Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

M’Cheyne Bible Reading Plan

The classic M'Cheyne plan--read the Old Testament, New Testament, and Psalms or Gospels every day.
Duration: 365 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
2 Ebyomumirembe 10

Isirayiri Ejeemera Lekobowaamu

10 Lekobowaamu n’agenda e Sekemu, Abayisirayiri bonna gye baali bagenze okumufuula kabaka. (A)Yerobowaamu mutabani wa Nebati bwe yakiwulira, kubanga yali mu Misiri gye yali addukidde mu buwaŋŋanguse, nga yeewala kabaka Sulemaani, n’akomawo. (B)Awo ne bamutumira, Yerobowaamu ne Isirayiri yenna ne bagenda eri Lekobowaamu ne bamugamba nti, (C)“Kitaawo yatuteekako ekikoligo ekinene, naye kaakano tukendeereze ku lyanyi n’ekikoligo kye yatuteekako, naffe tunaakuweereza.” N’abaddamu nti, “Mulikomawo gye ndi mu nnaku ssatu.” Abantu ne bagenda.

(D)Awo kabaka Lekobowaamu ne yeebuuza ku bakadde abaaweerezanga kitaawe Sulemaani ng’akyali mulamu. N’ababuuza nti, “Mumpa kya kuddamu ki eri abantu bano?” (E)Ne bamugamba nti, “Bw’onooba ow’ekisa eri abantu bano, n’obasanyusa, n’obaddamu bulungi, banaabeeranga baddu bo ennaku zonna.”

(F)Naye Lekobowaamu n’aggaya amagezi abakadde ge baali bamuwadde, n’agenda ne yeebuuza ku bavubuka be yali akuze nabo, ate nga be bamuweereza mu kiseera ekyo. N’ababuuza nti, “Mumpa magezi ki okuddamu abantu bano abaŋŋambye nti, ‘Tukendeereze ku kikoligo kitaawo kye yatuteekako?’ ”

10 Abavubuka be yali akuze nabo ne bamuddamu nti, “Gamba abantu abakugambye nti, ‘Ekikoligo kitaawo kye yatuteekako kyali kizito, naye kaakano kitukendeerezeko,’ nti, ‘Nasswi wange asinga ekiwato kya kitange obunene. Kitange yababinika ekikoligo ekizito, naye nze nzija kwongera ku kikoligo kyammwe obuzito. 11 Kitange yabakangavvulanga na nkoba naye nze nzija kubakangavvulanga na njaba ez’obusagwa.’ ”

12 Bwe waayitawo ennaku essatu Yerobowaamu n’abantu bonna ne bagenda eri Lekobowaamu, nga kabaka bwe yali ayogedde nti, “Mukomeewo oluvannyuma lw’ennaku ssatu.” 13 Kabaka n’addamu n’ebboggo. N’agaana okuwuliriza amagezi g’abakadde, 14 n’agoberera amagezi ag’abavubuka, n’ayogera nti, “Kitange yababinika ekikoligo ekizito, naye nze nzija kukyongerako obuzito. Kitange yabakangavvulanga na nkoba, naye nze nzija kubakangavvulanga na njaba ez’obusagwa.” 15 (G)Kabaka n’atawuliriza bantu kubanga bw’atyo Katonda bwe yasiima, okutuukiriza ekigambo Mukama kye yayogera ku Yerobowaamu mutabani wa Nebati ng’ayita mu Akiya Omusiiro.

16 (H)Awo Isirayiri yenna bwe baalaba nga kabaka agaanye okubawuliriza, ne bamuddamu nti,

“Mugabo ki gwe tulina mu Dawudi,
    era busika ki bwe tulina mu mutabani wa Yese?
Buli omu ku mmwe, addeyo mu weema ye, ayi Isirayiri!
    Mmwe ennyumba ye Dawudi mwerabirire.”

Awo Abayisirayiri bonna ne baddayo ewaabwe. 17 Naye abo abaabeeranga mu bibuga bya Yuda, Lekobowaamu n’asigala ng’abafuga.

18 (I)Kabaka Lekobowaamu n’atuma Kadolaamu eyavunaanyizibwanga emirimu egy’ekipakasi, naye Abayisirayiri ne bamukuba amayinja ne bamutta. Kabaka Lekobowaamu ye n’ayanguwa okulinnya eggaali lye n’addukira e Yerusaalemi. 19 Awo Isirayiri ne bajeemera ennyumba ya Dawudi n’okutuusa leero.

Okubikkulirwa 1

Ennyanjula

(A)Okubikkulirwa kwa Yesu Kristo, Katonda kwe yamuwa okulaga abaddu be ebyo ebiteekwa okubaawo amangu. Kristo yakimanyisa ng’atuma malayika we eri omuweereza we Yokaana (B)eyategeeza ekigambo kya Katonda n’obujulirwa bwa Yesu Kristo ku byonna bye yalaba. (C)Alina omukisa oyo asoma n’abo abawulira ebigamb MAT - Mathayo o by’obunnabbi buno, ne beekuuma ebiwandiikiddwa, kubanga ekiseera kiri kiweddeyo.

Okulamusa n’Okutendereza Mukama

(D)Nze Yokaana mpandiikira Ekkanisa omusanvu eziri mu Asiya.

Mbagaliza ekisa n’emirembe ebiva eri Katonda oyo aliwo, era eyaliwo era alibaawo; n’ebiva eri emyoyo omusanvu egiri mu maaso g’entebe ye ey’obwakabaka,[a] (E)era n’okuva eri Yesu Kristo omujulirwa omwesigwa. Oyo ye yasooka okuzuukira mu bafu, era y’afuga bakabaka ab’omu nsi; oyo yatwagala, era ye yatuggya mu bibi byaffe n’omusaayi gwe, (F)n’atufuula obwakabaka bw’obwakabona bwa Katonda, Kitaawe. Ekitiibwa n’obuyinza bibeerenga eri oyo emirembe n’emirembe. Amiina.

(G)Laba, ajja n’ebire,
    na buli liiso lirimulaba,
n’abaamufumita balimulaba,
    era n’amawanga gonna ku nsi galimukungubagira.
Weewaawo. Amiina!

(H)“Nze Alufa ne Omega,”[b] bw’ayogera Mukama Katonda, “oyo aliwo, eyabaawo era alikomawo, Ayinzabyonna.”

Oyo eyali ng’Omwana w’Omuntu

(I)Nze muganda wammwe Yokaana, abonaabonera awamu nammwe mu bwakabaka ne mu kugumiikiriza ebiri mu Yesu, nnali ku kizinga ekiyitibwa Patumo, olw’ekigambo kya Katonda era n’okujulira ebya Yesu. 10 (J)Nnali mu mwoyo ku lunaku lwa Mukama waffe,[c] ne mpulira eddoboozi ery’omwanguka emabega wange, eryavuga ng’ery’akagombe, 11 (K)nga ligamba nti, “By’olaba, biwandiike mu kitabo, okiweereze eri Ekkanisa omusanvu: Ekkanisa ey’omu Efeso, n’ey’omu Sumuna, n’ey’omu Perugamo, n’ey’omu Suwatira, n’ey’omu Saadi, n’ey’omu Firaderufiya n’ey’omu Lawodikiya.”

12 (L)Ne nkyuka okulaba eyali ayogera nange, ne ndaba ebikondo by’ettaala ebya zaabu musanvu. 13 (M)Era wakati mu byo ne ndabamu omuntu “eyali ng’Omwana w’Omuntu” eyali ayambadde ekyambalo ekiwanvu ekikoma ku bigere, nga yeesibye mu kifuba olukoba olwa zaabu. 14 (N)Omutwe gwe n’enviiri ze byali byeru ng’ebyoya by’endiga ebyeru, era nga bifaanana ng’omuzira, n’amaaso ge nga gali ng’ennimi z’omuliro. 15 (O)Ebigere bye byali ng’ekikomo ekizigule ekyakaayakana mu muliro n’eddoboozi lye nga liyira ng’amazzi amangi. 16 (P)Yali akutte emmunyeenye musanvu mu mukono gwe ogwa ddyo era ng’alina ekitala ekyogi eky’obwogi obubiri[d] mu kamwa ke; n’ekyenyi kye nga kiri ng’enjuba eyakaayakana mu maanyi gaayo.

17 (Q)Bwe namulaba, ne ngwa wansi ku bigere bye ne mba ng’afudde, kyokka ye n’anteekako omukono gwe ogwa ddyo n’aŋŋamba nti, “Totya. Nze Owoolubereberye era Owenkomerero, 18 (R)era omulamu. Nnali nfudde naye kaakano ndi mulamu emirembe gyonna, era nnina ebisumuluzo eby’okufa n’amagombe.

19 “Kale wandiika ebyo by’olabye ebiriwo n’ebyo ebinaatera okubaawo oluvannyuma lw’ebyo ebiriwo. 20 (S)Ka nkubuulire amakulu g’emmunyeenye omusanvu z’olabye mu mukono gwange ogwa ddyo, era n’ebikondo eby’ettaala ebya zaabu omusanvu. Emmunyeenye omusanvu be bamalayika b’Ekkanisa omusanvu, ate ebikondo by’ettaala eza zaabu omusanvu ze Kkanisa omusanvu.”

Zeffaniya 2

Abalabe ba Isirayiri basalirwa omusango

(A)Mukuŋŋaane, weewaawo, mukuŋŋaane,
    mmwe eggwanga eritalina nsonyi,
(B)ekiseera ekyategekebwa nga tekinnatuuka,
    olunaku ne luba ng’ebisusunku ebifuumulibwa,
obusungu bwa Mukama nga tebunnabatuukako,
    ng’olunaku olw’obusungu bwa Mukama terunnabatuukako.
(C)Munoonye Mukama, mmwe mwenna abawombeefu ab’omu nsi,
    abakola by’alagira;
munoonye obutuukirivu n’obuwombeefu;
    mpozzi mulikwekebwa
    ku lunaku olw’obusungu bwe.

Obubaka eri Abafirisuuti

(D)Gaza kirirekebwawo,
    ne Asukulooni kiriba matongo:
abantu ba Asudodi baligobebwamu mu ttuntu,
    ne Ekuloni kirisimbulibwa.
(E)Zibasanze mmwe ababeera ku lubalama lw’ennyanja,
    eggwanga ery’Abakeresi!
Ekigambo kya Mukama kikwolekedde,
    ggwe Kanani, ensi ey’Abafirisuuti.
Ndikuzikiriza
    so tewaliba asigalawo.
(F)Olubalama lw’ennyanja ab’Akeresi gye babeera
    luliba malundiro g’abasumba n’ebisulo by’endiga.
(G)Olubalama lw’ennyanja luliba lwa kitundu ky’ennyumba ya Yuda ekyasigalawo
    era we banaalundiranga,
ne mu nnyumba za Asukulooni
    mwe banaagalamiranga akawungeezi.
Mukama Katonda waabwe alibalabirira,
    n’akomyawo obugagga bwabwe.

Obubaka eri Abamowaabu n’Abamoni

(H)Mpulidde okuvuma kwa Mowaabu
    n’okusekerera kw’Abamoni
kwe bavumye abantu bange
    ne batiisatiisa ensi yaabwe.
(I)Kale nga bwe ndi omulamu,
    bw’ayogera Mukama Ayinzabyonna, Katonda wa Isirayiri,
ddala Mowaabu aliba nga Sodomu,
    n’abaana ba Amoni nga Ggomola,
ekifo emyennyango kye gyemala, n’ebirombe by’omunnyo,
    amatongo agolubeerera. Balinyagibwa abantu bange abaliba basigaddewo,
n’ekitundu ky’eggwanga lyange ekifisseewo kiritwala ensi yaabwe.

10 (J)Eno y’eriba empeera yaabwe olw’amalala gaabwe,
    kubanga bavumye ne banyooma abantu ba Mukama Ayinzabyonna.
11 (K)Mukama aliba wa ntiisa gye bali
    bw’alizikiriza bakatonda bonna ab’ensi.
Amawanga gonna ag’oku mbalama zonna galimusinza,
    buli muntu ng’asinziira mu nsi ye.

Obubaka eri Abaesiyopiya

12 (L)Nammwe Abaesiyopiya, mulittibwa n’ekitala kyange.

Obubaka eri Obwasuli

13 (M)Aligololera omukono gwe ku bukiikakkono
    n’azikiriza Obwasuli;
n’afuula Nineeve amatongo
    era ekikalu ng’eddungu.
14 (N)Ente n’endiga zinaagalamiranga wakati mu kyo,
    n’ensolo zonna eza buli kika:
ekiwuugulu era ne nnamunnungu
    banaasulanga ku mpagi zaakyo.
Amaloboozi gaabyo ganaawulikikanga mu madirisa;
    kafakalimbo ajjudde mu miryango,
    n’emikiikiro egy’emivule giryelulwa.
15 (O)Kino kye kibuga ekya kyetwala,
    ekyayogeranga mu mutima gwakyo nti,
    Nze we ndi, tewali mulala wabula nze:
nga kifuuse bifulukwa,
    ekifo ensolo ez’omu nsiko we zigalamira!
Buli muntu akiyitako aneesoozanga
    n’akinyoomoola.

Lukka 24

Okuzuukira kwa Mukama Waffe

24 (A)Awo ku lunaku Lwassande[a], lwe lusooka mu wiiki, mu makya ennyo, abakazi ne baddira ebyakaloosa n’amafuta, bye baali bategese, ne bagenda ku ntaana. Ne basanga ejjinja eryali liggadde omulyango oguyingira mu ntaana, nga liyiringisibbwa okudda wabbali. (B)Bwe batyo ne bayingira mu ntaana, naye omulambo gwa Mukama waffe Yesu tebaagusangamu. (C)Ne bayimirira awo nga babuliddwa eky’okukola. Amangwago, abasajja babiri ne balabika mu maaso gaabwe nga bambadde engoye ezimasamasa ng’okumyansa kw’eraddu. Abakazi ne batya nnyo, ne bakutama ne batunula wansi, abasajja ne babagamba nti, “Lwaki omuntu omulamu mumunoonyeza mu ntaana? (D)Taliiwo wano, azuukidde! Mujjukire bye yabagamba nga muli e Ggaliraaya nti, (E)‘Omwana w’Omuntu, ateekwa okuweebwayo mu mikono gy’abantu ababi, bamukomerere ku musaalaba, naye nga ku lunaku olwokusatu alizuukira.’ ” (F)Ne bajjukira ebigambo bye ebyo.

Awo ne bayanguwa mangu ne bagenda, ne bategeeza abayigirizwa ekkumi n’omu n’abalala bonna, ebintu ebyo byonna. Bano be bakazi abaalaga ku ntaana, era ne bategeeza abayigirizwa ebintu ebyo: 10 (G)Maliyamu Magudaleene, ne Jowaana, ne Maliyamu nnyina Yakobo, n’abalala. Ne bategeeza abatume ebintu ebyo. 11 (H)Naye bye baababuulira nga biwulikika ng’ebitaliimu makulu, era tebaabikkiriza. 12 (I)Kyokka Peetero n’adduka n’alaga ku ntaana, n’akutama n’alingiza n’alaba ng’engoye za linena Yesu mwe yali azingiddwa ziri wabbali zokka nga njereere, n’addayo eka nga yeewuunya.

Ku Luguudo lw’e Emawu

13 (J)Ku lunaku olwo lwennyini abasajja babiri, abamu ku abo abaagobereranga Yesu, baali batambula nga bagenda mu kabuga akayitibwa Emawu, akaali kilomita nga kkumi na bbiri okuva e Yerusaalemi. 14 Baali bagenda boogera ku kufa kwa Yesu. 15 (K)Amangwago Yesu yennyini n’abeegattako n’atambula nabo. 16 (L)Kyokka tebaamutegeera, kubanga ekyo Katonda yali akibakisizza.

17 Yesu n’abagamba nti, “Biki bye munyumyako nga bwe mutambula mu kkubo?”

Ne bayimirira ng’amaaso gaabwe gajjudde ennaku. 18 (M)Omu ku bo, erinnya lye Kulyoppa n’amuddamu nti, “Oli mugenyi mu Yerusaalemi atamanyi bya kitalo ebyaliwo mu wiiki eyise?”

19 (N)Yesu n’ababuuza nti, “Biki ebyo?” Ne baddamu nti, “Ebyagwa ku Yesu Omunnazaaleesi eyali omusajja Nnabbi ow’amaanyi mu bye yakolanga ne bye yayogeranga eyakola ebyamagero ebyewuunyisa, era yali Muyigiriza wa kitalo, mu maaso ga Katonda ne mu maaso g’abantu bonna. 20 (O)Naye bakabona abakulu n’abakulembeze baffe baamukwata ne bamuwaayo n’asalirwa omusango ogw’okufa, ne bamukomerera ku musaalaba. 21 (P)Twali tusuubira nti, Ye Kristo anaalokola Isirayiri. 22 (Q)Ebyo nga bikyali awo, nga wayiseewo ennaku ssatu bukyanga bino bibaawo abamu ku bakazi b’ewaffe baatwewuunyisizza. Olwa leero baakedde ku ntaana, 23 naye omulambo gwe tebaagusanzeemu. Bwe baakomyewo baatugambye nti bayolesebbwa ba bamalayika abaabagambye nti mulamu! 24 (R)Abamu ku bannaffe abasajja nabo ne bagendayo mangu, nabo ne basanga ng’omulambo gwa Yesu teguliimu mu ntaana, ng’abakazi bwe baagambye.”

25 Yesu n’abagamba nti, “Nga muli bantu basirusiru! Mmwe ab’emitima eminafu egirwawo okukkiriza bannabbi bye baategeeza! 26 (S)Tekyagwanira Kristo okubonaabona mu bintu byonna n’oluvannyuma alyoke ayingire mu kitiibwa kye?” 27 (T)N’atandikira ku Musa n’ayitaayita mu bannabbi bonna ng’agenda abannyonnyola Ebyawandiikibwa bye bimwogerako.

28 Bwe baasemberera akabuga we baali bagenda, Yesu n’aba nga eyeeyongerayo, 29 naye ne bamuwaliriza asule ewaabwe kubanga n’obudde bwali buwungedde. N’akkiriza, asigale.

30 (U)Awo bwe yali ng’alya nabo n’addira omugaati, ne yeebaza n’agumenyamu, n’abawa. 31 (V)Amangwago amaaso gaabwe ne gazibuka ne bamutegeera! Ate n’ababulako mu kaseera ako! 32 (W)Ne batandika okwewuunaganya nga bagamba nti, “Emitima gyaffe tegyabuguumiridde bwe yabadde ayogera naffe mu kkubo ng’atunnyonnyola Ebyawandiikibwa?”

33 Awo ne basituka mangu ne baddayo mu Yerusaalemi, ne basanga abayigirizwa ekkumi n’omu ne bannaabwe abalala nga bakuŋŋaanye, 34 (X)nga bagamba nti, “Ddala Mukama waffe azuukidde! Alabikidde Peetero!” 35 (Y)Ne bannyonnyola, nga Yesu bwe yabalabikira nga bali mu kkubo batambula, era nga bwe yategeerekeka gye bali ng’amaze okumenya omugaati.

Yesu alabikira Abayigirizwa be

36 (Z)Awo bwe baali bakyayogera ebyo Yesu n’ayimirira mu makkati gaabwe n’abalamusa nti, “Emirembe gibeere nammwe!” 37 (AA)Naye bonna ne bakankana nga batidde nnyo, nga balowooza nti balaba muzimu! 38 Yesu n’ababuuza nti, “Lwaki mutidde bwe mutyo? Lwaki mubuusabuusa mu mitima gyammwe? 39 (AB)Mulaba ebibatu byange. Mutunule ne ku bigere byange! Kaakano mutegeere nga ye Nze kennyini. Munkwateko mukakasize ddala nti ssiri muzimu, kubanga omuzimu tegubeera na mubiri na magumba nga Nze bye nnina.”

40 Bwe yali ng’ayogera n’abalaga ebibatu bye n’ebigere bye. 41 Naye nga bakyabuusabuusa kyokka nga balina essanyu era nga basamaaliridde n’alyoka ababuuza nti, “Mulinawo wano ekyokulya?” 42 Ne bamuwa ekitundu ky’ekyennyanja ekyokye, 43 (AC)n’akitoola n’akiriira mu maaso gaabwe nga bamutunuulira!

44 (AD)N’abagamba nti, “Nabategeeza nga nkyali nammwe nti ebintu byonna ebyampandiikibwako mu mateeka ga Musa, ne mu bya bannabbi, ne mu Zabbuli, byali biteekwa okutuukirira.”

45 N’alyoka asumulula emitima gyabwe, ne bategeera ebyawandiikibwa. 46 N’abagamba nti, “Kyawandiikibwa dda nnyo nti Kristo kimugwanira okubonaabona, n’okufa era ku lunaku olwokusatu azuukire mu bafu. 47 (AE)Era mu linnya lye Enjiri ey’okwenenya n’okusonyiyibwa ebibi eribuulirwa amawanga gonna okutandikira mu Yerusaalemi. 48 (AF)Muli bajulirwa b’ebyo, 49 (AG)Laba mbaweereza ekisuubizo kya Kitange. Mubeere mu kibuga okutuusa lwe mulyambazibwa amaanyi agava mu ggulu.”

Okugenda mu Ggulu

50 (AH)Awo Yesu n’abakulembera ne balaga e Besaniya. N’ayimusa emikono gye waggulu, n’abawa omukisa. 51 (AI)Bwe yali ng’akyabawa omukisa, n’abavaako, n’asitulibwa, n’atwalibwa mu ggulu. 52 Ne bamusinza, ne baddayo mu Yerusaalemi nga bajjudde essanyu lingi. 53 (AJ)Ne babeeranga mu Yeekaalu bulijjo nga batendereza Katonda.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.