Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

M’Cheyne Bible Reading Plan

The classic M'Cheyne plan--read the Old Testament, New Testament, and Psalms or Gospels every day.
Duration: 365 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
2 Ebyomumirembe 22-23

Akaziya Kabaka wa Yuda

22 (A)Abantu ab’omu Yerusaalemi ne bafuula Akaziya, mutabani wa Yekolaamu omuggalanda, kabaka, kubanga abasajja abanyazi abajja n’Abawalabu baali bamaze okutta abaana be bonna abakulu. Awo Akaziya mutabani wa Yekolaamu n’atandika okufuga Yuda. Akaziya yalina emyaka amakumi ana mu ebiri bwe yatandika okufuga, era n’afugira omwaka gumu mu Yerusaalemi. Erinnya lya nnyina yali Asaliya, muzzukulu wa Omuli.

(B)Ne Akaziya n’atambulira mu makubo ag’ennyumba ya Akabu, kubanga nnyina yamupikirizanga okukola ebibi. N’akola ebibi mu maaso ga Mukama, ng’ennyumba ya Akabu bwe yakola, kubanga oluvannyuma olw’okufa kwa kitaawe be baamuwabyanga, okukola ebikyamu. (C)Era naye yagobereranga ebirowoozo byabwe, era n’agenda ne Yekolaamu, mutabani wa Akabu kabaka wa Isirayiri okutabaala Kazayeeri kabaka w’e Busuuli e Lamosugireyaadi. Abasuuli ne bafumita Yolaamu ebiwundu (D)era n’addayo e Yezuleeri okujjanjabibwa ebiwundu bye yali afunidde e Laama, bwe yali ng’alwana ne Kazayeeri kabaka w’e Busuuli. Awo Akaziya mutabani wa Yekolaamu kabaka wa Yuda n’agenda okulaba ku Yolaamu mutabani wa Akabu olw’ebisago ebyali bimutuusibbwako.

(E)Naye kyali kyategekebwa Katonda, nti okugwa kwa Akaziya kulimutuukako ng’akyalidde Yolaamu. Awo Akaziya bwe yatuuka eyo, n’agenda ne Yolaamu okusisinkana Yeeku mutabani wa Nimusu, Mukama gwe yali afuseeko amafuta okuzikiriza ennyumba ya Akabu. (F)Awo Yeeku bwe yali ng’asalira ennyumba ya Akabu omusango, n’asanga abakungu ba Yuda, ne batabani ba baganda ba Akaziya, abaaweerezanga Akaziya, n’abatta. (G)N’oluvannyuma n’anoonya Akaziya, era abasajja be ne bamuwambira e Samaliya gye yali yeekwese, n’aleetebwa ewa Yeeku n’attibwa. Ne bamuziika nga boogera nti, “Ono ye muzzukulu wa Yekosafaati, eyanoonya Mukama, n’omutima gwe gwonna.” Era mu nnyumba ya Akaziya ne wataba n’omu eyayinza okusikira obwakabaka.

Asaliya ne Yowaasi

10 Awo Asaliya, nnyina Akaziya bwe yalaba nga mutabani we afudde, n’asitula olutalo era n’azikiriza ennyumba yonna ey’obwakabaka bwa Yuda. 11 Naye Yekosabeyaasi, muwala wa kabaka Yekolaamu, n’abba Yowaasi mutabani wa Akaziya okuva mu balangira abaali bagenda okuttibwa, n’amukweka ye n’omukozi we mu kimu ku bisenge. Awo Yekosabeyaasi muwala wa kabaka Yekolaamu, ate nga ye yali mukyala wa Yekoyaada kabona, n’akweka omwana, Asaliya aleme okumutta. Yekosabeyaasi, yali mwannyina Akaziya. 12 Omwana n’akwekebwa okumala emyaka mukaaga mu nnyumba ya Katonda, nga Asaliya y’afuga ensi.

23 Naye mu mwaka ogw’omusanvu Yekoyaada n’alaga obuyinza bwe. N’akola endagaano n’abaduumizi ab’ebibinja eby’ekikumi, era baali Azaliya mutabani wa Yekokamu, ne Isimayiri mutabani wa Yekokanani, ne Azaliya mutabani wa Obedi, ne Maaseya mutabani wa Adaya, ne Erisafaati mutabani wa Zikuli. (H)Ne bagenda mu Yuda yonna ne bakuŋŋaanya Abaleevi n’abakulembeze b’ennyumba za bajjajja ba Isirayiri okuva mu bibuga byonna ebya Yuda ne bajja e Yerusaalemi. (I)Ekibiina kyonna ne bakola endagaano ne kabaka mu yeekaalu ya Katonda.

Awo Yekoyaada n’abagamba nti, “Mutabani wa kabaka y’alifuga, nga Mukama bwe yasuubiza bazzukulu ba Dawudi. Era bwe muti bwe munaakola: kimu kya kusatu ku mmwe bakabona n’Abaleevi abanaaberanga ku luwalo ku ssabbiiti munaakuumanga wankaaki, ate kimu kya kusatu ekirala munaakuumanga olubiri lwa kabaka, n’ekimu kya kusatu ekirala munaakuumanga Omulyango ogw’Omusingi, n’abantu abalala bonna banaabeeranga mu luggya olwa yeekaalu ya Mukama. (J)Tewabanga n’omu ayingira mu yeekaalu ya Mukama wabula bakabona, n’Abaleevi abanaabeeranga mu luwalo; abo banaayingiranga kubanga batukuvu, naye abantu abalala bonna banaagobereranga ekyo Mukama kye yalagira. Abaleevi banaayimiriranga okwetooloola kabaka, buli omu ku bo ng’akutte ebyokulwanyisa bye mu mukono gwe, na buli anaayingiranga mu yeekaalu wa kuttibwa. Mubeere kumpi nnyo ne kabaka, buli gy’anaalaganga.”

(K)Abaleevi n’abantu bonna aba Yuda ne bakola nga Yekoyaada kabona bwe yalagira. Buli omu ku bo n’atwala abasajja be, abo abaali mu luwalo ku Ssabbiiti, wamu n’abo abaali bamaliriza olwabwe, kubanga Yekoyaada kabona yali tannabagaba mu mpalo. N’awa abaduumizi ab’ekikumi amafumu, n’engabo ennene, n’engabo entono, ebyali ebya Kabaka Dawudi, ebyabeeranga mu yeekaalu ya Katonda. 10 Era n’ateekateeka buli musajja okuba omukuumi wa kabaka, nga buli omu ku bo akutte ekyokulwanyisa mu mukono gwe, nga beetoolodde kabaka, n’okwetooloola ekyoto ne yeekaalu, okuva mu bukiikaddyo, okutuuka ku bukiikakkono obwa yeekaalu.

11 (L)Awo Yekoyaada ne batabani be ne bafulumya mutabani wa kabaka ne bamutikkira engule ey’obwakabaka, ne bakola endagaano, era ne bamulangirira okuba kabaka. Ne bamufukako amafuta, ne boogera mu ddoboozi ery’omwanguka nti, “Wangaala kabaka!”

12 Naye Asaliya bwe yawulira oluyoogaano lw’abantu nga badduka era nga batendereza kabaka, n’agenda gye bali mu yeekaalu ya Mukama. 13 (M)N’atunula, laba, kabaka ng’ayimiridde okuliraana empagi ye ku mulyango, n’abakungu n’abafuuwa amakondeere nga bayimiridde okumwetooloola, era nga n’abantu bonna ab’ensi nga basanyuka nga bafuuwa n’amakondeere, n’abayimbi nga bakutte ebivuga byabwe nga bakulembedde okujaguza. Awo Asaliya n’ayuza ebyambalo bye, n’aleekaanira waggulu nti, “Bujeemu! Bujeemu!”

14 Yekoyaada kabona n’atuma abaduumizi ab’ebibinja eby’ekikumi, abaavunaanyizibwanga eggye, n’abagamba nti, “Mumufulumye mumuteeke wakati w’enyiriri, mutte n’ekitala omuntu yenna anaamugoberera.” Kabona yali ayogedde nti, “Temumuttira mu yeekaalu ya Mukama.” 15 (N)Bwe yali ng’anaatera okutuuka ku mulyango ogw’embalaasi mu luggya olwokubiri, ne bamukwata ne bamuttira eyo.

16 (O)Awo Yekoyaada n’akola endagaano wakati we n’abantu bonna era ne kabaka, nti baliba bantu ba Mukama. 17 (P)Abantu bonna ne bagenda mu ssabo lya Baali ne balimenyaamenya, ne bamenyaamenya n’ebyoto bye n’ebifaananyi bye, era ne battira ne Matani kabona wa Baali mu maaso g’ebyoto bya Baali.

18 (Q)Awo Yekoyaada n’assaawo abanaalabiriranga yeekaalu ya Mukama, era n’alonda bakabona n’Abaleevi Dawudi be yali awadde obuvunaanyizibwa obw’okuwangayo ebiweebwayo ebyokebwa eri Mukama, nga bwe kyawandiikibwa mu mateeka ga Musa, nga bajaguza era nga bayimba, nga Dawudi bwe yalagira. 19 (R)N’ateeka n’abaggazi ku wankaaki za yeekaalu ya Mukama, waleme okubaawo omuntu yenna atali mulongoofu ayingira.

20 (S)N’agenda n’abaduumizi ab’ekikumi, n’abakungu, n’abafuzi b’abantu, n’abantu bonna ab’eggwanga, ne baggya kabaka mu yeekaalu ya Mukama, ne bayita mu wankaaki ow’ekyengulu ne balaga mu lubiri lwa kabaka. Ne batuuza kabaka ku ntebe ye ey’obwakabaka. 21 (T)Abantu bonna ab’ensi ne bajaguza, n’ekibuga ne kitereera, kubanga Asaliya yali attiddwa n’ekitala.

Okubikkulirwa 10

Malayika n’Omuzingo gw’Ekitabo Omutono

10 (A)Ne ndaba malayika omulala ow’amaanyi ng’akka okuva mu ggulu nga yeetooloddwa ekire, ng’ayambadde musoke ku mutwe gwe; amaaso ge nga gaakaayakana ng’enjuba ate ebigere bye nga byaka ng’omuliro. Yali alina mu ngalo ze omuzingo gw’ekitabo omutono ng’agwanjuluzza, n’ateeka ekigere kye ekya ddyo ku nnyanja ate ekya kkono n’akiteeka ku lukalu. (B)N’aleekaana mu ddoboozi ery’omwanguka nga liri ng’okuwuluguma kw’empologoma. Ne wabaawo n’okubwatuka kwa mirundi musanvu olw’eddoboozi eryo. (C)Ebibwatuka omusanvu bwe byayogera, nnali n’atera okuwandiika, ne mpulira eddoboozi eryava mu ggulu nga ligamba nti, “Teeka akabonero ku ebyo ebibwatuka omusanvu bye byogedde, so tobiwandiika.”

(D)Awo malayika gwe nalaba ng’ayimiridde ku nnyanja ne ku lukalu n’ayimusa omukono gwe ogwa ddyo eri eggulu, (E)n’alayira Oyo omulamu abeerera emirembe gyonna, eyatonda eggulu n’ebintu byonna ebirimu, n’atonda n’ensi n’ebintu byonna ebigirimu, n’atonda n’ennyanja ne byonna ebigirimu, ng’agamba nti, “Tewaliba kulwa nate. (F)Naye mu nnaku ez’eddoboozi lya malayika ow’omusanvu, bw’aliba anaatera okufuuwa ekkondeere, ekyama kya Katonda kiribikkulwa, nga bwe yabuulira abaddu be, bannabbi.”

(G)Eddoboozi lye nnawulira nga liva mu ggulu, ne liddamu ne liŋŋamba nti, “Twala omuzingo gw’ekitabo nga mubikkule okuva mu mukono gwa malayika ayimiridde ku nnyanja ne ku lukalu.”

(H)Ne ŋŋenda eri malayika ne mugamba ampe omuzingo gw’ekitabo ogwo omutono. N’aŋŋamba nti, “Gutwale ogulye; mu kamwa ko guliwoomerera ng’omubisi gw’enjuki, naye guligulumbya olubuto lwo.” 10 Ne nziggya omuzingo ogwo omutono mu mukono gwa malayika ne ngulya, ne gumpomera ng’omubisi gw’enjuki, naye bwe nagumira ne gugulumbya olubuto lwange. 11 (I)Ne baŋŋamba nti, “Kikugwanidde okuwa obunnabbi nate ku mawanga, n’ensi, n’ennimi ne bakabaka bangi.”

Zekkaliya 6

Okwolesebwa kw’Amagaali Ana

(A)Ne nyongera okuyimusa amaaso gange, era laba, amagaali g’embalaasi ana nga gava wakati w’ensozi bbiri, n’ensozi ezo zaali nsozi za bikomo. (B)Eggaali esooka ng’esikibwa embalaasi za lukunyu, eyookubiri nga nzirugavu. (C)Eggaali eyokusatu ng’esikibwa mbalaasi njeru, eyokuna yo ng’esikibwa za kikuusikuusi atabikiddwamu n’obwoya obweru. Embalaasi ezo zonna zaali z’amaanyi. Ne ndyoka mbuuza malayika eyali ayogera nange nti, “Bino bitegeeza ki mukama wange?”

(D)Malayika n’anziramu nti, “Ezo z’empewo ennya ez’omu ggulu; ziva kweyanjula mu maaso ga Mukama ow’ensi yonna. Ekigaali eky’embalaasi enzirugavu kigenda mu nsi ey’omu bukiikakkono, ate ekyo eky’enjeru mu bugwanjuba, ekyo ekyali kisikibwa embalaasi ez’obwoya obweru, kiraga mu nsi ey’omu bukiikaddyo.”

(E)Awo embalaasi ezo ez’amaanyi nga zivudde mu maaso ga Mukama, ne zifuba okutambulatambula mu nsi yonna; n’azigamba nti, “Mugende, mutambuletambule mu nsi yonna.” Awo ne zitambulatambula mu nsi yonna. (F)Awo n’ampita n’aŋŋamba nti, “Laba, ezo eziraga mu nsi ey’obukiikakkono ziwummuzza Omwoyo wange mu nsi ey’omu bukiikakkono.”

Ekigambo kya Mukama ne kijja gye ndi nga kigamba nti, 10 (G)“Genda eri bano: Kerudayi, ne Tobiya, ne Yedaya, abaakomawo okuva mu buwaŋŋanguse mu Babulooni, olunaku olwo lwennyini olage mu nnyumba ya Yosiya, mutabani wa Zeffaniya, mwe bali. 11 (H)Ddira effeeza ne zaabu okole engule ogitikkire ku mutwe gwa Yoswa, kabona asinga obukulu, omwana wa Yekozadaaki. 12 (I)Mugambe nti, bw’ati bw’ayogera Mukama ow’Eggye nti, ‘Laba omuntu erinnya lye ye Ttabi; alirokera mu kifo kye, azimbe yeekaalu ya Mukama. 13 (J)Oyo y’alizimba yeekaalu ya Mukama, era alijjula ekitiibwa. Alituula ku ntebe ye ey’obwakabaka, n’afuga. Era y’aliba Kabona ku ntebe ye ey’obwakabaka; walibaawo okutegeeragana okw’emirembe wakati wa Ttabi ne Yoswa.’ 14 Era n’engule ya kubeera mu yeekaalu ya Mukama ng’ekijjukizo eri Keremu, ne Tobiya ne Keeni omwana wa Zeffaniya. 15 (K)Era n’abo abali ewala balijja okuyamba okuzimba yeekaalu ya Mukama, era mulimanya nga Mukama ow’Eggye yantuma gye muli. Bino tebirirema kubaawo singa munaagondera eddoboozi lya Mukama Katonda wammwe n’obumalirivu.”

Yokaana 9

Yesu Awonya Omuzibe w’Amaaso

Awo Yesu bwe yali ng’atambula, n’alaba omusajja eyazaalibwa nga muzibe w’amaaso. (A)Abayigirizwa be ne bamubuuza nti, “Labbi, ani eyayonoona, ono oba bazadde be alyoke azaalibwe nga muzibe w’amaaso?”

(B)Yesu n’addamu nti, “Ku bonna omusajja ono newaakubadde bazadde be tekuliiko yayonoona, wabula kino kyabaawo emirimu gya Katonda girabikire ku ye. (C)Kale kitugwanidde okukola emirimu gy’oyo eyantuma, obudde nga bukyali misana. Ekiro kijja omuntu mw’atasobolera kukola. (D)Kyokka Nze bwe mbeera mu nsi mba musana gwa nsi.”

(E)Yesu bwe yamala okwogera bw’atyo, n’awanda amalusu ku ttaka n’atabula, n’alisiiga ku maaso g’omusajja oyo. (F)N’amugamba nti, “Genda onaabe mu kidiba kya Sirowamu,” amakulu nti, “Eyatumibwa”. Awo omusajja n’agenda, n’anaaba, n’adda ng’alaba.

(G)Baliraanwa b’oyo eyawonyezebwa era n’abalala abaali bamumanyi nga muzibe w’amaaso, asabiriza, ne beebuuzaganya nti, “Ono si ye musajja oli eyatuulanga wali ng’asabiriza?” Abamu ne bagamba nti, “Ye ye,” abalala ne bagamba nti, “Nedda, anaamufaanana bufaananyi.” Kyokka ye n’abagamba nti, “Ye nze ddala.” 10 Bo kwe ku mubuuza nti, “Kale amaaso go gaazibuse gatya?” 11 (H)N’abategeeza nti, “Omuntu ayitibwa Yesu, yatabula ettaka n’alinsiiga ku maaso, n’andagira nti, ‘Genda e Sirowamu onaabe.’ Ne ŋŋenda ne naaba, ne nsobola okulaba.”

12 Ne bamubuuza nti, “Ali ludda wa?” N’addamu nti, “Simanyi.”

Abafalisaayo Bakemekkereza Eyawonyezebwa

13 Awo ne batwala omusajja eyali omuzibe w’amaaso eri Abafalisaayo. 14 (I)Olunaku olwo Yesu lwe yatabulirako ettaka n’azibula omusajja oyo amaaso, lwali lwa Ssabbiiti. 15 (J)Abafalisaayo nabo ne babuuza omuntu oyo engeri gye yazibuka amaaso. Awo n’ababuulira ng’agamba nti, “Yesu yatabula ettaka n’alinsiiga ku maaso, ne naaba, kaakano ndaba.”

16 (K)Abamu ku bo ne bagamba nti, “Omusajja oyo Yesu teyava wa Katonda kubanga takwata Ssabbiiti.” Kyokka abalala ne bagamba nti, “Omuntu omwonoonyi ayinza atya okukola eby’amagero ebifaanana bwe bityo?” Ne wabaawo okwawukana kunene mu bo.

17 (L)Awo Abafalisaayo ne bakyukira omusajja eyali omuzibe w’amaaso ne bamubuuza nti, “Omuntu oyo eyakuzibula amaaso olowooza wa ngeri ki?”

Omusajja n’addamu nti, “Ndowooza nnabbi.”

18 (M)Ne batakkiriza nti omusajja oyo yali muzibe, okutuusa lwe baayita abazadde be, 19 ne bababuuza nti, “Ono mutabani wammwe? Era yazaalibwa nga muzibe wa maaso? Kale obanga bwe kiri kaakano asobola atya okulaba?”

20 Bakadde be ne baddamu nti, “Tumanyi ng’oyo ye mutabani waffe era nga yazaalibwa muzibe wa maaso. 21 Naye engeri gye yazibukamu amaaso tetugimanyi, era n’eyamuzibula amaaso tetumumanyi. Wuuyo musajja mukulu mumwebuulize ajja kweyogerera.” 22 (N)Ekyaboogeza batyo lwa kutya Bayudaaya. Kubanga Abayudaaya baali bamaze okuteesa nti buli ayatula nti Yesu ye Kristo agobebwe mu kuŋŋaaniro. 23 (O)Ekyo kye kyaboogeza nti, “Wuuyo musajja mukulu mumwebuulize.”

24 (P)Awo ate ne bongera okuyita omusajja eyali omuzibe w’amaaso ne bamugamba nti, “Gulumiza Katonda, kubanga tumanyi omusajja oyo mwonoonyi.”

25 Omusajja n’addamu nti, “Oba mwonoonyi oba si mwonoonyi simanyi, wabula kye mmanyi kiri kimu nti nnali muzibe w’amaaso, naye kaakano ndaba.”

26 Kyebaava bamubuuza nti, “Kiki kye yakola? Amaaso yagazibula atya?”

27 (Q)Omusajja n’addamu nti, “Nabategeezezza dda ne mutawuliriza. Lwaki ate mwagala mbaddiremu? Nammwe mwagala kufuuka bayigirizwa be?” 28 (R)Ne bamuvuma ne bamugamba nti, “Ggwe oli muyigirizwa we. Naye ffe tuli bayigirizwa ba Musa. 29 (S)Ffe tumanyi nga Katonda yayogera ne Musa, naye oyo tetumanyi gy’ava.”

30 Ye n’addamu nti, “Kino kitalo, mmwe obutamanya gye yava ate nga nze yanzibula amaaso. 31 (T)Tumanyi nti Katonda tawulira balina bibi, naye awulira abo abamutya era abakola by’ayagala. 32 Ensi kasookedde ebaawo tewalabikangawo yali azibudde maaso ga muntu eyazaalibwa nga muzibe wa maaso. 33 (U)Kale omuntu ono eyanzibula amaaso singa teyava wa Katonda ekyo teyandikisobodde.”

34 (V)Awo ne bamuboggolera nga bagamba nti, “Ggwe eyazaalirwa mu bibi, ggw’oyigiriza ffe?” Ne bamusindika ebweru.

Obuzibe bw’Amaaso ag’Omwoyo

35 Yesu n’ategeera nga bamusindise ebweru. Bwe yamusanga n’amugamba nti, “Ggwe okkiriza Omwana w’Omuntu?”

36 (W)Omusajja n’amubuuza nti, “Ssebo, y’aluwa mmukkirize?”

37 (X)Yesu n’amugamba nti, “Omulabye, ye wuuyo ayogera naawe.”

38 (Y)Omusajja n’agamba nti, “Mukama wange, nzikiriza!” N’amusinza.

39 (Z)Awo Yesu n’agamba nti, “Najja mu nsi okusala omusango, abatalaba balabe, ate naabo abalaba babe bazibe ba maaso.”

40 (AA)Abamu ku Bafalisaayo abaali bayimiridde awo bwe baawulira ebigambo ebyo ne bamubuuza nti, “Ky’ogamba nti naffe tuli bazibe ba maaso?”

41 (AB)Yesu n’abaddamu nti, “Singa mubadde bazibe ba maaso, temwandibadde na kibi. Naye kubanga mugamba nti tulaba, ekibi kyammwe kyekiva kibasigalako.”

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.