M’Cheyne Bible Reading Plan
Ebirala Sulemaani bye yakola
8 Bwe wayitawo emyaka amakumi abiri, mu myaka Sulemaani gye yazimbiramu eyeekaalu ya Mukama n’olubiri lwe, 2 Sulemaani n’addaabiriza ebibuga Kulamu bye yali amuwadde, n’abiwa Abayisirayiri okubibeerangamu. 3 Sulemaani n’alumba Kamasuzoba n’akiwamba. 4 Era n’azimba ne Tadumoli mu ddungu, n’ebibuga byonna, eby’etterekero mu Kamasi. 5 (A)N’addaabiriza Besukolooni ekya waggulu ne Besukolooni ekya wansi, n’abizimba nga bibuga ebiriko bbugwe, n’enkomera, ne wankaaki, n’ebisiba eby’empagi, 6 n’ekya Baalasi n’ebibuga bye byonna eby’amaterekero, n’ebibuga byonna eby’amagaali ge, n’abavuga amagaali ge, ne kyonna kye yayagala okuzimba mu Yerusaalemi, mu Lebanooni ne mu nsi yonna gye yafuganga.
7 (B)Abantu bonna abaalekebwawo ku Bakiiti, n’Abamoli, n’Abaperezi, n’Abakiivi, n’Abayebusi, nga bano be bataali Bayisirayiri, 8 (C)be bazzukulu abaasigalawo, Abayisirayiri be bataazikiriza, Sulemaani n’abafuula abaddu, ne leero. 9 Naye Sulemaani n’atafuula Bayisirayiri baddu be; bo baali baserikale be, n’abaduumizi b’eggye lye, n’abaduumizi ab’amagaali ge n’abeebagala embalaasi ze. 10 Waaliwo n’abakungu ba kabaka Sulemaani ab’oku ntikko, ebikumi bibiri mu ataano, abaafuganga abantu.
11 (D)Sulemaani n’aggya muwala wa Falaawo mu kibuga kya Dawudi n’amutwala mu lubiri lwe yamuzimbira ng’agamba nti, “Mukyala wange tajja kubeera mu lubiri lwa Dawudi kabaka wa Isirayiri, kubanga ebifo essanduuko ya Mukama by’etuusemu bitukuvu.”
12 (E)Awo Sulemaani n’awangayo ebiweebwayo ebyokebwa, ebiweebwayo ebyokebwa ku kyoto kya Mukama kye yali azimbye mu maaso ag’olubalaza, 13 (F)nga bwe kyali kigwanirwa buli lunaku, okuwangayo ebiweebwayo ng’etteeka lya Musa bwe lyali, erikwata ku ssabbiiti, n’emyezi nga kye gijje giboneke, ne ku mbaga essatu eza buli mwaka, era ze zino: embaga ey’emigaati egitazimbulukuswa, n’embaga eya ssabbiiti, n’embaga ey’ensiisira. 14 (G)N’alonda ebibinja ebya bakabona olw’obuweereza bwabwe, n’Abaleevi olw’emirimu gyabwe egy’okutenderezanga mu nnyumba, ng’ekiragiro kya Dawudi kitaawe kye yayogera ne mu kuyambangako bakabona mu mirimu egya buli lunaku. Ate era n’alonda n’abaggazi mu bibinja byabwe olw’emiryango egy’enjawulo kubanga bw’atyo Dawudi omusajja wa Katonda bwe yalagira. 15 Ne batava ku biragiro kabaka bye yali awadde bakabona, n’Abaleevi ku bikwatagana n’ensonga yonna, wadde ku bikwatagana n’ebyetterekero ly’ebintu eby’omuwendo.
16 Omulimu gwa Sulemaani ne guggwa bulungi okuva ku lunaku omusingi ogwa yeekaalu ya Mukama lwe gwa simibwa okutuusa yeekaalu lwe yaggwa, era n’emalibwa bulungi.
17 Awo Sulemaani n’agenda e Eziyonigeba n’e Erosi ebibuga ebyali ku lubalama lw’ennyanja mu nsi ya Edomu. 18 (H)Kulamu n’amuweereza ebyombo, nga bigobebwa baduumizi be, abasajja abaali bamanyi ennyanja. Ne bagenda e Ofiri n’abaddu ba Sulemaani nga babeegasseko, ne baaleetera kabaka Sulemaani ettani za zaabu kkumi na musanvu.
1 (A)Nze, Omukadde, mpandiikira ggwe Gayo omwagalwa, gwe njagala mu mazima.
2 Munnange omwagalwa, nkusabira okole bulungi ebintu byonna era obeere mulamu mu mubiri, nga bw’oli mu mwoyo. 3 (B)Abooluganda bwe nabatuukako kya nsanyusa nnyo bwe bambuulira nti onyweredde mu mazima, era nti mw’otambulira. 4 (C)Tewali kindeetera ssanyu lisinga ng’eryo lye nfuna bwe mpulira nti abaana bange batambulira mu mazima.
5 (D)Omwagalwa, okola ekintu kya bwesigwa buli lw’okolera abooluganda ebirungi na ddala ababeera ku ŋŋendo ne bw’oba tobamanyi. 6 Baategeeza Ekkanisa omukwano gwe wabalaga awamu ne bye wabakolera. Kibeera kirungi singa obasiibuza ekirabo ekiba kisaanidde. 7 (E)Kubanga baatambulira mu linnya lya Mukama, nga tebakkiriza ebyo abatali bakkiriza bye baabawanga. 8 Noolwekyo ffe ffennyini, ffe tusaana okubalabirira tulyoke tufuuke bakozi bannaabwe mu mazima.
Diyotuleefe ne Demeteriyo
9 Nawandiikira Ekkanisa ku nsonga eyo, kyokka Diyotuleefe, olw’okwagala okwefuula omukulembeze tatwagala. 10 (F)Bwe ndijja ndibategeeza ebimu ku bintu by’akola, n’ebintu by’atwogerako ebitali birungi, era n’olulimi oluvuma lw’akozesa. Takoma ku kugaana kwaniriza abooluganda abatambuze kyokka, naye n’okulagira alagira abantu abalala nabo, baleme okubaaniriza era abo ababaaniriza agezaako okubagoba mu Kkanisa.
11 (G)Mukwano gwange, togobereranga kyakulabirako ekibi wabula eby’obutuukirivu. Gobereranga ebyo byokka by’olaba nga bya butuukirivu. Kirungi ojjukirenga nti abo abakola eby’obutuukirivu baba bakakasiza ddala nga bwe bali abaana ba Katonda; naye abakola ebitali bya butuukirivu balaga nga bwe bali ewala ne Katonda. 12 (H)Naye buli omu ayogera bya mazima ku Demeteriyo. Nange mwogerako bya mazima byereere. Naye omanyi nga nze njogera mazima.
13 Mbadde na bingi eby’okukugamba, kyokka saagala kubikuwandiikira mu bbaluwa, 14 (I)kubanga nsuubira okukulaba mu bbanga ttono. Kale olwo tuliba na bingi eby’okwogerako ffembi nga tulabaganye amaaso n’amaaso.
15 Emirembe gibeerenga naawe.
Ab’emikwano abali wano bakulamusizza. Nange, mikwano gyange abali eyo, buli omu munnamusize.
Okusaba kwa Kaabakuuku
3 Okusaba kwa nnabbi Kaabakuuku, okw’Ekisigiyonosi.
2 (A)Ayi Mukama, mpulidde ebigambo byo;
mpulidde ettutumu lyo Ayi Mukama, ne ntya.
Bizze buggya mu nnaku zaffe,
bimanyise mu biro bino,
era mu busungu jjukira okusaasira.
3 (B)Katonda yajja ng’ava e Temani,
Omutukuvu oyo ng’ava ku lusozi Palani.
Ekitiibwa kye kyatimbibwa ku ggulu,
ensi n’eryoka ejjula ettendo lye.
4 Okumasamasa kwe ne kulyoka kubeera ng’enjuba evaayo.
Ebimyanso byayakanga okuva mu mukono gwe,
era omwo mwe mwasinziiranga amaanyi ge ag’ekitalo.
5 Kawumpuli ye yakulembera,
Endwadde endala zinaamutta ne zigoberera.
6 (C)Yayimirira n’anyeenyanyeenya ensi;
Yatunula n’akankanya amawanga.
Ensozi ez’edda za merenguka,
obusozi obw’edda ne buggwaawo. Engeri ze, za mirembe na mirembe.
7 (D)Nalaba eweema z’e Kusani nga ziri mu nnaku:
n’entimbe ez’ensi ya Midiyaani nga zijugumira.
8 (E)Ayi Mukama, wanyiigira emigga?
Obusungu bwo bwali ku bugga obutono?
Wanyiigira ennyanja
bwe weebagala embalaasi zo,
n’olinnya ku magaali go ag’obuwanguzi?
9 (F)Wasowolayo akasaale ko,
wategeka okulasa obusaale;
ensi n’ogyawulayawulamu n’emigga.
10 (G)Ensozi zaakulaba, ne zeenyogootola;
Amataba ne gayitawo mbiro,
obuziba bw’ennyanja ne buwuluguma,
ne busitula amayengo gaayo waggulu.
11 (H)Enjuba n’omwezi ne biyimirira butengerera mu bifo byabyo,
olw’okumyansa kw’obusaale bwo nga buwenyuka,
n’olw’okumyansa kw’effumu lyo eritemagana.
12 (I)Watambula okuyita mu nsi ng’ojjudde ekiruyi,
wasambirirasambirira amawanga mu busungu bwo.
13 (J)Wavaayo oleetere abantu bo obulokozi,
olokole gwe wafukako amafuta;
Wabetenta omukulembeze w’ensi ekola ebibi,
ng’omwerulira ddala okuva ku mutwe okutuuka ku bigere.
14 (K)Wafumita omutwe gwe n’effumu lye ye,
abalwanyi be bwe baavaayo okutugoba,
nga bali ng’abanaatumalawo,
ffe abaali baweddemu essuubi nga twekwese.
15 (L)Walinnyirira ennyanja n’embalaasi zo,
n’otabangula amazzi amangi.
Okusanyukira mu Mukama
16 Nawulira, n’omutima gwange ne gukankana
n’emimwa gyange gijugumira olw’eddoboozi eryo;
Obuvundu ne buyingira mu magumba gange,
amagulu gange ne gakankana.
Naye nnaalindirira n’obugumiikiriza olunaku olw’okulabiramu ennaku
bwe lulijjira eggwanga eritulumba.
17 (M)Wadde omutiini tegutojjera,
so n’emizabbibu nga tegiriiko bibala,
amakungula g’emizeeyituuni ne gabula,
ennimiro ne zitabala mmere n’akamu,
endiga nga ziweddemu mu kisibo,
nga n’ente tezikyalimu mu biraalo,
18 (N)kyokka ndijaguliza Mukama,
ne nsanyukira mu Katonda Omulokozi wange.
19 (O)Mukama Katonda, ge maanyi gange;
afuula ebigere byange okuba ng’eby’empeewo,
era ansobozesa okutambulira mu bifo ebigulumivu.
Ya Mukulu wa Bayimbi, ku bivuga byange ebirina enkoba.
Yuda Alya mu Yesu Olukwe
22 (A)Embaga ey’Emigaati Egitazimbulukuswa eyitibwa Okuyitako yali esembedde. 2 (B)Bakabona abakulu n’abannyonnyozi b’amateeka baali bakola kaweefube okusala amagezi okutta Yesu, naye nga batya abantu okusasamala. 3 (C)Awo Setaani n’ayingira mu Yuda Isukalyoti eyali omu ku bayigirizwa ekkumi n’ababiri, 4 (D)n’agenda eri bakabona abakulu n’abakuumi ba Yeekaalu abakulu, n’ateesa nabo nga bw’anaamuwaayo gye bali. 5 (E)Ne basanyuka nnyo, era ne bakkiriza okumusasula. 6 Yuda n’akkiriza okuwaayo Yesu, n’anoonya akakisa konna mw’anaamuweerayo gye bali nga tewali kibiina.
Ekyekiro eky’Enkomerero
7 (F)Awo olunaku olw’Emigaati Egitazimbulukuswa, okuttirwa omwana gw’endiga ogw’embaga y’Okuyitako, ne lutuuka. 8 (G)Yesu n’atuma Peetero ne Yokaana n’abagamba nti, “Mugende mututegekere ekyekiro kyaffe eky’okuyitako, tujje tukirye.”
9 Ne bamubuuza nti, “Oyagala tukitegekere wa?”
10 Yesu n’abaddamu nti, “Munaaba mwakayingira mu kibuga, mujja kulaba omusajja eyeetisse ensuwa y’amazzi ng’atambula. Mumugoberere okutuuka mu nnyumba mw’anaayingira, 11 mugambe nnyinimu nti, ‘Omuyigiriza atutumye gy’oli ng’agamba nti: Ekisenge ky’abagenyi kiruwa mwe nnaaliira Okuyitako n’abayigirizwa bange?’ 12 Ajja kubalaga ekisenge ekinene ekya waggulu nga kitegekeddwa bulungi. Omwo mwe muba mutegekera.”
13 (H)Ne balaga mu kibuga, ne basanga buli kimu nga Yesu bwe yabagamba. Ne bateekateeka Okuyitako.
14 (I)Awo ekiseera ky’okulya bwe kyatuuka, Yesu n’atuula n’abayigirizwa be okulya. 15 (J)Yesu n’agamba abayigirizwa be nti, “Ebbanga eryo lyonna mbadde ndowooza nnyo ku Kyekiro kino eky’Okuyitako, nga njagala nkirye nammwe nga sinnaba kubonyaabonyezebwa. 16 (K)Kubanga mbagamba nti sigenda kuddayo kulya nammwe Okuyitako okutuusa lwe kulituukirizibwa mu bwakabaka bwa Katonda.”
17 Awo Yesu n’addira ekikompe ky’envinnyo, bwe yamala okwebaza Katonda, n’agamba nti, “Mukwate, munyweko mwenna. 18 Kubanga mbagamba nti, Sigenda kuddayo kunywa ku kibala kya muzabbibu okutuusa ng’obwakabaka bwa Katonda buzze.”
19 (L)Ate n’atoola omugaati, bwe yamala okwebaza Katonda, n’agumenyaamenyamu, n’abagabira ng’agamba nti, “Guno gwe mubiri gwange oguweebwayo ku lwammwe. Mukolenga bwe muti nga munzijukira.”
20 (M)Bwe baamala okulya ekyekiro, n’addira nate ekikompe era mu ngeri y’emu n’akibakwasa ng’agamba nti, “Ekikompe kino ke kabonero ak’endagaano ya Katonda empya ekakasibwa mu musaayi gwange oguyiyibwa ku lwammwe. 21 (N)Naye muwulire kino. Omuntu agenda okundyamu olukwe atudde wano nange ku mmere. 22 (O)Kigwanira Omwana w’Omuntu, okufa nga Katonda bwe yateekateeka. Naye zimusanze omuntu oyo amulyamu olukwe.” 23 Awo abayigirizwa ne batandika okwebuuzaganya bokka na bokka nti ani ku bo ayinza okukola ekintu ng’ekyo!
Empaka ku Bukulu
24 (P)Era ne batandika okuwakana bokka ne bokka, ani asinga ekitiibwa mu bo? 25 Naye Yesu n’abagamba nti, “Bakabaka b’abamawanga bafuga abantu baabwe, n’ab’obuyinza ne babazunza mu kino na kiri, naye abafugibwa tebalina kya kukola wabula okubayita abayambi baabwe. 26 (Q)Naye mu mmwe tekisaanira kuba bwe kityo. Oyo asinga ekitiibwa mu mmwe asaana yeeyisenga ng’asembayo, n’omukulembeze mu mmwe asaana abeere ng’omuweereza wammwe. 27 (R)Mu nsi muno omukungu y’atula ku mmeeza abaddu be ne bamuweereza. Naye wano mu ffe nze muweereza wammwe. 28 Naye mmwe mubadde wamu nange mu biseera bino eby’okugezesebwa kwange, 29 (S)era kubanga Kitange ampadde obwakabaka, noolwekyo mbaatulira kati nti mbawadde ekifo 30 (T)okutuula n’okulya era n’okunywera ku mmeeza yange mu bwakabaka bwange obwo, era mulituula ku ntebe ne mulamula ebika bya Isirayiri ekkumi n’ebibiri.
31 (U)“Simooni, Simooni, Setaani asabye okukuwewa ng’eŋŋaano, 32 (V)naye ggwe nkusabidde okukkiriza kwo kuleme kukuggwaamu. Era bw’olimala okwenenya, yamba mu kuzimba n’okunyweza okukkiriza kwa baganda bo.”
33 (W)Awo Peetero n’addamu nti, “Mukama wange, neeteeseteese okusibirwa awamu naawe mu kkomera, era n’okufiira awamu naawe.”
34 Yesu n’amuddamu nti, “Peetero, nkutegeeza nti leero ononneegaana emirundi esatu enkoko nga tennakookolima.”
35 (X)Awo Yesu n’ababuuza nti, “Bwe nabatuma okubuulira Enjiri, ne mutatwala nsimbi wadde ensawo, oba omugogo omulala ogw’engatto, mwalina okwetaaga ekintu kyonna?” Ne baddamu nti, “Nedda.”
36 Yesu n’abagamba nti, “Naye kaakano alina ensawo eterekebwamu ensimbi agitwale, n’ensawo ng’ey’omusabiriza bwe mutyo. Atalina kitala, atunde ku ngoye ze akyegulire! 37 (Y)Kubanga mbagamba nti kyetaagisa okutuukirizibwa mu nze ekyawandiikibwa nti, ‘Yabalirwa wamu n’abamenyi b’amateeka,’ ebinkwatako biteekwa okutuukirira.”
38 Abayigirizwa ne bamugamba nti, “Mukama waffe, wano tulinawo ebitala bibiri!” N’abaddamu nti, “Bimala!”
Yesu asaba ku lusozi olwa Zeyituuni
39 (Z)Awo Yesu n’afuluma mu kibuga awamu n’abayigirizwa be n’akwata ekkubo erigenda ku lusozi olwa Zeyituuni nga bwe yali empisa ye. 40 (AA)Bwe yatuuka eyo n’agamba abayigirizwa be nti, “Musabe Katonda, muleme kuwangulwa kukemebwa.” 41 (AB)Ye n’abavaako akabanga ng’awakasukwa ejjinja, n’afukamira n’asaba nti, 42 (AC)“Kitange, obanga kwe kusiima kwo ekikompe kino kinzigyeko. Naye si nga Nze bwe njagala, wabula ky’oyagala kye kiba kikolebwa.” 43 (AD)Awo malayika eyava mu ggulu n’ajja n’amugumya. 44 Yali mu kunyolwa kunene nnyo okw’omwoyo, ne yeeyongera okusaba ennyo n’atuuyana n’entuuyo ezamuvaamu ne ziba ng’amatondo g’omusaayi, era ne gatonnya wansi.
45 Bwe yayimuka ng’amaze okusaba n’addayo eri abayigirizwa be, naye n’abasanga nga beebase, olw’ennaku eyali ebakutte. 46 (AE)N’abagamba nti, “Lwaki mwebase? Muzuukuke, musabe, muleme kuwangulwa kukemebwa.”
Yesu Akwatibwa
47 Awo Yesu bwe yali ng’akyayogera, ekibiina ky’abantu ne batuuka nga Yuda, omu ku bayigirizwa be ekkumi n’ababiri, y’abakulembedde. Yuda n’ajja butereevu awali Yesu, n’amunywegera. 48 Naye Yesu n’amugamba nti, “Yuda, Omwana w’Omuntu omulyamu olukwe ng’omugwa mu kifuba?”
49 (AF)Abayigirizwa abalala bwe baalaba ekyali kigenda okubaawo ne babuuza Yesu nti, “Mukama waffe, tubateme n’ebitala byaffe?” 50 Era omu ku bo n’atemako n’ekitala okutu kw’omuweereza wa Kabona Asinga Obukulu. 51 Naye Yesu n’abagamba nti, “Temwongera kubalwanyisa.” N’akwata ku kutu kw’omusajja, n’amuwonya!
52 (AG)Yesu kwe kukyukira bakabona abakulu, n’abakulu b’abakuumi ba Yeekaalu, n’abakulembeze b’Abayudaaya abaali bakulembedde ekibiina ky’abantu, n’abagamba nti, “Ndi munyazi, n’okujja ne mujja gye ndi nga mwambalidde ebitala n’emiggo? 53 (AH)Lwaki temwankwatira mu Yeekaalu? Nabeeranga omwo buli lunaku. Naye nammwe eno ye ssaawa yammwe, n’ekizikiza we kiragira obuyinza bwakyo.”
Peetero Yeegaana Yesu
54 (AI)Awo ne bakwata Yesu ne bamutwala mu nnyumba ya Kabona Asinga Obukulu. Peetero n’agoberera nga yeesuddeko akabanga. 55 Bwe baamala okukuma omuliro wakati mu luggya ne batuula okwota; Peetero naye n’atuula wakati mu bo, n’ayota omuliro. 56 Omuwala omuweereza n’amulengera ng’omuliro gumumulisizza, n’amutunuulira enkaliriza, okutuusa lwe yagamba nti, “Omusajja ono yali ne Yesu!”
57 Peetero ne yeegaana nti, “Omukazi, oyo gw’oyogerako nze simumanyi.”
58 Bwe waayitawo akabanga omuntu omulala n’alaba Peetero n’amugamba nti, “Naawe oli omu ku bo.” Peetero ne yeegaana nti, “Nedda, ssebo, si bwe kiri.” 59 (AJ)Bwe waali wayiseewo ng’essaawa nnamba, omuntu omu n’ayogera ng’akakasa nti, “Ddala n’ono yali wamu ne Yesu kubanga naye Mugaliraaya.” 60 Peetero n’addamu nti, “Omusajja, by’oyogerako sibimanyi!” Peetero bwe yali akyayogera enkoko n’ekookolima. 61 (AK)Mu kaseera ako Mukama waffe n’akyuka n’atunuulira Peetero. Peetero n’ajjukira Yesu kye yagamba nti, “Enkoko eneeba tennakookolima ononneegaana emirundi esatu.” 62 Awo Peetero n’afuluma okuva mu luggya n’akaaba nnyo amaziga!
Abaserikale Baduulira Yesu
63 Awo abasajja abaali bakuuma Yesu ne batandika okumuduulira n’okumukuba. 64 Ne bamusiba ekitambaala ku maaso ne bamukuba ebikonde, oluvannyuma ne bamubuuza nti, “Nnabbi! yogera ani akukubye?” 65 (AL)Ne bamuvuma n’ebigambo ebirala bingi.
Yesu mu Maaso g’Olukiiko Olukulu
66 (AM)Enkeera mu makya Olukiiko Olukulu olw’Abayudaaya, nga lulimu bakabona abakulu, n’abannyonnyozi b’amateeka, n’abakulembeze b’Abayudaaya, ne lutuula. Yesu n’aleetebwa mu maaso g’Olukiiko olwo.
67 Ne bamubuuza nti, “Obanga ggwe Kristo, tubuulire.”
Yesu n’abaddamu nti, “Bwe nnaababuulira temujja kunzikiriza, 68 (AN)ne bwe nnaababuuza ebibuuzo temujja kunnyanukula. 69 (AO)Naye ekiseera kituuse, Nze, Omwana w’Omuntu, okutuula ku mukono ogwa ddyo ogwa Katonda Ayinzabyonna.”
70 (AP)Bonna ne baleekaana nti, “Kwe kugamba nti ggwe Mwana wa Katonda?”
Yesu n’abaddamu nti, “Nga bwe mugambye bwe ntyo bwe ndi.”
71 Ne bagamba nti, “Ate twetaagira ki obujulizi obulala? Kubanga ffe ffennyini twewuliridde ng’ebigambo bino biva mu kamwa ke.”
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.