Old/New Testament
Erinnya lya Sayuuni Eriggya
62 (A)Ku lwa Sayuuni ssiisirike,
era ku lwa Yerusaalemi ssiiwummule,
okutuusa nga obutuukirivu bwe butemagana ng’emmambya esala,
obulokozi bwe ng’ettaala eyaka.
2 (B)Amawanga galiraba obutuukirivu bwo,
era ne bakabaka bonna baliraba ekitiibwa kyo.
Oliyitibwa erinnya epya
akamwa ka Mukama lye kalikuwa.
3 (C)Olibeera ngule etemagana mu mikono gya Mukama,
enkuufiira y’obwakabaka mu mukono gwa Katonda wo.
4 (D)Ataliddayo kuyitibwa nti, Eyalekebwa,
ensi yo teriddamu kuyitibwa nti, Yazika.
Naye oliyitibwa nti, Gwe nsanyukira,
n’ensi yo eyitibwe nti, Eyafumbirwa.
Kubanga Mukama akusanyukira
era ensi yo eribeera ng’omukazi afumbiddwa.
5 (E)Kubanga ng’omuvubuka bwawasa omuwala omuto
bw’atyo eyakutonda bwalikulabirira.
Nga omugole omusajja bwasanyukira oyo gw’awasizza,
bw’atyo Katonda bwalikusanyukira.
6 (F)Ntadde abakuumi ku bbugwe wo,
ggwe Yerusaalemi abataasirike emisana n’ekiro.
Mmwe abakoowoola Mukama
temuwummula.
7 (G)Era temumuganya kuwummula okutuusa nga azimbye Yerusaalemi
era ng’agifudde ettendo mu nsi.
8 (H)Mukama yalayira n’omukono gwe ogwa ddyo
era n’omukono gwe ogw’amaanyi:
“Siriddayo nate kuwaayo ŋŋaano yo kubeera mmere y’abalabe bo,
era bannaggwanga tebaddeyo kunywa nvinnyo yo gy’otawaanidde.
9 Naye abo abagikungula be baligirya
ne batendereza Mukama,
n’abo abanoga emizabbibu
be baliginywera mu mpya z’omu watukuvu wange.”
10 (I)Muyiteemu, muyite mu miryango mugende!
Muzimbe oluguudo,
mulugyemu amayinja.
Muyimusize amawanga ebbendera.
11 (J)Laba Mukama alangiridde
eyo yonna ensi gy’ekoma,
nti, “Gamba omuwala wa Sayuuni nti,
‘Laba omulokozi wo ajja,
Laba aleeta n’ebirabo bingi,
n’abantu b’anunudde bamukulembedde.’ ”
12 (K)Era baliyitibwa Abantu Abatukuvu,
Abanunule ba Mukama,
ne Yerusaalemi kiyitibwe, Ekibuga Mukama ky’ayagala,
Ekibuga Ekitakyali ttayo.
Katonda lw’Aliwoolera Eggwanga n’Okununula Abantu be
63 (L)Ani ono ava mu Edomu mu kibuga Bozula
anekaanekanye mu ngoye emyufu.
Ani ono ali mu ngoye za bakabaka
akumba mu bukulu bw’ekitiibwa kye?
“Ye nze alangirira obutuukirivu,
ow’amaanyi okulokola.”
2 Lwaki oyambadde ebyambalo ebimyufu
ng’eby’omusogozi w’omu ssogolero lya wayini?
3 (M)“Nva kulinnyirira amawanga nga emizabbibu,
tewali n’omu yajja kunnyambako.
Nabalinnyiririra mu busungu
era omusaayi gwabwe
ne gusammukira ku ngoye zange,
era guyiise ku byambalo byange.
4 Kubanga olunaku olw’okununula abantu bange lwali lutuuse,
olunaku olw’okuwoolera eggwanga abalabe baabwe.
5 (N)Natunula naye nga tewali n’omu ayinza kunnyamba,
newuunya okulaba nga tewaali n’omu ayinza kunkwatirako.
Kale omukono gwange ne gundeetera obuwanguzi,
era obusungu bwange ne bunnyweza.
6 (O)Mu busungu bwange nalinnyirira abantu,
mu kiruyi kyange ne mbatamiiza,
omusaayi gwabwe ne nguyiwa ku ttaka.”
7 (P)Ndibuulira ku bulungi bwa Mukama,
ebikolwa ebyamugwanyisa okutenderezebwa,
okusinziira ku byonna Mukama by’atukoledde;
weewaawo ebirungi ebingi by’akoledde ennyumba ya Isirayiri,
okusinziira ku kisa kye,
okusinziira ku bungi bw’okwagala kwe okutajjulukuka.
8 (Q)Yagamba nti, “Ddala bantu bange,
abaana aboobulenzi abatannimbelimbe,”
era bw’atyo n’afuuka omulokozi waabwe.
9 (R)Yabonaabonera wamu nabo mu kubonaabona kwabwe kwonna,
era malayika ayimirira mu maaso ge n’abawonya.
Mu kwagala kwe n’ekisa kye yabanunula;
yabayimusa
n’abeetikka mu nnaku zonna ez’edda.
10 (S)Naye baajeema
ne banyiiza Mwoyo Mutukuvu,
kyeyava abakyukira n’afuuka omulabe waabwe
era ye kennyini n’abalwanyisa.
11 (T)Ne balyoka bajjukira ennaku ez’edda,
ennaku ez’edda eza Musa n’abantu be;
aluwa oyo eyabayisa mu nnyanja n’omulunzi w’ekisibo kye.
Aluwa oyo eyateeka Mwoyo Mutukuvu wakati mu bo
12 (U)eyatuma omukono gwe ogw’ekitiibwa
ogw’amaanyi okubeera ku mukono gwa Musa ogwa ddyo,
eyayawulamu amazzi nga balaba,
yeekolere erinnya ery’emirembe n’emirembe?
13 (V)Ani eyabakulembera n’abayisa mu buziba?
Ng’embalaasi mu nsi eyeetadde enjereere tebeesittala.
14 Ng’ente ezigenda mu nsi eyeetadde,
Omwoyo wa Mukama yabawummuza.
Bw’otyo bwe wakulembera abantu bo
okwekolera erinnya ery’ettendo.
15 (W)Tunula wansi ng’oli waggulu mu ggulu olabe,
ng’oli ku ntebe yo ey’ekitiibwa egulumidde entukuvu.
Obunyiikivu bwo n’ebikolwa byo eby’amaanyi biri ludda wa?
Obulungi bwo n’ekisa bitukwekeddwa.
16 (X)Ggwe Kitaffe,
wadde nga Ibulayimu tatumanyi
era nga Isirayiri tatutegeera,
Ayi Mukama Katonda, ggwe Kitaffe Omununuzi waffe
okuva edda n’edda lye linnya lyo.
17 (Y)Ayi Mukama Katonda, lwaki otuleka ne tuva ku makubo go,
n’okakanyaza omutima gwaffe, ne tutakutya?
Komawo olw’obulungi bw’abaddu bo
amawanga g’omugabo gwo.
18 (Z)Abantu bo abatukuvu baali mu kifo kyo ekitukuvu akaseera katono,
naye kaakano abalabe baffe bakirinnyiridde.
19 Ffe tuli bantu bo okuva edda n’edda;
naye bo tobafuganga,
tebayitibwanga linnya lyo.
Okusingibwa Omusango mu Maaso ga Mukama
64 (AA)Kale singa oyuzizza eggulu n’okka wansi,
ensozi ne zikankana mu maaso go!
2 (AB)Ng’omuliro bwe gukoleerera mu buku,
oba nga bwe gufumba amazzi ne gatuuka okwesera,
ka wansi omanyise erinnya lyo eri abalabe bo,
n’amawanga galyoke gakankanire mu maaso go!
3 (AC)Kubanga bwe wakola ebintu eby’entiisa bye twali tetusuubira,
wakka ensozi ne ziryoka zikankanira mu maaso go.
4 (AD)Okuva mu mirembe egy’edda teri yali awulidde
oba kutu kwali kutegedde,
oba liiso lyali lirabye Katonda yenna okuggyako ggwe,
alwanirira abo abamulindirira.
5 (AE)Ojja n’odduukirira abo abakola eby’obutuukirivu n’essanyu,
abo abajjukira amakubo go.
Naye bwe tweyongera okwonoona ne tugavaako, wakwatibwa obusungu.
Ebbanga ddene lye tumaze mu bibi byaffe,
ddala tulirokolebwa?
6 (AF)Ffenna twafuuka batali balongoofu
era obutuukirivu bwaffe buli nga nziina ezijjudde obukyafu[a].
Ffenna tuwotookerera ne tukala ng’ekikoola,
era ebibi byaffe bitutwala nga mpewo.
7 (AG)Tewali n’omu akoowoola linnya lyo
oba eyewaliriza okukukwatako,
kubanga watwekweka tetukyalaba maaso go,
era n’otuwaayo ne tuzikirira olw’ebibi byaffe.
8 (AH)Ate ng’era, Ayi Mukama Katonda, ggwe Kitaffe.
Ffe tuli bbumba, ggwe mubumbi,
ffe ffenna tuli mulimu gwa mikono gyo.
9 (AI)Tosunguwala kisukkiridde nnyo, Ayi Mukama Katonda,
tojjukira bibi byaffe mirembe gyonna.
Weewaawo, tutunuulire, tusaba,
kubanga tuli bantu bo.
10 Ebibuga byo ebitukuvu bifuuse malungu ne Sayuuni kifuuse ddungu,
ne Yerusaalemi nakyo kifulukwa.
11 (AJ)Yeekaalu yaffe entukuvu ey’ekitiibwa
bakitaffe gye bakutendererezangamu eyokebbwa omuliro,
era byonna eby’obugagga bye twakuumanga byazikirira.
12 (AK)Nga bino byonna biguddewo, Mukama, era toofeeyo?
Onoosirika busirisi n’otubonereza ekisukiridde?
Okulamusa
1 (A)Nze Pawulo, omutume wa Kristo Yesu, nga Katonda Omulokozi waffe ne Kristo Yesu essuubi lyaffe, bwe baalagira, 2 (B)nkuwandiikira ggwe Timoseewo, omwana wange ddala mu kukkiriza. Nkwagaliza ekisa n’okusaasira, n’emirembe, ebiva eri Katonda Kitaffe ne Yesu Kristo Mukama waffe.
Okwerinda Enjigiriza Enkyamu
3 (C)Njagala osigale mu Efeso, nga bwe nakukuutira nga ŋŋenda e Makedoniya oziyize abantu baleme kuyigiriza njigiriza ndala. 4 (D)Bagambe balekeraawo okwemalira ku nfumo, ne ku kulondoola enkalala empanvu ez’amannya g’abajjajja. Ebyo byongera mpaka, mu kifo ky’okuyigiriza abantu ebya Katonda ebiri mu kukkiriza. 5 (E)Kye tugenderera mu kiragiro kino, kwe kwagala okuva mu mutima omulongoofu, n’omwoyo omulungi, n’okukkiriza okutaliimu bukuusa. 6 Ebyo abantu abamu babivaako ne badda mu mpaka ezitaliimu mugaso. 7 Beefuula bayigiriza b’amateeka ga Katonda, songa tebategeera bye boogera, wadde bye bakakasa. 8 (F)Tumanyi ng’amateeka malungi, omuntu bw’agakozesa mu ngeri entuufu. 9 (G)Tusaanye tutegeere nga Amateeka tegaateekerwawo batuukirivu, wabula gaateekerwawo bamenyi baago na bajeemu, aboonoonyi, n’abatatya Katonda, n’abatali batukuvu, n’abagwenyufu, abatta bakitaabwe ne bannyaabwe, era n’abatta abantu abalala, 10 (H)n’abenzi, n’abalya ebisiyaga, abagula n’abatunda abaddu, abalimba n’abalayirira obwereere, ne bonna abatakkiriziganya na njigiriza ntuufu, 11 (I)ng’Enjiri ey’ekitiibwa kya Katonda atenderezebwa, gye yankwasa bw’eri.
Okwebaza Katonda olw’Ekisa kye
12 (J)Neebaza Kristo Yesu Mukama waffe eyampa amaanyi ag’okumuweereza. Mwebaza kubanga yalaba nga nsaanira, n’ankwasa omulimu gwe. 13 (K)Newaakubadde ng’edda namwogerangako bubi, ne mmuyigganya era ne mmuvuma, kyokka yansaasira, kubanga ebyo nabikolanga mu butamanya nga sinnaba kumukkiriza. 14 (L)Naye Mukama waffe yankwatirwa ekisa kingi n’ampa okukkiriza kungi, era n’okwagala kwe tufunira mu Kristo Yesu. 15 (M)Ekigambo kino kituufu, kisaanye okukkiriza, ekigamba nti Kristo Yesu yajja mu nsi okulokola aboonoonyi. Mu bo nze mwonoonyi asookera ddala. 16 (N)Katonda kyeyava ansaasira, Kristo Yesu alyoke ayoleseze mu nze, omwonoonyi asingira ddala okugumiikiriza kwe okutakoma, era mbeere ekyokulabirako eri abo abalimukkiriza ne bafuna obulamu obutaggwaawo. 17 (O)Kabaka ow’olubeerera, atafa era atalabika, Katonda omu yekka, agulumizibwenga, emirembe n’emirembe. Amiina.
18 (P)Mwana wange Timoseewo, nkukubiriza ojjukire ebigambo bya bannabbi bye baakwogerako edda, olyoke olwane olutalo n’obuzira, 19 (Q)ng’okukkiriza, n’omwoyo omulungi, bye byokulwanyisa byo. Kubanga abalala abagaana okuba n’omwoyo ogwo omulungi bafiirwa okukkiriza kwabwe. 20 (R)Mu abo mwe muli Kumenayo ne Alegezanda be n’awaayo eri Setaani bayige obutavumanga Katonda.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.