M’Cheyne Bible Reading Plan
Sulemaani Azimba Yeekaalu
3 (A)Awo Sulemaani n’atandika okuzimba yeekaalu ya Mukama mu Yerusaalemi ku lusozi Moliya, Mukama gye yalabikira Dawudi kitaawe, ekifo Dawudi kye yali alonze ku gguuliro lya Olunaani Omuyebusi. 2 (B)Yatandika okugizimba mu mwezi ogwokubiri mu mwaka ogwokuna ogw’obufuzi bwe.
3 (C)Omusingi Sulemaani gwe yasima ogwa yeekaalu ya Katonda gwali obuwanvu mita amakumi abiri mu musanvu ng’obugazi mita mwenda, mu kukozesa ebipimo okw’edda. 4 Ekisasi ekyali mu maaso ga yeekaalu kyali obuwanvu mita mwenda n’obugazi nga kye kimu, n’obugulumivu kyali mita mwenda. Munda mu yeekaalu n’asiigamu ne zaabu ennongoofu. 5 (D)Mu kisenge ekinene n’assaamu embaawo ez’emiberosi, ne munda waakyo n’akisiiga ne zaabu ennongoofu, ate era n’akitimba n’enkindu n’emikuufu. 6 N’ayonja yeekaalu n’amayinja ag’omuwendo, ne zaabu gwe yakozesa yali zaabu owa Paluvayimu. 7 (E)Ku myango, ne ku miryango, ne ku bisenge ne ku nzigi za yeekaalu, byonna n’abisiigako zaabu; ate era n’awoola ne bakerubi ku bisenge.
8 (F)N’azimba n’Ekifo Ekitukuvu Ennyo, ng’obuwanvu kyenkanankana obugazi bwa yeekaalu, obuwanvu kyali mita mwenda n’obugazi mita mwenda. Munda waakyo n’asiigamu ttani amakumi abiri mu ssatu eza zaabu ennongoofu. 9 (G)Obuzito bw’emisumaali bwali desimoolo mukaaga era nga gya zaabu.
10 (H)Mu Kifo Ekitukuvu Ennyo n’abajjirayo bakerubi babiri n’abasiiga ne zaabu. 11 Obugazi bw’ebiwaawaatiro bya bakerubi bwali mita mwenda, ng’ekimu obuwanvu bwakyo kiri mita bbiri ne desimoolo ssatu, nga kituuka ku kisenge kya yeekaalu, n’ekirala obuwanvu nga kiri mita bbiri ne desimoolo ssatu, nga kituuka ku kerubi omulala. 12 N’ekiwaawaatiro kya kerubi omulala kyali obuwanvu mita bbiri ne desimoolo ssatu nga kituuka ku ludda lw’ekisenge kya yeekaalu ekirala, n’ekiwaawaatiro ekirala obuwanvu nga kiri mita bbiri ne desimoolo ssatu, nga kituuka ku kerubi oli omulala. 13 (I)Obuwanvu bw’ebiwaawaatiro bya bakerubi bwali mita mwenda awamu, era baasimbibwa ku bigere byabwe, nga batunuuliraganye. 14 (J)N’akola olutimbe nga lulimu bbululu, effulungu, era nga lutwakaavu, ne bafuta ennungi n’alukubako ebifaananyi bya bakerubi.
15 (K)Mu maaso ga yeekaalu yassaawo empagi bbiri, obuwanvu bwazo mita kkumi na mukaaga, nga buli emu ku zo eriko omutwe ogwenkana mita bbiri ne desimoolo ssatu. 16 (L)N’akola emikuufu mu kifo eky’omunda awasinzirwa okwogera n’agissa ku mitwe gy’empagi, ate era n’akola n’amakomamawanga kikumi, n’agateeka ku mikuufu egyo. 17 N’asimba empagi mu maaso ga yeekaalu, emu ku luuyi olw’ebugwanjuba obwa ddyo, n’endala ku luuyi olw’ebugwanjuba obwa kkono. Ey’oku luuyi olw’ebugwanjuba obwa ddyo yagituuma Yakini[a], n’eyo ku luuyi olw’ebugwanjuba obwa kkono n’agituuma Bowaazi[b].
Ebintu Ebyole ebya Yeekaalu
4 (M)Yazimba ekyoto eky’ekikomo, obuwanvu bwakyo mita mwenda, n’obugazi bwakyo mita mwenda, ng’obugulumivu bwakyo mita nnya n’ekitundu. 2 (N)N’akola Ennyanja ensaanuuse, nga neekulungirivu, nga ya mita nnya n’ekitundu okuva ku mugo okutuuka ku mugo, ng’obugulumivu eri mita bbiri ne desimoolo ssatu, ate ng’obwetooloovu eri mita kkumi na ssatu n’ekitundu. 3 Wansi waakyo waaliyo ebifaananyi by’ente ennume nga mumbe, nga buli emu eri kitundu kya mita obuwanvu, era nga zikyetoolodde. Ebifaananyi byasaanuusibwanga mu nnyiriri bbiri bbiri, ekidiba bwe kyasaanuusibwanga.
4 (O)Ennyanja yatuulanga ku bifaananyi by’ente ennume kkumi na bbiri, essatu nga zitunuulira obukiikakkono, n’essatu endala nga zitunuulira ebugwanjuba, n’essatu endala nga zitunuulira obukiikaddyo, n’essatu endala nga zitunuulira ebuvanjuba. Ennyanja yatuulanga ku zo waggulu, n’amagulu gaazo ag’emabega nga gatunudde munda, wakati waayo. 5 Obukwafu bwayo bwali nga luta, n’omugo gwayo ng’omugo gw’ekikopo, n’okufaanana ng’efaanana ng’ekimuli ky’amalanga. Yatekebwangamu lita emitwalo mukaaga. 6 (P)N’akolayo ne bensani kkumi ez’okwolezangamu, etaano n’azissa ku luuyi olw’obukiikaddyo, n’ettaano endala n’azissa ku luuyi olw’obukiikakkono. Omwo mwe mwanyumungulizibwanga ebintu ebyakozesebwanga mu kiseera eky’okuwaayo ebiweebwayo ebyokebwa, naye ng’Ennyanja ya bakabona okuginaabirangamu. 7 (Q)N’akola ebikondo eby’ettaala ez’omukono kkumi nga bya zaabu, ng’ekiragiro kyabyo bwe kyali, n’abiteeka mu yeekaalu, ebitaano ku luuyi olw’obukiikaddyo, n’ebitaano ebirala ku luuyi olw’obukiikakkono. 8 (R)N’akola n’emmeeza kkumi, n’aziteeka mu yeekaalu, etaano ku luuyi olw’obukiikaddyo, n’etaano endala ku luuyi olw’obukiikakkono. N’akola ne bbakuli ezikozesebwa okumansira kkumi nga za zaabu.
9 (S)N’akola oluggya lwa bakabona, n’oluggya olunene ddala, n’enzigi ez’oluggya, n’enzigi n’azisaaba n’ekikomo. 10 Ennyanja n’agiteeka ku luuyi olw’obukiikaddyo obw’ebuvanjuba mu yeekaalu.
11 (T)N’akola n’ensuwa, n’ebisena, ne bbakuli.
Awo Kulamu n’amaliriza omulimu ogwali gumuwereddwa kabaka Sulemaani ku yeekaalu ya Katonda:
12 empagi bbiri,
n’emitwe egifaanana ng’ebakuli ku mitwe gy’empagi,
n’ebitimba bya mirundi ebiri nga bibeera ku mitwe egyali ku mpagi,
13 n’amakomamawanga ebikumi bina obw’ebitimba biri ebibiri, buli kitimba nga kirina ennyiriri bbiri ez’amakomamawanga, nga zitimbye emitwe gy’empagi.
14 (U)N’akola n’ebiyimirirwako, n’amabensani gaakwo,
15 n’Ennyanja n’ebifaananyi by’ente ennume emumbe,
16 (V)n’ensuwa, n’ebisena, n’ewuuma ez’ennyama, n’ebintu byonna ebigenderako.
Ebintu byonna Kulamu bye yakolera Kabaka Sulemaani ku lwa yeekaalu ya Mukama yabizigula n’ekikomo. 17 (W)Kabaka yalagira babisaanuusize mu lusenyi lwa Yoludaani, awali ettaka ery’ebbumba wakati w’e Sukkosi n’e Zereda. 18 (X)Sulemaani n’akola ebintu ebyo byonna nga bingi nnyo nnyini, n’obuzito bw’ekikomo mwe byakolebwa ne butamanyibwa.
19 (Y)Sulemaani n’akola ebintu byonna ebyole mu yeekaalu ya Katonda:
ekyoto ekya zaabu,
n’emmeeza okwabanga emigaati egy’okulaga,
20 (Z)n’ebikondo eby’ettaala ez’omukono nga bya zaabu, wamu ne ttaala zaabyo, okwakiranga mu maaso g’awaayimirirwanga okwogera, ng’ekiragiro bwe kyali,
21 n’ebimuli, ne ttaala, ne wuuma nga byonna zaabu ntuukirivu,
22 (AA)n’ebisalako ebisirinza, ne bensani, ne bbakuli ez’okumansira akaloosa, ne fulampeni nga bya zaabu ennongoose, n’enzigi za yeekaalu, n’enzigi ez’omunda mu Kifo Ekitukuvu Ennyo, n’enzigi ez’ekisenge ekinene, nga byonna bya zaabu.
Abaana ba Katonda
3 (A)Mulabe okwagala Katonda kw’atwagala bwe kuli okunene ennyo, n’atuyita abaana be, era ddala bwe tutyo bwe tuli. Ensi kyeva eremwa okututegeera, kubanga naye yennyini teyamutegeera. 2 (B)Abaagalwa, kaakano tuli baana ba Katonda, naye tetumanyi bwe tuliba. Kyokka tumanyi nti bw’alirabika tulifaanana nga ye, kubanga tulimulabira ddala nga bw’ali. 3 (C)Buli muntu alina essuubi eryo yeetukuza nga Katonda bw’ali omutukuvu.
4 (D)Buli muntu akola ebibi aba mujeemu, era ekibi bwe bujeemu. 5 (E)Naye mmwe mumanyi nti ye, yalabisibwa alyoke aggyewo ebibi. Era mu ye, temuliimu kibi. 6 (F)Era tewali n’omu abeera mu ye ate ne yeeyongera okukola ekibi. Wabula oyo eyeeyongera okukola ekibi tamutegeeranga, era tamumanyi n’akatono.
7 (G)Abaana abaagalwa, temulimbibwalimbibwanga muntu n’omu; Buli akola eby’obutuukirivu aba mutuukirivu, nga Katonda bw’ali omutuukirivu, 8 (H)naye buli akola ekibi wa Setaani, kubanga okuva olubereberye Setaani akola bibi. Omwana wa Katonda kyeyava ajja mu nsi azikirize ebikolwa bya Setaani. 9 (I)Noolwekyo tewali afuuka mwana wa Katonda ate ne yeeyongera okukola ekibi, kubanga ensigo ya Katonda ebeera mu ye, so tayinza kukola kibi, kubanga yazaalibwa Katonda. 10 Ku kino abaana ba Katonda n’aba Setaani kwe bategeererwa. Buli akola ebitali bya butuukirivu si wa Katonda, era na buli atayagala muganda we si wa Katonda.
Mwagalanenga
11 (J)Kubanga buno bwe bubaka bwe twawulira okuva ku lubereberye nti twagalanenga, 12 (K)si nga Kayini eyali owa Setaani, n’atta muganda we. Kale yamuttira ki? Kayini yatta muganda we kubanga Kayini yakola ebibi, so nga ye muganda we yakola eby’obutuukirivu. 13 (L)Abooluganda, ensi bwe bakyawanga, temwewuunyanga. 14 (M)Kubanga ffe tumanyi nga twava mu kufa, ne tuyingira mu bulamu, kubanga twagala abooluganda, naye buli muntu atalina kwagala akyali mu kufa. 15 (N)Buli akyawa muntu munne, oyo aba mussi, era mukimanyi nti tewali mussi alina obulamu obutaggwaawo mu ye.
16 (O)Mu kino mwe tutegeerera okwagala, kubanga yawaayo obulamu bwe ku lwaffe, era naffe kyetuva tuteekwa okuwaayo obulamu bwaffe olw’abooluganda. 17 (P)Buli alina ebintu eby’omu nsi n’alaba muganda we nga yeetaaga, naye n’abulwako ky’amuwa, okwagala kwa Katonda, kuyinza kutya okuba mu ye? 18 (Q)Abaana abaagalwa, tetusaana kwagala mu bigambo kyokka, wabula twagalanenga ne mu bikolwa ne mu bulamu obulabika eri abantu.
19 Mu ekyo mwe tutegeerera nga tuli ba mazima, era ne tukkakkanya omutima gwaffe mu maaso ge. 20 Singa omutima gwaffe tegutusalira musango, Katonda ye asinga omutima gwaffe era ye ategeera ebintu byonna. 21 (R)Abaagalwa, omutima gwaffe bwe gutatusalira musango, tuba bagumu mu maaso ga Katonda. 22 (S)Era buli kye tumusaba akituwa, kubanga tugondera ebiragiro bye, era ne tukola ebimusanyusa. 23 (T)Era kino ky’atulagira nti, tukkiririze mu linnya ly’Omwana we Yesu Kristo, era twagalanenga nga ye bwe yatulagira. 24 (U)Kale oyo agondera ebiragiro bye abeera mu Ye, era naye abeera mu ye. Kino tukimanyi ng’ali mu ffe, kubanga Mwoyo Mutukuvu gwe yatuwa abeera mu ffe.
Okugwa kwa Nineeve
2 (A)Nineeve, olumbiddwa omulabe;
kuuma ekigo,
Kuuma ekkubo,
weesibire ddala onywere mu kiwato,
kuŋŋaanya amaanyi go gonna.
2 (B)Kubanga Mukama alizzaawo ekitiibwa kya Yakobo,
kibe ng’ekitiibwa kya Isirayiri,
newaakubadde ng’abazikiriza baabasaanyawo,
ne boonoona emizabbibu gyabwe.
3 (C)Engabo z’eggye erikutabadde zonna myufu
n’engoye ze bambadde nazo bwe zityo.
Amagaali g’ebyuuma gamasamasa
ku lunaku lwe gategekebwa,
era n’amafumu gagalulwa mu ngeri ey’entiisa!
4 (D)Amagaali g’abalwanyi gatayira mu nguudo,
gadda eno n’eri,
galabika ng’emimuli egyaka,
gamyansa ng’eggulu.
5 (E)Omuduumizi bw’ayita abalwanyi be
bajja bagwirana.
Badduka mbiro ku bbugwe w’ekibuga
we beetegekera okwerwanako.
6 (F)Enzigi ez’omugga zigguddwawo,
amazzi ne gasaanyaawo olubiri.
7 (G)Etteeka lyayisibwa ku kibuga
nti kiriwaŋŋangusibwa,
abaddu abakazi bakungubaga ng’amayiba,
nga bwe beekuba mu bifuba.
8 Ab’omu Nineeve bafaanana ng’ekidiba
eky’amazzi agakalira.
Wadde nga babakoowoola nti, “Muyimirire, muyimirire!”
bo beeyongerayo bweyongezi.
9 Ffeeza yaakyo temugirekaawo,
ne zaabu nayo mugitwalire ddala,
omunyago teguggwaayo,
eby’obugagga byakyo ebitabalika ebirungi ddala.
10 (H)Ekibuga kisigadde kyangaala!
Abantu bonna emitima gibeewanise, emibiri gibakankana,
amaviivi gabakubagana, basiiwuuse ne mu maaso.
11 (I)Eri ludda wa empuku y’empologoma,
ekifo we ziriisiza empologoma zaazo ento,
empologoma ensajja, n’enkazi,
n’ento we zaatambuliranga nga tewali kizikanga?
12 (J)Empologoma ensajja yayigganga ennyama y’abaana ebamala,
n’enkazi n’ezittira eyaazo,
n’ejjuza empuku n’omuyiggo,
ne mu bisulo ne mujjula ennyama.
13 (K)“Laba nze Mukama ow’Eggye
nkwolekedde,
era ndyokya amagaali go gonna ne ganyooka,
n’ekitala kirizikiriza empologoma zo ento.
Era tolifuna munyago mulala nate ku nsi,
n’eddoboozi ly’ababaka bo
teririddayo kuwulirwa.”
Olugero lwa Nnamwandu n’Omulamuzi
18 (A)Awo Yesu n’agerera abayigirizwa be olugero ng’agamba nga bwe bagwanidde obutakoowanga kusaba n’obutaggwaamu mwoyo, ng’agamba nti, 2 “Waaliwo omulamuzi mu kibuga ekimu, nga tatya Katonda era nga tafa ku muntu yenna. 3 (B)Mu kibuga ekyo mwalimu nnamwandu eyajjanga ew’omulamuzi oyo buli lunaku ng’amwegayirira nti, ‘Nnamula n’omulabe wange.’
4 “Omulamuzi n’amala ebbanga ng’akyagaanyi. Naye oluvannyuma n’agamba mu mutima gwe nti, ‘Newaakubadde nga sitya Katonda era nga sirina muntu gwe nzisaamu kitiibwa, 5 (C)naye olwokubanga nnamwandu ono aneetayiridde nnyo, nzijja kumumalira ensonga ze, kubanga ajja kunkooya olw’okuneetayirira ng’ajja gye ndi buli lunaku!’ ”
6 (D)Awo Mukama waffe n’agamba nti, “Muwulire omulamuzi atali wa mazima bw’agamba. 7 (E)Kale Katonda talisingawo nnyo kulamula abantu be, be yeerondera, abamukaabirira emisana n’ekiro ate ng’abagumiikiriza? 8 (F)Mbagamba nti agenda kubalamula mangu. Naye Omwana w’Omuntu, bw’alijja, alisanga okukkiriza ku nsi?”
9 (G)Awo Yesu n’agerera olugero luno abo abeerowooza nga batuukirivu nga banyoomoola n’abantu abalala, n’agamba nti, 10 (H)“Abantu babiri baayambuka mu Yeekaalu okusaba, omu yali Mufalisaayo n’omulala nga muwooza. 11 (I)Omufalisaayo n’ayimirira n’atandika okusaba nga yeeyogerako nti, ‘Nkwebaza, Katonda, kubanga sifaanana ng’abantu abalala: ab’omululu, abalyazaamaanyi, abenzi, oba omuwooza ono. 12 (J)Nsiiba emirundi ebiri mu wiiki, era mpaayo eri Katonda, ekimu eky’ekkumi ku bintu byonna bye nfuna.’
13 (K)“Naye omuwooza n’ayimirira wala n’atasobola na kuyimusa maaso ge kutunula eri eggulu ng’asaba, wabula ne yeekuba mu kifuba ng’asaba nti, ‘Katonda, onsaasire, nze omwonoonyi.’
14 (L)“Mbagamba nti omusajja ono, omuwooza ye yaddayo eka ng’asonyiyiddwa ebibi bye. Kubanga buli eyeegulumiza alitoowazibwa, n’oyo eyeetoowaza aligulumizibwa.”
Yesu n’Abaana Abato
15 Lumu ne wabaawo abaaleetera Yesu abaana baabwe abato abakwateko abawe omukisa. Naye abayigirizwa bwe baakiraba ne bajunga abaabaleeta. 16 Naye Yesu abaana n’abayita, n’agamba nti, “Muleke abaana abato bajje gye ndi, temubagaana, kubanga abali nga bano be b’obwakabaka bwa Katonda. 17 (M)Ddala ddala mbagamba nti atayaniriza bwakabaka bwa Katonda ng’omwana omuto, talibuyingiramu n’akatono.”
Omukungu Omugagga
18 (N)Awo omu ku bakulembeze b’Abayudaaya n’abuuza Yesu nti, “Omuyigiriza omulungi, nkole ki okufuna obulamu obutaggwaawo?” 19 Yesu n’amuddamu nti, “Lwaki ompita omulungi? Tewali mulungi n’omu wabula Katonda yekka. 20 (O)Amateeka ogamanyi nti, ‘Toyendanga, tottanga, tobbanga, tolimbanga, kitaawo ne nnyoko obassangamu ekitiibwa.’ ”
21 N’amuddamu nti, “Amateeka ago gonna ngagondedde ebbanga lyonna okuva mu buto bwange.”
22 (P)Yesu bwe yawulira ebyo, n’amugamba nti, “Okyabulako ekintu kimu. Genda otunde ebibyo byonna, ensimbi z’onoggyamu ozigabire abaavu, olibeera n’obugagga mu ggulu, olyoke ojje ongoberere.”
23 Naye bwe yawulira ebigambo ebyo n’agenda ng’anakuwadde nnyo, kubanga yali mugagga nnyo. 24 (Q)Yesu bwe yamulaba ng’anakuwadde nnyo, n’ayogera nti, “Nga kizibu omugagga okuyingira mu bwakabaka bwa Katonda! 25 Kyangu eŋŋamira okuyita mu nnyindo y’empiso okusinga omugagga okuyingira mu bwakabaka bwa Katonda.”
26 Abo abaawulira ebyo kwe kubuuza nti, “Kale ani ayinza okulokolebwa?”
27 (R)Yesu n’addamu nti, “Ebitayinzika eri abantu, biyinzika eri Katonda.”
28 (S)Peetero n’amugamba nti, “Ffe twalekawo ebyaffe byonna ne tukugoberera!”
29 Yesu n’addamu nti, “Ddala ddala mbagamba nti teri muntu n’omu eyalekawo amaka ge, oba omukazi we, oba baganda be, oba abazadde be, oba abaana be, olw’obwakabaka bwa Katonda, 30 (T)atalifuna mirundi mingi n’okusingawo mu mulembe guno, ate ne mu mulembe ogugenda okujja aweebwe obulamu obutaggwaawo.”
Yesu Ayongera Okwogera ku Kufa kwe
31 (U)Awo Yesu n’azza ku bbali ekkumi n’ababiri, n’abagamba nti, “Laba, twambuka e Yerusaalemi, era bwe tunaatuuka eyo, byonna bannabbi bye bawandiika ku Mwana w’Omuntu, bijja kutuukirizibwa. 32 (V)Ajja kuweebwayo eri Abamawanga okukudaalirwa n’okuvumibwa. Balimuduulira, ne bamubonyaabonya, ne bamuwandira amalusu, 33 (W)balimukuba era ne bamutta. Ne ku lunaku olwokusatu alizuukira.”
34 (X)Naye abayigirizwa be tebaategeera ky’agamba, amakulu gaakyo gaali gabakwekeddwa, ne batategeera bye yayogera.
Yesu Awonya Omuzibe w’Amaaso Omusabiriza
35 (Y)Awo Yesu bwe yali ng’asemberera Yeriko, ne wabaawo omusajja omuzibe w’amaaso eyali atudde ku kkubo ng’asabiriza. 36 Awo omusajja oyo bwe yawulira ng’ekibiina ky’abantu bayitawo, n’abuuza nti, “Kiki ekyo?” 37 (Z)Ne bamuddamu nti, “Yesu Omunnazaaleesi ye ayitawo.”
38 (AA)Omuzibe w’amaaso n’akoowoola nti, “Yesu, Omwana wa Dawudi, onsaasire!” 39 (AB)Abo abaali bakulembeddemu ne bamuboggolera asirike, kyokka ye ne yeeyongera bweyongezi okuleekaana nti, “Omwana wa Dawudi, onsaasire!”
40 Awo Yesu n’ayimirira, n’alagira, omusajja bamumuleetere. Bwe yasembera, Yesu n’amubuuza nti, 41 “Kiki ky’oyagala nkukolere?” Omusajja n’addamu nti, “Mukama wange, njagala nziremu okulaba!” 42 (AC)Yesu n’amugamba nti, “Ddamu okulaba. Okukkirizakwo kukuwonyezza.” 43 (AD)Amangwago n’addamu okulaba, n’agoberera Yesu ng’atendereza Katonda. Bonna abaakiraba ne batendereza Katonda.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.