M’Cheyne Bible Reading Plan
21 (A)Awo Yekosafaati ne yeebakira wamu ne bajjajjaabe, n’aziikibwa mu kibuga kya Dawudi; Yekolaamu mutabani we n’amusikira. 2 Yekolaamu yalina baganda be, batabani ba Yekosafaati, nga be ba Azaliya, ne Yekyeri, ne Zekkaliya, ne Azaliya, ne Mikayiri ne Sefatiya. Abo bonna bali baana ba Yekosafaati kabaka wa Yuda. 3 (B)Kitaabwe yabawa eby’obugagga bingi, ebya ffeeza ne zaabu, n’ebintu eby’omuwendo ebirala, wamu n’ebibuga ebiriko bbugwe mu Yuda, naye obwakabaka n’abuwa Yekolaamu kubanga ye yali omuggulanda.
Yekolaamu Kabaka wa Yuda
4 (C)Awo Yekolaamu bwe yamala okwenywereza ddala ku ntebe ye ey’obwakabaka, n’atta baganda be bonna n’ekitala, era n’abakungu abamu aba Isirayiri.[a] 5 Yekolaamu yalina emyaka amakumi asatu mu ebiri we yafuukira kabaka, era n’afugira emyaka munaana mu Yerusaalemi. 6 (D)N’atambulira mu makubo ga bakabaka ba Isirayiri, ng’ennyumba ya Akabu bwe yakolanga, era n’okuwasa n’awasa muwala wa Akabu. N’akola eby’ebibi mu maaso ga Mukama. 7 (E)Newaakubadde ng’ebyo byonna byali bwe bityo, Mukama teyayagala kusaanyaawo nnyumba ya Dawudi, kubanga yali akoze endagaano ne Dawudi, ate ng’asuubizza okukuuma ettabaaza ye n’eya bazzukulu be ng’eyaka emirembe gyonna.
8 (F)Mu biro bya Yekolaamu Edomu n’ajeemera okufuga kwa Yuda ne beeteekerawo kabaka owaabwe. 9 Awo Yekolaamu n’agendayo n’abakungu be n’amagaali ge gonna. Abayedomu ne bamutaayiza ye n’abaduumizi ab’amagaali ge mu kiro, naye n’abagolokokerako n’abakuba. 10 (G)Okuva ku olwo Edomu ne bajeemera Yuda n’okutuusa leero. Mu kiseera ekyo Libuna naye ne n’amujeemera, kubanga Yekolaamu yali avudde ku Mukama Katonda wa bajjajjaabe. 11 Yali azimbye n’ebifo ebigulumivu ku nsozi za Yuda, era ng’aleetedde n’abatuuze ba Yerusaalemi obutaba beesigwa, nga ne Yuda bawabye.
12 (H)Yekolaamu n’afuna ebbaluwa okuva eri Eriya nnabbi ng’egamba nti,
“Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda wa jjajjaawo Dawudi nti, ‘Olw’obutatambulira mu makubo ga kitaawo Yekosafaati, wadde mu makubo ga Asa kabaka wa Yuda, 13 (I)naye n’otambulira mu kkubo lya bakabaka ba Isirayiri, n’oleetera Yuda n’abantu b’e Yerusaalemi obutaba beesigwa, ng’ennyumba ya Akabu bwe yakola, era n’otta ne baganda bo ab’ennyumba ya kitaawo, abaali bakusinga empisa, 14 Mukama kyaliva aleeta kawumpuli ow’amaanyi, ku bantu bo, n’abaana bo, n’abakyala bo, ne ku bintu byo byonna, 15 (J)ate naawe olirwala obulwadde obw’amaanyi mu lubuto, erireetera ebyenda byo okuvaayo, buli lunaku.’ ”
16 (K)Awo Mukama n’asitusa obusungu bw’Abafirisuuti n’Abawalabu abaabeeranga okumpi n’Abaesiyopiya eri Yekolaamu, 17 (L)ne balumba Yuda, ne bakiwangula, ne batwala ebintu byonna ebyali mu lubiri lwa kabaka, ne batabani be, ne bakazi be, ne wataba mutabani we n’omu eyalekebwa okuggyako Yekoyakaazi, omuggalanda.
18 Oluvannyuma lw’ebyo byonna, Mukama n’aleetako Yekolaamu obulwadde obutawonyezeka obw’omu lubuto. 19 (M)Awo ebiro bwe byayitawo, nga wayiseewo emyaka ebiri, ebyenda bye ne bitanula okumuvaamu, olw’obulwadde, n’afa mu bulumi bungi. Abantu be ne batamukumira lumbe, nga bwe baali bakoledde bajjajjaabe.
20 (N)Yekolaamu yali wa myaka amakumi asatu mu ebiri bwe yatandika okuba kabaka, era n’afugira mu Yerusaalemi emyaka munaana. Okufa kwe tekwaleetera muntu n’omu kwejjusa, n’aziikibwa mu kibuga kya Dawudi naye si ku biggya bya bassekabaka.
9 (A)Awo malayika owookutaano n’afuuwa ekkondeere lye, ne ndaba emmunyeenye ng’eva mu ggulu ng’egwa ku nsi era n’eweebwa ekisumuluzo eky’obunnya obutakoma. 2 (B)Bwe yabusumulula, omukka ne gufubutuka okuvaamu ng’oguva mu kikoomi ekinene ennyo, era enjuba ne bbanga lyonna ne bibuna ekizikiza olw’omukka ogw’omu bunnya. 3 (C)Enzige ne ziva mu mukka ne zikka ku nsi ne ziweebwa obuyinza okuluma ng’enjaba ez’obusagwa. 4 (D)Zaagambibwa obutakola ku muddo kabi konna, newaakubadde ebimera, wadde emiti; wabula zirumbe abantu abo abataalina kabonero ka Katonda mu byenyi byabwe. 5 (E)Tezaagambibwa kubatta wabula okubabonyaabonya okumala emyezi etaano nga zibaluma bulumi, ng’obulumi bwazo buli ng’obuva mu kubojjebwa enjaba ez’obusagwa. 6 Mu biro ebyo abantu balyagala okwetta naye tekirisoboka kubanga okufa kuliba kubeesamba; balyegomba okufa naye kwo, nga kubadduka buddusi!
7 Enzige zino zaali zifaanana ng’embalaasi ezitegekeddwa okugenda ku lutalo okulwana, ne ku mitwe gyazo nga kuli ng’okutikkiddwa engule za zaabu ate ebyenyi byazo nga biri ng’eby’abantu. 8 Obwoya bwazo nga buli ng’enviiri z’abakazi, ate go amannyo gaazo gaali ng’ag’empologoma. 9 (F)Zaali zambadde eby’omu bifuba ebiri ng’eby’ebyuma, nga n’ebiwaawaatiro byazo biwuluguma ng’eddoboozi lya nnamuziga w’amagaali, ag’embalaasi ennyingi nga zifubutuka okulaga mu lutalo. 10 (G)Zaalina emikira egibojja ng’egy’enjaba ez’obusagwa. N’obuyinza bwazo obw’okubonyaabonya obwaziweebwa obw’emyezi etaano bwali mu mikira omwo. 11 (H)Kabaka waazo ye malayika ow’obunnya obutakoma, erinnya lye mu Lwebbulaniya ye Abadoni[a] ate mu Luyonaani ye Apolwoni.[b]
12 (I)Eky’entiisa ekisooka ne kiyita, naye ng’ekyaliyo bya mirundi ebiri ebijja!
13 (J)Awo malayika ow’omukaaga n’afuuwa ekkondeere lye, ne mpulira eddoboozi nga lyogera okuva mu mayembe ana agali ku kyoto ekya zaabu ekiri mu maaso ga Katonda, 14 (K)nga ligamba malayika oyo ow’omukaaga nti, “Sumulula bamalayika abana abaasibirwa ku mugga omunene Fulaati.” 15 (L)Bamalayika abana abaali basibiddwa nga balindirira omwaka n’omwezi ogwo, n’olunaku olwo, n’essaawa eyo, ne basumululwa okutta ekitundu ekimu ekyokusatu eky’abantu. 16 (M)Ne mpulira omuwendo ogw’eggye ery’abaserikale nga bali obukadde ebikumi bibiri.
17 (N)Ne ndaba mu kwolesebwa, ng’embalaasi n’abaali bazeebagadde nga bambadde eby’omu bifuba ebimyufu, era mwalimu n’abambadde ebya bbululu n’ebya kyenvu. Emitwe gy’embalaasi gyali gifaanana ng’egy’empologoma, ne mu bumwa bwazo ne muvaamu omuliro n’omukka ne salufa. 18 (O)Ebibonyoobonyo ebyo ebisatu: Omukka n’omuliro n’obuganga ebyava mu bumwa bwazo ne bitta ekitundu ekimu ekyokusatu eky’abantu. 19 Amaanyi gaazo ag’okutta tegaali mu bumwa bwazo mwokka, naye gaali ne mu mikira gyazo, kubanga emikira egyo gyali ng’emitwe gy’emisota, nga gye zibojjesa.
20 (P)Naye era abantu abaasigalawo nga balamu oluvannyuma lw’ebibonoobono bino ne bagaana okwenenya ebikolwa byabwe. Ne batalekaayo kusinza baddayimooni n’ebifaananyi ebyakolebwa n’emikono ebya zaabu n’ebya ffeeza, n’eby’ebikomo, n’eby’amayinja n’omuti, ebitalaba yadde okuwulira so n’okutambula tebitambula. 21 (Q)Era tebeenenya butemu bwabwe, wadde obulogo, wadde obwenzi, wadde obubbi bye baakolanga.
Okwolesebwa kw’Omuzingo Ogubuuka
5 (A)Awo ne nnyimusa amaaso gange era laba ne ndaba, omuzingo gw’ekitabo ogutambulira mu bbanga.
2 N’ambuuza nti, “Kiki ky’olaba?”
Ne nziramu nti, “Ndaba omuzingo gw’ekitabo ogutambulira mu bbanga, obuwanvu bwagwo buli mita mwenda n’obugazi bwagwo buli mita nnya ne desimoolo ttaano.”
3 (B)Awo n’alyoka aŋŋamba nti, “Ekyo ky’ekikolimo ekizze okubuna ensi yonna, kubanga buli muntu yenna abba aliggyibwawo era buli muntu yenna alayiririra obwereere aliggyibwawo, bamutwale ku luuyi olulala. 4 (C)Bw’ati bw’ayogera Mukama ow’Eggye, ‘Ndikifulumya, era ndikiyingiza mu nnyumba y’omubbi ne mu nnyumba y’oyo alayiririra obwereere erinnya lyange. Era kirisigala mu nnyumba ye wakati, era kirigizikiriza yonna, emiti gyayo n’amayinja gaayo.’ ”
Okwolesebwa kw’Omukazi mu Kisero
5 Malayika eyali ayogera nange n’akomawo n’aŋŋamba nti, “Yimusa amaaso go olabe, waliwo ekintu ekirala ekizze.”
6 Ne mubuuza nti, “Kiki ekyo?”
N’anziramu nti, “Ekyo kisero, kye kifuluma.” Era n’ayongerako nti, “Ekyo kye kifaananyi ekiraga ekibi ekibunye ensi yonna.”
7 Awo ekibikka kyakyo, ekyuma eky’essasi ne kibikkulwa era ne ndaba omukazi ng’akituddemu. 8 (D)Malayika n’aŋŋamba nti, “Buno bwe bwonoonyi.” N’amusindika n’amuzza munda mu kisero, n’aggalawo omumwa gwakyo n’ekisaanikira eky’ekyuma eky’essasi.
9 (E)Ne ndyoka nnyimusa amaaso gange, era laba, abakazi babiri nga bajja gye ndi, baali batambulira mu bbanga nga bakozesa empewo mu biwaawaatiro byabwe. Era ebiwaawaatiro byabwe nga biri ng’ebya kalooli, ne basitula ekisero mu bbanga wakati w’ensi n’eggulu.
10 Ne mbuuza malayika eyali ayogera nange nti, “Abo ekisero bakitwala wa?”
11 (F)N’anziramu nti, “Mu nsi ya Sinaali ey’e Babulooni, okuzimba ennyumba y’omukazi ali mu kisero, era ennyumba ye bw’eriggwa, aliteekebwa eyo mu kifo kye.”
Omukazi Eyakwatibwa ng’Ayenda
8 (A)Awo Yesu n’alaga ku lusozi olwa Zeyituuni. 2 (B)Ku makya ennyo n’akomawo mu Yeekaalu, abantu bonna ne bajja gy’ali, n’atuula n’abayigiriza. 3 Awo abannyonnyozi b’amateeka n’Abafalisaayo ne baleeta omukazi gwe baakwata ng’ayenda, ne bamuteeka wakati mu maaso g’ekibiina. 4 Ne bagamba Yesu nti, “Omuyigiriza, omukazi ono akwatibbwa ng’ayenda. 5 (C)Amateeka Musa ge yatulagira gagamba kubakuba mayinja abali ng’ono. Noolwekyo ggwe ogamba otya ku nsonga eyo?” 6 (D)Ekyo baakyogera nga bamugezesa, bafune kye banaasinziirako okumuwawaabira.
Naye Yesu n’akutama n’awandiika ku ttaka n’olunwe. 7 (E)Bwe beeyongera okumubuuza, n’akutaamulukuka, n’agamba nti, “Mu mmwe atayonoonangako y’aba asooka okumukuba ejjinja.” 8 N’addamu okukutama, era n’awandiika ku ttaka n’olunwe. 9 Bwe baawulira ebyo, ne baseebulukuka kinnoomu, abasinga obukulu nga be basoose, okutuusa Yesu n’omukazi bwe baasigalawo bokka mu maaso g’ekibiina. 10 Awo Yesu n’akutaamulukuka ate, n’abuuza omukazi nti, “Abakuwawaabira baluwa?”
11 (F)Omukazi n’amuddamu nti, “Mukama wange, tewali n’omu.”
Yesu n’amugamba nti, “Nange sikusalira musango kukusinga. Genda, naye toddangayo okwonoona.”
Yesu gwe Musana gw’Ensi
12 (G)Awo Yesu n’ayongera okwogera n’ekibiina, n’agamba nti, “Nze Musana gw’ensi. Angoberera taatambulirenga mu kizikiza, wabula anaabeeranga n’omusana ogw’obulamu.”
13 (H)Abafalisaayo ne bamugamba nti, “Weeyogerako naye by’oyogera bya bulimba.”
14 (I)Yesu n’abaddamu nti, “Newaakubadde neeyogerako, bye njogera bituufu, kubanga mmanyi gye nava ne gye ndaga. Naye mmwe temumanyi gye nva wadde gye ndaga. 15 (J)Mmwe musala omusango ng’abantu obuntu. Nze siriiko gwe nsalira musango. 16 (K)Naye singa mbadde nsala omusango, ensala yange ya mazima, kubanga siri nzekka, naye ndi ne Kitange eyantuma. 17 (L)Amateeka gammwe gagamba nti ssinga abajulirwa babiri bakkiriziganya ku kintu, obujulirwa bwabwe buba bwa mazima. 18 (M)Kale Nze nneyogerako era n’oyo eyantuma ategeeza ebyange.”
19 (N)Awo ne bamubuuza nti, “Kitaawo ali ludda wa?” Yesu n’abaddamu nti, “Nze temuntegeera ne Kitange temumutegeera. Singa muntegeera ne Kitange mwandimutegedde.”
20 (O)Ebigambo ebyo Yesu yabyogerera mu kifo omuteekebwa ebirabo, bwe yali ng’ayigiriza mu Yeekaalu. Naye ne wataba amukwata, kubanga ekiseera kye kyali tekinnatuuka. 21 (P)Awo Yesu ne yeeyongera, n’abagamba nate nti, “Nze ŋŋenda, mulinnoonya, naye mulifiira mu bibi byammwe. Gye ŋŋenda mmwe temuyinza kujjayo.”
22 Awo Abayudaaya ne bagamba nti, “Agenda kwetta kyava agamba nti, ‘Nze gye ndaga, mmwe temuyinza kujjayo?’ ” 23 (Q)Yesu n’abagamba nti, “Mmwe muli ba ku nsi, naye Nze ndi wa mu ggulu. Mmwe muli ba ku nsi kuno, Nze siri wa ku nsi kuno. 24 (R)Kyenvudde mbagamba nti mulifiira mu bibi byammwe, kubanga bwe mutakkiriza nti nze wuuyo, Omwana wa Katonda, mulifiira mu bibi byammwe.”
25 Ne bamubuuza nti, “Ggwe ani?”
Yesu n’abaddamu nti, “Lwaki mbategeeza? 26 (S)Nnina bingi eby’okuboogerako n’okubasalira omusango okubasinga, kyokka eyantuma wa mazima, era ebyo bye nawulira okuva gy’ali bye ntegeeza ensi.”
27 Kyokka tebaategeera Kitaawe gw’ayogerako. 28 (T)Awo Yesu n’abagamba nti, “Bwe mulimala okuwanika Omwana w’Omuntu ne mulyoka mutegeera nti nze wuuyo, era siriiko kye nkola ku bwange, naye njogera ebyo Kitange bye yanjigiriza. 29 (U)Era oyo eyantuma ali nange, tandekanga bw’omu, kubanga bulijjo nkola by’ayagala.” 30 (V)Yesu bwe yayogera ebigambo ebyo bangi ne bamukkiriza.
Abaana ba Ibulayimu
31 (W)Awo Yesu n’agamba Abayudaaya abaamukkiriza nti, “Bwe munywerera ku kigambo kyange muba bayigirizwa bange ddala. 32 (X)Era mulitegeera amazima, n’amazima galibafuula ba ddembe.” 33 (Y)Ne bamuddamu nti, “Ffe tuli bazzukulu ba Ibulayimu, tetubangako baddu ba muntu n’omu. Oyinza otya okugamba nti, ‘Mulifuuka ba ddembe?’ ”
34 (Z)Yesu n’abaddamu nti, “Ddala ddala mbagamba nti buli akola ekibi aba muddu wa kibi. 35 (AA)Omuddu taba wa lubeerera mu maka, naye omwana ye, aba waamu ennaku zonna. 36 Kale, Omwana bw’alibafuula ab’eddembe, mulibeerera ddala ba ddembe. 37 (AB)Weewaawo ntegeera nga muli bazzukulu ba Ibulayimu, naye ate abamu ku mmwe musala amagezi okunzita, kubanga ekigambo kyange temukikkiriza. 38 (AC)Nze mbategeeza ebyo Kitange bye yandaga, nammwe mukola ebyo kitammwe bye yababuulira.” 39 (AD)Ne bamuddamu nti, “Kitaffe ye Ibulayimu.” Yesu n’abaddamu nti, “Singa mubadde baana ba Ibulayimu mwandikoze ebyo Ibulayimu bye yakola. 40 (AE)Naye kaakano, Nze ababuulidde ebyo byennyini bye nawulira okuva eri Katonda musala amagezi okunzita. Ekifaanana ng’ekyo Ibulayimu teyakikola. 41 (AF)Mukola emirimu gya kitammwe.”
Ne bamuddamu nti, “Ffe tetwazaalibwa mu bwenzi, Kitaffe gwe tulina ali omu, ye Katonda.”
42 (AG)Yesu n’abagamba nti, “Singa Katonda ye Kitammwe mwandinjagadde, kubanga nava gy’ali okujja gye muli, sajja ku bwange wabula ye yantuma. 43 Lwaki temutegeera bye njogera? Kubanga temwagala kuwulira bigambo byange. 44 (AH)Kubanga Setaani ye kitammwe era nammwe mwagala okukola ebyo kitammwe by’ayagala. Okuva ku lubereberye mutemu era tanywerera mu mazima, era mu ye temuli mazima. Bw’ayogera eby’obulimba ayogera ebiva mu bibye, kubanga mulimba era kitaawe w’abalimba. 45 (AI)Naye kubanga njogera mazima kyemuva mutanzikiriza. 46 Ani mu mmwe annumiriza ekibi? Bwe njogera amazima, kiki ekibagaana okunzikiriza? 47 (AJ)Buli muntu wa Katonda awulira ebigambo bya Katonda. Naye mmwe temuwulira kubanga temuli ba Katonda.”
48 (AK)Awo Abayudaaya ne baddamu Yesu nti, “Tetuli batuufu okugamba nti oli Musamaliya, era oliko dayimooni?”
49 Yesu n’abaddamu nti, “Nze siriiko dayimooni, naye nzisaamu Kitange ekitiibwa naye mmwe temunzisaamu kitiibwa. 50 (AL)Naye Nze sinoonya kussibwamu kitiibwa, waliwo omu ye akisaanira era y’alamula. 51 (AM)Ddala ddala mbagamba nti, Buli anywerera ku kigambo kyange talifa emirembe n’emirembe.”
52 Awo Abayudaaya ne bamuddamu nti, “Kaakano tutegeeredde ddala nti oliko dayimooni. Ibulayimu yafa era ne bannabbi baafa, ate ggwe ogamba nti, ‘Buli anywerera ku kigambo kyange talifa emirembe n’emirembe.’ 53 (AN)Ggwe mukulu okukira jjajjaffe Ibulayimu eyafa? Bannabbi nabo baafa. Ggwe weeyita ani?”
54 (AO)Yesu n’addamu nti, “Singa Nze neegulumiza okwegulumiza kwange tekubaamu nsa, angulumiza ye Kitange mmwe gwe muyita Katonda wammwe, 55 (AP)mmwe temumumanyi. Nze mmumanyi. Bwe ŋŋamba nti simumanyi mba mulimba nga mmwe bwe muli. Nze mmumanyi era n’ekigambo kye nkikuuma. 56 (AQ)Kitammwe Ibulayimu yasanyuka okulaba olunaku lwange. Yamanya nti nzija era ne kimusanyusa.”
57 Abayudaaya ne bamugamba nti, “Tonnaweza na myaka amakumi ataano egy’obukulu n’ogamba nti walaba Ibulayimu?”
58 (AR)Yesu n’abaddamu nti, “Ddala ddala mbagamba nti Ibulayimu yali tannabaawo, Nze nga wendi.” 59 (AS)Awo ne bakwata amayinja okumukuba, kyokka Yesu ne yeekweka n’afuluma mu Yeekaalu.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.