Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Old/New Testament

Each day includes a passage from both the Old Testament and New Testament.
Duration: 365 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Isaaya 26-27

Oluyimba olw’Okutendereza

26 (A)Mu biro ebyo oluyimba luno luliyimbibwa mu nsi ya Yuda.

Tulina ekibuga eky’amaanyi;
    Katonda assaawo obulokozi
    okuba bbugwe waakyo n’ekigo kyakyo.
(B)Ggulawo wankaaki,
    eggwanga ettukuvu liyingire,
    eggwanga erikuuma okukkiriza.
Mukama alikuuma mirembe
    oyo amaliridde okumwesiga mu mutima gwe.
(C)Weesigenga Mukama ennaku zonna,
    kubanga emirembe giri waggulu mu Mukama, Mukama Katonda oyo atoowaza.
(D)Mukama lwe lwazi olutaggwaawo,
    akkakkanya ekibuga eky’amalala,
akissa wansi ku ttaka,
    n’akisuula mu nfuufu.
(E)Kirinnyirirwa
    ebigere by’abanyigirizibwa,
    n’ebisinde by’abaavu.

(F)Ekkubo ly’abatuukirivu ttereevu;
    Ggwe atuukiridde, olongoosa olugendo lw’omutuukirivu.
(G)Weewaawo Mukama Katonda tukulindirira
    nga tutambulira mu mateeka go,
era erinnya lyo n’okumanyibwa kwo
    kwe kwegomba kw’emitima gyaffe.
(H)Omwoyo gwange gukuyaayaanira mu kiro,
    omwoyo gwange gukunoonyeza ddala.
Bw’osalira ensi omusango,
    abantu b’ensi bayiga obutuukirivu.
10 (I)Omukozi w’ebibi ne bw’akolerwa ebyekisa,
    tayiga butuukirivu.
Ne bw’abeera mu nsi ey’abatuukiridde,
    yeeyongera kukola bibi, era talaba kitiibwa kya Mukama Katonda.
11 (J)Mukama Katonda omukono gwo guyimusibbwa waggulu,
    naye tebagulaba.
Ka balabe obunyiikivu bwo eri abantu bo baswazibwe,
    omuliro ogwaterekerwa abalabe bo ka gubamalewo.
12 Mukama Katonda, otuteekerateekera emirembe,
    n’ebyo byonna bye tukoze, ggw’obitukoledde.
13 (K)Ayi Mukama Katonda waffe, abafuzi abalala batufuze nga wooli naye erinnya lyo lyokka lye tussaamu ekitiibwa.
14 (L)Baafa, tebakyali balamu;
    egyo emyoyo egyagenda tegikyagolokoka.
Wababonereza n’obazikiriza,
    wabasaanyizaawo ddala bonna, ne watabaawo akyabajjukira.
15 (M)Ogaziyizza eggwanga, Ayi Mukama Katonda
    ogaziyizza eggwanga.
Weefunidde ekitiibwa,
    era ogaziyizza ensalo zonna ez’ensi.

16 (N)Mukama Katonda, bajja gy’oli mu nnaku yaabwe,
    bwe wabakangavvula,
    tebaasobola na kukusaba mu kaama.
17 (O)Ng’omukyala ow’olubuto anaatera okuzaala,
    bw’alumwa n’akaaba mu bulumi,
    bwe tutyo bwe twali mu maaso go, Ayi Mukama Katonda.
18 (P)Twali lubuto, twalumwa,
    naye twazaala mpewo
Tetwaleeta bulokozi ku nsi,
    tetwazaala bantu ba nsi.

19 (Q)Naye abafiira mu ggwe balirama,
    emibiri gyabwe girizuukira.
Mugolokoke,
    muleekaane olw’essanyu.
Ssuulwe wo ali ng’omusulo ogw’oku makya,
    ensi erizaala abafudde.

20 (R)Mugende abantu bange muyingire mu bisenge byammwe
    muggalewo enzigi zammwe.
Mwekweke okumala akabanga katono,
    okutuusa ekiruyi kye lwe kirimuggwaako.
21 (S)Weewaawo laba Mukama Katonda ava mu kifo kye gy’abeera
    okubonereza abantu b’ensi olw’ebibi byabwe.
Ensi erikwekula omusaayi ogwagiyiikako,
    era teriddayo nate kukweka abattibwa.

Okununulibwa kwa Isirayiri

27 (T)Mu biro ebyo,

Mukama Katonda alibonereza n’ekitala kye,
    ekitala kye eky’amaanyi, ekikambwe era ekinene,
alibonereza Lukwata omusota ogwekulungula,
    Lukwata omusota ogwezinga,
atte n’ogusota gw’ennyanja.

(U)Mu biro ebyo

“Yimba oluyimba ku bibala eby’ennimiro ey’emizabbibu ebaze ebibala.
    (V)Nze Mukama Katonda, ennimiro nze ngirabirira
    era nze ngifukirira buli kiseera.
Ngikuuma emisana n’ekiro
    Waleme kubaawo n’omu agikola akabi.
    (W)Siri munyiivu.
Singa katazamiti n’amaggwa binnumba,
    nandibitabadde mu lutalo?
    Byonna nandibyokezza omuliro.
(X)Oba si weewaawo ajje gye ndi afune obuddukiro, tutabagane,
    weewaawo tutabagane.”
(Y)Mu biro ebijja Yakobo alisimba emirandira,
    Isirayiri aliroka n’amulisa
    n’ajjuza ensi yonna ebibala.

(Z)Mukama amukubye omuggo
    ng’akuba abo abaamukuba?
Attiddwa
    nga be yatta, bwe battibwa?
(AA)Olwanagana naye n’omusobola,
    n’omuwaŋŋangusa, omugoba n’okuwuuma okw’amaanyi,
    ng’embuyaga ey’ebuvanjuba bw’efuuwa ku lunaku lwayo.
(AB)Ekyo kye kiriggyawo omusango gwa Yakobo,
    era ekyo kye kiriba ekibala ekijjuvu ekiriggyawo ekibi kye.
Bw’aliddira amayinja gonna ag’ekyoto okuba amayinja ag’ennoni
    agayasiddwayasiddwa,
tewaliba Baasera newaakubadde ebyoto eby’okwoterezaako obubaane
    ebirisigala biyimiridde.
10 (AC)Ddala ddala ekibuga ekyaliko enkomera kaakano matongo,
    ekirekeddwa awo ng’eddungu.
Eyo ennyana gy’eriira era gy’egalamira,
    n’erya amalagala gonna ku matabi gaago.
11 (AD)Amatabi gaakyo bwe gakala,
    gamenyebwako, abakazi ne bagakuŋŋaanya ne bagakumisa omuliro.
Bano bantu abatategeera,
    eyamukola tamusaasira,
    n’eyamutonda tamukwatirwa kisa.

12 (AE)Mu biro ebyo Mukama alikusengejja okuva mu mazzi agakulukuta ag’Omugga Fulaati okutuuka ku mugga gw’e Misiri we guyiwa, era mmwe abaana ba Isirayiri mulikuŋŋaanyizibwa kinnoomu. 13 (AF)Era mu biro ebyo ekkondeere eddene lirivuga, n’abo abaali boolekedde okuzikiririra mu nsi y’e Bwasuli, n’abo abaali baawaŋŋangusizibbwa mu Misiri balikomawo ne basinza Mukama ku lusozi olutukuvu e Yerusaalemi.

Abafiripi 2

Mulabire ku Kristo

(A)Kale bwe wabaawo okubazaamu endasi kwonna mu Kristo, oba okusanyusa kwonna okw’okwagala, oba okussa ekimu mu mwoyo, oba okwagala okw’engeri yonna, oba okusaasira, (B)mutuukirize essanyu lyange, mulowoozenga bumu, nga mulina okwagala, n’omwoyo gumu, nga mulowooza bumu, (C)nga temukola kintu na kimu olw’okuvuganya wadde okwewaana okutaliimu, wabula mu bwetoowaze nga buli muntu agulumiza munne okusinga bwe mwegulumiza mwekka, nga buli muntu tatunuulira bibye yekka, naye ng’afaayo ne ku by’abalala.

(D)Mubengamu endowooza eri eyali mu Kristo Yesu,

(E)ye newaakubadde nga yali mu kifaananyi kya Katonda,
    Teyeerowooza kwenkanankana ne Katonda,
(F)wabula yeewaayo n’afuuka ng’omuddu,
    era n’azaalibwa ng’omuntu,
    era n’alabikira mu kifaananyi ky’omuntu,
(G)ne yeetoowaza,
    n’aba muwulize n’okutuukira ddala ku kufa,
    ate okufa okw’okukomererwa ku musaalaba.

(H)Katonda kyeyava amugulumiza,
    n’amuwa erinnya erisinga amannya gonna;
10 (I)buli vviivi ery’abo abali mu ggulu n’abali ku nsi,
    era n’abali wansi w’ensi liryoke lifukaamirirenga erinnya lya Yesu,
11 (J)era buli lulimi lwatulenga nga Yesu Kristo ye Mukama,
    Katonda Kitaffe aweebwe ekitiibwa.

Okwakira Ensi

12 (K)Noolwekyo abaagalwa, nga bwe muli abawulize bulijjo nga ndi nammwe, kaakano nga bwe siri nammwe mube bawulize nnyo n’okusinga bwe mwali. Munyiikirenga okukola ebiraga nti mwalokolebwa, nga mutya era nga mukankana. 13 (L)Kubanga Katonda yakolera mu mmwe, era yabaagazisa n’abasobozesa okukola by’ayagala, olw’okumusanyusa.

14 (M)Buli kye mukola mukikolenga awatali kwemulugunya wadde empaka, 15 (N)mulyoke mube nga temuliiko kyakunenyezebwa nga muli balongoofu, mube abaana ba Katonda abatalina bbala, wakati mu mulembe ogwakyama era omwonoonefu, mwe mubeere ekyokulabirako eky’amaanyi mu nsi, 16 (O)nga munyweza ekigambo ky’obulamu gye bali, ndyoke mbeere n’eky’okwenyumiriza ku lunaku lwa Kristo, okulaga nti ssaddukira bwereere so ssaateganira busa. 17 (P)Naye singa ddala nfukibwa ng’ekiweebwayo ekyokunywa ku ssaddaaka ne ku kuweereza okw’obwakabona okw’okukkiriza kwammwe, nsanyukira wamu nammwe mwenna. 18 Era nammwe musanyukire wamu nange.

Timoseewo ne Epafuladito

19 (Q)Mukama waffe Yesu bw’alisiima nsuubira okubatumira mangu Timoseewo, ndyoke ntereere omwoyo nga ntegedde ebibafaako. 20 (R)Kubanga tewali mulala alina ndowooza nga yange, 21 (S)kubanga abalala bonna beenoonyeza byabwe ku bwabwe, so si ebya Yesu Kristo. 22 (T)Naye ye Timoseewo mumumanyi nga bw’asaanira, kubanga aweerereza wamu nange, ng’omwana bw’akolera awamu ne kitaawe nga tukola omulimu gw’okubuulira Enjiri. 23 (U)Kale oyo gwe nsuubira okubatumira amangu ddala nga naakamanya nga bwe nnaabeera. 24 (V)Naye nkakasa nti Mukama waffe bw’alisiima, nange nze kennyini sirimala bbanga ddene nga sinnajja eyo.

25 (W)Era ndabye nga kisaanye okubatumira owooluganda Epafuladito mukozi munnange, era mulwanyi munnange, naye ate nga mutume wammwe, omuweereza ow’eby’obwakabona ow’eby’etaago byange, 26 (X)ayagala ennyo okubalaba, mwenna, eyeeraliikirira ennyo olw’obutabalaba, kubanga mwawulira nga yalwala. 27 Ddala yalwala era yali kumpi n’okufa. Kyokka Katonda yamusaasira, naye era teyasaasira ye yekka, wabula nange yansaasira ennaku n’eteenneeyongera. 28 Noolwekyo nayagala nnyo okumutuma gye muli mulyoke musanyuke okumulaba nate, ekyo kikendeeze ku nnaku gye nnina. 29 (Y)Kale mumwanirize nnyo n’essanyu lyonna mu Mukama waffe, era abantu abali ng’oyo mubassangamu ekitiibwa, 30 (Z)kubanga yabulako katono okufa ng’ali ku mulimu gwa Kristo, ng’akola ebyo bye mwandinkoledde singa mwali nange.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.