalaba, mpulire nti muli banywevu era mwegasse mu mwoyo gumu, nga mulwanirira okukkiriza okw’enjiri n’emmeeme emu. 28 Temutyanga abo ababawakanya kubanga ke kabonero akakakasa nti balizikirizibwa, naye mmwe mulirokolebwa, era ekyo kiva eri Katonda. 29 (T)Kubanga mwaweebwa omukisa, ku lwa Kristo, si mu kumukkiriza kyokka, naye n’okubonaabona ku lulwe. 30 (U)Olutalo lwe mwalaba nga nnwana, era lwe muwulira lwe ndiko kaakano, nammwe lwe muliko.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.