Add parallel Print Page Options

46 (A)“ ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, Omulyango ogw’oluggya olw’omunda olutunuulira Ebuvanjuba gunaabanga muggale ennaku mukaaga ezikolerwamu, naye ku lunaku olwa Ssabbiiti ne ku lunaku olw’omwezi ogwakaboneka gunaggulwanga. (B)Omulangira anaayingiriranga mu kisasi okuva ebweru, n’ayimirira awali omufuubeeto ogw’omulyango. Bakabona banaateekateekanga ekiweebwayo kye ekyokebwa n’ebiweebwayo bye olw’emirembe. Anaasinzizanga awayingirirwa ku mulyango; n’oluvannyuma anaafulumanga, naye oluggi teluggalwenga okutuusa akawungeezi. (C)Bwe batyo n’abantu ab’omu nsi bateekwa okusinzizanga ku luggi olw’omulyango mu maaso ga Mukama ku Ssabbiiti ne ku myezi egyakaboneka.

Read full chapter

21 (A)Noolwekyo Mukama alimanyibwa mu Misiri, n’Abamisiri balimanya Mukama era bamusinze ne ssaddaaka, n’ebirabo era balyeyama obweyamo eri Mukama ne babutuukiriza.

Read full chapter