M’Cheyne Bible Reading Plan
Amaziya Kabaka wa Yuda
25 Amaziya yalina emyaka amakumi abiri mu etaano we yafuukira kabaka, era n’afugira emyaka amakumi abiri mu mwenda mu Yerusaalemi. Nnyina ye yali Yekoyadaani ow’e Yerusaalemi. 2 (A)N’akola ebirungi mu maaso ga Mukama, naye si na mutima ogutuukiridde. 3 Obwakabaka bwe bwanywezebwa mu buyinza bwe, n’atta abakungu abatta kabaka kitaawe. 4 (B)Naye n’atatta baana baabwe, wabula n’akola ng’etteeka mu kitabo kya Musa, Mukama we yalagira nti, “Abazadde tebattibwenga olw’ekibi ky’abaana baabwe, so n’abaana tebattibwenga olw’ekibi ky’abazadde baabwe, naye buli muntu anaafanga olw’ekibi kye ye.”
5 (C)Amaziya n’akuŋŋaanya abasajja ba Yuda, n’abategeka mu nnyiriri z’ennyumba zaabwe, nga baduumirwa ab’enkumi n’ab’ebikumi mu Yuda yonna ne mu Benyamini. N’oluvannyuma n’abala abo abaalina emyaka amakumi abiri n’okusingawo, ne baba abasajja emitwalo amakumi asatu, abaali basobola okugenda mu lutalo, era nga bayinza n’okukwata effumu n’ekitala. 6 Ate era n’agulayo n’abasajja abalala ab’amaanyi nga bazira emitwalo kkumi okuva mu Isirayiri, olwa ttani ssatu ne bisatu byakuna ebya ffeeza.
7 (D)Naye ne wabaawo omusajja wa Katonda eyagenda gy’ali n’amugamba nti, “Ayi kabaka, tokkiriza eggye lya Isirayiri okugenda naawe, kubanga Mukama tali wamu ne Isirayiri, talina n’omu gwali naye ku bantu ba Efulayimu. 8 (E)Ate ne bw’onoogenda ng’olowooza nti oli muzira nnyo mu ntalo, Katonda alikuwaayo mu maaso g’omulabe, kubanga Katonda alina obuyinza okuyamba, n’okulekerera.”
9 (F)Awo Amaziya n’abuuza omusajja wa Katonda nti, “Naye tunaakola tutya ku bya ttani esatu n’ebisatu byakuna ebya ffeeza ze nasasula eggye lya Isirayiri?” Omusajja wa Katonda n’addamu nti, “Mukama ayinziza ddala okukuwa n’ebisinga ku ebyo.”
10 (G)Awo Amaziya n’alagira eggye eryali lizze gy’ali okuva mu Efulayimu okuddayo ewaabwe waalyo. Ne banyiigira nnyo Yuda, era ne baddayo ewaabwe nga banyiize nnyo.
11 Amaziya ne yeefungiza, n’akulembera abantu be, n’agenda mu kiwonvu eky’omunnyo n’atta abasajja omutwalo gumu ab’e Seyiri. 12 (H)Eggye lya Yuda ne liwamba n’abasajja abalala omutwalo gumu nga balamu, ne babatwala waggulu ku lwazi, ne babasuula wansi okuva ku bbangabanga, ne basesebbuka ebifiififi.
13 Naye eggye liri Amaziya lye yasindika okuddayo, n’ataliganya kugenda naye mu lutalo; lyalumba ebibuga bya Yuda okuva e Samaliya okutuuka e Besukolooni, ne litta abantu enkumi ssatu ku bo, era ne litwala n’omunyago mungi. 14 (I)Awo Amaziya bwe yakomawo ng’amaze okutta Abayedomu, n’aleeta bakatonda b’abantu ab’e Seyiri, n’abassaawo nga bakatonda be, n’abasinzanga, era n’abaweerangayo ebiweebwayo ebyokebwa. 15 (J)Obusungu bwa Mukama kyebwava bubuubuukira ku Amaziya, n’amuweereza nnabbi, eyamutegeeza nti, “Lwaki ogoberera bakatonda b’abantu, abataayinza kulokola bantu baabwe mu mukono gwo?”
16 Naye bwe yali ng’akyayogera, kabaka n’amubuuza nti, “Twali tukulonze okuba omuwi wa magezi owa kabaka? Sirika! Lwaki onoonya okuttibwa?” Awo nnabbi nga tannasirika, n’ayogera kino nti, “Mmanyi nga Katonda amaliridde okukuzikiriza, kubanga tossizaayo mwoyo ku kubuulirira kwange.”
17 Awo Amaziya kabaka wa Yuda ne yeebuuza ku bawi b’amagezi be, n’aweereza obubaka eri Yowaasi mutabani wa Yekoyakaazi, muzzukulu wa Yeeku, kabaka wa Isirayiri, ng’agamba nti, “Jjangu tusisinkane amaaso n’amaaso.”
18 (K)Naye Yowaasi kabaka wa Isirayiri n’addamu Amaziya kabaka wa Yuda bw’ati nti, “Omwennyango ogwali mu Lebanooni gw’aweereza obubaka eri omuvule ogwali mu Lebanooni, nga gugamba nti, ‘Waayo muwala wo eri mutabani wange, amufumbirwe,’ naye ensolo ey’omu nsiko eyali mu Lebanooni, ng’eyitawo, n’erinnyirira omwennyango. 19 Weewaana nga bw’owangudde Edomu, era omutima gwo gujjudde okwegulumiza n’okwenyumiriza. Naye sigala ewuwo. Lwaki onoonya emitawaana, ne weeretera okugwa, ggwe ne Yuda?”
20 (L)Naye Amaziya n’atawuliriza, kubanga okuwangulwa abalabe baabwe kwava eri Katonda, kubanga bava ku Katonda waabwe ne banoonya bakatonda ba Edomu. 21 Awo Yowaasi kabaka wa Isirayiri n’alumba, ye ne Amaziya kabaka wa Yuda ne basisinkana amaaso n’amaaso mu lutalo e Besusemesi ekya Yuda. 22 Isirayiri n’awangula Yuda, buli muntu n’addukira ewuwe. 23 (M)Yowaasi kabaka wa Isirayiri n’awambira Amaziya kabaka wa Yuda mutabani wa Yowaasi, muzzukulu wa Yekoyakaazi e Besusemesi, n’amuleeta e Yerusaalemi. Yowaasi n’amenyaamenya n’ekitundu ekya bbugwe wa Yerusaalemi okuva ku mulyango gwa Efulayimu okutuuka ku Mulyango ogw’oku Nsonda, eyali mita kikumi mu kinaana obuwanvu. 24 (N)N’atwala ezaabu n’effeeza yonna, n’ebintu ebirala byonna ebyali mu yeekaalu ya Katonda ebyali bikuumibwa Obededomu, wamu n’eby’obugagga eby’omu lubiri, n’abawambe, n’addayo e Samaliya.
25 Awo Amaziya mutabani wa Yowaasi kabaka wa Yuda n’awangaala emyaka emirala kkumi n’ettaano, oluvannyuma olw’okufa kwa Yowaasi mutabani wa Yekoyakaazi, kabaka wa Isirayiri. 26 Ebyafaayo ebirala ebyabaawo mu mirembe gya Amaziya, okuva ku ntandikwa okutuuka ku nkomerero, tebyawandiikibwa mu kitabo kya bassekabaka ba Yuda ne Isirayiri? 27 (O)Okuva mu kiseera, Amaziya lwe yakyuka okuva ku Mukama, baamusalira olukwe mu Yerusaalemi, n’addukira e Lakisi. Kyokka ne bamusindikira abasajja abaamugoberera okutuuka e Lakisi, era ne bamuttira eyo. 28 Omulambo gwe ne baguleetera ku mbalaasi, n’aziikibwa mu masiro ga bajjajjaabe mu kibuga kya Yuda.
Omukazi n’Ogusota
12 Ne wabaawo ekyewuunyo ekinene mu ggulu. Ne ndaba omukazi ng’ayambadde enjuba n’omwezi nga guli wansi wa bigere bye, ng’alina engule eyaliko emmunyeenye kkumi na bbiri ku mutwe gwe. 2 (A)Yali lubuto era ng’akaaba ng’alumwa okuzaala. 3 (B)Awo ne ndaba ekyewuunyo ekirala mu ggulu, era laba, ogusota ogumyufu nga gulina emitwe musanvu n’amayembe kkumi era nga ku mitwe egyo kuliko engule musanvu. 4 (C)Ku mukira gw’ogusota kwali kuwalulirwako ekitundu ekimu ekyokusatu eky’emmunyeenye zonna eziri waggulu mu ggulu, ne guzisuula wansi ku nsi. Ne guyimirira mu maaso g’omukazi oyo, anaatera okuzaala nga gulindirira okulya omwana we nga yaakazaalibwa. 5 (D)Omukazi n’azaala omwana owoobulenzi eyali agenda okufuga amawanga gonna n’omuggo ogw’ekyuma, amangwago n’akwakulibwa n’atwalibwa eri Katonda ku ntebe ye ey’obwakabaka. 6 (E)Omukazi n’addukira mu ddungu eyali ekifo Katonda gye yategeka okumulabirira okumala ennaku Lukumi mu bibiri mu nkaaga.
7 (F)Ne wabaawo olutalo mu ggulu. Mikayiri ne bamalayika ab’omu kibinja kye ne balwanyisa ogusota n’eggye lya bamalayika baagwo. 8 Ogusota ne guwangulwa era ne gusindiikirizibwa okuva mu ggulu. 9 (G)Ogusota ogwo ogw’amaanyi, era gwe gusota ogw’edda oguyitibwa Setaani Omulimba, alimba ensi yonna, ne gusuulibwa wansi ku nsi n’eggye lyagwo lyonna.
10 (H)Ne mpulira eddoboozi ery’omwanguka mu ggulu nga ligamba nti,
“Kaakano obulokozi bwa Katonda, n’amaanyi ge
n’obwakabaka bwa Katonda waffe
awamu n’obuyinza bwa Kristo we bizze.
Kubanga omuloopi eyaloopanga baganda baffe,
eri Katonda waffe emisana n’ekiro,
agobeddwa mu ggulu.
11 (I)Ne bamuwangula
olw’omusaayi gw’Omwana gw’Endiga,
n’olw’ekigambo eky’obujulirwa bwabwe,
ne bawaayo obulamu bwabwe
nga tebatya na kufa.
12 (J)Noolwekyo ssanyuka ggwe eggulu,
nammwe abalituulamu musanyuke.
Naye mmwe ensi n’ennyanja zibasanze,
kubanga Setaani asse gye muli
ng’alina obusungu bungi,
ng’amanyi nti asigazza akaseera katono.”
13 (K)Awo ogusota bwe gwalaba nga gusuuliddwa ku nsi ne guyigganya omukazi eyazaala omwana owoobulenzi. 14 (L)Naye omukazi n’aweebwa ebiwaawaatiro bibiri ebinene ng’eby’empungu okubuuka agende mu ddungu mu kifo ekyamuteekerwateekerwa, gy’alabiririrwa era gy’akuumibwa, ogusota ne gutamukola kabi okumala ekiseera n’ekitundu ky’ekiseera. 15 Ogusota ne guwandula amazzi mangi okuva mu kamwa kaagwo ne ganjaala ne gafuuka omugga nga galaga omukazi gye yali, nga gafuba okumuzikiriza. 16 Naye ettaka ne liyamba omukazi bwe lyayasama ne limira omugga ogwo ogwayanjaala. 17 (M)Awo ogusota, nga gwonna gujjudde obusungu bungi, ne gugenda okulumba abaana b’omukazi abalala, abo bonna abaali bakwata amateeka ga Katonda era nga bajulira Yesu. 18 Ne guyimirira ku lubalama lw’ennyanja.
Mukama Asuubiza Okuzzaawo Yerusaalemi
8 Ekigambo kya Mukama ow’Eggye ne kinzijira nate nti:
2 Bw’ati bw’ayogera Mukama ow’Eggye nti, “Nkwatirwa Sayuuni obuggya, obuggya obungi obw’ekitalo.”
3 (A)Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, “Ndikomawo mu Sayuuni, ndibeera wakati mu Yerusaalemi era Yerusaalemi kiriyitibwa ekibuga ekyesigwa, olusozi olwa Mukama ow’Eggye, Olusozi Olutukuvu.”
4 (B)Bw’ati bw’ayogera Mukama ow’Eggye nti, “Abakadde abasajja n’abakazi bajja kuddamu okutuula mu nguudo za Yerusaalemi, nga buli omu akutte omuggo, olw’obukadde. 5 (C)N’enguudo ez’ekibuga zirijjula abalenzi n’abawala nga bazannya.”
6 (D)Bw’ati bw’ayogera Mukama ow’Eggye nti, “Kirirabika ng’eky’ekitalo mu maaso g’abantu abo abaasigalawo mu nnaku ezo, naye nange gye ndi bwe kiriba?” bw’ayogera Mukama ow’Eggye.
7 (E)Bw’ati bw’ayogera Mukama ow’Eggye nti, “Laba ndirokola abantu bange abali mu nsi ey’Ebuvanjuba n’abali mu nsi ey’Ebugwanjuba: 8 (F)Ndibakomyawo, babeere mu Yerusaalemi, nange nnaabeeranga Katonda waabwe mu bwesigwa ne mu butuukirivu.”
9 (G)Bw’ati bw’ayogera Mukama ow’Eggye nti, “Emikono gyammwe gibe n’amaanyi, mmwe, mu nnaku zino ababadde bawulira ebigambo bino ebiva mu kamwa ka bannabbi abaaliwo mu nnaku okuva omusingi gw’ennyumba ya Mukama ow’Eggye lwe gwasimbibwa, yeekaalu ye eryoke ezimbibwe. 10 (H)Ekiseera ekyo nga tekinnatuuka, tewaali asobola kutoola nsimbi okupangisa omuntu wadde okupangisa ensolo. Era tewaali muntu ayinza kukola mirimu gye mu mirembe olw’omulabe we, kubanga buli muntu nnali mufudde mulabe wa muliraanwa we. 11 (I)Naye kaakano abantu bano abaasigalawo sijja kubakola nga mu nnaku ezaayita,” bw’ayogera Mukama ow’Eggye.
12 (J)“Kubanga ensigo erikula bulungi, n’omuzabbibu gubale ekibala kyagwo, n’ettaka lireetenga ekimera kyalyo, n’eggulu lireetenga omusulo gwalyo. Nange abantu bange abaasigalawo ndibawa ebintu ebyo byonna nga gwe mugabo gwabwe. 13 (K)Nga bwe mwali ekikolimo mu baamawanga, ggwe ennyumba ya Yuda, naawe ennyumba ya Isirayiri, bwe ntyo bwe ndibalokola, era mulibeera omukisa eri abalala. Temutya, munywere emikono gyammwe gibe n’amaanyi.”
14 (L)Kubanga bw’ati bw’ayogera Mukama ow’Eggye nti, “Nga bwe nasalawo okubabonereza, bajjajjammwe bwe bansunguwaza,” bw’ayogera Mukama ow’Eggye, “era ne sibasaasira, 15 (M)bwe ntyo nate bwe nsazeewo kaakano mu nnaku zino okukola obulungi Yerusaalemi n’ennyumba ya Yuda. Temutya. 16 (N)Bino bye bintu bye munaakolanga: buli muntu ayogerenga bya mazima ne muntu munne, musalenga emisango mu bwenkanya mu mpya zammwe; 17 (O)tosaliranga muliraanwa wo lukwe. So tolayiranga bya bulimba, kubanga ebyo byonna mbikyawa,” bw’ayogera Mukama.
18 Ekigambo kya Mukama ow’Eggye ne kinzijira nate nti:
19 (P)Bw’ati bw’ayogera Mukama ow’Eggye nti, “Okusiiba omwezi ogwokuna, n’ogwokutaano, n’ogw’omusanvu, n’ogw’ekkumi kunaabeeranga mbaga ey’essanyu era n’okwesiima mu nnyumba ya Yuda. Noolwekyo mwagalenga amazima n’emirembe.”
20 Bw’ati bw’ayogera Mukama ow’Eggye nti, “Amawanga mangi n’abantu bangi abalijja okuva mu bibuga bingi era n’okuva mu nsi nnyingi; 21 (Q)era ab’ekibuga ekimu baliraga mu kibuga ekirala babagambe nti, ‘Tugende mangu twegayiririre Mukama, tunoonye amaaso ga Mukama ow’Eggye. Nze kennyini ŋŋenda.’ 22 (R)Abantu bangi n’amawanga mangi ag’amaanyi galijja okunoonya Mukama ow’Eggye mu Yerusaalemi n’okwegayirira Mukama.”
23 (S)Bw’ati bw’ayogera Mukama ow’Eggye nti, “Mu nnaku ezo abasajja kkumi okuva mu buli lulimi olwogerwa mu mawanga balyekwata ku kyambalo ky’Omuyudaaya bagambe nti, ‘Muleke tugende nammwe kubanga twawulira nga Katonda ali nammwe.’ ”
Okufa kwa Laazaalo
11 (A)Awo olwatuuka omuntu ayitibwa Laazaalo eyali e Besaniya n’alwala. Besaniya ky’ekibuga Maliyamu ne Maliza bannyina ba Laazaalo mwe baali. 2 (B)Maliyamu oyo ye yasiiga Mukama waffe amafuta ag’akaloosa ku bigere n’abisiimuuza enviiri ze. 3 (C)Awo Maliyamu ne Maliza ne batumira Yesu ne bamutegeeza nti, “Mukama waffe, mukwano gwo gw’oyagala ennyo mulwadde nnyo.”
4 (D)Naye Yesu bwe yakitegeera n’agamba nti, “Ekigendereddwa mu bulwadde buno si kufa, wabula kulaga kitiibwa kya Katonda, era n’okuweesa Omwana wa Katonda ekitiibwa.” 5 Yesu yali mukwano gwa Maliyamu ne Maliza ne Laazaalo, naye bwe yawulira nga Laazaalo alwadde n’ayongera n’asigala we yali 6 n’amalawo ennaku endala bbiri nga tanagenda gye bali. 7 (E)Awo ennaku bbiri bwe zaayitawo n’agamba abayigirizwa be nti, “Tuddeyo e Buyudaaya.”
8 (F)Kyokka abayigirizwa be, ne bamugamba nti, “Labbi, mu nnaku ntono ezaakayita Abayudaaya baagezaako okukutta. Ate gy’odda?”
9 (G)Yesu n’abaddamu nti, “Essaawa ez’emisana ziwera kkumi na bbiri, era omuntu bw’atambula emisana teyeesittala kubanga aba alaba. 10 Wabula atambula ekiro ye yeesittala, kubanga omusana teguli mu ye.”
11 (H)Bwe yamala okwogera ebyo n’abagamba nti, “Mukwano gwaffe Laazaalo yeebase, naye ŋŋenda kumuzuukusa.”
12 Abayigirizwa ne bamugamba nti, “Mukama waffe oba yeebase anaazuukuka.” 13 (I)Naye Yesu yayogera ku kufa kwa Laazaalo, kyokka bo abayigirizwa be ne balowooza nti ayogera ku kwebaka tulo.
14 Awo n’alyoka abategeereza ddala nti, “Laazaalo afudde. 15 Naye ku lw’obulungi bwammwe, nsanyuse kubanga ssaaliyo, mulyoke mukkirize; kale mujje tugende gy’ali.”
16 (J)Awo Tomasi eyayitibwanga Didumo[a] n’agamba banne nti, “Ka tugende tufiire wamu naye.”
17 (K)Bwe baatuuka e Besaniya Yesu n’asanga nga Laazaalo yaakamala ennaku nnya mu ntaana. 18 (L)Besaniya kyali kumpi ne Yerusaalemi, kilomita nga ssatu. 19 (M)Abayudaaya bangi baali bazze okukubagiza Maliza ne Maliyamu olw’okufiirwa mwannyinaabwe. 20 (N)Maliza bwe yawulira nti Yesu ajja, n’agenda okumusisinkana, kyokka Maliyamu n’asigala mu nnyumba ng’atudde. 21 (O)Awo Maliza n’agamba Yesu nti, “Mukama wange, singa wali wano mwannyinaze teyandifudde. 22 (P)Era kaakano mmanyi nti buli ky’onoosaba Katonda, ajja kukikuwa.”
23 Yesu n’agamba Maliza nti, “Mwannyoko ajja kuzuukira.”
24 (Q)Maliza n’amuddamu nti, “Mmanyi nti alizuukira ku lunaku olw’enkomerero.”
25 (R)Yesu n’amugamba nti, “Nze kuzuukira n’obulamu; akkiriza nze newaakubadde ng’afudde, aliba mulamu, 26 na buli muntu omulamu akkiriza nze talifa emirembe n’emirembe. Ekyo okikkiriza?”
27 (S)Maliza n’amugamba nti, “Mukama wange nzikiriza nti ggwe Kristo Omwana wa Katonda, ajja mu nsi.”
28 (T)Awo Maliza bwe yamala okwogera ebyo, n’ava eri Yesu n’agenda eri Maliyamu n’amuzza ku bbali mu kyama ng’agamba nti, “Omuyigiriza azze, akuyita.” 29 Maliyamu olwawulira ekyo n’asitukiramu n’agenda eri Yesu. 30 (U)Yesu yali akyali mu kifo Maliza we yamusisinkana nga tannatuuka mu kibuga. 31 (V)Abayudaaya abaali bazze okukubagiza abaali mu nnyumba ne Maliyamu bwe baamulaba ng’ayimiridde mangu ng’afuluma ne bamugoberera ne balowooza nti agenda ku ntaana akaabire eyo.
32 (W)Maliyamu bwe yatuuka awali Yesu n’afukamira ku bigere bye, nga bw’agamba nti, “Mukama wange, singa wali wano mwannyinaze teyandifudde.”
33 (X)Yesu bwe yamulaba ng’akaaba era n’Abayudaaya abaali naye nga bakaaba n’anyolwa mu mutima, n’ajjula obuyinike. 34 N’abuuza nti, “Mwamuteeka wa?”
Ne bamugamba nti, “Mukama waffe jjangu olabeyo.”
35 (Y)Yesu n’akaaba amaziga.
36 (Z)Awo Abayudaaya ne bagamba nti, “Ng’abadde amwagala nnyo!”
37 (AA)Naye abamu ku bo ne bagamba nti, “Ono eyazibula amaaso ga muzibe, lwaki teyaziyiza musajja ono kufa?”
Yesu Azuukiza Laazaalo
38 (AB)Awo Yesu ne yeeyongera okujjula obuyinike. N’atuuka ku ntaana. Yali mpuku ng’eggaliddwawo n’ejjinja. 39 (AC)Yesu n’agamba nti, “Muggyeewo ejjinja.”
Naye Maliza, mwannyina w’omufu, n’amugamba nti, “Kaakano awunya nnyo, kubanga yaakamala ennaku nnya mu ntaana.”
40 (AD)Yesu n’amuddamu nti, “Saakugambye nti bw’onokkiriza onoolaba ekitiibwa kya Katonda?”
41 (AE)Ne baggyawo ejjinja. Awo Yesu n’atunula waggulu n’agamba nti, “Kitange nkwebaza olw’okumpulira. 42 (AF)Mmanyi nti bulijjo ompulira, naye kino nkyogedde olw’abantu bano abayimiridde wano, balyoke bakkirize nti ggwe wantuma.”
43 (AG)Bwe yamala okwogera bw’atyo, n’akoowoola mu ddoboozi ery’omwanguka nti, “Laazaalo fuluma.” 44 (AH)Awo Laazaalo n’ava mu ntaana, ng’amagulu ge n’emikono bizingiddwa mu ngoye eziziikibwamu abafu, nga n’ekiremba kisibiddwa ku maaso ge.
Yesu n’abagamba nti, “Mumusumulule atambule.”
45 (AI)Bangi ku Bayudaaya abajja ne Maliyamu bwe baalaba Yesu ky’akoze ne bamukkiriza. 46 Naye abalala ne bagenda eri Abafalisaayo ne babategeeza Yesu kye yakola.
47 (AJ)Awo bakabona abakulu n’Abafalisaayo ne batuuza olukiiko ne bagamba nti, “Tukole ki? Kubanga omuntu ono akola ebyamagero bingi. 48 Bwe tumuleka bw’atyo, abantu bonna bajja kumukkiriza bamugoberere, n’ekirivaamu Abaruumi bagenda kujja bazikirize ekifo ekitukuvu n’eggwanga lyaffe.”
49 (AK)Awo omu ku bo, Kayaafa eyali Kabona Asinga Obukulu mu mwaka ogwo, n’abagamba nti, “Mmwe temuliiko kye mumanyi. 50 (AL)Temulaba nti kirungi omuntu omu afe, eggwanga lyonna lireme kuzikirira?”
51 Ekyo Kayaafa teyakyogera ku bubwe, wabula ye nga Kabona Asinga Obukulu, yayogera eby’obunnabbi nti Yesu yali anaatera okufiirira eggwanga, 52 (AM)ate si ggwanga lyokka naye n’okukuŋŋaanya abaana ba Katonda abaasaasaana. 53 (AN)Okuva ku lunaku olwo abakulembeze b’Abayudaaya ne basala amagezi okutta Yesu.
54 (AO)Noolwekyo, Yesu n’alekayo okutambula mu Buyudaaya mu lwatu, wabula n’avaayo n’alaga mu kifo ekiriraanye eddungu, mu kibuga ekiyitibwa Efulayimu, n’abeera eyo n’abayigirizwa be.
55 (AP)Embaga y’Abayudaaya ejjuukirirwako Okuyitako yali eneetera okutuuka, abantu bangi ne bava mu byalo ne bambuka e Yerusaalemi okukola omukolo ogw’okwetukuza ng’embaga tennatuuka. 56 (AQ)Bwe baali bakuŋŋaanidde mu Yeekaalu, ne banoonya Yesu, ne beebuuzaganya nti, “Mulowooza mutya? Yesu tajje ku mbaga?” 57 Bakabona abakulu n’Abafalisaayo baali balagidde nti, Omuntu yenna bw’amanya Yesu wali abategeeze, balyoke bamukwate.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.