Add parallel Print Page Options

10 (A)Awo ku lunaku luli, muzzukulu wa Yese aliyimirira ng’ebendera eri amawanga. Oyo amawanga gwe ganaanoonyanga, n’ekifo kye eky’okuwummuliramu, kiribeera kya kitiibwa.

Read full chapter

Okuzzibwawo kwa Isirayiri mu Kitiibwa

22 (A)Bw’atyo bw’ayogera Mukama Katonda nti, “Laba, ndikolera abamawanga obubonero
    era ndiyimusiza abantu ebbendera yange:
era balireeta batabani bo nga babasitulidde mu bifuba
    ne bawala bo nga babasitulidde ku bibegabega byabwe.

Read full chapter

16 (A)Alizikiriza emmeeri zonna ez’e Talusiisi,
    n’ebifaananyi byonna ebisiige eby’omuwendo omungi.

Read full chapter

10 (A)“ ‘Abantu ab’e Buperusi, ne Luudi ne Puuti[a],
    baali mu ggye lyo,
era be baawanikanga engabo n’enkuufiira ku bisenge byo
    ne bakuwa ekitiibwa.

Read full chapter

Footnotes

  1. 27:10 Puuli ne Puuti bye bimu. Puuti ye Libiya oba ekitundu ekyetoolodde n’okutuukira ddala ku Somaliya

Bazzukulu ba Kuusi

(A)Batabani ba Yafeesi:

Gomeri, ne Magogi, ne Madayi, ne Yivani, ne Tubali ne Meseki ne Tirasi.

Read full chapter

11 (A)Era ku lunaku olwo Mukama aligolola omukono gwe omulundi ogwokubiri[a] okununula abasigalawo ku bantu be, okubaggya mu Bwasuli ne mu Misiri ne mu Pasuloosi ne mu Kuusi ne mu Eramu ne mu Sinaali ne mu Kamasi ne mu bizinga eby’omu nnyanja.

Read full chapter

Footnotes

  1. 11:11 Abayisirayiri bwe baali bava e Misiri ogwo gwe mulundi ogwasooka.

24 Mubuulire ekitiibwa kye mu mawanga,
    n’ebikolwa bye ebyamagero mu bantu bonna.

Read full chapter

15 (A)Noolwekyo abo abali mu buvanjuba mugulumize Mukama,
    mutendereze erinnya lya Mukama Katonda wa Isirayiri,
    mu bizinga eby’ennyanja.

Read full chapter